Enkuŋŋaana Ennene eza Disitulikiti n’ez’Ensi Yonna Zitukubiriza Okuwa Katonda Ekitiibwa!
Enkuŋŋaana za Disitulikiti n’ez’Ensi Yonna ezirina omutwe “Muwe Katonda Ekitiibwa,” ezibaddewo ziwadde obujulirwa bwa maanyi nnyo. Enkuŋŋaana zino ziweesezza erinnya lya Yakuwa ekitiibwa era zituleetedde okweyongera okuba n’obusobozi ‘obw’okuwa Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.’ (Zab. 96:8) Mazima ddala, agwanidde okuweebwa ekitiibwa olw’emirimu gye egy’obutonzi egy’ekitalo era egyoleka engeri ze ennungi.—Yob. 37:14; Kub. 4:11.
Ng’okozesa ebibuuzo ebiddirira awamu n’ensonga enkulu ze wawandiika mu lukuŋŋaana olunene, teekateeka okwenyigira mu kwejjukanya ebyo ebyalulimu okunaabaawo mu wiiki etandika nga 20 Okitobba.
1. Ebitonde bya Katonda ebitalina bulamu byoleka bitya ekitiibwa kye, era engeri gye bikyolekamu eyawukana etya ku ngeri abantu gye bamutenderezaamu? (Zab. 19:1-3; “Obutonde Bwoleka Ekitiibwa kya Katonda”)
2. Okufuusibwa kwa Yesu kwakiikirira ki ekiriwo mu kiseera kyaffe, era ekyo kizzaamu kitya Abakristaayo amaanyi leero? (okwogera okwanjula ensonga enkulu, “Okwolesebwa kw’Obunnabbi Kutuzzaamu Amaanyi!”)
3. Tuyinza tutya okukulaakulanya obwetoowaze ng’obwa nnabbi Danyeri, era tunaaganyulwa tutya mu kukola ekyo? (Dan. 9:2, 5; 10:11, 12; “Ekitiibwa kya Yakuwa Kibikkulwa eri Abeetoowaze”)
4. (a) Bintu ki ebisatu ebikwata ku musango Katonda gwe yasala bye tuyinza okuyiga mu bunnabbi bwa Amosi? (Am. 1:3, 11, 13; 9:2-4, 8, 14) (b) Kiki Abajulirwa ba Yakuwa leero kye bayiga okuva mu Amosi 2:12? (“Obunnabbi bwa Amosi—Obubaka Bwabwo obw’Omu Kiseera Kyaffe”)
5. (a) Kabi ki akali mu kunywa omwenge omungi, wadde ng’omuntu ayinza obutatamiira? (b) Omuntu ayinza atya okuvvuunuka ekizibu ky’okunywa ennyo omwenge? (Mak. 9:43; Bef. 5:18; “Weewale Ekyambika eky’Okukozesa Obubi Omwenge”)
6. Oganyuddwa otya mu katabo akapya akayitibwa ‘Laba Ensi Ennungi’? (“‘Ensi Ennungi’—Esonga ku Lusuku lwa Katonda”) ne Baibuli ya New World Translation of the Holy Scriptures mu Luswayiri? (“Ekintu Ekikulu Ennyo Ekituukiddwako mu by’Omwoyo!”)
7. Ngeri ki essatu mwe tuyinza ‘okwolekera ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu’? (2 Kol. 3:18; “Mwoleke Ekitiibwa kya Yakuwa ng’Endabirwamu”)
8. Kiki ekiviirako okukyayibwa awatali nsonga, era kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa mu mbeera ng’eyo? (Zab. 109:1-3; “Bakyayibwa Awatali Nsonga”)
9. Endowooza Kristo gye yalina ku bukulu y’eruwa, era omuntu ayinza atya okumanya we yeetaagira okugyolesa mu bujjuvu? (Mat. 20:20-26; “Okukulaakulanya Endowooza Kristo gye Yalina ku Bukulu”)
10. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli banyiikivu mu by’omwoyo wadde nga tuli bakoowu mu mubiri? (“Bakoowu mu Mubiri Naye Tebaggwaamu Maanyi mu By’Omwoyo”)
11. Setaani akozesa ki okukulaakulanya obulimba, era Kyawandiikibwa ki kye tuyinza okukozesa singa agezaako okumalawo okukkiriza kwaffe? (Yok. 10:5; “Mwegendereze ‘Eddoboozi ly’Abantu be Mutamanyi’”)
12. (a) Abazadde bayinza batya okugoberera ekyokulabirako kya Yesu ekyogerwako mu Makko 10:14, 16? (b) Biki ebikusanyusa mu kitabo ekippya Learn From the Great Teacher? (“Abaana Baffe—Obusika obw’Omuwendo”)
13. Abavubuka batendereza batya Yakuwa? (1 Tim. 4:12; “Engeri Abavubuka gye Batenderezaamu Yakuwa”)
14. Biki by’ojjukira obulungi mu muzannyo “Okubuulira n’Obuvumu Wadde nga Waliwo Okuziyizibwa”?
15. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya (a) Peetero ne Yokaana? (Bik. 4:10) (b) Suteefano? (Bik. 7:2, 52, 53) (c) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka? (Bik. 9:31; omuzannyo n’emboozi “Buulira Amawulire Amalungi ‘Awatali Kuddirira’”)
16. (a) Twamalirira tutya okuwa Katonda ekitiibwa? (b) Tuyinza kuba bakakafu ku ki bwe tussa mu nkola bye twayiga mu Nkuŋŋaana Ennene eza “Muwe Katonda Ekitiibwa?” (Yok. 15:9, 10, 16; “‘Mubalenga Ebibala Bingi Muweese Yakuwa Ekitiibwa”)
Bwe tufumiitiriza ku bulagirizi obwatuweebwa mu lukuŋŋaana olunene, kijja kutuleetera okussa mu nkola bye twayiga. (Baf. 4:8, 9) Ekyo kijja kunyweza obumalirivu bwaffe ‘okukola byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’—1 Kol. 10:31.