Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Kitiibwa
“Alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.”—NGE. 29:23.
1, 2. (a) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ekitiibwa” kitegeeza ki? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
BW’OWULIRA ekigambo “ekitiibwa,” kiki ekikujjira mu birowoozo? Olowooza ku kitiibwa ekiweebwa abantu abagagga, abagezi, oba abalina ebintu eby’amaanyi bye bakoze oba bye batuuseeko? Mu Byawandiikibwa, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ekitiibwa” kisobola okutegeeza okuzitowa. Mu biseera by’edda, ebinusu byakolebwanga mu ffeeza oba zzaabu. Ekinusu gye kyakomanga okuba ekizito, gye kyakomanga okuba eky’omuwendo. Eyo ye nsonga lwaki abantu baatandika okukozesa ekigambo ekyavvuunulwa “ekitiibwa” okutegeeza ekintu eky’omuwendo ennyo, ekirabika obulungi ennyo, oba ekiwuniikiriza.
2 Abantu batera okuwa ekitiibwa abantu abali mu buyinza oba abantu abatutumufu. Naye Katonda bw’aba ow’okuwa omuntu ekitiibwa, asinziira ku ki? Engero 22:4 wagamba nti: “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.” Omuyigirizwa Yakobo naye yagamba nti: “Mwewombeeke mu maaso ga Yakuwa, naye anaabagulumiza.” (Yak. 4:10) Yakuwa awa atya abantu ekitiibwa? Kiki ekiyinza okutulemesa okufuna ekitiibwa ekyo? Era tuyinza tutya okuyamba abalala okufuna ekitiibwa ekyo?
3-5. Yakuwa awa atya abaweereza be ekitiibwa?
3 Omuwandiisi wa Zabbuli yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kumukwata ku mukono gwe ogwa ddyo amutuuse mu kitiibwa. (Soma Zabbuli 73:23, 24.) Yakuwa awa atya abaweereza be abawombeefu ekitiibwa? Ekibawa mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, abayamba okutegeera ekigendererwa kye. (1 Kol. 2:7) Era abayamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.—Yak. 4:8.
4 Yakuwa era awa abaweereza be ekitiibwa ng’abawa enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi. (2 Kol. 4:1, 7) Omulimu gw’okubuulira gutuweesa ekitiibwa. Abo abeenyigira mu mulimu ogwo batendereza Yakuwa era baganyula abalala. Yakuwa agamba nti: “Abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa.” (1 Sam. 2:30) Yakuwa awa ekitiibwa abo abakola omulimu gw’okubuulira ng’abawa erinnya eddungi, kwe kugamba, ng’abasiima. Era n’abalala mu kibiina baboogerako bulungi.—Nge. 11:16; 22:1.
5 Abo ‘abalindirira Yakuwa, era abakwata ekkubo lye’ banaafuna ki mu biseera eby’omu maaso? Bayibuli egamba nti ‘Yakuwa alibagulumiza okusikira ensi: ababi bwe balizikirizibwa balikiraba.’ (Zab. 37:34) Abantu abagondera Katonda balina essuubi ery’ekitalo ery’okufuna obulamu obutaggwawo.—Zab. 37:29.
“SIKKIRIZA KITIIBWA KUVA ERI BANTU”
6, 7. Lwaki abantu bangi baagaana okukkiriza Yesu?
6 Kiki ekiyinza okutulemesa okufuna ekitiibwa Yakuwa ky’awa abantu be? Ekimu ku bintu ebiyinza okutulemesa kwe kutwala endowooza z’abantu abatalina nkolagana nnungi ne Katonda ng’ekintu ekikulu ennyo. Lowooza ku ekyo omutume Yokaana kye yayogera ku bantu abamu abaali mu buyinza abaaliwo mu kiseera kya Yesu. Yagamba nti: “Bangi ku bafuzi [bakkiririza mu Yesu], kyokka olw’Abafalisaayo tebaamwatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro; kubanga baayagala ekitiibwa ky’abantu okusinga ekya Katonda.” (Yok. 12:42, 43) Abafuzi abo baatwala endowooza z’Abafalisaayo ng’ekintu ekikulu ennyo, naye ekyo kye baakola tekyali kya magezi.
7 Yesu yalaga ensonga lwaki abantu bangi baagaana okumukkiriza. (Soma Yokaana 5:39-44.) Eggwanga lya Isiraeri lyali limaze emyaka mingi nga lirindirira Masiya. Mu kiseera Yesu we yatandikira okubuulira, abantu abamu abaali bamanyi ebyo ebiri mu Bunnabbi bwa Danyeri baali basuubira Masiya oba Kristo okulabika. Emyezi mitono emabega Yokaana Omubatiza bwe yali abuulira, abantu bangi baali balowooza nti ye yali Masiya. (Luk. 3:15) Naye Masiya bwe yalabika, abo abaali bamanyi Amateeka baagaana okumukkiriza. Yesu yalaga ensonga lwaki baagaana okumukkiriza, bwe yabagamba nti: “Muyinza mutya okunzikiriza nga buli omu ku mmwe akkiriza okugulumizibwa munne, era nga temunoonya kugulumizibwa Katonda omu yekka?”
8, 9. Okwagala ekitiibwa ekiva eri abantu kiyinza kitya okulemesa omuntu okufuna ekitiibwa ekiva eri Katonda? Waayo ekyokulabirako.
8 Tusobola okutegeera engeri okwagala ekitiibwa ekiva eri abantu gye kiyinza okutulemesa okufuna ekitiibwa ekiva eri Katonda, singa tugeraageranya ekitiibwa ku kitangaala. Mu budde obw’ekiro, ku ggulu kubaako emmunyeenye ezaaka nnyingi. Ojjukira olunaku lwe watunula ku ggulu mu budde obw’ekiro n’olaba emmunyeenye nga zaaka nnyo? Mu butuufu, oteekwa okuba nga wawuniikirira bwe walaba ‘ekitiibwa ky’emmunyeenye.’ (1 Kol. 15:40, 41) Kyokka mu bibuga ebimu mulimu ebitaala bingi ebyaka ne kiba nti oyinza n’obutalaba kitangaala kiva ku mmunyeenye. Naye ekyo kitegeeza nti ebitaala ebiri ku nguudo z’ebibuga oba ku bizimbe byaka nnyo okusinga emmunyeenye? Nedda! Bwe tuba mu bibuga tuba tetusobola kulaba bulungi kitangaala kya mmunyeenye olw’okuba ebitaala bituba kumpi okusinga emmunyeenye. N’olwekyo, okusobola okulaba obulungi ekitangaala ky’emmunyeenye, tulina okuba mu kifo awatali bitaala ng’ebyo.
9 Mu ngeri y’emu, singa twagala nnyo okufuna ekitiibwa ekiva eri abantu, ekyo kiyinza okutuleetera okulekerawo okutwala ekitiibwa ekiva eri Yakuwa ng’ekintu eky’omuwendo. Abantu bangi bagaana okukkiriza amawulire amalungi olw’okuba baba batya mikwano gyabwe oba ab’eŋŋanda zaabwe. Okwagala okufuna ekitiibwa ekiva eri abantu kiyinza n’okukwata ku baweereza ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka ayinza okuweebwa ekitundu eky’okubuuliramu omuli abantu abangi abamumanyi naye nga tebakimanyi nti Mujulirwa wa Yakuwa. Anaatya okubuulira mu kitundu ekyo? Oba ow’oluganda ayinza okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo naye ng’abalala bamusekerera. Anakkiriza abo abatatunuulira bintu nga Katonda bw’abitunuulira okumulemesa okusalawo obulungi? Oba Omukristaayo ayinza okuba ng’akoze ekibi eky’amaanyi. Anaasalawo okukikweka olw’okutya okufiirwa enkizo z’alina mu kibiina oba olw’okutya nti abalala bajja kuwulira bubi nga bakitegeddeko? Omukristaayo aba akoze ekibi eky’amaanyi bw’aba nga ddala ayagala okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, ajja kutuukirira ‘abakadde mu kibiina’ bamuyambe.—Soma Yakobo 5:14-16.
10. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa tufaayo nnyo ku ngeri abalala gye batutunuuliramu? (b) Bwe tuba abeetoowaze, tuyinza kuba bakakafu ku ki?
10 Tuyinza okuba nga tufuba okukulaakulana mu by’omwoyo naye ne wabaawo mukkiriza munnaffe atuwabula ku nsonga emu. Bw’atuwabula tuyinza okuganyulwa singa tetukkiriza malala, okutya okuswala, oba okwewolereza kutuleetera kusambajja magezi g’aba atuwadde. Ate watya singa olina omulimu gw’okola ne mukkiriza munno? Okwefaako n’okwagala okutenderezebwa binaakulemesa okukolagana obulungi ne mukkiriza munno? Bwe weesanga mu emu ku mbeera ezo, kijjukire nti omuntu “alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.”—Nge. 29:23.
11. Twandiwulidde tutya singa abalala batwebaza olw’ekintu kye tuba tukoze, era lwaki?
11 Abakadde n’abo ‘abaluubirira’ enkizo mu kibiina basaanidde okwewala okwenoonyeza ekitiibwa ekiva eri abantu. (1 Tim. 3:1; 1 Bas. 2:6) Kiki ow’oluganda ky’ayinza okukola singa abalala bamwebaza olw’ekintu ky’aba akoze obulungi? Kya lwatu nti tajja kwezimbira kijjukizo nga Kabaka Sawulo bwe yakola. (1 Sam. 15:12) Naye ow’oluganda oyo anaakijjukira nti ekyo ky’aba akoze Yakuwa y’amusobozesezza okukikola era nti n’ebintu byonna ebirungi by’anaakola mu biseera eby’omu maaso Yakuwa y’ajja okumusobozesa okubikola? (1 Peet. 4:11) Engeri gye tuwuliramu ng’abalala batutenderezza eraga kitiibwa kya ngeri ki kye twagala okufuna.—Nge. 27:21.
‘MWAGALA OKUKOLA EBYO KITAMMWE BY’AYAGALA’
12. Lwaki Abayudaaya abamu baagaana okuwuliriza Yesu?
12 Ekintu ekirala ekiyinza okutulemesa okufuna ekitiibwa ekiva eri Katonda bye bintu bye twagala. Ebintu bye twagala bwe biba ebibi, ekyo kiyinza okutulemesa okukkiriza amazima. (Soma Yokaana 8:43-47.) Yesu yagamba Abayudaaya abamu nti baagaana okumuwuliriza olw’okuba ‘baali baagala okukola ebyo kitaabwe Omulyolyomi by’ayagala.’
13, 14. (a) Kiki abakugu kye boogedde ku ngeri gye tuwulirizaamu amaloboozi g’abantu? (b) Kiki kye tusinziirako okusalawo ani gwe tunaawuliriza?
13 Ebiseera ebimu tusalawo okuwuliriza ebyo byokka bye twagala okuwuliriza. (2 Peet. 3:5) Yakuwa yatukola nga tusobola okusalawo obutawuliriza maloboozi ge tuteetaaga. Siriikiriramu katono olabe amaloboozi ameka g’owulira kati. Kiyinzika okuba nti mangi ku maloboozi g’owulidde obadde togawulira nga tonnasiriikiriramu. Lwaki? Kubanga ebirowoozo byo obadde obitadde ku kintu kimu wadde ng’olina obusobozi bw’okuwuliriza amaloboozi agatali gamu mu kiseera kye kimu. Naye abakugu bakizudde nti kizibu nnyo omuntu okutegeera ebyo abantu abasukka mu omu bye boogera singa boogera naye mu kiseera kye kimu. Ekyo kitegeeza nti singa abantu babiri baba boogera naawe mu kiseera kye kimu, oba olina okusalawo ani ku bo gw’onoowuliriza. Ojja kusalawo okuwuliriza oyo gw’oyagala okuwuliriza. Abayudaaya abaali baagala okukola ebyo kitaabwe Omulyolyomi by’ayagala, baagaana okuwuliriza Yesu.
14 Bayibuli eraga nti tufuna obubaka okuva mu ‘nnyumba ey’amagezi’ ne mu ‘nnyumba ey’obusirusiru.’ (Nge. 9:1-5, 13-17) Kiringa gy’obeera nti amagezi n’obusirusiru bitukoowoola, era nga tulina okusalawo kiki kye tunaagoberera. Tunaagoberera magezi oba tunaagoberera busirusiru? Ekyo kye tunaasalawo kijja kusinziira ku ekyo kye twagala okukola. Endiga za Yesu zimuwuliriza era zimugoberera. (Yok. 10:16, 27) Endiga ze ziri ‘ku ludda olw’amazima.’ (Yok. 18:37) Teziwuliriza “ddoboozi ly’abo be zitamanyi.” (Yok. 10:5) Abo bonna abagoberera Yesu bafuna ekitiibwa ekiva eri Katonda.—Nge. 3:13, 16; 8:1, 18.
“KITEGEEZA KITIIBWA GYE MULI”
15. Lwaki Pawulo yagamba nti okubonaabona kwe kwali ‘kutegeeza kitiibwa’ eri Abeefeso?
15 Bwe tufuba okukola ebyo Yakuwa by’ayagala, tusobola n’okuyamba abalala okufuna ekitiibwa. Pawulo yawandiikira ab’oluganda mu Efeso n’abagamba nti: “Mbasaba obutalekulira olw’okubonaabona kwange kuno ku lwammwe kubanga kitegeeza kitiibwa gye muli.” (Bef. 3:13) Lwaki Pawulo yagamba nti okubonaabona kwe kwali ‘kutegeeza kitiibwa’ eri Abeefeso? Pawulo bwe yeeyongera okuweereza bakkiriza banne wadde nga yali ayolekagana n’ebizibu kyayamba ab’oluganda mu Efeso okukiraba nti okuweereza Katonda kye kintu kye baalina okukulembeza mu bulamu. Singa Pawulo yaggwaamu amaanyi ng’agezesebwa, olowooza Abeefeso bandisobodde okukiraba nti enkolagana yaabwe ne Yakuwa, obuweereza bwabwe, n’essuubi lye baalina byali bya muwendo nnyo? Pawulo okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa kyayamba bakkiriza banne okukiraba nti okuba omugoberezi wa Kristo nkizo ya maanyi nnyo.
16. Bizibu ki Pawulo bye yayolekagana nabyo mu Lusitula?
16 Lowooza ku ngeri obunyiikivu bwa Pawulo n’obugumiikiriza bwe gye byakwata ku bakkiriza banne. Ebikolwa by’Abatume 14:19, 20 wagamba nti: “Abayudaaya [baava] mu Antiyokiya ne mu Ikoniyo ne basendasenda ekibiina ky’abantu, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamuwalula ne bamutwala ebweru w’ekibuga [Lusitula] nga balowooza nti afudde. Naye abayigirizwa bwe baamwetooloola, n’asituka n’ayingira mu kibuga. Ku lunaku olwaddako n’agenda ne Balunabba e Derube.” Kirowoozeeko! Pawulo baamukuba n’abulako katono okufa naye enkeera yatindigga olugendo lwa mayiro 60, kyokka nga mu kiseera ekyo eby’entambula tebyali byangu nga bwe kiri leero.
17, 18. (a) Timoseewo yategeera atya ebyo ebyatuuka ku Pawulo mu Lusitula? (b) Ekyokulabirako Pawulo kye yateekawo mu kwoleka obugumiikiriza kyakwata kitya ku Timoseewo?
17 Kyandiba nti Timoseewo yali omu ku ‘bayigirizwa’ abajja okuyamba Pawulo oluvannyuma lw’okukubibwa amayinja? Ayinza okuba nga yali omu ku bo. Ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume tebikiraga. Naye Timoseewo ateekwa okuba nga yategeera ebyo ebyatuuka ku Pawulo. Mu bbaluwa ey’okubiri Pawulo gye yawandiikira Timoseewo, yamugamba nti: “Ogoberedde butiribiri okuyigiriza kwange, empisa zange, . . . okubonaabona kwe nnayitamu mu Antiyokiya [gye baamugoba], mu Ikoniyo [gye baali baagala okumukubira amayinja], ne mu Lusitula [gye baamukubira amayinja]; naye mu kuyigganyizibwa okwo kwonna Mukama waffe yannunula.”—2 Tim. 3:10, 11; Bik. 13:50; 14:5, 19.
18 Timoseewo yali akimanyi nti Pawulo yagumira ebizibu ebyo byonna. Ekyokulabirako kya Pawulo kiteekwa okuba nga kyakwata nnyo ku Timoseewo. Pawulo bwe yaddayo e Lusitula, yakitegeerako nti Timoseewo yali ateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kibiina kubanga “ab’oluganda mu Lusitula ne Ikoniyo baali bamwogerako bulungi.” (Bik. 16:1, 2) Oluvannyuma lw’ekiseera, Timoseewo yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo.—Baf. 2:19, 20; 1 Tim. 1:3.
19. Bwe twoleka obugumiikiriza kikwata kitya ku balala?
19 Bwe tweyongera okukola Katonda by’ayagala, ekyo kiyinza okukubiriza abalala, naddala abato, okutukoppa bwe batyo ne bafuuka ba muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. Abato mu kibiina batwetegereza ne balaba engeri gye twogeramu n’abantu nga tubuulira era n’engeri gye tukwatamu ebizibu bye tufuna. Pawulo yagamba nti ‘yagumiikiriza ebintu byonna’ asobole okuyamba abo bonna abasigala nga beesigwa ‘okufuna obulokozi awamu n’ekitiibwa eky’emirembe n’emirembe.’—2 Tim. 2:10.
Abakristaayo abakuze mu myaka bwe booleka obunyiikivu, kikwata nnyo ku bato
20. Lwaki tusaanidde okweyongera okunoonya ekitiibwa ekiva eri Katonda?
20 Waliwo ensonga nnyingi ezaandituleetedde okweyongera okunoonya ekitiibwa ekiva eri Katonda. (Yok. 5:44; 7:18) Yakuwa ajja kuwa ‘obulamu obutaggwaawo abo abanoonya ekitiibwa’ ekiva gy’ali. (Soma Abaruumi 2:6, 7.) Ate era bwe tusigala nga tuli bagumiikiriza, kisobola okukubiriza abalala okusigala nga beesigwa eri Katonda basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kufuna kitiibwa ekiva eri Katonda.