Yakuwa Akuŋŋaanya ab’Omu Maka Ge
‘Mbeegayirira okukuuma obumu obw’omwoyo.’—BEF. 4:1, 3.
OYINZA KUDDAMU OTYA EBIBUUZO BINO?
Lwaki Katonda yassaawo engeri y’okuddukanyaamu ebintu?
Tuyinza tutya “okukuuma obumu obw’omwoyo”?
Kiki ekinaatuyamba ‘okuba ab’ekisa’?
1, 2. Ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi n’abantu kye kiruwa?
AMAKA. Kiki ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo ekyo? Olowooza ku kifo ekirimu okwagala n’essanyu? Olowooza ku bantu abakolera awamu okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe? Oba kyandiba nti olowooza ku kifo ekirimu emirembe omuntu mw’asobola okukulira, okubaako by’ayiga, n’okubuulira abalala ebyo ebiba bimuli ku mutima? Oboolyawo osobola okulowooza ku bintu ebyo singa oba oli mu maka agalimu okwagala. Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka y’amaka. (Bef. 3:14, 15) Yali ayagala ebitonde bye byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi bibeere mu mirembe, nga byesigaŋŋana, era nga biri bumu.
2 Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona, abantu baali tebakyali ba mu maka ga Katonda. Naye ekyo tekyaleetera Yakuwa kukyusa kigendererwa kye. Ajja kukakasa nti Olusuku lwe olunaabeera ku nsi lujjula bazzukulu ba Adamu ne Kaawa. (Lub. 1:28; Is. 45:18) Akoze ebintu ebitali bimu okusobola okulaba nti ekigendererwa kye ekyo kituukirira. Ebintu ebyo tubisomako mu kitabo ky’Abeefeso, ekyogera ennyo ku bumu. Kati ka twetegerezeeyo ezimu ku nnyiriri eziri mu kitabo ky’Abeefeso tulabe engeri gye ziyinza okutuyamba okukolera ku kigendererwa kya Yakuwa eky’okugatta awamu ebitonde bye byonna.
ENGERI Y’OKUDDUKANYAAMU EBINTU
3. Engeri ya Katonda ey’okuddukanyaamu ebintu eyogerwako mu Abeefeso 1:10 kye ki, era omutendera gwayo ogusooka gwatandika ddi?
3 Musa yagamba Abaisiraeri nti: “Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.” (Ma. 6:4, NW) Buli kintu Yakuwa ky’akola akikola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Bwe kityo, ‘ekiseera ekigereke bwe kyaggwaako,’ Katonda yassaawo ‘engeri ey’okuddukanyaamu ebintu,’ ng’eno ye nteekateeka ey’okugatta awamu ebitonde bye byonna ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi. (Soma Abeefeso 1:8-10.) Engeri y’okuddukanyaamu ebintu erimu emitendera ebiri. Mu mutendera ogusooka, Katonda ateekateeka abaafukibwako amafuta basobole okufuna obulamu mu ggulu nga bali wansi wa Yesu Kristo, Omutwe gwabwe. Kino yatandika okukikola ku Pentekooti ey’omwaka gwa 33 E.E. bwe yatandika okukuŋŋaanya abo abandifugidde awamu ne Kristo mu ggulu. (Bik. 2:1-4) Okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo, Katonda atwala abaafukibwako amafuta ng’abatuukirivu era abagwana okufuna obulamu. Abaafukibwako amafuta bakimanyi nti baafuuka “baana ba Katonda.”—Bar. 3:23, 24; 5:1; 8:15-17.
4, 5. Kiki Katonda ky’akola mu mutendera ogw’okubiri ogw’engeri gy’addukanyaamu ebintu?
4 Mu mutendera ogw’okubiri, Katonda ateekateeka abo abanaabeera mu Lusuku lwe ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Masiya. ‘Ab’ekibiina ekinene’ be bajja okusooka okubeera mu lusuku lwa Katonda. (Kub. 7:9, 13-17; 21:1-5) Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu buwumbi na buwumbi bajja kuzuukizibwa babeegatteko. (Kub. 20:12, 13) Mu kiseera ekyo, abantu ba Katonda bajja kufuna akakisa okwongera okukiraga nti ddala bali bumu! Abantu abanaazuukizibwa awamu n’ab’ekibiina ekinene bye ‘bintu eby’oku nsi.’ Ku nkomerero y’emyaka olukumi bajja kugezesebwa. Abo abanaasigala nga beesigwa, bajja kufuulibwa ‘baana ba Katonda’ ab’oku nsi.—Bar. 8:21; Kub. 20:7, 8.
5 Leero, Katonda ateekateeka abaafukibwako amafuta okubeera mu ggulu n’ab’endiga endala okubeera mu Lusuku lwe ku nsi. Naye buli omu ku ffe ayinza atya okulaga nti awagira engeri Katonda gy’addukanyaamu ebintu?
“OKUKUUMA OBUMU OBW’OMWOYO”
6. Byawandiikibwa ki ebiraga nti Abakristaayo balina okukuŋŋaana awamu?
6 Ebyawandiikibwa biraga nti Abakristaayo balina okukuŋŋaananga awamu. (1 Kol. 14:23; Beb. 10:24, 25) Kyokka, okukuŋŋaana obukuŋŋaanyi awamu si kye kituyamba okuba obumu, ggwe ate oba n’abantu abagenda mu butale oba mu bisaawe by’omupiira babeera wamu naye tebaba bumu. N’olwekyo okusobola okuba obumu, twetaaga okukolera ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza era tulina okukkiriza omwoyo gwe omutukuvu okutukulembera.
7. “Okukuuma obumu obw’omwoyo” kitegeeza ki?
7 Olw’okuba tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo, Yakuwa atutwala ng’abantu abatuukirivu. Bwe tuba abaafukibwako amafuta atutwala ng’abaana be ate bwe tuba ab’endiga endala atutwala nga mikwano gye. Wadde kiri kityo, kasita tuba nga tukyali mu nteekateeka eno ey’ebintu, tujja kufuna obutategeeragana ne bakkiriza bannaffe. (Bar. 5:9; Yak. 2:23) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza ‘buli omu okuzibiikiriza munne.’ Naye kiki kye tulina okukola okusobola okubeera obumu ne bakkiriza bannaffe? Twetaaga okuba ‘abawombeefu’ n’okuba ‘abakkakkamu.’ Ate era Pawulo atukubiriza “okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza.” (Soma Abeefeso 4:1-3.) Engeri emu gye tusobola okukolera ku kubuulirira okwo kwe kukkiriza omwoyo gwa Katonda okutukulembera n’okutuyamba okubala ekibala kyagwo mu bulamu bwaffe. Ebikolwa eby’omubiri bireetawo enjawukana, naye okwoleka ekibala ky’omwoyo kitusobozesa okugonjoola obutakkaanya bwe tuba nabwo ne bakkiriza bannaffe, ekyo ne kituyamba okuba obumu.
8. Ebikolwa eby’omubiri bireetawo bitya enjawukana?
8 Lowooza ku ngeri “ebikolwa eby’omubiri” gye biyinza okumalawo obumu. (Soma Abaggalatiya 5:19-21.) Obwenzi bwawula omwenzi ku Yakuwa ne ku kibiina, era buyinza okwawula abaana ku bazadde baabwe n’okuleetera abafumbo okwawukana, ekyo ne kireetawo obulumi obw’amaanyi mu maka. Obutali bulongoofu buleetera omuntu obutaba muyonjo. Omuntu bw’aba ayagala okugatta awamu ebintu bibiri ng’akozesa gaamu, ebintu ebyo byombi birina okuba nga biyonjo. Mu ngeri y’emu, omuntu bw’ataba muyonjo mu mpisa ne mu mubiri aba tasobola kuba na nkolagana nnungi ne Katonda awamu n’abantu be. Omuntu eyeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu aba tassa kitiibwa mu mateeka ga Yakuwa. Ebikolwa by’omubiri ebirala nabyo byawula omuntu aba abyenyigiddemu ku Katonda ne ku bantu banne. Ebikolwa ng’ebyo Yakuwa abikyayira ddala.
9. Tuyinza tutya okumanya obanga tufuba “okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza”?
9 Kati buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Nfuba “okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza”? Nneeyisa ntya nga nfunye obutategeeragana n’omuntu omulala? Ekizibu ekiba wakati wange n’omuntu oyo nkiraalaasa nga njagala abalala bampagire? Ntuukirira omuntu gwe mba nsowaganye naye nsobole okugonjoola obutakkaanya, oba mba nsuubira nti abakadde be bajja okumutuukirira mu kifo kyange? Bwe nfuna obutategeeragana n’omuntu, ntandika okumwewala nga saagala twogere ku butategeeragana obuli wakati waffe?’ Singa tweyisa bwe tutyo, ddala tuba tulaga nti tuwagira ekigendererwa kya Katonda eky’okukuŋŋaanya ebintu byonna mu Kristo?
10, 11. (a) Lwaki kikulu nnyo okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe? (b) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe n’okufuna emikisa gya Yakuwa?
10 Yesu yagamba nti: “Bw’oba oleeta ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, leka ekirabo kyo mu maaso g’ekyoto, ogende otabagane ne muganda wo, oluvannyuma okomewo, oweeyo ekirabo kyo. Tabagananga mangu n’oyo akuvunaana omusango.” (Mat. 5:23-25) Yakobo yawandiika nti “ekibala eky’obutuukirivu, ensigo yaakyo esigibwa mu mbeera ez’emirembe ku lw’abo abaleeta emirembe.” (Yak. 3:17, 18) Ekyo kitegeeza nti tetusobola kweyongera kukola kituufu bwe waba tewali mirembe wakati waffe ne bakkiriza bannaffe.
11 Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezimu omubadde entalo, ebitundu 35 ku buli 100 eby’ettaka tebisobola kulimibwako mmere olw’okuba abalimi baba batya nti ettaka eryo lyategebwamu bbomu ez’omu ttaka. Bbomu bwe zibwatuka mu byalo, abalimi baddukayo, era kiba kizibu abantu okufuna emirimu mu byalo era n’abantu ababeera mu bibuga baba tebasobola kufuna mmere emala. Mu ngeri y’emu, tetusobola kweyongera kukulaakulana mu by’omwoyo bwe tuba n’engeri ezikifuula ekizibu okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe. Naye singa twanguwa okusonyiwa abalala era ne tufuba okukolera abalala ebirungi, ekyo kisobola okutuyamba okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe n’okufuna emikisa gya Yakuwa.
12. Abakadde bayinza batya okutuyamba okuba obumu?
12 Abakadde mu kibiina nabo basobola okutuyamba okuba obumu. Yakuwa yabassaawo ‘ng’ebirabo mu bantu’ okutuyamba “okuba obumu mu kukkiriza.” (Bef. 4:8, 13) Abakadde bwe bakolera awamu naffe mu buweereza obutukuvu era ne batuwa amagezi ageesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, batuyamba okwongera okwoleka engeri ennungi. (Bef. 4:22-24) Abakadde bwe bakuwa amagezi, okitwala nti Yakuwa aba abakozesa okukuteekateeka osobole okubeera mu nsi empya? Abakadde, mufuba okutereeza abalala mu ngeri eraga nti mwagala okubayamba okutuuka mu nsi empya?—Bag. 6:1.
“MUBEERENGA BA KISA BULI MUNTU ERI MUNNE”
13. Kiki ekiyinza okututuukako singa tugaana okukolera ku kubuulirira okuli mu Abeefeso 4:25-32?
13 Abeefeso 4:25-29 woogera ku bintu ebitali bimu bye tulina okwewala. Mu bintu ebyo mwe muli obulimba, obusungu, obunafu, n’okwogera ebigambo ebivundu. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okwogera ebintu ebirungi era ebizimba abalala. Singa omuntu agaana okukolera ku kubuulira okwo, asobola okunakuwaza omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ate ng’omwoyo ogwo gwe gutuyamba okuba obumu. (Bef. 4:30) Bwe tuba twagala okukuuma emirembe n’okuba obumu, twetaaga okukolera ne ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe. Naye mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana nga Katonda bwe yabasonyiwa okuyitira mu Kristo.”—Bef. 4:31, 32.
14. (a) Ebigambo “mubeerenga ba kisa” biraga ki? (b) Kiki ekinaatuyamba okuba ab’ekisa?
14 Ebigambo “mubeerenga ba kisa” biraga nti ebiseera ebimu tuyinza okuba nga tubadde tetulaga balala kisa era nga kitwetaagisa okwongera okwoleka ekisa. Twetaaga okuyiga okufaayo ku nneewulira z’abalala. (Baf. 2:4) Ebiseera ebimu tuyinza okuba nga tulina ekintu kye twagala okwogera ekiyinza okuleetera abalala okuseka oba okututwala ng’abantu abagezi. Naye ekintu ekyo bwe kiba nga kirina omuntu gwe kiyinza okulumya, kiba kya magezi obutakyogera. Singa tusooka kufumiitiriza nga tetunnayogera, kijja kutuyamba ‘okuba ab’ekisa.’
OKWAGALANA N’OKUWAŊŊANA EKITIIBWA MU MAKA
15. Abeefeso 5:28 wayamba watya abaami okumanya engeri gye bayinza okukoppamu Kristo?
15 Bayibuli egeraageranya enkolagana eri wakati wa Kristo n’ekibiina ku nkolagana eba wakati w’omwami n’omukyala. Ekyokulabirako kya Kristo kiyamba omwami okukitegeera nti alina okuwa mukyala we obulagirizi, okumwagala, n’okumufaako. Era kiyamba n’omukyala okukitegeera nti alina okugondera omwami we. (Bef. 5:22-33) Pawulo bwe yagamba nti “n’abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakazi baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe,” yali ategeeza ki? (Bef. 5:28) Ebyo bye yayogera ku nkolagana eri wakati wa Kristo n’ekibiina bituyamba okuddamu ekibuuzo ekyo. Yagamba nti: “Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo, . . . ng’akinaaza n’amazzi okuyitira mu kigambo.” N’olwekyo, omwami alina okufuba okuyamba ab’omu maka ge mu by’omwoyo. Bw’akola bw’atyo, aba alaga nti awagira ekigendererwa kya Yakuwa eky’okukuŋŋaanya ebintu byonna mu Kristo.
16. Abazadde bwe batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe Katonda bwe yabawa, biki ebiyinza okuvaamu?
16 Abazadde bulijjo basaanidde okukijjukira nti Yakuwa ye yabawa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaana baabwe. Kya nnaku nti mu nsi leero, abantu bangi “tebaagala ba luganda.” (2 Tim. 3:1, 3) Bataata bangi balagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe, era kino kiyisa bubi nnyo abaana baabwe. Naye Pawulo yagamba bataata Abakristaayo nti: “Temunyiizanga baana bammwe, naye mubakuze mu kukangavvula kwa Yakuwa era mubateekemu endowooza ye.” (Bef. 6:4) Mu maka abaana mwe basooka okuyigira okwagala n’okuwa abalala ekitiibwa. Abazadde abafubye okuyigiriza abaana baabwe ebintu ebyo bakiraze nti bawagira engeri Yakuwa gy’addukanyaamu ebintu. Abazadde basaanidde okulaga abaana baabwe nti babaagala. Basaanidde okufuga obusungu bwabwe, okwewala okuboggolera abaana baabwe, oba okwogera ebintu ebiyinza okubalumya. Bwe bakola bwe batyo, baba bayigiriza abaana baabwe okwagala abalala n’okubawa ekitiibwa. Ekyo kijja kuteekateeka abaana baabwe okubeera mu nsi ya Katonda empya.
17. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okuziyiza Omulyolyomi?
17 Tulina okukijjukira nti Omulyolyomi, oyo eyasooka okutabangula emirembe mu butonde bwonna, ajja kukola kyonna ekisoboka okutulemesa okukola Katonda by’ayagala. Leero abantu bangi bakola ebyo Sitaani by’ayagala. Abamu bamala gagattululwa mu bufumbo, abasajja n’abakazi bangi babeera wamu nga si bagatte, ate abalala balya ebisiyaga. Naye ffe tetukoppa nneeyisa y’abantu abali mu nsi; tukoppa Kristo. (Bef. 4:17-21) N’olwekyo, okusobola okulwanyisa Omulyolyomi ne badayimooni, twetaaga okwambala “eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda.”—Soma Abeefeso 6:10-13.
“MUTAMBULIRENGA MU KWAGALA”
18. Kiki kye twetaaga okuba nakyo okusobola okuba obumu?
18 Twetaaga okuba n’okwagala okusobola okuba obumu. Bwe tuba n’okwagala okw’amaanyi eri “Mukama waffe omu,” eri ‘Katonda waffe omu,’ n’eri bantu bannaffe, tujja kuba bamalirivu “okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza.” (Bef. 4:3-6) Bwe yali asabira abayigirizwa be, Yesu yayogera ku kwagala okwo ng’agamba nti: “Sisabira bano bokka, naye n’abo bonna abanzikiririzaamu okuyitira mu kigambo kya bano; bonna basobole okubeera omu, nga ggwe Kitange bw’oli obumu nange, nange bwe ndi obumu naawe, nabo babeere bumu naffe . . . Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa, okwagala kwe wandaga kubeere mu bo nange mbeere bumu nabo.”—Yok. 17:20, 21, 26.
19. Kiki ky’omaliridde okukola?
19 Singa wabaawo ekintu kye tuwulira nga kituzibuwalidde okutereeza mu nneeyisa yaffe, okwagala kusaanidde okutukubiriza okusaba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba Yakuwa nti: “Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.” (Zab. 86:11) Tusaanidde okuba abamalirivu okulwanyisa Omulyolyomi aleme kutwawula ku Katonda waffe ow’okwagala awamu ne bakkiriza bannaffe. Era tusaanidde okufuba ‘okukoppa Katonda ng’abaana abaagalwa, tusobole okutambuliranga mu kwagala’ mu maka gaffe, mu buweereza bwaffe, ne mu kibiina.—Bef. 5:1, 2.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Aleka ekirabo kye mu maaso g’ekyoto, n’agenda okutabagana ne muganda we
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abazadde, muyigirize abaana bammwe okuwa abalala ekitiibwa