LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Noovemba lup. 28-29
  • ‘Mukuume Obumu obw’Omwoyo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Mukuume Obumu obw’Omwoyo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘MUFUBE NNYO’ OKUKUUMA OBUMU
  • Yakuwa Akuŋŋaanya ab’Omu Maka Ge
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Obumu bw’Abakristaayo Buweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obumu mu Bakristaayo ab’Amazima—Busoboka Butya?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Mubeerenga Bumu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Noovemba lup. 28-29
Ab’oluganda nga baliirako wamu ekijjulo.

‘ Mukuume Obumu obw’Omwoyo’

OMUTUME Pawulo yagamba Abakristaayo b’omu Efeso nti, ‘buli omu azibiikirize munne mu kwagala, nga mufuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egibagatta.’—Bef. 4:​2, 3.

Ng’Abakristaayo “obumu” bwe tulina ‘bwa mwoyo.’ Kino kitegeeza nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gutusobozesa okuba obumu. Kyokka ng’omutume Pawulo bwe yagamba, kyetaagisa okufuba okusobola okukuuma obumu obwo. Baani abasaanidde okukuuma obumu obwo? Buli Mukristaayo alina okubaako ky’akolawo “okukuuma obumu obw’omwoyo.”

Kuba akafaananyi ng’oweereddwa emmotoka empya. Ani avunaanyizibwa okugikuuma ng’eri mu mbeera nnungi? Kya lwatu nti ggwe aweereddwa emmotoka ggwe alina okugikuumira mu mbeera ennungi, era tosobola kunenya muntu eyagikuwa singa eyonooneka olw’okuba obadde togirabirira bulungi.

Mu ngeri y’emu, obumu bwe tulina mu kibiina, kirabo okuva eri Yakuwa era buli omu ku ffe avunaanyizibwa okubukuuma. Bwe kiba nti tetukyalina nkolagana nnungi ne mukkiriza munnaffe mu kibiina, tusaanidde okwebuuza nti, ‘Nkola kyonna kye nsobola okukuuma obumu obw’omwoyo nga nfuba okutereeza ensonga?’

‘MUFUBE NNYO’ OKUKUUMA OBUMU

Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okufuba okusobola okukuuma obumu obw’omwoyo. Ekyo kiba kikulu nnaddala singa mukkiriza munnaffe aba akoze ekintu ekitunyiizizza. Naye ddala okukuuma obumu kitegeeza nti buli kiseera olina okutuukirira omuntu eyakunyiizizza n’oyogera ku nsonga? Ebiseera ebimu kiba tekyetaagisa. Weebuuze, ‘Okwogera ku nsonga eyo kinaaleetawo obumu oba kinaayongera kusajjula mbeera?’ Ebiseera ebimu ekiba eky’amagezi okukola kwe kubuusa amaaso ensonga oba okusonyiwa omuntu.—Nge. 19:11; Mak. 11:25.

Ebifaananyi: Ow’oluganda asalawo okubuusa amaaso ekyo muganda we ky’akoze. 1. Ow’oluganda omulala amuboggolera. 2. Alowooza ku ekyo ow’oluganda oyo ky’akoze. 3. Asoma Bayibuli era afumiitiriza.

Weebuuze: ‘Okwogera ku nsonga eyo kinaaleetawo obumu oba kinaayongera kusajjula mbeera?’

Omutume Pawulo yagamba nti buli omu ku ffe asaanidde ‘okuzibiikiriza munne mu kwagala.’ (Bef. 4:2) Ekitabo ekimu kigamba nti ebigambo ebyo bisobola okutegeeza “okubatwala nga bwe bali.” Ekyo kitegeeza nti tusaanidde okukikkiriza nti bakkiriza bannaffe bakola ensobi nga naffe bwe tuli. Kya lwatu, ffenna tufuba okwambala “omuntu omuggya.” (Bef. 4:​23, 24) Wadde kiri kityo, tewali n’omu ku ffe asobola kwambala muntu omuggya mu ngeri etuukiridde. (Bar. 3:23) Ekyo bwe tukimanya kijja kutuyamba okuzibiikirizigana, okusonyiwagana, bwe kityo ‘tukuume obumu obw’omwoyo.’

Bwe tugonjoola obutakkaanya bwe tuba tulina ne bakkiriza bannaffe, ne bwe kiba nti tetubatuukiridde kwogera nabo, wabula ne tubuusa amaaso ensobi zaabwe era ne tubasonyiwa okuviira ddala ku mutima tuba ‘n’emirembe egitugatta.’ Mu Abeefeso 4:3 ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “egibagatta,” mu Abakkolosaayi 2:19 kyavvuunulwa nga “ebinywa.” Ebinywa bigatta wamu amagumba. Mu ngeri y’emu, okuba mu mirembe ne baganda baffe, n’okulagaŋŋana okwagala kituyamba okukolagana obulungi nabo wadde ng’oluusi tuyinza okufuna obutakkaanya.

N’olwekyo mukkiriza munno bw’akola ekintu ekikunyiiza, gezaako okutegeera ensonga lwaki yeeyisizza bw’atyo mu kifo ky’okumuvumirira. (Bak. 3:12) Olw’okuba abantu bonna tebatuukiridde, naffe ebiseera ebimu tunyiiza abalala. Ekyo bw’okimanya kijja kukuyamba okukola kyonna ky’osobola “okukuuma obumu obw’omwoyo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share