LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/02 lup. 4
  • Mubeerenga Bumu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mubeerenga Bumu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Obumu bw’Abakristaayo Buweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obumu mu Bakristaayo ab’Amazima—Busoboka Butya?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Yakuwa Akuŋŋaanya ab’Omu Maka Ge
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • ‘Mukuume Obumu obw’Omwoyo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 7/02 lup. 4

Mubeerenga Bumu

1 Emirundi emeka nga weewuunya engeri ennungi ennyo omubiri gw’omuntu gye gwakolebwamu? (Zab. 139:14) Ebitundu byonna eby’omubiri bikolaganira wamu. Ekigambo kya Katonda kigeraageranya ekibiina Ekikristaayo ku mubiri ogulimu ebitundu eby’enjawulo ebikolaganira awamu. Wansi w’Omutwe gw’ekibiina, Kristo, bonna abali mu kibiina ‘banywezebwa wamu nga buli nnyingo ereeta ebyo ebyetaagisa.’ (Bef. 4:16a) Bwe kityo, Yakuwa asobola okukozesa abantu be abali obumu okutuukiriza ebintu ebikulu ennyo.

2 Abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, ‘bassanga kimu’ ku bikwata ku kufaayo ku byetaago bya bannaabwe eby’eby’omwoyo n’eby’omubiri. (Bik. 2:44-47) Nga bayambibwako Yakuwa, bonna wamu baayolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi era ne bakuvvuunuka. (Bik. 4:24-31) Baalangiriranga obubaka bw’Obwakabaka mu buli kifo gye baagendanga, era ne batuusa amawulire amalungi mu bitundu byonna eby’ensi eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo. (Bak. 1:23) Mu kiseera kino, ekibiina Ekikristaayo kituukiriza ebintu ebyo ku kigero ekinene n’okusingawo. Kiki ekibayamba okubeera n’obumu obwo?

3 Bali Bumu olw’Okuyigiriza kwa Katonda: Mu nsi yonna, tugattiddwa wamu olw’okusinza kwaffe. Kino kisoboka kitya? Tukkiriza omukutu Yakuwa mw’ayitira okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu ‘kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45) Era tusiima nnyo “ebirabo mu bantu” by’atuwadde abatuyigiriza mu kibiina. Bwe tukkiriza enteekateeka ya Yakuwa ey’okutuliisa mu by’omwoyo, tweyongera okutegeera Ekigambo kye era ekyo kituleetera okwegomba okukoppa Yesu ng’abayigirizwa be. Tuteekwa okweyongera okuyiga Ekigambo kya Katonda, nga tufuba ‘okutuuka ku bumu obw’okukkiriza.’ (Bef. 4:8, 11-13) Otumbula obumu bwaffe buno obw’eby’omwoyo ng’osoma Baibuli obutayosa?

4 Tugattibwa Wamu Okuyitira mu Nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo: Okwagala kutugatta wamu mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Mu nkuŋŋaana ezo, ‘buli omu afaayo ku munne.’ (Beb. 10:24, 25) Kino kiba kitwetaagisa obutatunuulira butunuulizi endabika ey’okungulu eya baganda baffe, naye okubamanyira ddala obulungi, nga tubatwala nga ba muwendo nnyo nga Yakuwa bw’abatwala. (Kag. 2:7) Bwe tuwuliriza ebigambo byabwe ebyoleka okukkiriza, tweyongera okubaagala era obumu bwaffe bweyongera okunywera. Ggwe omanyiddwa ng’omuntu abeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa?

5 Tukolera Wamu mu Nnimiro: Okubuulira amawulire amalungi ne bakkiriza bannaffe kitugatta wamu mu kukola Katonda by’ayagala. Omutume Pawulo yasiima nnyo ‘bakozi banne ab’obwakabaka bwa Katonda.’ (Bak. 4:11) Okubuulira bannaffe ku bye tuyiseemu ebizzaamu amaanyi era n’okuyambagana nga tuli mu buweereza, kituyamba okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’Ekikristaayo era kinyweza n’obumu bwaffe.​—Bak. 3:14.

6 Amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu Gatugatta Wamu: Bwe tufuba ennyo okukola by’ayagala, Yakuwa atuwa omwoyo gwe. Gutusobozesa okumalawo obutategeeragana bwe tuyinza okuba nabwo era ne kituleetera okubeera obumu. (Zab. 133:1) Era gutusobozesa ‘okubeera obumu nga tugattiddwa wamu mu mirembe.’ (Bef. 4:3, NW) Buli omu ku ffe asobola okutumbula obumu obuli mu bantu ba Katonda ng’ayoleka ebibala by’omwoyo mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala.​—Bag. 5:22, 23.

7 Okuweereza mu bumu nga tuli wansi w’obukulembeze bwa Kristo ‘kireetera omubiri okweyongera okukula olw’okwezimba mu kwagala.’ (Bef. 4:16b) Ate era, kiweesa Yakuwa ettendo, ‘Katonda awa emirembe.’​—Bar. 16:20.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share