Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 19:10-12 biraga nti abo abalina ekirabo eky’okusigala nga si bafumbo beesanga bwesanzi nga balina ekirabo ekyo?
Abafalisaayo bajja eri Yesu ne baamubuuza ku bikwata ku nsonga y’okugattulula obufumbo. Bwe yali abaddamu, Yesu yalaga endowooza Yakuwa gy’alina ku bufumbo. Wadde ng’Amateeka gakkirizanga omusajja okuwa mukazi we ebbaluwa ebagattulula ng’aliko ekintu “ekitali kirungi” ky’amulabyemu, si bwe kityo bwe kyali okuva ku lubereberye. (Ma. 24:1, 2) Yesu yagamba Abafalisaayo nti: “Buli agattulula mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.”—Mat. 19:3-9.
Abayigirizwa bwe baawulira ebigambo ebyo, baagamba nti: “Bwe kiba ng’obufumbo bwe butyo bwe buli, kirungi obutawasa.” Yesu yabaddamu nti: “Si buli muntu nti asobola okusigala nga si mufumbo okuggyako abo abalina ekirabo ekyo. Waliwo abalaawe abazaalibwa nga balaawe, waliwo abaalaayibwa abantu, era waliwo n’abeelaawa olw’obwakabaka obw’omu ggulu. Oyo asobola okusigala nga si mufumbo asigale bw’atyo.”—Mat. 19:10-12.
Waliwo abantu ababa abalaawe olw’okuba baazaalibwa n’obulemu, oba nga baafuna akabenje, oba nga baabalaawa bulaayi. Kyokka waliwo n’abantu abeelaawa. Wadde nga basobola okuwasa oba okufumbirwa, basalawo obutayingira bufumbo “olw’obwakabaka obw’omu ggulu.” Okufaananako Yesu, basalawo okusigala nga si bafumbo basobole okwemalira ku mulimu gw’Obwakabaka. Abantu ng’abo tebazaalibwa nga balina ekirabo eky’okusigala nga si bafumbo era ekirabo ekyo tebakifuna mu ngeri ya kyamagero. Mu kifo ky’ekyo, ekirabo ekyo bakikulaakulanya bukulaakulanya.
N’omutume Pawulo yagamba nti wadde ng’Abakristaayo bonna, abafumbo n’abatali bafumbo, basobola okuweereza Katonda mu ngeri gy’asiima, Abakristaayo ‘abamaliridde mu mutima gwabwe’ okusigala nga si bafumbo, basobola okuweereza Yakuwa mu ngeri ‘esingako.’ Ekyo kiri kityo kubanga Abakristaayo abafumbo balina okukozesa ebimu ku biseera byabwe n’amaanyi gaabwe okusanyusa bannaabwe mu bufumbo n’okubalabirira. Abakristaayo abatali bafumbo bo tebaba na buvunaanyizibwa ng’obwo. Bwe kityo, basobola okwemalira ku mulimu gwa Mukama waffe. Embeera yaabwe bagitwala ‘ng’ekirabo’ okuva eri Katonda.—1 Kol. 7:7, 32-38.
N’olwekyo, Ebyawandiikibwa tebiraga nti Omukristaayo asalawo okusigala nga si mufumbo ekirabo ekyo yeesanga bwesanzi nakyo. Mu kifo ky’ekyo, ekirabo ekyo akikulaakulanya bukulaakulanya asobole okuweereza Yakuwa nga talina kimutaataaganya. Leero waliwo ab’oluganda bangi abamaliridde mu mutima gwabwe okusigala nga si bafumbo basobole okuweereza Yakuwa nga tebalina kibataataaganya, era ffenna tusaanidde okubazzaamu amaanyi.