Yakuwa Mwesigwa era Asonyiwa
“Ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.”—ZAB. 86:5.
1, 2. (a) Lwaki ffenna twagala okubeera mikwano gy’abantu abeesigwa era abasonyiwa? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
OW’OMUKWANO owa nnamaddala y’afaanana atya? Mwannyinaffe ayitibwa Ashley yagamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala ye muntu aba omwetegefu okukuyamba era aba omwetegefu okukusonyiwa ng’osobezza.” Ffenna twandyagadde omuntu ng’oyo abeere mukwano gwaffe. Bwe tubeera n’omuntu ng’oyo tuba tuwulira nga tulina obukuumi era nga twagalibwa.—Nge. 17:17.
2 Yakuwa ye Mukwano gwaffe asingayo okuba omwesigwa era asonyiwa. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.” (Zab. 86:5) Omuntu omwesigwa era asonyiwa afaanana atya? Yakuwa akiraze atya nti mwesigwa era nti asonyiwa? Tuyinza tutya okumukoppa? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okwongera okwagala Mukwano gwaffe asingayo, Yakuwa. Era bijja kutuyamba okwongera okwagala bakkiriza bannaffe.—1 Yok. 4:7, 8.
YAKUWA MWESIGWA
3. Omuntu omwesigwa afaanana atya?
3 Omuntu omwesigwa anywerera ku muntu gw’ayagala. Akiraga nti ayagala omuntu oyo ng’aba mwetegefu okumuyamba mu mbeera yonna, k’ebe nzibu etya. Bayibuli egamba nti Yakuwa ‘mwesigwa.’ Mu butuufu, Yakuwa y’asingayo okuba “Omwesigwa.”—Kub. 16:5.
4, 5. (a) Yakuwa akiraze atya nti mwesigwa? (b) Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayolekamu obwesigwa, kituzzaamu kitya amaanyi?
4 Yakuwa akiraze atya nti mwesigwa? Yakuwa tayabulira baweereza be abeesigwa. Kabaka Dawudi, omu ku baweereza ba Yakuwa abaali abeesigwa, bwe yali ayogera ku Yakuwa yagamba nti: “Eri omwesigwa naawe onoobanga mwesigwa.” (2 Sam. 22:26, NW) Dawudi bwe yafuna ebizibu, Yakuwa yamuwa obulagirizi, yamukuuma, era yamununula. (2 Sam. 22:1) Dawudi yakyerabirako n’agage nti Yakuwa mwesigwa. Lwaki Yakuwa yali mwesigwa eri Dawudi? Kubanga ne Dawudi yali mwesigwa gy’ali. Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be abeesigwa, era aba mwesigwa eri abo abeesigwa gy’ali.—Nge. 2:6-8.
5 Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa mwesigwa eri abaweereza be. Ow’oluganda Reed yagamba nti: “Njagala nnyo okusoma ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Dawudi mu biseera ebizibu. Wadde nga Dawudi yali mmomboze, ng’asula mu mpuku, Yakuwa bulijjo yamulabiriranga. Ekyo kinzizzaamu nnyo amaanyi! Ndi mukakafu nti embeera ne bw’eba nzibu etya, Yakuwa tasobola kunjabulira singa nsigala nga ndi mwesigwa gy’ali.” Tewali kubuusabuusa nti naawe okkiriziganya n’ebigambo by’ow’oluganda oyo.—Bar. 8:38, 39.
6. Engeri endala Yakuwa gy’akirazeemu nti mwesigwa y’eruwa, era ekyo kiganyula kitya abaweereza be abeesigwa?
6 Engeri endala Yakuwa gy’akiraze nti mwesigwa kwe kuba nti anywerera ku mitindo gye. (Is. 46:4) Byonna by’akola byesigamye ku mitindo gye egy’obutuukirivu, era emitindo gye tegikyuka. (Mal. 3:6) Ate era, Yakuwa akiraze nti mwesigwa ng’atuukiriza ebyo byonna by’asuubiza. (Is. 55:11) Okuba nti Yakuwa mwesigwa, kiganyula abaweereza be bonna abeesigwa. Mu ngeri ki? Abaweereza be bwe banywerera ku mitindo gye baba bakakafu nti ajja kubawa emikisa, nga bwe yasuubiza.—Is. 48:17, 18.
KOPPA YAKUWA, KATONDA OMWESIGWA
7. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda omwesigwa?
7 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda omwesigwa? Tuyinza okumukoppa nga tubaako kye tukolawo okuyamba abo abalina ebizibu. (Nge. 3:27) Ng’ekyokulabirako, olinayo mukkiriza munno gw’omanyi aweddemu amaanyi olw’okuba mulwadde, oba olw’okuba ayigganyizibwa ab’omu maka ge, oba olw’okuba alina obunafu obumu? Lwaki tobaako ky’okolawo okumuzzaamu amaanyi ng’okozesa “ebigambo ebirungi” era ebibudaabuda? (Zek. 1:13)a Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba okiraga nti oli wa mukwano omwesigwa era owa nnamaddala.—Nge. 18:24.
8. Tuyinza tutya okukiraga nti tuli beesigwa eri bannaffe mu bufumbo?
8 Tusobola okukoppa Yakuwa Katonda omwesigwa nga tuba beesigwa eri abaagalwa baffe. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba abafumbo, tuba tulina okuba abeesigwa era bannaffe mu bufumbo. (Nge. 5:15-18) Ng’oggyeko okwewala obwenzi, tulina n’okwewala embeera yonna eyinza okutuleetera okugwa mu bwenzi. (Mat. 5:28) Ate era tusobola okukiraga nti tuli beesigwa eri bakkiriza bannaffe nga twewala olugambo.—Nge. 12:18.
9, 10. (a) Okusingira ddala, tusaanidde kuba beesigwa eri ani? (b) Lwaki oluusi tekiba kyangu kugondera Yakuwa?
9 Okusingira ddala, twagala okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tufuba okwagala ebyo by’ayagala n’okukyawa ebyo by’akyawa. Era nga tufuba okweyisa mu ngeri emusanyusa. (Soma Zabbuli 97:10.) Gye tukoma okutegeera endowooza ya Yakuwa, gye kikoma okutubeerera ekyangu okugondera amateeka ge.—Zab. 119:104.
10 Kya lwatu nti oluusi tekiba kyangu kugondera Yakuwa. Tulina okufuba ennyo okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ali obwannamunigina ayinza okuba ng’ayagala okufumbirwa naye nga tannafuna wa luganda gw’awulira nti gw’ayagala okufumbirwa. (1 Kol. 7:39) Ku mulimu gy’akolera, bakozi banne abatali bakkiriza bayinza okuba nga bamusendasenda okufumbirwa omuntu atali mukkiriza. Ate era mwannyinaffe oyo ayinza n’okuba ng’awulira ekiwuubaalo. Wadde kiri kityo, amalirira okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Abakristaayo abakola bwe batyo bateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwesigwa. Yakuwa awa emikisa abo bonna abasigala nga beesigwa gy’ali wadde nga boolekagana n’embeera enzibu.—Beb. 11:6.
‘Waliwo ow’omukwano anywerera ku munne okusinga ow’oluganda.’—Nge. 18:24, NW (Laba akatundu 7)
‘Musonyiwaganenga.’—Bef. 4:32 (Laba akatundu 16)
YAKUWA ASONYIWA
11. Omuntu asonyiwa afaanana atya?
11 Engeri endala ennungi Yakuwa gy’alina kwe kuba nti asonyiwa. Omuntu asonyiwa afaanana atya? Bwe wabaawo omuntu aba amusobezza, tasigala ng’amunyiigidde. Naye ekyo tekitegeeza nti asanyukira ebintu ebibi ebiba bimukoleddwa oba nti yeefuula ng’atabirabye. Mu kifo ky’ekyo, asalawo obutasiba kiruyi. Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa mwetegefu “okusonyiwa” abo abeenenya mu bwesimbu.—Zab. 86:5.
12. (a) Yakuwa asonyiwa atya? (b) Kitegeeza ki “okuggyawo” ebibi omuntu by’aba akoze?
12 Yakuwa asonyiwa atya? Yakuwa bw’asonyiwa omuntu ‘amusonyiyira ddala.’ (Is. 55:7) Kiki ekiraga nti Yakuwa bw’asonyiwa asonyiyira ddala? Lowooza ku bigambo ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 3:19. (Soma.) Omutume Peetero yagamba abo abaali bamuwuliriza ‘beenenye era bakyuke.’ Omwonoonyi bwe yeenenya mu bwesimbu, akiraga nti anakuwalidde ekibi kye. Era aba mumalirivu obutaddamu kukola kibi ekyo. (2 Kol. 7:10, 11) Ate era, ‘akyuka’ n’alekayo amakubo ge amabi era n’afuba okukola ebintu ebisanyusa Katonda. Singa abantu abaali bawuliriza Peetero beenenya mu bwesimbu, biki ebyandivuddemu? Peetero yagamba nti ebibi byabwe ‘byandiggiddwawo.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okuggibwawo” kitegeeza “okusangula.” N’olwekyo, Yakuwa bw’asonyiwa omuntu ebibi bye, aba ng’asanguddewo ebibi omuntu oyo by’aba akoze, kwe kugamba, aba amusonyiyidde ddala.—Beb. 10:22; 1 Yok. 1:7.
13. Ebigambo “ekibi kyabwe sirikijjukira nate” bitukakasa ki?
13 Kiki ekirala ekiraga nti Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe atusonyiyira ddala? Lowooza ku bigambo Yakuwa bye yagamba Yeremiya ebikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta. (Soma Yeremiya 31:34.) Yamugamba nti: “Ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” Ekyo kiraga nti Yakuwa bw’amala okutusonyiwa ebibi byaffe, taddamu kutuvunaana oba kutubonereza olw’ebibi by’aba atusonyiye. Mu butuufu, Yakuwa bw’atusonyiwa atusonyiyira ddala.—Bar. 4:7, 8.
14. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu kituzzaamu kitya amaanyi? Waayo ekyokulabirako.
14 Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu, kituzzaamu nnyo amaanyi. Lowooza ku kyokulabirako kino. Emyaka mingi egiyise, mwannyinaffe gwe tujja okuyita Elaine yagobebwa mu kibiina. Kyokka oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, yakomezebwawo. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Wadde nga nnakomezebwawo mu kibiina, nnali sikikkiriza nti Yakuwa yansonyiyira ddala. Nnawuliranga nti enkolagana gye nnalina ne Yakuwa teyali ya maanyi ng’eyo ab’oluganda abalala gye baalina naye.” Kyokka, okufumiitiriza ku bintu ebiri mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu, kyazzaamu nnyo Elaine amaanyi. Yakitegeera nti Yakuwa bw’atusonyiwa aba ng’atunaazizzaako ebibi byaffe. Tuba tetwetaaga kuddamu kweraliikirira olw’ebibi bye twakola.b Elaine yakiraba nti yali yeetaaga okukkiriza nti Yakuwa yali amusonyiyidde ddala. Agamba nti: “Nkimanyi nti kijja kuntwalira ekiseera okutereereza ddala endowooza yange, naye kati mpulira ng’enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongedde okunywera, era mpulira obuweerero.” Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa, Katonda gwe tuweereza, atwagala nnyo era mwetegefu okutusonyiwa!—Zab. 103:9.
KOPPA YAKUWA, KATONDA ASONYIWA
15. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda asonyiwa?
15 Tusobola okukoppa Yakuwa nga tuba beetegefu okusonyiwa abalala. (Soma Lukka 17:3, 4.) Kijjukire nti Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe teyeeyongera kubirowoozaako. Naffe bwe tusonyiwa abalala, tetusaanidde kweyongera kulowooza ku bintu ebibi bye baatukola era tusaanidde n’okwewala okuddamu okubyogerako.
16. (a) Bwe tusonyiwa abalala kiba kitegeeza nti tuwagira ebintu ebibi bye baba bakoze oba nti twagala okuyisibwa obubi? Nnyonnyola. (b) Katonda bw’aba ow’okutusonyiwa, kiki kye tulina okukola?
16 Bwe tusonyiwa abalala kiba tekitegeeza nti tuwagira ebintu ebibi bye baba bakoze oba nti twagala okuyisibwa obubi. Wabula kiba kiraga nti tusazeewo obutabasibira kiruyi. Ate era tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa bw’aba ow’okutusonyiwa, naffe tulina okusonyiwa abalala. (Mat. 6:14, 15) Yakuwa atusonyiwa olw’okuba akimanyi nti “tuli nfuufu,” tetutuukiridde. (Zab. 103:14) Mu ngeri y’emu, naffe abantu abalala bwe batusobya, tusaanidde okukijjukira nti tebatuukiridde era ne tuba beetegefu okubasonyiwa.—Bef. 4:32; Bak. 3:13.
Sabiranga omuntu aba akuyisizza obubi (Laba akatundu 17)
17. Bwe wabaawo mukkiriza munnaffe aba atuyisizza obubi, kiki ekiyinza okutuyamba okumusonyiwa?
17 Kya lwatu nti oluusi tekiba kyangu kusonyiwa balala. N’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka ebiseera ebimu tekyabanguyiranga kugonjoola butakkaanya bwe baabanga bafunye. (Baf. 4:2) Mukkiriza munnaffe bw’atuyisa obubi, kiki ekiyinza okutuyamba okumusonyiwa? Lowooza ku Yobu. “Mikwano” gye abasatu, Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali baamwogerako ebintu eby’obulimba, era ekyo kyamuyisa bubi nnyo. (Yob. 10:1; 19:2) Yakuwa yanenya abasajja abo abasatu era n’abalagira okugenda eri Yobu baweeyo ssaddaaka olw’ebibi byabwe. (Yob. 42:7-9) Kyokka waliwo ekintu Yakuwa kye yagamba Yobu okukola. Kiki kye yamugamba okukola? Yamugamba okusabira abasajja abo. Yobu yakola ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola, era Yakuwa yamuwa emikisa olw’okuba yasonyiwa abasajja abo. (Soma Yobu 42:10, 12, 16, 17.) Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti okusabira omuntu aba atuyisizza obubi kisobola okutuyamba obutamusibira kiruyi.
WEEYONGERE OKUYIGA KU NGERI ZA YAKUWA N’OKUMUKOPPA
18, 19. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okwagala Yakuwa n’okumusemberera?
18 Tewali kubuusabuusa nti okwekenneenya ezimu ku ngeri za Yakuwa kituzizzaamu nnyo amaanyi. Tukirabye nti Yakuwa atuukirikika, tasosola, mugabi, si mukakanyavu, mwesigwa, era asonyiwa. Kyokka waliwo n’ebintu ebirala bingi bye tusobola okuyiga ku Yakuwa. Ate era tusobola okufuna enkizo ey’okuyiga ebikwata ku Yakuwa emirembe gyonna. (Mub. 3:11) Omutume Pawulo yagamba nti: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba!” Bwe kityo bwe kiri ne ku kwagala Yakuwa kw’alina awamu n’engeri ze omukaaga ze tulabye mu kitundu kino ne mu bitundu ebibiri ebyayita.—Bar. 11:33.
19 N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okuyiga ku ngeri za Yakuwa, tuzifumiitirizeeko, era tufube okuzooleka mu bulamu bwaffe. (Bef. 5:1) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kweyongera okwagala Yakuwa era tujja kuwulira nga tuli kumpi naye. Ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba, tujja kukiraba nti ‘kirungi okusemberera Katonda.’—Zab. 73:28.
a Okumanya engeri ekyo gy’oyinza okukikolamu, laba Watchtower eya Jjanwali 15, 1995 wansi w’omutwe “Olina Omuntu gw’Ozizzaamu Amaanyi Gye Buvuddeko Awo?” ne Watchtower eya Apuli 1, 1995, wansi w’omutwe “Oyinza Otya Okukubiriza Abalala Okwagala n’Okukola Ebikolwa Ebirungi?”
b Laba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, essuula 26 akatundu 10.