Ekigendererwa kya Yakuwa Kijja Kutuukirira!
“Njogedde, era nja kukituukiriza. Nkiteeseteese, era nja kukikola.”—IS. 46:11.
1, 2. (a) Kiki Yakuwa ky’atuyambye okumanya? (b) Ebigambo ebiri mu Isaaya 46:10, 11 ne 55:11 bitukakasa ki?
EBIGAMBO ebisookera ddala mu Bayibuli bigamba nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Lub. 1:1) Yakuwa yatonda ebintu bingi nnyo, era bye tulabako bye bitono ddala. Ate era tumanyi kitono nnyo ku bintu gamba ng’ebbanga, ekitangaala, n’amaanyi agayitibwa gravity. (Mub. 3:11) Wadde kiri kityo, Yakuwa atuyambye okumanya ekigendererwa kye eri ensi n’abantu. Yatonda abantu mu kifaananyi kye era yali ayagala babeere ku nsi baginyumirwe. (Lub. 1:26) Bandibadde baana be, era yandibadde Kitaabwe.
2 Nga bwe kiragibwa mu Olubereberye essuula 3, ekigendererwa kya Yakuwa ekyo kyagootaanyizibwa. (Lub. 3:1-7) Kyokka tewali kintu kyonna kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza by’ayagala. (Is. 46:10, 11; 55:11) N’olwekyo, tuli bakakafu nti ekigendererwa kya Katonda eky’abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna nga basanyufu kijja kutuukirira!
3. (a) Bintu ki ebikulu bye tulina okumanya bwe tuba ab’okutegeera Bayibuli? (b) Lwaki tugenda kwetegereza ebintu ebyo? (c) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
3 Kya lwatu nti tumanyi ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu, era tumanyi n’ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa ekyo. Ebintu ebyo bikulu nnyo era bye bimu ku ebyo bye tusooka okuyiga nga tuyigirizibwa Bayibuli. Tusaanidde okuyamba abantu ab’emitima emirungi okumanya ebintu ebyo ebikulu ennyo. Mu kiseera kino, ffenna abaweereza ba Yakuwa tukola butaweera okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu. (Luk. 22:19, 20) Abo abanaabaawo bajja kuyiga ebintu bingi ebikwata ku kigendererwa kya Katonda. N’olwekyo, ng’ebula ennaku ntono omukolo gw’Ekijjukizo gutuuke, kirungi okulowooza ku bibuuzo bye tuyinza okukozesa okuleetera abantu okwesunga okubaawo ku mukolo ogwo omukulu ennyo. Mu kitundu kino, tujja kwetegereza ebibuuzo bino ebisatu: Ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu kye kiruwa? Lwaki ekigendererwa kya Katonda ekyo tekinnatuukirira? Era ssaddaaka ya Yesu eneesobozesa etya ekigendererwa kya Katonda ekyo okutuukirira?
EKIGENDERERWA KYA KATONDA ERI ENSI N’ABANTU KYE KIRUWA?
4. Obutonde bulangirira butya ekitiibwa kya Yakuwa?
4 Omutonzi waffe Yakuwa wa kitalo nnyo. Buli ky’atonda kiba kituukiridde. (Lub. 1:31; Yer. 10:12) Okuba nti ebitonde birabika bulungi n’okuba nti bitegekeddwa bulungi kituyigiriza ki? Bwe twetegereza ebitonde, tukiraba nti ebintu byonna Katonda bye yatonda, ka bibe binene oba bitono, bya mugaso nnyo. Bw’olowooza ku butoffaali obuli mu mubiri gw’omuntu, bw’otunuulira omwana eyaakazalibwa, oba bw’olaba enjuba ng’egwa, muli owulira otya? Ebintu ebyo bitusanyusa nnyo kubanga Yakuwa yatutonda nga tulina obusobozi obw’okumanya ebintu ebirabika obulungi.—Soma Zabbuli 19:1; 104:24.
5. Kiki Yakuwa kye yassaawo okusobozesa obutonde bwonna okukolera awamu mu ngeri entegeke obulungi?
5 Yakuwa yateekawo amateeka agatali gamu. Yateekawo amateeka agafuga obutonde n’amateeka agakwata ku mpisa. Amateeka ago gasobozesa ebitonde byonna okukolera awamu. (Zab. 19:7-9) Ebintu byonna Yakuwa bye yatonda birina omugaso gwabyo. Ng’ekyokulabirako, amaanyi ga gravity gayamba okukuumira omukka gwe tussa n’omukka omulala ogw’omugaso ku nsi, era gakuumira amazzi mu nnyanja. Singa tewaali maanyi ga gravity, tetwandisobodde kubeera ku nsi. Amateeka agafuga obutonde Katonda ge yassaawo ge gasobozesa obutonde okuba nga butegekeddwa bulungi. Mu butuufu, Katonda alina ensonga lwaki yatonda ensi n’abantu. Bwe tuba tubuulira, tusaanidde okuyamba abantu okumanya Omutonzi w’ebintu ebyo byonna eby’ekitalo.—Kub. 4:11.
6, 7. Ebimu ku bintu ebirungi Yakuwa bye yawa Adamu ne Kaawa bye biruwa?
6 Yakuwa yali ayagala abantu babeere ku nsi emirembe gyonna. (Lub. 1:28; Zab. 37:29) Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa ebintu bingi ebyandibasobozesezza okunyumirwa obulamu. (Soma Yakobo 1:17.) Yakuwa yabawa eddembe ery’okwesalirawo, obusobozi obw’okulowooza, n’obusobozi obw’okwoleka okwagala n’okukola emikwano. Katonda yayogera ne Adamu n’amubuulira engeri gye yalina okukyolekamu nti amugondera. Adamu era yayiga engeri gye yali asobola okwerabiriramu n’okulabirira ensolo awamu n’ensi. (Lub. 2:15-17, 19, 20) Yakuwa era yatonda Adamu ne Kaawa nga balina obusobozi obw’okuloza, obw’okukwata, obw’okulaba, obw’okuwulira, n’obw’okuwunyiriza. Mu butuufu, baali basobola bulungi okunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda. Adamu ne Kaawa baalina emirimu egibaleetera essanyu era baali basobola okweyongera okuyiga n’okuvumbula ebintu bingi emirembe n’emirembe.
7 Kintu ki ekirala ekyali kizingirwa mu kigendererwa kya Katonda? Yakuwa yatonda Adamu ne Kaawa nga basobola okuzaala abaana abatuukiridde. Yakuwa yali ayagala bazaale, era abaana baabwe nabo bazaale, okutuusa ensi yonna lwe yandijjudde abantu. Yali ayagala Adamu ne Kaawa awamu n’abazadde abalala bonna abandibaddewo oluvannyuma balage abaana baabwe okwagala nga naye bwe yali alaze Adamu ne Kaawa okwagala. Abantu bandibadde beeyagalira mu bintu ebirungi byonna Yakuwa bye yateeka ku nsi era bandigibaddeko emirembe gyonna.—Zab. 115:16.
LWAKI EKIGENDERERWA KYA YAKUWA TEKINNATUUKIRIRA?
8. Lwaki Katonda yawa Adamu ne Kaawa etteeka eriri mu Olubereberye 2:16, 17?
8 Kyokka ebintu tebyatambula nga Yakuwa bwe yali ayagadde mu kusooka. Lwaki? Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa etteeka eryangu okugondera era bwe bandirigondedde kyandiraze nti bakkirizza Yakuwa okuba Omufuzi waabwe. Yabagamba nti: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala. Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Lub. 2:16, 17) Etteeka eryo Adamu ne Kaawa baalitegeera bulungi era baali basobola bulungi okuligondera. Waaliwo eby’okulya ebirala bingi bye baali basobola okulya.
9, 10. (a) Bya bulimba ki Sitaani bye yayogera ku Yakuwa? (b) Kiki Adamu ne Kaawa kye baasalawo okukola? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
9 Ng’ayitira mu musota, Sitaani Omulyolyomi yalimbalimba Kaawa n’amuleetera okujeemera Yakuwa. (Soma Olubereberye 3:1-5; Kub. 12:9) Sitaani yayagala Adamu ne Kaawa balowooze nti Yakuwa yakola bubi okubagaana okulya ku buli muti ogw’omu lusuku. Mu ngeri endala Sitaani yali ng’agamba nti: ‘Kye mugamba nti temusobola kukola kye mwagala?’ Oluvannyuma yagamba Kaawa nti: “Temujja kufa.” Era Sitaani yagamba Kaawa nti baali tebeetaaga kuwuliriza Katonda. Yamugamba nti: “Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe lwe galizibuka.” Sitaani yali ategeeza nti Yakuwa yagaana abantu okulya ku bibala by’omuti ogwo olw’okuba ekyo kyandibaleetedde okufuna okumanya okw’enjawulo. Era Sitaani yalimbalimba Kaawa ng’agamba nti: ‘Mujja kuba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.’
10 Adamu ne Kaawa baalina okusalawo okugondera Katonda oba Sitaani. Baasalawo okujeemera Katonda, bwe kityo, ne beegatta ku Sitaani. Baagaana Yakuwa okuba Kitaabwe era Omufuzi waabwe.—Lub. 3:6-13.
11. Lwaki Yakuwa yali tasobola kugumiikiriza bujeemu bwa Adamu ne Kaawa?
11 Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Yakuwa, baalekera awo okuba abantu abatuukiridde. Baafiirwa enkolagana gye baalina ne Yakuwa, kubanga amaaso ga Yakuwa “malongoofu nnyo, tegasobola kutunuulira bintu bibi.” N’olwekyo, Yakuwa yali tasobola kugumiikiriza bujeemu obwo. (Kaab. 1:13) Singa Yakuwa yabugumiikiriza, obulamu bw’ebitonde byonna mu ggulu ne ku nsi bwandibadde mu kabi. Era singa Yakuwa talina kye yakolawo, obwesigwa bwe bwandibadde bubuusibwabuusibwa. Naye Yakuwa anywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. (Zab. 119:142) Okuba nti Adamu ne Kaawa baalina eddembe ery’okwesalirawo kyali tekibawa bbeetu kujeemera tteeka lya Katonda. Olw’okuba Adamu ne Kaawa bajeemera Yakuwa, baafa ne badda mu ttaka mwe baggibwa.—Lub. 3:19.
12. Kiki ekyatuuka ku baana ba Adamu?
12 Adamu ne Kaawa bwe baalya ku kibala, baalekera awo okuba ab’omu maka ga Katonda. Katonda yabagoba mu lusuku Edeni era baali tebakyalina ssuubi lya kuddayo. (Lub. 3:23, 24) Mu kukola bw’atyo, Yakuwa yabaleka okwolekagana n’ebyo ebyava mu kusalawo kwabwe okubi. (Soma Ekyamateeka 32:4, 5.) Olw’okuba baali tebakyali bantu abatuukiridde, baali tebakyasobola kwoleka ngeri za Katonda mu ngeri etuukiridde. Ng’oggyeeko okuba nti Adamu yafiirwa ebiseera eby’omu maaso ebirungi, yasikiza abaana be obutali butuukirivu, ekibi, n’okufa. (Bar. 5:12) Adamu yabafiiriza enkizo ey’okubeerawo emirembe gyonna. Okugatta ku ekyo, Adamu ne Kaawa baali tebakyasobola kuzaala mwana n’omu atuukiridde; era n’abaana baabwe baali tebasobola kuzaala baana batuukiridde. Oluvannyuma lw’okuggya Adamu ne Kaawa ku Katonda, Sitaani yeeyongera okubuuzaabuza abantu, era n’okutuusa leero akyababuzaabuza.—Yok. 8:44.
EKINUNULO KISOBOZESA ABANTU OKUBA N’ENKOLAGANA ENNUNGI NE KATONDA
13. Kiki Yakuwa ky’ayagaliza abantu?
13 Katonda ayagala nnyo abantu. Wadde nga Adamu ne Kaawa baamujeemera, ayagala abantu babe n’enkolagana ennungi naye. Katonda tayagala muntu yenna kufa. (2 Peet. 3:9) Bwe kityo, oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okumujeemera, yakola enteekateeka okusobozesa abantu okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye, kyokka nga tamenye mitindo gye egy’obutuukirivu. Ekyo Yakuwa yakikola atya?
14. (a) Okusinziira ku Yokaana 3:16, kiki Yakuwa kye yakola okusobozesa abantu okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okuyamba abantu okufuna eky’okuddamu?
14 Soma Yokaana 3:16. Bangi ku bantu be tujja okuyita ku Kijjukizo bajja kuba bamanyi ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa kino. Naye ekyebuuzibwa kiri nti, Ssaddaaka ya Yesu esobozesa etya abantu okufuna obulamu obutaggwaawo? Tusobola okuyamba abantu okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kino bwe tuba tubayita okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, nga tuli ku mukolo gw’Ekijjukizo, oba nga tuzzeeyo okubakyalira oluvannyuma lw’omukolo ogwo. Abantu bwe bamanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, kisobola okubayamba okukiraba nti Yakuwa ayagala nnyo abantu era nti alina amagezi mangi nnyo. Bintu ki ebikwata ku ssaddaaka ya Yesu bye tusobola okubuulira abantu?
15. Yesu yayawukana atya ku Adamu?
15 Yakuwa yawaayo omuntu atuukiridde okuba ssaddaaka. Omuntu oyo kyali kimwetaagisa okuba omwesiga eri Yakuwa era nga mwetegefu okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu abatatuukiridde. (Bar. 5:17-19) Yakuwa yasobozesa Yesu okuzaalibwa ku nsi ng’omuntu. (Yok. 1:14) Bwe kityo Yesu yali muntu atuukiridde, nga Adamu bwe yali nga tannayonoona. Kyokka obutafaananako Adamu, Yesu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Ne mu mbeera eyali enzibu ennyo, Yesu teyamenya mateeka ga Katonda.
16. Lwaki ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo?
16 Olw’okuba Yesu yali atuukiridde, yali asobola okufiirira abantu n’abanunula okuva mu kibi n’okufa. Okuva bwe kiri nti Yesu yali atuukiridde era nga mwesigwa eri Katonda, yali asobola okusasulira ekyo Adamu kye yali abuzizza. (1 Tim. 2:6) Yesu yafiirira abantu, era ssaddaaka ye esobozesa bangi, omuli abasajja, abakazi, n’abaana, okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Mat. 20:28) Mu butuufu, ekinunulo kijja kusobozesa ekigendererwa kya Katonda okutuukirira.—2 Kol. 1:19, 20.
YAKUWA YATUGGULIRAWO EKKUBO OKUDDAMU OKUBA ABAANA BE
17. Miganyulo ki emirala gye tufuna okuyitira mu kinunulo?
17 Yakuwa yawaayo ekinunulo eky’omuwendo omungi. (1 Peet. 1:19) Yakuwa ayagala nnyo abantu ne kiba nti yawaayo Omwana we omu yekka okubafiirira. (1 Yok. 4:9, 10) Mu ngeri eyo, Yesu yafuuka Kitaffe, n’adda mu kifo kya Adamu. (1 Kol. 15:45) Mu kukola bw’atyo, Yesu yatuggulirawo ekkubo okufuna obulamu obutaggwaawo n’okuddamu okuba ab’omu maka ga Katonda. Okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, Yakuwa akkiriza abantu okuddamu okubeera ab’omu maka ge, kyokka nga tamenye mitindo gye egy’obutuukirivu. Nga kituleetera essanyu lingi okulowooza ku kiseera abantu bonna abeesigwa lwe balifuuka abatuukiridde! Mu kiseera ekyo, wajja kubaawo obumu obw’enkukunala wakati w’abaweereza ba Katonda abali mu ggulu n’abo abali ku nsi. Mazima ddala, ffenna tujja kuba baana ba Katonda.—Bar. 8:21.
18. Ddi Yakuwa lw’alifuuka “byonna eri buli omu”?
18 Okuba nti Sitaani yajeemera Yakuwa tekyaleetera Yakuwa kulekera awo kwagala bantu, era tekisobola kulemesa bantu kusigala nga beesigwa eri Yakuwa, wadde nga tebatuukiridde. Okuyitira mu kinunulo, Yakuwa ajja kusobozesa abaana be bonna okuba abatuukiridde. Lowooza ku ngeri obulamu gye buliba nga buli omu ‘ategedde Omwana era n’amukkiririzaamu’ afunye obulamu obutaggwaawo. (Yok. 6:40) Yakuwa, Kitaffe atwagala ennyo era ow’amagezi, ajja kutuukiriza ekigendererwa kye era ajja kusobozesa abantu okuba abatuukiridde. Mu kiseera ekyo, Yakuwa Kitaffe ajja kufuuka “byonna eri buli omu.”—1 Kol. 15:28.
19. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo eky’ekinunulo? (Laba akasanduuko “Ka Tweyongere Okunoonya Abo Abagwanira.”) (b) Kiki ekirala ekikwata ku kinunulo kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Tusobola okulaga nti tusiima ekirabo eky’ekinunulo nga tuyamba abalala okumanya engeri nabo gye basobola okukiganyulwamu. Abantu beetaaga okukimanya nti okuyitira mu kinunulo, Yakuwa awa abantu essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka, waliwo emiganyulo emirala egiva mu kinunulo. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri ekinunulo kya Yesu gye kiyamba mu kugonjoola ensonga ezaaleetebwawo Sitaani mu Lusuku Edeni.