Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi
Okukwatira awamu emiggo ebiri egyogerwako mu Ezeekyeri essuula 37 kulina makulu ki?
Yakuwa yawa Ezeekyeri obubaka obwali bulaga nti eggwanga lya Isirayiri lyandizzeemu okuba obumu oluvannyuma lw’okukomezebwawo ku butaka mu Nsi Ensuubize. Obunnabbi obwo era bwali bulaga obumu obwandibaddewo mu bantu ba Katonda mu nnaku ez’enkomerero.
Yakuwa yagamba Ezeekyeri okuwandiika ku miggo ebiri. Omuggo ogumu yali wa kuguwandiikako nti, “Gwa Yuda n’abantu ba Isirayiri abali naye,” ate omulala yali wa kuguwandiikako nti, “Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, n’ab’ennyumba ya Isirayiri bonna abali naye.” Oluvannyuma emiggo egyo gyombi gyandibadde “ng’omuggo gumu” mu mukono gwa Ezeekyeri.—Ezk. 37:15-17.
“Efulayimu” yali akiikirira ki? Kabaka Yerobowaamu eyasooka okufuga mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi yava mu kika kya Efulayimu, ekika ekyali kisinga amaanyi mu bika ekkumi. (Ma. 33:13, 17; 1 Bassek. 11:26) Ekika ekyo kyava mu mutabani wa Yusufu ayitibwa Efulayimu. (Kubal. 1:32, 33) Yusufu yali afunye omukisa ogw’enjawulo okuva eri Kitaawe, Yakobo. N’olwekyo, kyali kituukirawo omuggo ogwali gukiikirira obwakabaka obw’ebika ekkumi okuguyita “omuggo gwa Efulayimu.” Mu kiseera Ezeekyeri we yawandiikira obunnabbi obwo obukwata ku miggo ebiri, abantu ab’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’omu bukiikakkono Abaasuli baali baabatwala dda mu buwambe mu 740 E.E.T. (2 Bassek. 17:6) N’olwekyo, mu kiseera ekyo, Abayisirayiri abasinga obungi baali basaasaanye mu bwakabaka bwa Babulooni obwali bwawamba obwakabaka bwa Bwasuli.
Mu 607 E.E.T., obwakabaka obw’ebika ebibiri obw’omu bukiikaddyo, oboolyawo n’ensigalira y’abo abaali mu bwakabaka obw’omu bukiikakkono baatwalibwa mu buwambe e Babulooni. Bakabaka ab’omu lunyiriri lwa Yuda be baali bafuga obwakabaka obwo obw’ebika ebibiri, era ne bakabona baabeeranga mu Yuda kubanga baaweerezanga mu yeekaalu e Yerusaalemi. (2 Byom. 11:13, 14; 34:30) N’olwekyo kyali kituukirawo okuba nti obwakabaka obwo obw’ebika ebibiri bukiikirirwa omuggo “gwa Yuda.”
Emiggo egyo ebiri egy’akabonero gyagattibwa ddi awamu? Ekyo kyaliwo, Abayisirayiri bwe baakomawo mu Yerusaalemi mu mwaka gwa 537 E.E.T., okuddamu okuzimba yeekaalu. Abantu abaali baasibuka mu bwakabaka obw’ebika ebibiri n’obw’ebika ekkumi baakomerawo wamu okuva mu buwambe e Babulooni. Kati waali tewakyaliwo njawukana mu Bayisirayiri. (Ezk. 37:21, 22) Abayisirayiri kati baali bazzeemu okusinza Yakuwa nga bali bumu. Obumu obwo nnabbi Isaaya ne nnabbi Yeremiya nabo baali baabwogerako.—Is. 11:12, 13; Yer. 31:1, 6, 31.
Kintu ki ekikwata ku kusinza okw’amazima ekyalagibwa mu bunnabbi obwo? Kye kino: Yakuwa yali wa kuleetera abantu abamusinza okuba obumu. (Ezk. 37:18, 19) Obunnabbi obwo butuukiridde mu kiseera kyaffe? Yee. Mu kiseera kyaffe obunnabbi obwo bwatandika okutuukirizibwa mu 1919, abantu ba Katonda mpolampola bwe baddamu okutegekebwa era ne baddamu okuba obumu. Kaweefube Sitaani gwe yaliko ow’okubaawulayawulamu, yagwa butaka.
Mu kiseera ekyo abasinga obungi ku bantu ba Katonda baalina essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu mu ggulu nga bakabaka era nga bakabona. (Kub. 20:6) Mu ngeri ey’akabonero, baalinga omuggo gwa Yuda. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abantu bangi abaalina essuubi ery’okubeera ku nsi baagenda beegatta ku Bayudaaya abo abaakabonero. (Zek. 8:23) Baalinga omuggo gwa Yusufu, era tebaalina ssuubi lya kufugira wamu ne Kristo.
Leero abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi baweerereza wamu Yakuwa wansi wa Kabaka omu Yesu Kristo, ayogerwako mu bunnabbi nga “omuweereza wange Dawudi.” (Ezk. 37:24, 25) Yesu yasaba nti abagoberezi be babeere ‘bumu nga ye ne Kitaawe bwe bali obumu era nga naye bw’ali obumu ne Kitaawe.’a (Yok. 17:20, 21) Yesu era yalagula nti ekisibo ekitono eky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta awamu ‘n’ab’endiga endala’ bandifuuse ‘ekisibo kimu wansi w’omusumba omu.’ (Yok. 10:16) Nga Yesu bwe yagamba, leero abantu ba Yakuwa bonna bali bumu, ka kibe nti balina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi!
a Yesu bwe yali ayogera ku kabonero akandiraze okubeerawo kwe, yagerera abayigirizwa be engero eziwerako. Weetegereze nti yasooka kugera lugero olukwata ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ nga bano be b’oluganda abaafukibwako amafuta abatonotono abandibadde batwala obukulembeze mu bantu ba katonda mu nnaku ez’enkomerero. (Mat. 24:45-47) Yazzaako olugero olukwata ku abo bonna abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. (Mat. 25:1-30) Oluvannyuma yagera olugero olukwata ku abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi abandiwagidde baganda ba Kristo. (Mat. 25:31-46) Mu ngeri y’emu, okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Ezeekyeri obwo okw’omu kiseera kino okusookera ddala kulaga ekyo ekyandibaddewo mu abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Wadde nga tekiri nti buli kiseera obwakabaka obw’ebika ekkumi bukiikirira abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, okugattibwa kw’emiggo okwogerwako mu bunnabbi obwo kutujjukiza obumu obuliwo wakati w’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi n’abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu.