LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/05 lup. 3
  • Kino Kye Kiseera Okubuulira!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kino Kye Kiseera Okubuulira!
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • “Osobola Okufuuka Payoniya Omulungi!”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Osobola Okuyingira ‘Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi’?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Wali Oweerezzaako nga Payoniya owa Bulijjo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 8/05 lup. 3

Kino Kye Kiseera Okubuulira!

1. Lwaki kino ky’ekiseera okubuulira?

1 “Mutye Katonda mumuwe ekitiibwa.” Obubaka buno bulangirirwa mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu” okuyitira mu buyambi bwa bamalayika. Lwaki? ‘Kubanga ekiseera eky’omusango gwa Katonda kituuse.’ Leero, tuli mu ‘kiseera ekyo eky’omusango,’ ekijja okukoma ng’enteekateeka y’ebintu eno ezikirizibwa. Kikulu nnyo abantu ‘okusinza Oyo eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.’ Tewali mulimu mukulu gukolebwa mu nsi leero okusinga ogwo ogw’okubuulira “enjiri ey’emirembe n’emirembe.” Yee, kino kye kiseera okubuulira!​—Kub. 14:6, 7.

2. Abaweereza ba Yakuwa booleka batya nti bamanyi obukulu bw’ekiseera kye tulimu?

2 Mu myaka kkumi egiyise, abaweereza ba Yakuwa bamaze essaawa kumpi obuwumbi 12 nga babuulira amawulire ag’Obwakabaka era nga bafuula abalala abayigirizwa. Bangi bakoze enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’amakungula ag’eby’omwoyo. (Mat. 9:37, 38) Ng’ekyokulabirako, omwaka oguwedde, ababuulizi abasukka mu 850,000 baakola nga bapayoniya buli mwezi. Bapayoniya aba bulijjo kibeetaagisa okubuulira essaawa 70 buli mwezi. Bapayoniya abawagizi bo balina okubuulira essaawa 50 buli mwezi.

3. Nkyukakyuka ki ababuulizi ze beetaaga okukola okusobola okuweereza nga bapayoniya?

3 Ekyetaagisa Okusobola Okukola nga Payoniya: Olw’okuba bamanyi nti “[e]biro biyimpawadde,” bapayoniya bafuba okufuula obulamu bwabwe obwangu. (1 Kol. 7:29, 31) Bafuba okulaba nti bakendeeza ku nsaasanya yaabwe, ne kibasobozesa okukola emirimu egitatwala biseera bingi. Ng’ekyokulabirako, abamu basazeewo okudda mu nnyumba entonotono. Abalala beggyeko ebintu bye bateetaaga. (Mat. 6:19-21) Emirundi egimu beerekereza ebintu bye baagala. Bino byonna babikola nga balina ekiruubirirwa eky’okwongera ku biseera bye bamala mu kubuulira. (Bef. 5:15, 16) Obunyiikivu, okwefiiriza n’okwesiga Yakuwa, bye biyambye ababuulizi bangi okukola enteekateeka ennungi ebasobozesezza okuweereza nga bapayoniya.

4. Biki by’oyinza okukola okusobola okuweereza nga payoniya?

4 Osobola okuweereza nga payoniya? Lwaki teweebuuzaako ku bapayoniya engeri gye basobodde okutuukirizaamu obuweereza baabwe? Buulirako nabo osobole okulaba engeri gye banyumirwamu obuweereza. Soma ebitundu ebifulumidde mu bitabo byaffe ebikwata ku bapayoniya. Weeteerewo ebiruubirirwa ebinaakuyamba okuweereza nga payoniya. Bwe wabaawo ebizibu ebikulemesa okuweereza nga payoniya, saba Yakuwa akuyambe okubivvuunuka.​—Nge. 16:3.

5. Okuweereza nga payoniya kituyamba kitya okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe?

5 Emiganyulo n’Essanyu: Okuweereza nga payoniya kitusobozesa okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda era nga kino kyongera ku ssanyu lye tulina. Mwannyinaffe omuto aweereza nga payoniya yagamba: “Kiba kya muganyulo bw’oba ng’osobola okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda eky’amazima. Bw’oweereza nga payoniya, okozesa nnyo Baibuli. Bwe mba nga mbuulira nnyumba ku nnyumba, nsobola okumanya ebyawandiikibwa bye ŋŋwanidde okukozesa okuyamba buli muntu gwe mba nsanze.”​—2 Tim. 2:15.

6. Bintu ki bye tuyiga bwe tuweereza nga bapayoniya?

6 Ate era okuweereza nga bapayoniya kituyigiriza ebintu bingi ebiyinza okutuyamba mu bulamu bwaffe. Kiyinza okuyamba abavubuka okuyiga engeri y’okukozesaamu obulungi ebiseera, essente era n’okukolagana obulungi n’abantu. Bangi beeyongera okufaayo ku by’omwoyo. (Bef. 4:13) Ate era bapayoniya emirundi mingi balaba engeri omukono gwa Yakuwa gye gubayambamu.​—Bik. 11:21; Baf. 4:11-13.

7. Okuweereza nga bapayoniya kituyamba kitya okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

7 Oboolyawo ogumu ku miganyulo ogusingayo obulungi oguli mu kuweereza nga payoniya kwe kufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa. Kino kisobola okutunyweza nga tugezesebwa. Mwannyinaffe eyagumiikiriza ebizibu eby’amaanyi yagamba: “Enkolagana ey’oku lusegere gye nfunye ne Yakuwa nga nkola nga payoniya y’ennyambye okugumiikiriza ebizibu byange byonna.” Yagattako: “Ndi musanyufu nnyo okulaba nti nkozesezza obulamu bwange okuviira ddala mu buvubuka nga mpeereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Kinsobozesezza okwewaayo mu ngeri ze nnali sisuubira.” (Bik. 20:35) Okufaananako mwannyinaffe oyo, naffe tujja kufuna emiganyulo mingi nnyo bwe tufuba okwenyigira mu mulimu omukulu ogw’okubuulira.​—Nge. 10:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share