Tuteekwa Okweyongera Okuba Abanyiikivu mu Buweereza
1 Okuva mu 1992, buli mwaka Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna babadde bamala essaawa ezisukka mu kawumbi kamu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti naffe tulina kye twakolako mu mulimu ogwo!—Mat. 28:19, 20.
2 Kya lwatu, Yakuwa y’asaanidde okwebazibwa era n’okutenderezebwa kubanga y’atusobozesezza okwenyigira mu buweereza buno mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku.’ (2 Tim. 3:1) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu guno omukulu ennyo?
3 Ebitukubiriza Okuba Abanyiikivu: Okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri Katonda ne muliraanwa waffe, era n’okuba nti twagala nnyo okutuukiriza okwewaayo kwaffe, bye bitukubiriza okwenyigira mu mulimu gw’Obwakabaka. (Mat. 22:37-39; 1 Yok. 5:3) Okwagala kutukubiriza okwerekereza ne tusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira.—Luk. 9:23.
4 Fuba Okusigala ng’Oli Munyiikivu: Setaani omulabe waffe akola kyonna ky’asobola okulaba nti tulekera awo okuba abanyiikivu mu buweereza. Ebimu ku ebyo by’akozesa okutumalamu amaanyi bye bintu eby’omu nsi ebiwugula, obuzibu bwe tusanga mu kweyimirizaawo, okweraliikirira olw’obulamu bwaffe obugenda bwonooneka, n’abantu be tubuulira nga tebeefiirayo.
5 N’olwekyo, tuteekwa okufuba ennyo okusobola okusigala nga tuli banyiikivu. Kikulu nnyo gye tuli okukulaakulanya ‘okwagala kwe twalina olubereberye.’ Kino kizingiramu okusoma n’okufumiitiriza obutayosa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli, era n’okukozesa enteekateeka zonna ez’eby’omwoyo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” z’atukolera.—Kub. 2:4; Mat. 24:45; Zab. 119:97.
6 Nga bwe kyeyolekera obulungi mu bunnabbi bwa Baibuli, olunaku lwa Yakuwa olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda lubindabinda. (2 Peet. 2:3; 3:10) Okuva bwe kiri nti olunaku olwo lubindabinda, ka tufube okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogukolebwa kati ogw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa.