Ensonga Kkumi na Bbiri Ezituleetera Okubuulira
Lwaki tubuulira era tuyigiriza abantu amawulire amalungi? Okuyamba abantu ab’emitima emirungi okujja mu kkubo ery’obulamu ye nsonga esinga obukulu etuleetera okubuulira? (Mat. 7:14) Eyo y’ensonga esoose okulagibwa wammanga, naye si y’esinga obukulu. Ku nsonga zino 12 ezituleetera okubuulira, olowooza eruwa esinga obukulu?
1. Okubuulira kuwonya obulamu bw’abantu.—Yok. 17:3.
2. Kutusobozesa okulabula ababi.—Ez. 3:18, 19.
3. Okubuulira kye kimu ku ebyo ebituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli.—Mat. 24:14.
4. Kwoleka obutuukirivu bwa Katonda. Tewali alinenya Yakuwa nti yazikiriza ababi nga tabawadde kakisa kwenenya.—Bik. 17:30, 31;1 Tim. 2:3, 4.
5. Okubuulira kutusobozesa okusasula ebbanja lye tulina ery’okuyamba abantu abaagulibwa n’omusaayi gwa Yesu.—Bar. 1:14, 15.
6. Bwe tubuulira, tetujja kuvunaanibwa musaayi gwa muntu yenna.—Bik. 20:26, 27.
7. Kye kimu ku ebyo Katonda by’atwetaagisa okusobola okulokolebwa.—Ez. 3:19; Bar. 10:9, 10.
8. Bwe tubuulira tuba tulaga nti twagala bantu bannaffe.—Mat. 22:39.
9. Tuba tulaga nti tugondera Yakuwa n’Omwana we.—Mat. 28:19, 20.
10. Okubuulira y’emu ku ngeri gye tusinzaamu Yakuwa.—Beb. 13:15.
11. Bwe tubuulira tuba tulaga nti twagala Katonda.—1 Yok. 5:3.
12. Okubuulira kye kimu ku bireetera erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa.—Is. 43:10-12; Mat. 6:9.
Kyo kituufu nti ezo si ze nsonga zokka ezituleetera okubuulira. Ng’ekyokulabirako, bwe tubuulira tunyweza okukkiriza kwaffe era tuba n’enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda. (1 Kol. 3:9) Kyokka, ensonga esinga obukulu etuleetera okubuulira y’eya 12. Abantu ka babe nga basiima obubaka bwaffe oba tebabusiima, okubuulira kye kimu ku bireetera erinnya lya Katonda okutukuzibwa era kumuwa eky’okuddamu eri oyo amuvuma. (Nge. 27:11) Mu butuufu, tulina ensonga kwe tusinziira ‘okweyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi awatali kuddirira.’—Bik. 5:42.