EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZEEEKYERI 6-10
Onooteekebwako Akabonero ak’Okuwonawo?
Okutuukirizibwa okwasooka okw’okwolesebwa kwa Ezeekyeri kwaliwo ekibuga Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa. Okwolesebwa okwo kunaatuukirizibwa kutya mu biseera eby’omu maaso?
Omusajja alina akacupa ka bwino w’omuwandiisi akiikirira Yesu Kristo
Abasajja omukaaga abakutte eby’okulwanyisa eby’okukozesa okwasaayasa bakiikirira eggye ery’omu ggulu erya bamalayika nga Yesu Kristo y’abakulembeddemu
Ab’ekibiina ekinene bajja kussibwako akabonero nga bamaze okwawulwawo ng’endiga mu kibonyoobonyo ekinene