EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20
OLUYIMBA 67 “Buulira Ekigambo”
Okwagala ka Kukuleetere Okweyongera Okubuulira!
“Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.”—MAK. 13:10.
EKIGENDERERWA
Engeri okwagala gye kutuleetera okubuulira n’obunyiikivu era n’omutima gwaffe gwonna.
1. Biki bye twategeezebwa ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwaliwo mu 2023?
KU LUKUŊŊAANA olwa buli mwaka olwaliwo mu 2023,a twategeezebwa enkyukakyuka ezaakolebwa mu bimu ku bintu bye tukkiririzaamu awamu n’ezo ezikwata ku buweereza bwaffe. Ng’ekyokulabirako, twakitegeera nti abantu abamu bayinza okufuna akakisa okutandika okuweereza Yakuwa n’oluvannyuma lwa Babulooni ekinene okuzikirizibwa. Ate era twategeezebwa nti okutandika ne Noovemba 2023, ababuulizi kyali tekikyabeetagisa kuwandiika ku lipoota ebintu byonna bye baba bakoze mu buweereza bwabwe. Enkyukakyuka ezo zaaleetera omulimu gwaffe okuba nga tegukyali mukulu nnyo era nga tegukyetaagibwa kukolebwa mu bwangu nga bwe kyali? Nedda!
2. Lwaki buli lunaku oluyitawo kikulu okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira? (Makko 13:10)
2 Buli lunaku oluyitawo, kitwetaagisa okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Lwaki? Kubanga ekiseera kiweddeyo. Lowooza ku ebyo Yesu bye yayogera ku mulimu gw’okubuulira mu nnaku ez’enkomerero. (Soma Makko 13:10.) Okusinziira ku ebyo Matayo bye yawandiika ebyogera ku nsonga eyo y’emu, Yesu yagamba nti amawulire amalungi gandibuuliddwa mu nsi yonna “enkomerero” n’elyoka ejja. (Mat. 24:14) Ekigambo “enkomerero” kitegeeza okuzikirizibwa kw’ensi ya Sitaani. Yakuwa yassaawo dda olunaku n’ekiseera ebintu ebitali bimu bye tulindirira lwe bijja okubaawo. (Mat. 24:36; 25:13; Bik. 1:7) Buli lunaku oluyitawo tweyongera okusemberera ekiseera ekyo. (Bar. 13:11) Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tulina okweyongera okubuulira amawulire amalungi okutuusa enkomerero lw’ennajja.
3. Kiki ekituleetera okubuulira?
3 Bwe tufumiitiriza ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira kikulu okwebuuza ekibuuzo kino: Lwaki tubuulira amawulire amalungi? Okwagala kwe kutuleetera okubuulira. Ebyo bye tukola mu mulimu gw’okubuulira biraga okwagala kwe tulina eri amawulire amalungi, eri abantu, n’okusingira ddala eri Yakuwa n’erinnya lye. Ka twetegereze ebintu ebyo kimu ku kimu.
TUBUULIRA OLW’OKUBA TWAGALA AMAWULIRE AMALUNGI
4. Tukwatibwako tutya nga tufunye amawulire amalungi?
4 Ojjukira engeri gye wawuliramu ng’otegeezeddwa amawulire amalungi, oboolyawo ag’okuzaalibwa kw’omwana oba ag’okufuna omulimu gwe wali weetaaga ennyo? Kya lwatu nti oteekwa okuba nga wali weesunga nnyo okugabuulirako ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo ku mawulire ago. Ekintu ekifaananako ng’ekyo kyaliwo lwe wasooka okuwulira amawulire agasinga amalala gonna obulungi, nga gano ge mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda?
5. Wawulira otya lwe wasooka okuyiga amazima agali mu Ekigambo kya Katonda? (Laba n’ekifaananyi.)
5 Lowooza engeri gye wawuliramu lwe wasooka okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Wakitegeera nti Kitaawo ow’omu ggulu akwagala nnyo era nti ayagala obe omu ku baweereza be. Ate era wakitegeera nti yasuubiza okumalawo obulumi n’okubonaabona, nti waliwo essuubi ery’okuddamu okulaba abantu bo abaafa mu nsi empya, n’ebirala bingi. (Mak. 10:29, 30; Yok. 5:28, 29; Bar. 8:38, 39; Kub. 21:3, 4) Ebintu ebyo byatukwatako nnyo. (Luk. 24:32) Wayagala nnyo bye wali oyiga era wali tosobola kubisirikira!—Geraageranya Yeremiya 20:9.
Lwe twasooka okumanya amazima agali mu Bayibuli twakwatibwako nnyo era twali tetusobola kugasirikira! (Laba akatundu 5)
6. Kiki ky’oyigidde ku Ernest ne Rose?
6 Lowooza ku kyokulabirako kino. Ow’oluganda ayitibwa Ernestb yalina emyaka kkumi kitaawe we yafiira. Ernest agamba nti: “Muli nneebuuzanga nti: ‘Agenze mu ggulu, oba asaaniddewo ddala taliddamu kubaawo?’ Nnakwatibwanga obuggya abaana abaalina bataata baabwe.” Ernest yagendanga ku kiggya n’afukamira ku malaalo ga taata we n’asaba nti: “Ai Katonda, njagala okumanya taata gy’ali.” Nga wayise emyaka nga 17 nga taata we amaze okufa, Ernest yategeezebwa ku nteekateeka y’okuyigirizibwa Bayibuli era n’agikkiririzaawo. Yasanyuka nnyo okukimanya nti abafu tebaliiko kye bamanyi, balinga abali mu tulo otw’amaanyi era nti Bayibuli essuubiza nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. (Mub. 9:5, 10; Bik. 24:15) Kyaddaaki yafuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyali bimaze ekiseera ekiwanvu nga bimubobbya omutwe! Ernest yasanyuka nnyo olw’amazima ge yali ayiga mu Bayibuli. Mukyala we, Rose, naye yamwegattako mu kuyiga era naye yayagala nnyo obubaka bw’Obwakabaka. Mu 1978 bombi baabatizibwa. Baafubanga okubuulirako abalala ku mazima ge baali bayize, omwali ab’eŋŋanda zaabwe, mikwano gyabwe, awamu n’abalala abaalinga abeetegefu okubawuliriza. N’ekivuddemu, Ernest ne Rose bayambye abantu abasukka mu 70 okwewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa.
7. Kiki ekibaawo bwe twagala amazima agali mu Kigambo kya Katonda? (Lukka 6:45)
7 Kya lwatu nti bwe tuba nga twagala nnyo amazima agali mu Bayibuli, tetusobola kugasirikira. (Soma Lukka 6:45.) Tuwulira ng’abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka abaagamba nti: “Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” (Bik. 4:20) Twagala nnyo amazima ne kiba nti twagala okugabuulirako abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka.
TUBUULIRA OLW’OKUBA TWAGALA ABANTU
8. Lwaki tufuba okubuulira abalala amawulire amalungi? (Laba akasanduuko “Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa.”) (Laba n’ekifaananyi.)
8 Okufaananako Yakuwa n’Omwana we, twagala nnyo abantu. (Nge. 8:31; Yok. 3:16) Tusaasira nnyo abo ‘abatalina Katonda’ era ‘abatalina ssuubi.’ (Bef. 2:12) Olw’ebizibu ebingi bye balina, bawulira ng’abali mu kinnya ekiwanvu ennyo. Naye ffe tulina omuguwa ogusobola okubasikayo. Omuguwa ogwo ge mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba twagala abantu ng’abo era tubakwatirwa ekisa, tufuba okubabuulira amawulire amalungi. Obubaka obwo obw’omuwendo busobola okubazzaamu amaanyi, okubayamba okuba n’obulamu obw’amakulu kati, era n’okuba n’essuubi ery’okufuna “obulamu obwa nnamaddala,” nga buno bwe bulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya.—1 Tim. 6:19.
Olw’okuba twagala abantu era tubasaasira, tufuba okubabuulira amawulire amalungi (Laba akatundu 8)
9. Kiki kye tutegeeza abantu ekinaatera okubaawo era lwaki? (Ezeekyeri 33:7, 8)
9 Olw’okuba twagala abantu, tufuba okubalabula nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. (Soma Ezeekyeri 33:7, 8.) Tusaasira baliraanwa baffe n’ab’eŋŋanda zaffe abataweereza Yakuwa. Bangi ku bo tebamanyi kabi ak’amaanyi akanaatera okubaawo, kwe kugamba, “ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo, era [ekitalibaawo] nate.” (Mat. 24:21) Twagala bamanye ebintu bino ebigenda okubaawo mu kiseera ekyo eky’okusalirwa omusango: Ekisooka, amadiini ag’obulimba gajja kusaanyizibwawo ate oluvannyuma enteekateeka ya Sitaani yonna ejja kusaanyizibwawo ku lutalo Amagedoni. (Kub. 16:14, 16; 17:16, 17; 19:11, 19, 20) Twagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka bakolere ku kulabula okwo era batwegatteko mu kusinza okulongoofu. Naye kiki ekinaatuuka ku abo abatakolera ku kulabula okwo kati omuli n’ab’eŋŋanda zaffe?
10. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okulabula abantu?
10 Nga bwe kyalagibwa mu kitundu ekyayita, kiyinzika okuba nti Yakuwa ajja kuwonyaawo abantu abanaakyusa endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okulaba nga Babulooni Ekinene kizikiriziddwa. Ekyo bwe kiba kityo, kikulu nnyo kati n’okusinga bwe kyali kibadde okweyongera okulabula abantu. Lowooza ku kino: Ebyo bye tubabuulira kati biyinza okubasobozesa okubaako ekintu ekikulu kye bajjukira mu kiseera ekyo. (Geraageranya Ezeekyeri 33:33.) Oboolyawo bajja kujjukira ebintu bye twababuulira nga tubalabula, bakyuse amakubo gaabwe batwegatteko mu kusinza okw’amazima ng’ekiseera kikyaliyo. Okufaananako omukuumi w’ekkomera mu Firipi eyakyusa endowooza ye oluvannyuma lwa “musisi ow’amaanyi” okuyita, oboolyawo abamu ku bantu abatawuliriza bubaka bwaffe kati bajja kukyusa endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babuloni Ekinene, okuyinza okugeraageranyizibwa ku musisi ow’amaanyi.—Bik. 16:25-34.
TUBUULIRA OLW’OKUBA TWAGALA NNYO YAKUWA N’ERINNYA LYE
11. Tuwa tutya Yakuwa ekitiibwa n’ettendo? (Okubikkulirwa 4:11) (Laba n’ekifaananyi.)
11 Ensonga esinga obukulu lwaki tubuulira amawulire amalungi eri nti twagala nnyo Yakuwa Katonda n’erinnya lye ettukuvu. Omulimu gw’okubuulira tugutwala ng’engeri emu ey’okutenderezaamu Katonda waffe gwe twagala ennyo. (Soma Okubikkulirwa 4:11.) Tukkiriza n’omutima gwaffe gwonna nti Yakuwa Katonda ow’amaanyi agwanidde okuweebwa ekitiibwa n’ettendo. Tumuwa ekitiibwa n’ettendo bwe tubuulira abalala obukakafu obulaga nti ye ‘yatonda ebintu byonna’ era nti ye yatuwa obulamu bwe tulina. Ate era tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okubuulira mu bujjuvu ng’embeera bwe zitusobozesa. (Mat. 6:33; Luk. 13:24; Bak. 3:23) Mu bufunze, tuyinza okugamba nti twagala nnyo okwogera ebikwata ku Katonda waffe gwe twagala. Twagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku linnya lye n’ekyo kye likiikirira. Lwaki?
Tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okubuulira amawulire amalungi mu bujjuvu ng’embeera bwe zitusobozesa (Laba akatundu 11)
12. Bwe tuba tubuulira tutukuza tutya erinnya lya Yakuwa?
12 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okutukuza erinnya lye. (Mat. 6:9) Twagala okuggya ekivume Sitaani kye yaleeta ku linnya lya Yakuwa bwe yamwogerako eby’obulimba. (Lub. 3:1-5; Yob. 2:4; Yok. 8:44) Twagala nnyo okubuulira abantu abeetegefu okuwuliriza amazima agakwata ku Katonda waffe. Twagala abantu bonna bamanye nti engeri ye esinga obukulu kwe kwagala, nti obufuzi bwe bwa butuukirivu era bwa bwenkanya, era nti Obwakabaka bwe bunaatera okumalawo okubonaabona buleetere abantu emirembe n’essanyu. (Zab. 37:10, 11, 29; 1 Yok. 4:8) Bwe tubuulira abantu ebintu ebyo ebikwata ku Yakuwa, tuba tutukuza erinnya lye. Ate era tuba bamativu olw’okukimanya nti tutuukana n’erinnya lyaffe. Mu ngeri ki?
13. Lwaki twenyumiririza mu kuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa? (Isaaya 43:10-12)
13 Yakuwa yatusembeza gy’ali tube ‘abajulirwa’ be. (Soma Isaaya 43:10-12.) Emyaka mingi emabega, ebbaluwa okuva eri Akakiiko Akafuzi yagamba nti: “Enkizo esinga zonna gye tulina kwe kuba nti tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.”c Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku kyokulabirako kino. Bw’oba nga weetaaga omuntu ow’okutwala mu kkooti okukuwaako obujulizi, wandironze omuntu gw’omanyi obulungi, gwe weesiga, amanyiddwa nti muntu mulungi, era abalala gwe basobola okwesiga. Yakuwa okutulonda okuba abajulirwa be akiraga nti atumanyi bulungi era nti atwesiga okumuwaako obujulirwa nti ye Katonda omu ow’amazima. Tugitwala nga nkizo ya maanyi okuba abajulirwa be ne kiba nti tukozesa buli kakisa ke tufuna okumanyisa abalala erinnya lye era n’okwanika obulimba obumwogeddwako. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tutuukana n’erinnya lyaffe, Abajulirwa ba Yakuwa, erinnya lye twenyumiririzaamu ennyo!—Zab. 83:18; Bar. 10:13-15.
TUJJA KWEYONGERA OKUBUULIRA OKUTUUKIRA DDALA KU NKOMERERO
14. Bintu ki ebinaatera okubaawo?
14 Mazima ddala twesunga nnyo okulaba ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusuubira abalala bangi okutwegattako mu kumusinza ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Ate era tukwatiddwako nnyo okukimanya nti ne mu kiseera ekijja okusingayo okuba ekizibu mu byafaayo by’abantu, nga kino kye kibonyoobonyo ekinene, wayinza okubaawo abantu abava ku ludda lwa Sitaani ne batwegattako okutendereza Yakuwa!—Bik. 13:48.
15-16. Kiki kye tugenda okweyongera okukola, era tunaakikola kutuusa ddi?
15 Nga tulindirira ebyo okubaawo, tulina omulimu omukulu ennyo ogw’okukola. Tulina enkizo ey’okubuulira abantu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era ng’omulimu ogwo teguliddamu kukolebwa. Mu kiseera kye kimu, tulina okweyongera okulabula abantu. Abantu beetaaga okukimanya nti enkomerero y’ensi ya Sitaani eneetera okutuuka. Era bw’eneetuuka, bajja kukimanya nti obubaka bwe twali tubabuulira bwava eri Yakuwa Katonda.—Ezk. 38:23.
16 Kiki kye tumaliridde okukola? Olw’okwagala kwe tulina eri amawulire amalungi, eri abantu, n’okusingira ddala eri Yakuwa Katonda n’erinnya lye, tujja kweyongera okubuulira n’obunyiikivu okutuusa Yakuwa lw’anaagamba nti, “Omulimu mugumalirizza!”
OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”
a Olukuŋŋaana olwa buli mwaka lwaliwo nga Okitobba 7, 2023, mu kizimbe ekituuza enkuŋŋaana ennene eky’omu Newburgh, New York, Amerika. Programu yonna oluvannyuma yafulumizibwa ku JW Broadcasting. Ekitundu ekisooka kyafuluma mu Noovemba 2023, ate Ekitundu eky’okubiri kyafuluma mu Jjanwali 2024.
b Laba ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu—Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Byange mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 1, 2015.
c Laba Year Book of Jehovahʼs Witnesses eya 2007, lup. 3.