LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Maayi lup. 26-31
  • Erinnya lya Yakuwa Kkulu Nnyo Gye Tuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Erinnya lya Yakuwa Kkulu Nnyo Gye Tuli
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “ABANTU AB’OKUYITIBWA ERINNYA LYE”
  • “MULI BAJULIRWA BANGE”
  • EBIRALA BYE TUKOLA OKULAGA NTI ERINNYA LYA YAKUWA KKULU GYE TULI
  • Erinnya lya Yakuwa Kkulu Nnyo eri Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Mutendereze Erinnya lya Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • “Mweronderewo . . . Gwe Munaaweerezanga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Maayi lup. 26-31

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23

OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa

Erinnya lya Yakuwa Kkulu Nnyo Gye Tuli

“‘Mmwe muli bajulirwa bange,’ Yakuwa bw’agamba.”—IS. 43:10.

EKIGENDERERWA

Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tusobola okukola okulaga nti Yakuwa mutukuvu era nti byonna Sitaani bye yamwogerako bya bulimba.

1-2. Tumanya tutya nti erinnya lya Yakuwa kkulu nnyo eri Yesu?

ERINNYA lya Yakuwa kye kintu ekisinga obukulu eri Yesu. Y’awomye omutwe mu kumanyisa abalala erinnya lya Yakuwa. Ng’ekitundu ekyayita bwe kyalaga, Yesu yali mwetegefu okufa ku lw’erinnya lya Yakuwa n’ebyo byonna bye likiikirira. (Mak. 14:36; Beb. 10:​7-9) Ate era ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kuba mwetegefu okuwaayo obuyinza bwonna bw’alina eri Kitaawe okusobola okutukuza erinnya lya Yakuwa. (1 Kol. 15:​26-28) Ebintu byonna Yesu bye yakola ku lwa Yakuwa biraga nti ayagala nnyo Kitaawe.

2 Yesu yajja ku nsi mu linnya lya Kitaawe. (Yok. 5:43; 12:13) Yamanyisa erinnya lya Kitaawe eri abagoberezi be. (Yok. 17:​6, 26) Yayigiriza mu linnya lya Yakuwa era yakola ebyamagero mu linnya eryo. (Yok. 10:25) Mu butuufu, Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abayigirizwa be “olw’erinnya [lye].” (Yok. 17:11) Kya lwatu, erinnya lya Yakuwa kye kintu ekisinga obukulu eri Yesu. Kati olwo omuntu ayinza atya okugamba nti mugoberezi wa Yesu owa nnamaddala naye nga tamanyi linnya lya Yakuwa era nga talikozesa?

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Olw’okuba tuli Bakristaayo ab’amazima, tukoppa Yesu nga twagala erinnya lya Yakuwa era nga tulissaamu ekitiibwa. (1 Peet. 2:21) Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga lwaki Yakuwa awadde erinnya lye abo ababuulira “amawulire . . . amalungi ag’Obwakabaka.” (Mat. 24:14) Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki erinnya lya Yakuwa kkulu nnyo gye tuli kinnoomu.

“ABANTU AB’OKUYITIBWA ERINNYA LYE”

4. (a) Mulimu ki Yesu gwe yawa abayigirizwa be nga tannaddayo mu ggulu? (b) Kibuuzo ki ekigenda okuddibwamu?

4 Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu yagamba abayigirizwa be nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) N’olwekyo, amawulire amalungi gandibadde gabuulirwa ne mu bitundu ebirala so si mu Isirayiri mwokka. Oluvannyuma lw’ekiseera abantu okwetooloola ensi bandifunye akakisa okufuuka abagoberezi ba Yesu. (Mat. 28:​19, 20) Naye Yesu yagamba nti: “Mujja kuba bajulirwa bange.” Abayigirizwa ba Yesu bano abapya bandibadde beetaaga okumanya erinnya lya Yakuwa oba bandikomye ku kuba Bajulirwa ba Yesu kyokka? Ebyo ebyogerwako mu Ebikolwa essuula 15 bituyamba okuddamu ekibuuzo ekyo.

5. Abatume n’abakadde mu Yerusaalemi baakiraga batya nti abantu bonna beetaaga okumanya erinnya lya Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

5 Mu mwaka gwa 49 E.E., abatume n’abakadde mu Yerusaalemi baakuŋŋaana wamu okukubaganya ebirowoozo ku ekyo ab’amawanga abataali bakomole kye baalina okukola okusobola okufuuka Abakristaayo. Bwe baamala okukubaganya ebirowoozo, Yakobo, muganda wa Yesu yagamba nti: “[Peetero] annyonnyodde bulungi engeri Katonda gye yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.” Yakobo yali ayogera ku linnya ly’ani? Ng’ajuliza ebigambo bya nnabbi Amosi yagamba nti: “Abantu abasigalawo basobole okunoonya Yakuwa, awamu n’ab’amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange, bw’ayogera Yakuwa.” (Bik. 15:​14-18) N’olwekyo, abayigirizwa ba Yesu bano abapya tebandikomye ku kuyiga ebikwata ku Yakuwa, naye era bandibadde ‘bayitibwa erinnya lye.’ Kino kitegeeza nti bandibadde babuulira abalala erinnya lya Yakuwa era abalala bandibadde babamanyi ng’abo abakiikirira erinnya eryo.

Yakobo ayogera n’abamu mku batume n’abakadde mu Yerusaalemi. Babiri ku bo babikkudde emizingo era bawuliriza.

Mu lukuŋŋaana olumu olwaliwo mu kyasa ekyasooka, ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi baakitegeera nti Abakristaayo balina okuyitibwa erinnya lya Katonda (Laba akatundu 5)


6-7. (a) Lwaki Yesu yajja ku nsi? (b) Nsonga ki esinga obukulu eyaleeta Yesu ku nsi?

6 Erinnya lya Yesu litegeeza nti “Yakuwa bwe Bulokozi,” era Yakuwa yakozesa Yesu okulokola abantu abamukkiririzaamu era abakkiririza ne mu Mwana we. Yesu yajja ku nsi okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu. (Mat. 20:28) Bwe yakola bw’atyo yasobozesa abantu okusonyiyibwa ebibi byabwe n’okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yok. 3:16.

7 Naye lwaki abantu baali beetaaga ekinunulo? Olw’ekyo ekyaliwo mu lusuku Edeni. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baajemera Yakuwa era bwe batyo ne bafiirwa enkizo ey’okubeerawo emirembe gyonna. (Lub. 3:​6, 24) Naye Yesu yajja ku nsi okukola ekintu ekikulu ennyo n’okusinga okulokolebwa kw’abantu. Sitaani yayogera ebintu eby’obulimba bingi ku Yakuwa. (Lub. 3:​4, 5) N’olwekyo, okununulibwa kwa bazzukulu ba Adamu ne Kaawa kwali kulina akakwate n’ensonga esinga obukulu, nga kwe kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda. Olw’okuba Yesu yali akiikirira Yakuwa yakola byonna Yakuwa bye yali ayagala akole. Yawoma omutwe mu kutukuza erinnya lya Yakuwa.

Omuntu ayinza atya okugamba nti mugoberezi wa Yesu owa nnamaddala naye nga tamanyi linnya lya Yakuwa era nga talikozesa?

8. Kiki abagoberezi ba Yesu bonna kye balina okukkiriza?

8 Abo bonna abandifuuse abagoberezi ba Yesu, ka babe Bayudaaya oba ab’amawanga, bandibadde balina okukikkiriza nti Yakuwa Katonda, Kitaawe wa Yesu, ye Nsibuko y’obulokozi bwabwe. (Yok. 17:3) Ate era okufaananako Yesu, nabo bandibadde bayitibwa erinnya lya Yakuwa. Ate era bandibadde balina okukimanya nti kikulu nnyo okutukuza erinnya lya Yakuwa. Kino kyandibayambye okulokolebwa. (Bik. 2:​21, 22) N’olwekyo, abagoberezi ba Yesu bonna abeesigwa bandibadde beetaaga okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne Yesu. Tekyewuunyisa nti Yesu bwe yali amaliriza essaala ye eri mu Yokaana 17 yagamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa, okwagala kwe wandaga kubeere mu bo era nange mbeere bumu nabo.”—Yok. 17:26.

“MULI BAJULIRWA BANGE”

9. Tuyinza tutya okukiraga nti erinnya lya Yakuwa kkulu gye tuli?

9 Okusinziira ku ebyo bye twakalaba, kyeyoleka lwatu nti okusobola okuba abagoberezi ba Yesu tulina okutukuza erinnya lya Yakuwa. (Mat. 6:​9, 10) Erinnya lya Yakuwa tulina okulitwala nga lye lisinga amalala gonna. Ekyo tulina okukyoleka mu ebyo byonna bye tukola. Kati olwo biki bye tulina okukola okutukuza erinnya lya Yakuwa ne tukiraga nti ebyo Sitaani bye yayogera bya bulimba?

10. Biki bye tuyiga mu Isaaya essuula 42 okutuuka ku 44? (Isaaya 43:9; 44:​7-9) (Laba n’ekifaananyi.)

10 Bye tusoma mu Isaaya essuula 42 okutuuka ku 44, bituyamba okumanya ekyo kye tulina okukola okutukuza erinnya lya Yakuwa. Mu ssuula ezo Yakuwa agamba abantu abatamusinza okuleeta obukakafu obulaga nti bakatonda baabwe b’amazima. Nga bwe kibeera mu kkooti, abuuza obanga waliwo abasobola okuwa obujulizi ku ekyo. Naye tewali n’omu!—Soma Isaaya 43:9; 44:​7-9.

Ebifaananyi: Bamalayika babuuka mu bbanga okwetooloola ensi; baganda baffe ne bannyinaffe bakola ebintu ebiraga nti batukuza erinnya lya Yakuwa. 1. Ow’oluganda ne mukyala babuulira nga bakozesa akagaali. 2. Mwannyinaffe omuvubuka abuulira muyizi munne ng’akozesa kaadi eragirira abantu ku mukutu jw.org. 3. Ow’oluganda abuulira omusajja nga bali mu ntambula eya lukale. 4. Abasajja abambadde obukookoolo basibye ow’oluganda empingu era bamutwala. 5. Mwannyinaffe ali mu ddwaliro annyonnyola omusawo ennyimirira ye ku bikwata musaayi.

Tukiraga nti teri Katonda mulala okuggyako Yakuwa okuyitira mu ebyo bye tukola ne bye twogera (Laba akatundu 10-11)


11. Kiki Yakuwa ky’agamba abantu be mu Isaaya 43:​10-12?

11 Soma Isaaya 43:​10-12. Yakuwa agamba bw’ati abantu be: “Mmwe muli bajulirwa bange, . . . era nze Katonda.” Yakuwa abagamba okuddamu ekibuuzo kino: “Eriyo Katonda omulala okuggyako nze?” (Is. 44:8) N’olwekyo, tulina enkizo okuddamu ekibuuzo ekyo. Tukiraga nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima okuyitira mu ebyo bye twogera ne bye tukola. Erinnya lye lisinga amannya amalala gonna obukulu. Tukiraga mu ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe nti twagala nnyo Yakuwa era nti tuli beesigwa gyali wadde nga Sitaani agezaako okutulemesa. Bwe tukola bwe tutyo tuba tuyambako mu kutukuza erinnya lya Katonda.

12. Obunnabbi obuli mu Isaaya 40:​3, 5 bwatuukirira butya?

12 Bwe tutukuza erinnya lya Yakuwa okuyitira mu ebyo bye twogera ne bye tukola tuba tukoppa Yesu. Isaaya yalaga nti wandibaddewo omuntu ‘ayerula oba ateekateeka ekkubo lya Yakuwa!’ (Is. 40:​3, n’obugambo obuli wansi) Obunnabbi obwo bwatuukirira butya? Yokaana Omubatiza yateekerateekera Yesu ekkubo, oyo eyajjira mu linnya lya Yakuwa era eyayogerera mu linnya lya Yakuwa. (Mat. 3:3; Mak. 1:​2-4; Luk. 3:​3-6) Obunnabbi obwo era bwagamba nti: “Ekitiibwa kya Yakuwa kijja kubikkulwa.” (Is. 40:5) Ekyo kyatuukirira kitya? Yesu bwe yajja ku nsi yakiikirira bulungi Yakuwa ne kiba nti Yakuwa kennyini ye yali ng’azze ku nsi.—Yok. 12:45.

13. Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

13 Okufaananako Yesu, tuli Bajulirwa ba Yakuwa. Tuyitibwa erinnya lya Yakuwa era tubuulira abalala ku bintu eby’ekitalo Yakuwa by’akoze. Naye ekyo okusobola okukikola obulungi, tulina n’okuyamba abantu okumanya ebyo Yesu by’akoze mu kutukuza erinnya lya Katonda. (Bik. 1:8) Yesu y’akyasingiddeyo ddala okuwa obujulizi ku Yakuwa, era tukoppa ekyokulabirako kye. (Kub. 1:5) Naye biki ebirala bye tusobola okukola okulaga nti erinnya lya Yakuwa kkulu gye tuli?

EBIRALA BYE TUKOLA OKULAGA NTI ERINNYA LYA YAKUWA KKULU GYE TULI

14. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 105:​3, tutwala tutya erinnya lya Yakuwa?

14 Twenyumiririza mu linnya lya Yakuwa. (Soma Zabbuli 105:3.) Yakuwa asanyuka nnyo bwe twenyumiririza mu linnya lye. (Yer. 9:​23, 24; 1 Kol. 1:31; 2 Kol. 10:17) Tugitwala nga nkizo okubuulira abalala nti Yakuwa mutukuvu era nti buli ky’akola kiba kituufu. Tetusaanidde kukwatibwa nsonyi kubuulira bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, baliraanwa baffe, n’abantu abalala nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa! Omulyolyomi ayagala tulekere awo okubuulira abalala ku linnya lya Yakuwa. (Yer. 11:21; Kub. 12:17) Mu butuufu, Sitaani ne bannabbi ab’obulimba b’akozesa baagala okuleetera abantu okwerabira erinnya lya Yakuwa. (Yer. 23:​26, 27) Naye olw’okuba twagala nnyo erinnya lya Yakuwa, tusanyuka “okuzibya obudde” olw’erinnya eryo.—Zab. 5:11; 89:16.

15. Biki ebizingirwa mu kukoowoola erinnya lya Yakuwa?

15 Tweyongera okukoowoola erinnya lya Yakuwa. (Yow. 2:32; Bar. 10:​13, 14) Okukoowoola erinnya lya Yakuwa kisingawo ku kumanya obumanya erinnya eryo n’okulikozesa. Kizingiramu okumumanya, okumwesiga, n’okumusaba atuyambe era atuwe obulagirizi. (Zab. 20:7; 99:6; 116:4; 145:18) Era kizingiramu okubuulira abalala erinnya lye n’engeri ze ennungi, ne tubakubiriza okukyusa obulamu bwabwe basobole okusiimibwa Yakuwa.—Is. 12:4; Bik. 2:​21, 38.

16. Tuyinza tutya okukiraga nti Sitaani mulimba?

16 Tuli beetegefu okubonaabona ku lw’erinnya lya Yakuwa. (Yak. 5:​10, 11) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga tubonaabona, tukiraga nti Sitaani mulimba. Mu kiseera kya Yobu, Sitaani yayogera bw’ati ku abo abaweereza Yakuwa: “Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.” (Yob. 2:4) Sitaani yagamba nti abantu bandibadde baweereza Yakuwa olwo lwokka nga tebalina bizibu, era nti bwe bandifunye ebizibu bandirekedde awo okuweereza Yakuwa. Yobu omusajja eyali omwesigwa yakiraga nti ekyo Sitaani kye yayogera kyali kya bulimba. Naffe tulina enkizo okukiraga nti ka bibe bizibu ki Sitaani by’atuleetera, tetusobola kulekera awo kuweereza Yakuwa. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutukuuma olw’erinnya lye.—Yok. 17:11.

17. Nga bwe kiragibwa mu 1 Peetero 2:​12, ngeri ki endala gye tuweesaamu erinnya lya Yakuwa ekitiibwa?

17 Tukola kyonna kye tusobola okuweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. (Nge. 30:9; Yer. 7:​8-11) Olw’okuba tumanyiddwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuyinza okuweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa oba okulivumisa. (Soma 1 Peetero 2:12.) N’olwekyo, twagala okukola kyonna kye tusobola okutendereza erinnya lya Yakuwa okuyitira mu ebyo bye twogera ne bye tukola. Bwe tukola bwe tutyo tuba tuweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa wadde nga tetutuukiridde.

18. Ngeri ki endala gye tuyinza okukiraga nti erinnya lya Yakuwa tulitwala nga kkulu? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

18 Erinnya lya Yakuwa tulitwala nga kkulu nnyo gye tuli okusinga engeri abalala gye batutwalamu. (Zab. 138:2) Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kubanga bwe tukola ebyo Yakuwa by’ayagala, abantu abamu bayinza obutakyagala era bayinza okutwogerako ebintu ebibi.a Yesu yali mwetegefu okufa mu ngeri ey’obuswavu ng’omumenyi w’amateeka okusobola okuweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. ‘Okuswala teyakutwala ng’ekikulu,’ mu ngeri nti teyassaayo birowoozo ku ngeri abalala gye baali bamutwalamu. (Beb. 12:​2-4) Ebirowoozo bye yali abimalidde ku kukola Yakuwa by’ayagala.—Mat. 26:39.

19. Erinnya lya Yakuwa olitwala otya, era lwaki?

19 Twenyumiririza mu linnya lya Yakuwa era tugitwala nga nkizo okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki tweyongera okutendereza erinnya lya Yakuwa ka kibe nti abalala batuvumirira. Erinnya lya Yakuwa kkulu nnyo gye tuli okusinga engeri abalala gye batutwalamu. N’olwekyo ka tube bamalirivu okweyongera okutendereza erinnya lya Yakuwa wadde nga Sitaani agezaako okutulemesa. Mu ngeri eyo tukiraga nti erinnya lya Yakuwa tulitwala nga kkulu nnyo gye tuli, nga Yesu bw’alitwala.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki ekiraga nti erinnya lya Yakuwa kkulu nnyo eri abagoberezi ba Yesu?

  • Okufaananako abantu abali mu kkooti, bujulizi ki bwe tulina okuwa?

  • Tuyinza tutya okukiraga nti erinnya lya Yakuwa kkulu nnyo gye tuli?

OLUYIMBA 10 Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!

a Yobu omusajja eyali omwesigwa naye yalowooza nnyo ku ngeri abalala gye baali bamutwalamu mikwano gye abasatu bwe baagamba nti alina ekibi kye yali akoze. Mu kusooka, Yobu bwe yafiirwa abaana be n’ebintu bye byonna, “teyayonoona wadde okunenya Katonda.” (Yob. 1:22; 2:10) Naye bwe baamulumiriza nti alina ebibi bye yakola, yayogera ebigambo “ebitaliimu nsa.” Yafaayo nnyo ku ngeri abalala gye baali bamutwalamu mu kifo ky’okutukuza erinnya lya Yakuwa.—Yob. 6:3; 13:​4, 5; 32:2; 34:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share