LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hdu ekitundu 15
  • Okuwuliriza oba Okulaba Olukuŋŋaana Olunene

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuwuliriza oba Okulaba Olukuŋŋaana Olunene
  • Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okukola Enteekateeka
  • Okulaga Okusiima
  • Nnakkiriza Yakuwa Okunkulembera mu Kkubo Lye Ntambuliramu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Ekiseera eky’Okuliisibwa mu by’Omwoyo n’Okusanyuka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Lindirira Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Ennaku Ssatu ez’Okuzzibwamu Amaanyi mu by’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
hdu ekitundu 15
Baganda baffe ne bannyinaffe bawuliriza olukuŋŋaana olunene oluweerezebwa ku leediyo.

ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU

Okuwuliriza oba Okulaba Olukuŋŋaana Olunene

AGUSITO 1, 2021

Olukuŋŋaana olunene olwa 2020 lwali lwa byafaayo, kubanga lwe lukuŋŋaana lwaffe olwasooka okukwatibwa ku vidiyo era nga lusobola n’okuwanulwa ku Intaneeti! Naye mu Malawi ne mu Mozambique, abooluganda bangi olukuŋŋaana tebaalufuna kuyitira ku Intaneeti. Ekyo kyasoboka kitya?

Abali ku Kakiiko k’Abo Abakwanaganya ne ku Kakiiko Akayigiriza baasalawo nti abooluganda mu Malawi ne mu Mozambique bafunire olukuŋŋaana olwo olunene ku ttivi ne leediyo. Lwaki baasalawo bwe batyo? Malawi y’emu ku nsi ezirina ebisale bya Intaneeti ebya waggulu ennyo, era Abajulirwa batono nnyo abasobola okugikozesa. William Chumbi, ali ku Kakiiko k’Ettabi lya Malawi agamba nti, “Leediyo ne ttivi bye byokka bye twali tusobola okukozesa okutuusa emmere ey’eby’omwoyo ku booluganda.” Luka Sibeko, nga naye ali ku Kakiiko k’Ettabi lya Malawi agattako nti: “Singa twali tetukozesezza ttivi ne leediyo, abooluganda batono nnyo mu kitundu ky’ettabi lyaffe abandisobodde okuganyulwa mu lukuŋŋaana olunene.” Ne mu Mozambique, abooluganda batono nnyo abasobola okugula essimu oba kompyuta ez’okukozesa okulaba olukuŋŋaana. Era bangi tebandisobodde kugula data wa Intaneeti.

Okukola Enteekateeka

Olw’ekirwadde kya COVID-19, ttivi ne leediyo ezimu zaali zaatandika dda okuweereza enkuŋŋaana z’ekibiina.a Baganda baffe baatuukirira abaddukanya ttivi ne leediyo ezo ne babasaba okubongera ku budde basobole n’okuweereza olukuŋŋaana olunene.

Mu Malawi, abooluganda baafuna okusoomooza. Ttivi ne leediyo zitera okuwa bakasitoma obudde bwa ssaawa emu yokka. Abaziddukanya balowooza nti abantu tebasobola kunyumirwa programu emala ekiseera ekiwanvu. Naye abooluganda baabannyonnyola nti omulimu gwaffe guganyula abantu b’omu kitundu. Ne mu kiseera ky’omuggalo tubuulira abantu amawulire amalungi agabudaabuda okuva mu Bayibuli, ekiyamba abantu okubeera abatuuze abalungi era n’okuba n’obulamu bw’amaka obulungi. Bwe baawulira ebyo abaddukanya ttivi ne leediyo bakkiriza okusaba kw’abooluganda.

Mu Malawi, olukuŋŋaana olunene lwaweerezebwa ku ttivi emu ne leediyo emu nga zombi zituuka mu buli kitundu ky’eggwanga eryo, era nga zisobola okuwulirwa oba okulabibwa abantu bangi nnyo. Mu Mozambique, olukuŋŋaana olunene lwaweerezebwa ku ttivi emu ne ku mikutu gya leediyo 85.

Mu nsi zombi, doola 28,227b ze zaasasulwa okusobola okuweerereza olukuŋŋaana olunene ku ttivi, ate kumpi doola 20,000 ze zaakozesebwa okuluweereza ku leediyo. Emikutu gya leediyo emitono gyasabanga doola 15 ate egyo egisobola okutuuka mu buli kitundu ky’eggwanga gyasabanga doola 2,777.

Baganda baffe baafuba okukozesa obulungi ssente eziweebwayo. Ng’ekyokulabirako, mu Malawi, baasaba abaddukanya leediyo ne ttivi okubakendeereza ku miwendo, bwe kityo ne babasalirako ebitundu asatu ku buli kikumi ku bisale. Ekyo kyabasobozesa okufissaawo doola 1,711. Mu Mozambique, ttivi ne leediyo ezimu zaatusalirako ku bisale olw’okuba baali bakimanyi nti tuli beesigwa era nti tusasulira mu budde.

Okulaga Okusiima

Baganda baffe baasiima nnyo enteekateeka eyo ey’okufunira olukuŋŋaana olunene ku ttivi ne ku leediyo ez’omu kitundu kyabwe. Omukadde omu ow’e Malawi ayitibwa Patrick agamba nti: “Twebaza nnyo abooluganda ku Kakiiko Akafuzi olw’okutufaako ennyo bwe batyo mu kiseera ky’ekirwadde.” Isaac, nga naye w’e Malawi agamba nti: “Tetulina masimu oba kompyuta, n’olwekyo twasiima nnyo enteekateeka eyo eyakolebwa ekibiina kya Yakuwa ne tusobola okufunira olukuŋŋaana olunene ku leediyo. Ekyo kyasobozesa ab’omu maka gange bonna okuganyulwa mu lukuŋŋaana olunene. Obwo bwali bukakafu obulaga nti Yakuwa ayagala nnyo abantu be.”

Omubuulizi omu mu Mozambique, olukuŋŋaana olunene olwa 2020 lwe yasooka okubaako era agamba nti: “Enteekateeka eno ey’okulabira olukuŋŋaana olunene ku ttivi, enzijukiza nti Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Ekirwadde tekyamulemesa kutuwa mmere ey’eby’omwoyo oba okugintuusaako wano mu ddiiro lyange. Nnalaba okwagala abantu ba Yakuwa kwe balina. Ndi mukakafu nti eno ye ddiini ey’amazima.”

Omukadde omu ayitibwa Wyson agamba nti: “Njagala okwebaza omuddu omwesigwa olw’engeri gy’atulabiriddemu mu kiseera kino eky’ekirwadde. Bangi ku ffe abakaluubirizibwa mu byenfuna mu ggwanga lyaffe, tuganyuddwa nnyo mu nteekateeka eno ey’okufunira olukuŋŋaana olunene ku ttivi ne ku leediyo.”

Abali ku Kakiiko k’Abo Abakwanaganya ne ku Kakiiko Akayigiriza baasalawo nti n’olukuŋŋaana olunene olwa 2021, luweerezebwe okuyitira ku ttivi ne leediyo mu bifo ebimu. Tuggya wa ssente ze tusasula okuweereza olukuŋŋaana olunene mu ngeri eyo? Tuziggya ku ezo eziweebwayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, nga nnyingi ku zo ziweebwayo okuyitira mu zimu ku ngeri ez’okuwaayo eziri ku donate.jw.org. Mwebale nnyo olw’omwoyo gwammwe omugabi.

a Emabegako mu 2020, Akakiiko k’abo Abakwanaganya kakkiriza okuweereza enkuŋŋaana z’ekibiina ku ttivi ne ku leediyo mu bifo ebimu mu kiseera ky’ekirwadde kya Covid-19. Enteekateeka eno eyambye abo abatasobola kweyunga ku nkuŋŋaana z’ekibiina oba okuziraba ku JW Stream, oboolyawo olw’obutaba na Intaneeti nnungi oba neetiwaaka y’amasimu mu kitundu kyabwe, oba ng’okukozesa ebintu ebyo kya buseere nnyo. Kyokka enteekateeka eno tesaanidde kukozesebwa abo abaalina obusobozi bw’okweyunga ku nkuŋŋaana z’ekibiina kyabwe.

b Emiwendo gya doola gyonna mu kitundu kino gya doola ya Amerika.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share