LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/11 lup. 4-7
  • Ennaku Ssatu ez’Okuzzibwamu Amaanyi mu by’Omwoyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennaku Ssatu ez’Okuzzibwamu Amaanyi mu by’Omwoyo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana Zaffe eza Disitulikiti, Ziwa Obujulirwa obw’Amaanyi ku Mazima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Empisa Eziweesa Katonda Ekitiibwa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • “Mubeerenga n’Empisa Ennungi mu b’Amawanga”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Enkuŋŋaana za Disitulikiti—Ekiseera eky’Okusinza okw’Essanyu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 6/11 lup. 4-7

Ennaku Ssatu ez’Okuzzibwamu Amaanyi mu by’Omwoyo

1. Tunaaganyulwa tutya mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka guno?

1 Mu nsi ya Sitaani eno erumwa ennyonta mu by’omwoyo, Yakuwa akyeyongera okulabirira abaweereza be. (Is. 58:11) Emu ku nteekateeka Yakuwa z’akozesa okutuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo lwe lukuŋŋaana lwa disitulikiti olubaawo buli mwaka. Ng’olukuŋŋaana lw’omwaka guno lugenda lusembera, tuyinza kweteekateeka tutya okusobola okuzzibwamu amaanyi n’okuzzaamu abalala amaanyi mu by’omwoyo?—Nge. 21:5.

2. Nteekateeka ki ze twetaaga okukola?

2 Bw’oba nga tonnaba kweteekateeka, tandikirawo kati era lowooza ne ku nkyukakyuka z’oyinza okukola ku mulimu gwo osobole okubeerawo ku nnaku zonna essatu ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti. Omaze okubalirira ebiseera by’onookozesa buli lunaku osobole okutuuka mu kifo awanaabeera olukuŋŋaana olwo era ofune aw’okutuula nga programu tennatandika? Tetwandyagadde kusubwa kintu kyonna ku kijjulo eky’eby’omwoyo ekizzaamu amaanyi Yakuwa ky’atuteekeddeteekedde! (Is. 65:13, 14) Omaze okukola enteekateeka ezikwata ku by’ensula n’eby’entambula?

3. Magezi ki agatuweereddwa aganaatuyamba awamu n’ab’omu maka gaffe okuganyulwa mu lukuŋŋaana?

3 Kiki ekinaakuyamba obutawugulibwa ng’oli mu lukuŋŋaana? Bwe kiba kisoboka, weebake ekimala buli kiro mu biseera by’olukuŋŋaana. Tunuulira omwogezi. Goberera mu Bayibuli yo ng’ebyawandiikibwa bisomebwa. Baako ne by’owandiika. Kiba kirungi ab’omu maka okutuula awamu kisobozese abazadde okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo. (Nge. 29:15) Oboolyawo buli kawungeezi musobola okukubaganya ebirowoozo ng’amaka ku nsonga enkulu ezibadde mu lukuŋŋaana. Amaka gammwe okusobola okwongera okuzzibwamu amaanyi ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti luwedde, muyinza okukozesa ebimu ku biseera by’Okusinza kw’Amaka okw’akawungeezi okukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu ezikwata ku maka gammwe.

4. Tuyinza tutya okuyamba abalala mu kibiina kyaffe nabo basobole okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo?

4 Yamba Abalala Okuzzibwamu Amaanyi: Twagala abalala nabo bazzibwemu amaanyi mu by’omwoyo. Waliwo ababuulizi abakaddiye oba abalala mu kibiina abeetaaga obuyambi basobole okubaawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti? Waliwo engeri yonna gy’osobola okubayambamu? (1 Yok. 3:17, 18) Abakadde, naddala abalabirizi b’ebibinja, basaanidde okulaba nti ababuulizi ng’abo bafuna obuyambi bwe beetaaga.

5. Tunaagaba tutya obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti? (Laba n’akasanduuko ku lupapula 5.)

5 Nga bwe tuzze tukola, wiiki essatu ezisooka ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti terunnabaawo, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu. Ebibiina bisaanidde okweteerawo ekiruubirirwa eky’okugaba obupapula bwonna obuyita abantu era n’okufuba okumalako ebitundu bye bibuuliramu. Kyokka, singa amaka gammwe gaba gasigazza obumu ku bupapula ku nkomerero ya kaweefube, musabibwa okujja nabwo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Bujja kukozesebwa okuyita abo be tubuulira embagirawo nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana. Obupapula obuyita abantu, ab’omu maka gammwe bwe banaaba basigazzaawo naye nga tebasuubira kubukozesa mu kitundu omunaabeera olukuŋŋaana, basaanidde okubuwa abaaniriza abagenyi ku Lwokutaano nga baakatuuka mu kifo awanaabeera olukuŋŋaana. Engeri gye tunaakozesaamu obupapula obwo ejja kututegeezebwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.

6. Tuyinza tutya okwoleka empisa ennungi okusobola okuzzaamu abalala amaanyi?

6 Empisa Ennungi Zizzaamu Abalala Amaanyi: Wadde nga ekiseera kye tulimu abantu abasiga obungi “beeyagala bokka” era nga tebafaayo ku nneewulira z’abalala, nga kizzaamu nnyo amaanyi okubeera awamu ne Bakristaayo bannaffe abafuba okwoleka empisa ennungi! (2 Tim. 3:2) Twoleka empisa ennungi nga tuba bakkakkamu era nga tetusindikagana bwe tuba tuyingira ekizimbe omunaabeera olukuŋŋaana bwe kiggulwawo ku ssaawa 2:00 ez’oku makya era nga tukwatira ebifo abo bokka be tutambudde nabo, ab’omu maka gaffe, oba abayizi baffe aba Bayibuli. Tugoberera obulagirizi bwa ssentebe w’olukuŋŋaana bw’atusaba okutuula mu bifo byaffe tuwulirize obuyimba obuggulawo programu. Twoleka nti tuli ba mpisa nnungi nga tetuleka ssimu zaffe kuwugula balala nga programu egenda mu maaso. Ate era twoleka empisa ennungi nga twewala okwogerayogera, okusindika obubaka ku ssimu, okulya, oba okutambulatambula ekiteetaagisa nga programu egenda mu maaso.

7. Tuyinza tutya okuzzibwamu n’okuzzaamu abalala amaanyi nga tuli wamu n’ab’oluganda?

7 Okubeerako Awamu Kituzzaamu Amaanyi: Enkuŋŋaana za disitulikiti zituwa akakisa ak’okubeerako awamu n’ab’oluganda ab’enjawulo era n’okunyweza obumu bwaffe obw’Ekikristaayo ekintu ekituzzaamu ennyo amaanyi. (Zab. 133:1-3) Lwaki tofuba kutuukirira baganda baffe ne bannyinaffe okuva mu bibiina ebirala osobole ‘okugaziwa’ mu kwagala? (2 Kol. 6:13) Oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okumanya waakiri omuntu omu omupya oba ab’omu maka amalala buli lunaku. Ekiseera eky’okuwummulamu kituwa akakisa okukola ekyo. N’olwekyo, leeta eky’okulya ekitonotono kikusobozese okulya nga bw’onyumyako n’abalala mu kifo ky’okugenda okuliira mu kifo awatundirwa emmere. Kino kiyinza okukusobozesa okufuna emikwano emipya.

8. Lwaki twandikoze nga bannakyewa ku lukuŋŋaana olunene era ekyo tuyinza kukikola tutya?

8 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tukolera awamu ne basinza bannaffe mu buweereza obutukuvu! Oyinza okukola nga nnakyewa oba okuyamba ekibiina kyo nga kiweereddwa omulimu gw’okulongoosa? (Zab. 110:3) Bw’oba tonnafuna kintu kyonna kya kukola, oyinza okutuukirira Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa. Bwe tukolera awamu, kituleetera essanyu era kifuula omulimu okuba omwangu.

9. Lwaki tusaanidde okufaayo ennyo ku nneeyisa ne ku ndabika yaffe nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana?

9 Abatulaba Bakwatibwako olw’Empisa Zaffe Ennungi: Tusaanidde okweyisa obulungi si mu kiseera ekyo kyokka nga programu egenda mu maaso wabula ne mu biseera ebirala mu nnaku zonna essatu. Abo abatulaba mu kitundu omuli olukuŋŋaana, basaanidde okulaba enjawulo wakati waffe n’abatali Bajulirwa ba Yakuwa. (1 Peet. 2:12) Ennyambala yaffe n’engeri gye twekolako nga tuli ku lukuŋŋaana, we tusula, ne mu bifo awatundirwa emmere bisaanidde okuweesa Yakuwa ekitiibwa. (1 Tim. 2:9, 10) Okwambala bu bbaagi bwaffe kijja kusobozesa abatulaba okumanya nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa oboolyawo tufune akakisa okubabuulira ebikwata ku lukuŋŋaana lwaffe n’okubawa obujulirwa.

10. Twandyeyisizza tutya ne kiba nti abakozi ba wooteeri ne mu bifo ebirala awatundirwa emmere baba n’endowooza ennuŋŋamu ku lukuŋŋaana lwaffe olwa disitulikiti?

10 Enneeyisa yaffe ennungi eyinza etya okukwata ku bakozi b’omu wooteeri n’ab’omu bifo ebirala awatundirwa emmere? Tetusaanidde kusaba bisenge bissuka mu ebyo bye tunaakozesa, okuva bwe kiri nti ekyo kiremesa abalala abazze mu lukuŋŋaana okufuna ebisenge bye beetaaga era kifiiriza bannannyini wooteeri. Singa aba wooteeri baba n’eby’okukola bingi mu kiseera we tuba tubeetaagira, tusaanidde okwoleka obugumiikiriza n’ekisa. (Bak. 4:6) Ng’empisa bw’eri, tusaanidde okuwa akasiimo abakozi abatuweereza mu bifo awatundirwa emmere n’ab’omu wooteeri abatusitulirako ensawo, abalongoosa we tusula n’emirimu emirala.

11. Byakulabirako ki ebiraga nti bwe tweyisa obulungi kiwa obujulirwa?

11 Abalala bakwatibwako batya bwe tweyisa obulungi mu kiseera ky’olukuŋŋaana? Okusinziira ku lupapula lw’amawulire olumu, maneja w’ekifo ekimu ekyakozesebwa mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti yagamba nti: “Abantu abo balina empisa ennungi. Kitusanyusa nnyo okuba nabo mu kifo kino buli mwaka.” Omwaka oguwedde, omusajja omu atali Mujulirwa yasuula akasawo ke omuterekebwa ssente n’ebintu eby’omugaso mu wooteeri abaali bazze mu lukuŋŋaana mwe baasula. Akasawo bwe kaalondebwa ne katwalibwa eri maneja n’ebyalimu byonna, maneja yagamba nnyiniko nti: “Ekikuyambye kwe kuba nti Abajulirwa ba Yakuwa baabadde n’olukuŋŋaana lwabwe kumpi wano, era abaasuze mu wooteeri eno baabadde bangi nnyo. Singa tekibadde bwe kityo, oboolyawo akasawo ko tekaandikomezeddwawo.”

12. Ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti lugenda lusembera, kiruubirirwa ki kye tulina okuba nakyo, era lwaki?

12 Tunaatera okuba n’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka guno. Kitutte ebiseera bingi n’amaanyi mangi okuteekateeka programu n’ebirala ebinaatuzzaamu amaanyi mu lukuŋŋaana olwo. Kifuule kiruubirirwa kyo okubeerawo ennaku zonna essatu, era weeteekereteekere bulungi ebyo Yakuwa awamu n’ekibiina kye bye bakutegekedde. Beera mumalirivu okuzzaamu abalala amaanyi nga weeyisa bulungi era ng’onyumyako nabo. Bw’onookola bw’otyo, ggwe awamu n’abalala mujja kuwulira ng’omu ku abo abaali mu lukuŋŋaana lw’omwaka oguwedde eyawandiika ng’agamba nti, “Siyinza kwerabira lukuŋŋaana luno olunzizizzaamu ennyo amaanyi!”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]

Nga bwe tuzze tukola, wiiki essatu ezisooka ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti terunnabaawo, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Tunaagaba Tutya Obupapula Obuyita Abantu?

Okusobola okumalako ekitundu kye tubuuliramu, tetusaanidde kulandagga. Tuyinza okugamba nti: “Nkulamusizza nnyo ssebo [oba nnyabo.] Tuli mu kaweefube akolebwa okwetooloola ensi yonna ow’okugaba obupapula buno. Kano ke kako. Bw’onookasoma ojja kumanya ebisingawo.” Ebifaananyi n’ebigambo ebisooka ku kapapula bireetera omuntu okwagala okumanya ebisingawo, n’olwekyo bw’oba okawa nnyinimu kakasa nti abiraba bulungi. Yogera n’ebbugumu. Obupapula buno bw’oba obugaba ku wiikendi, oyinza n’okugabirako magazini.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]

Ennyambala yaffe n’engeri gye twekolako nga tuli ku lukuŋŋaana, we tusula, ne mu bifo awatundirwa emmere bisaanidde okuweesa Yakuwa ekitiibwa

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]

Beera mumalirivu okuzzaamu abalala amaanyi nga weeyisa bulungi era ng’onyumyako nabo

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Okujjukizibwa Okukwata Ku Lukuŋŋaana Lwa Disitulikiti Olwa 2011

◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Abantu bayinza okutandika okutuuka awanaaba olukuŋŋaana ku ssaawa 2:00 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe kisobozese olukuŋŋaana okutandika mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 9:40 ez’olweggulo.

◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako. Abo abalina obulemu bayinza okufiibwako mu ngeri ey’enjawulo.

◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka be watambudde nabo, ab’omu maka go, oba abayizi bo aba Bayibuli b’oyinza okukwatira ebifo.—1 Kol. 13:5.

◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu kifo awali olukuŋŋaana.

◼ Okuwaayo: Bwe tuba mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu nkuŋŋaana ennene, tusobola okulaga okusiima kwaffe eri enteekateeka z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.

◼ Obubenje n’Ebizibu Ebigwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde obw’amangu ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako kisobozese omulwadde okufuna obuyambi. Bwe kiba kyetaagisa, ekitongole ekyo kijja kusalawo eky’okukola mu mbeera ng’eyo.

◼ Eddagala: Bwe kiba nti olina eddagala ly’okozesa, osabibwa okujja n’eddagala erimala okuva bwe kiri nti tetujja kuba na ddagala eryo ku lukuŋŋaana.

◼ Engatto ez’Okwambala: Buli mwaka abantu bafuna ebisago bingi ebiva ku ngatto ze baba bambadde. Mu kifo ky’okwambala engatto ez’ekisaazisaazi oba ezo ezitwalibwa ng’eziri ku mulembe, kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi ezinaatusobozesa okutambula obulungi ku madaala oba awalala wonna.

◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera munda mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.

◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwamu bwe wabaawo omuntu yenna abuuliddwa embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Foomu ezijjuziddwamu osobola okuziwaayo eri Ekitongole Ekikola ku Bitabo oba okuziwa omuwandiisi w’ekibiina kyo ng’ozzeeyo.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2009, lup. 4.

◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Mu bitundu bingi, kiba kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo bye baba bakukoledde.

◼ Wooteeri:

(1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa.

(2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako.—Mat. 5:37.

(3) Tofumbira mu bisenge bwe kiba nga tekikkirizibwa.

(4) Oyo akusituliddeko ku migugu n’oyo ayonja ekisenge mw’osula balekerewo akasiimo.

(5) Tosaanidde kudiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa okukozesa ku ky’enkya.

(6) Fuba okwoleka ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo ng’okolagana n’abo abakola mu wooteeri. Bakola ku bagenyi bangi era basiima bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.

(7) Singa ofuna ekizibu mu kisenge kya wooteeri ekiba kikuweereddwa, kakasa nti otegeeza Ekitongole Ekikola ku by’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.

◼ Okuweereza nga Bannakyewa: Essanyu lye tufuna nga tuli mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti lijja kweyongera singa tuweereza nga bannakyewa. (Bik. 20:35) Oyo yenna eyandyagadde okuweereza nga nnakyewa asobola okutegeeza Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa ku lukuŋŋaana. Abaana abali wansi w’emyaka 16 basobola okuyambako nga bakolera ku bulagirizi bwa bazadde baabwe oba abo ababa bazze nabo mu lukuŋŋaana.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share