Ssande, Jjulaayi 27
Beera ng’osobola okuzzaamu abalala amaanyi n’okubanenya.—Tit. 1:9.
Okusobola okufuuka omusajja omukulu mu by’omwoyo, kijja kukwetaagisa okubaako ebintu by’okugukamu. Ebintu ebyo bijja kukuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa mu kibiina, okukola omulimu ogunaakuyamba okweyimirizaawo oba okulabirira ab’omu maka, n’okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Ng’ekyokulabirako, yiga okusoma n’okuwandiika obulungi. Bayibuli egamba nti omuntu omusanyufu era atuuka ku buwanguzi asoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era n’akifumiitirizaako. (Zab. 1:1-3) Okusoma Bayibuli buli lunaku kimuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa, era ekyo kimusobozesa okulowooza obulungi n’okuyiga okukolera ku Byawandiikibwa. (Nge. 1:3, 4) Ab’oluganda ne bannyinaffe beetaaga obuyambi bw’abasajja abasobola okubawa amagezi okuva mu Byawandiikibwa. Bw’oba osobola okusoma n’okuwandiika obulungi oba osobola okutegeka emboozi n’eby’okuddamu ebizimba era ebinyweza okukkiriza kw’abalala. Oba osobola n’okubaako by’owandiika ebitegeerekeka obulungi. Ebyo by’owandiika byongera okunyweza okukkiriza kwo, era osobola n’okubikozesa okuzzaamu abalala amaanyi. w23.12 26-27 ¶9-11
Bbalaza, Jjulaayi 28
Oyo ali ku ludda lwammwe asinga oyo ali ku ludda lw’ensi.—1 Yok. 4:4.
Bw’owulira ng’otidde, fumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso nga Sitaani aggiddwawo. Ekyokulabirako ekimu ekyali mu lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2014 kyalaga nga taata akubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka ge ku ngeri ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 3:1-5 gye byandibadde singa byali byogera ku nsi empya. Byandigambye bwe biti: “Mu nsi empya ebiseera biriba bya ssanyu nnyo. Kubanga abantu baliba baagalana, nga baagala nnyo ebintu eby’omwoyo, nga beetoowaze, nga batendereza Katonda, nga bagondera bazadde baabwe, nga beebaza, nga beesigwa, nga baagala ab’eŋŋanda zaabwe, nga bakkaanya, nga bulijjo boogera bulungi ku balala, nga beefuga, nga bakkakkamu, nga baagala ebintu ebirungi, nga beesigika, nga si bakakanyavu, nga tebeetwala nti ba kitalo, nga baagala Katonda mu kifo ky’okwagala eby’amasanyu, nga bye bakola biraga nti beemalidde ku Katonda, era bano banywererengako.” Oluusi okubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka go oba ne bakkiriza banno ku ngeri obulamu gye bulibaamu mu nsi empya? w24.01 6 ¶13-14
Lwakubiri, Jjulaayi 29
Nkusanyukira.—Luk. 3:22.
Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asiima abantu be ng’ekibiina! Bayibuli egamba nti: “Yakuwa asanyukira abantu be.” (Zab. 149:4) Kyokka ebiseera ebimu abamu baggwaamu nnyo amaanyi ne batuuka n’okwebuuza nti, ‘Ddala nsiimibwa mu maaso ga Yakuwa?’ Bayibuli eyogera ku baweereza ba Yakuwa bangi ebiseera ebimu abaakisanga nga kizibu okukkiriza nti baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (1 Sam. 1:6-10; Yob. 29:2, 4; Zab. 51:11) Bayibuli ekyoleka bulungi nti wadde ng’abantu tebatuukiridde, basobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu ngeri ki? Tulina okukkiririza mu Yesu Kristo era ne tubatizibwa. (Yok. 3:16) Bwe tukola bwe tutyo tuba tukyoleka mu lujjudde nti twenenya ebibi byaffe era nti twasuubiza Katonda nti tujja kukolanga by’ayagala. (Bik. 2:38; 3:19) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola ebintu ebyo okusobola okuba mikwano gye. Bwe tufuba okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa, Yakuwa atusiima era atutwala nga mikwano gye.—Zab. 25:14. w24.03 26 ¶1-2