LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Leero

Bbalaza, Jjulaayi 28

Oyo ali ku ludda lwammwe asinga oyo ali ku ludda lw’ensi.—1 Yok. 4:4.

Bw’owulira ng’otidde, fumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso nga Sitaani aggiddwawo. Ekyokulabirako ekimu ekyali mu lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2014 kyalaga nga taata akubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka ge ku ngeri ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 3:​1-5 gye byandibadde singa byali byogera ku nsi empya. Byandigambye bwe biti: “Mu nsi empya ebiseera biriba bya ssanyu nnyo. Kubanga abantu baliba baagalana, nga baagala nnyo ebintu eby’omwoyo, nga beetoowaze, nga batendereza Katonda, nga bagondera bazadde baabwe, nga beebaza, nga beesigwa, nga baagala ab’eŋŋanda zaabwe, nga bakkaanya, nga bulijjo boogera bulungi ku balala, nga beefuga, nga bakkakkamu, nga baagala ebintu ebirungi, nga beesigika, nga si bakakanyavu, nga tebeetwala nti ba kitalo, nga baagala Katonda mu kifo ky’okwagala eby’amasanyu, nga bye bakola biraga nti beemalidde ku Katonda, era bano banywererengako.” Oluusi okubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka go oba ne bakkiriza banno ku ngeri obulamu gye bulibaamu mu nsi empya? w24.01 6 ¶13-14

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakubiri, Jjulaayi 29

Nkusanyukira.—Luk. 3:22.

Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asiima abantu be ng’ekibiina! Bayibuli egamba nti: “Yakuwa asanyukira abantu be.” (Zab. 149:4) Kyokka ebiseera ebimu abamu baggwaamu nnyo amaanyi ne batuuka n’okwebuuza nti, ‘Ddala nsiimibwa mu maaso ga Yakuwa?’ Bayibuli eyogera ku baweereza ba Yakuwa bangi ebiseera ebimu abaakisanga nga kizibu okukkiriza nti baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (1 Sam. 1:​6-10; Yob. 29:​2, 4; Zab. 51:11) Bayibuli ekyoleka bulungi nti wadde ng’abantu tebatuukiridde, basobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu ngeri ki? Tulina okukkiririza mu Yesu Kristo era ne tubatizibwa. (Yok. 3:16) Bwe tukola bwe tutyo tuba tukyoleka mu lujjudde nti twenenya ebibi byaffe era nti twasuubiza Katonda nti tujja kukolanga by’ayagala. (Bik. 2:38; 3:19) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola ebintu ebyo okusobola okuba mikwano gye. Bwe tufuba okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa, Yakuwa atusiima era atutwala nga mikwano gye.—Zab. 25:14. w24.03 26 ¶1-2

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakusatu, Jjulaayi 30

Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.—Bik. 4:20.

Tusaanidde okukoppa abatume nga tweyongera okubuulira ab’obuyinza ne bwe batugamba okulekera awo okubuulira. Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe. N’olwekyo, saba Yakuwa akuwe obuvumu n’amagezi era akuyambe okugumira ebizibu. Bangi ku ffe twolekagana n’ebizibu gamba ng’obulwadde, okufiirwa omuntu waffe, embeera y’omu maka enzibu, okuyigganyizibwa, n’ebizibu ebirala. Ate ebintu gamba ng’ebirwadde eby’amaanyi ebibaluseewo, n’entalo, bikifudde kizibu nnyo okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Bw’oba ng’oyolekagana n’ebizibu, weeyabize Yakuwa. Mutegeeze embeera gy’oyitamu nga bwe wandibadde otegeeza mukwano gwo ow’oku lusegere. Mwesige nti “ajja kukuyamba.” (Zab. 37:​3, 5) Bwe tunyiikirira okusaba, kijja kutuyamba ‘okugumiikiriza nga tubonaabona.’ (Bar. 12:12) Yakuwa amanyi ebyo abaweereza be bye bayitamu, era “awulira okuwanjaga kwabwe.”—Zab. 145:​18, 19. w23.05 5-6 ¶12-15

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share