Okuweebwa Ekitiibwa—Kisoboka eri Bonna
“Tuteekwa okuzza obuggya ensi—ebeere nnungi nnyo —ng’abantu bonna abagirimu bassibwamu ekitiibwa.”—EBIGAMBO EBYO BYAYOGERWA PULEZIDENTI WA AMERIKA AYITIBWA HARRY TRUMAN, OW’OMU SAN FRANCISCO, EKYA CALIFORNIA, NGA APULI 25, 1945.
OKUFAANANAKO abantu bangi abaaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo II, Pulezidenti Truman yakkiriza nti omuntu asobola okuyigira ku byayita n’ateekawo “ensi empya” ng’abantu bonna abagirimu baweebwa ekitiibwa. Eky’ennaku, ebiriwo leero biraga nti ekyo si bwe kiri. “Ekitiibwa ky’omuntu” kyeyongera okutyoboolebwa kubanga omuntu si ye nsibuko y’ekizibu ekyo, wabula ye mulabe w’omuntu lukulwe.
Ensibuko y’Ekizibu
Omulabe ono Baibuli emuyita Setaani Omulyolyomi, ekitonde ky’omwoyo ekibi, era ekiwakanyizza obufuzi bwa Katonda okuviira ddala ku ntandikwa y’omuntu. Okuva Setaani lwe yayogera ne Kaawa mu lusuku Adeni, ekiruubirirwa kye kibadde okulemesa abantu okuweereza Omutonzi waabwe. (Olubereberye 3:1-5) Lowooza ku bintu ebibi ebyavaamu, Adamu ne Kaawa bwe baawuliriza ebyo Omulyolyomi bye yabagamba! Ekyaliwo amangu ddala nga bakajeemera etteeka lya Katonda erikwata ku kibala ekyagaanibwa, kyali nti bombi “beekweka mu maaso ga Mukama Katonda.” Lwaki? Adamu yagamba: ‘Ntidde kubanga mbadde bwereere ne nneekweka.’ (Olubereberye 3:8-10) Enkolagana Adamu gye yalina ne Kitaawe ow’omu ggulu n’engeri gye yali yeetunuuliramu byali bikyuse. Yawulira obuswavu bwa maanyi mu maaso ga Katonda.
Lwaki Omulyolyomi yayagala ekitiibwa kya Adamu kiggweewo? Kubanga omuntu yakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, era nga Setaani yayagala omuntu yeeyise mu ngeri etayoleka kitiibwa kya Katonda. (Olubereberye 1:27; Abaruumi 3:23) Kino kituyamba okutegeera ensonga lwaki mu byafaayo by’omuntu mubaddemu ebikolwa ebityoboola ekitiibwa ky’omuntu. Nga “katonda ow’emirembe gino,” Setaani atumbudde omwoyo guno ‘mu kiseera kino ng’omuntu afuga munne okumulumya.’ (2 Abakkolinso 4:4; Omubuulizi 8:9; 1 Yokaana 5:19) Kino kitegeeza nti tekisoboka omuntu okuweebwa kitiibwa?
Yakuwa Awa Ebitonde Bye Ekitiibwa
Lowooza nate ku mbeera eyali mu lusuku Adeni nga Adamu ne Kaawa tebannayonoona. Baalina emmere nnyingi, omulimu ogumatiza, n’essuubi ery’okubeera n’obulamu obulungi era obutaggwaawo bo bennyini era n’ezzadde lyabwe. (Olubereberye 1:28) Byonna bye yabakolera byalaga nti yali ayagala abantu era ng’abawa ekitiibwa.
Endowooza Yakuwa gye yalina ku kitiibwa ky’omuntu yakyuka Adamu ne Kaawa bwe baayonoona? Nedda. Yakwatibwako bwe yalaba nga baswadde olw’okubeera obwereere. Katonda yabakolera “ebyambalo eby’amaliba” mu kifo ky’ebikoola bye baali bambadde. (Olubereberye 3:7, 21) Mu kifo ky’okubaleka okuswala, Katonda yabayisa mu ngeri eraga nti abassaamu ekitiibwa.
Oluvannyuma, bwe yali akolagana n’eggwanga lya Isiraeri, Yakuwa yalaga ekisa bamulekwa, bannamwandu ne bannaggwanga—abantu abatatera kussibwamu kitiibwa. (Zabbuli 72:13) Ng’ekyokulabirako, bwe baakungulanga ebirime eby’ensigo, emizayituuni n’ezabbibu, Abaisiraeri bagambibwa obutaddayo kunona ebifikkiridde. Wabula, Katonda yalagira nti ebifikkiridde ‘byandibadde bya munnaggwanga, atalina kitaawe ne nnamwandu.’ (Ekyamateeka 24:19-21) Amateeka gano bwe gaakwatibwanga kyali tekyetaagisa kusabiriza era gaasobozesa n’abaavu ennyo okubeera n’emirimu egy’ekitiibwa.
Yesu Yawa Abalala Ekitiibwa
Bwe yali ku nsi, Yesu Kristo, Omwana wa Katonda yawa abalala ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali mu Ggaliraaya, yatuukirirwa omusajja eyalina ebigenge ebingi. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, okusobola okwewala okusiiga abalala obulwadde obwo, kyali kyetaagisa omugenge okwogerera waggulu nti: “Siri mulongoofu, siri mulongoofu!” (Eby’Abaleevi 13:45) Kyokka, omusajja ono, teyakola bw’atyo ng’anaatera okutuuka awali Yesu. Wabula yafukamira ne yeegayirira Yesu ng’agamba nti: “Mukama wange, bw’oyagala, oyinza okunnongoosa.” (Lukka 5:12) Yesu yakola ki? Yesu teyavunaana musajja oyo olw’okumenya Amateeka era teyamwewala. Wabula, yassa ekitiibwa mu mugenge oyo ng’amukwatako era n’agamba: “Njagala, longooka.”—Lukka 5:13.
Emirundi emirala Yesu yalaga nti asobola okuwonya omuntu wadde nga tamukutteko—oluusi omulwadde ne bwe yaba ng’ali wala. Kyokka ku luno, yasalawo okukwata ku musajja omugenge. (Matayo 15:21-28; Makko 10:51, 52; Lukka 7: 1-10) Olw’okuba omusajja oyo yali ‘ajjudde ebigenge,’ awatali kubuusabuusa yali amaze emyaka mingi nga tewali amukwatako. Nga kiteekwa okuba nga kyamuzzaamu nnyo amaanyi okuddamu okwatibwako omuntu omulala! Talina kirala kye yali asuubira wabula okuwonyezebwa ebigenge. Naye engeri Yesu gye yamuwonyamu, yamuyamba okuddamu okuba n’ekitiibwa. Kya magezi okukkiriza nti abantu basobola okuwa abalala ekitiibwa leero? Bwe kiba nga kisoboka, bandikikoze batya?
Etteeka Erisobozesa Okuwa Abalala Ekitiibwa
Yesu yawa ekiragiro bangi kye bagamba nti kye kisingayo okuba eky’omuganyulo ku bikwata ku ngeri abantu gye bakolaganamu: “Byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Matayo 7:12) Etteeka lino ery’omuganyulo, lisobozesa omuntu okussa ekitiibwa mu balala nga naye asuubira nti bajja kumussaamu ekitiibwa.
Ng’ebyafaayo bwe biraga, si kyangu okugoberera etteeka eryo. Omusajja ayitibwa Harold yagamba: “Nnanyumirwanga nnyo okufeebya abalala. Ebigambo ebitono bye nnayogeranga, byafeebyanga, byaswazanga era emirundi egimu ne bireetera abalala okukaaba.” Naye waliwo ekyabaawo ekyaleetera Harold okukyusa mu ngeri gye yayisangamu abalala. “Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunkyalira. Bwe ndowooza ku kiseera ekyo, nkwatibwa n’ensonyi olw’ebintu ebimu bye nnayogeranga oba engeri gye nnabayisangamu. Naye tebaalekera awo kunkyalira era mpolampola, amazima gaatandika okutuuka ku mutima gwange era ne kinviirako okukyuka.” Leero, Harold aweereza ng’omukadde mu kibiina Ekikristaayo.
Ekyokulabirako kya Harold kiraga nti “ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Abaebbulaniya 4:12) Ekigambo kya Katonda kisobola okutuuka ku mutima gw’omuntu ne kikyusa endowooza ye n’engeri gye yeeyisaamu. Kino kye kisobozesa okuwa abalala ekitiibwa, kwe kugamba, okwagala okubayamba, n’obutabalumya oba okubafeebya.—Ebikolwa 20:35; Abaruumi 12:10.
Abantu Baddamu Okuweebwa Ekitiibwa Ekigwanidde
Olw’okwagala okuwa abalala ekitiibwa, Abajulirwa ba Yakuwa bategeeza abalala essuubi ery’ekitalo eriri mu Baibuli. (Ebikolwa 5:42) Engeri esingayo obulungi ey’okuwaamu abalala ekitiibwa kwe kubabuulira ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi.’ (Isaaya 52:7) ‘Ebintu ebirungi’ bizingiramu “okwambala omuntu omuggya,” atusobozesa okuvvuunuka ‘okwegomba’ okufeebya abalala. (Abakkolosaayi 3:5-10) Era bizingiramu ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuggyawo embeera n’endowooza ezimalamu abantu ekitiibwa awamu ne Setaani Omulyolyomi akubiriza ebintu ebyo. (Danyeri 2:44; Matayo 6:9, 10; Okubikkulirwa 20:1, 2, 10) Mu kiseera ekyo, ng’ensi “ejjudde okumanya Mukama,” abantu bonna bajja kuweebwa ekitiibwa.—Isaaya 11:9.
Tukwaniriza okuyiga ku ssuubi lino ery’ekitalo. Bw’okolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa, ggwe kennyini ojja kukizuula nti okugoberera emisingi gya Baibuli kikusobozesa okuwa abalala ekitiibwa. Era ojja kuyiga engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuleeta ‘ensi empya era ennungi ennyo,’ era nga mu nsi eyo, ‘ekitiibwa ky’abantu’ tekityoboolebwa.
[Akasandduko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Okukuuma Obugolokofu Kyabayamba Okusigala nga Bassibwamu Ekitiibwa
Mu Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa abassuka mu 2,000 baasindikibwa mu nkambi z’abasajja ba Hitler olw’okunywerera ku nzikiriza yaabwe. Bwe yalaba engeri gye baakuumamu obugolokofu bwabwe, Gemma La Guardia Gluck eyasibirwako mu kkomera ery’e Ravensbrück agamba bw’ati mu kitabo kye ekiyitibwa My Story: “Olumu abaserikale ba Hitler baayisa ekirango nti Omuyizi wa Baibuli yenna aneegaana enzikiriza ye era n’ateeka omukono ku kiwandiiko ekiraga nti yeegaanye enzikiriza ye, ajja kuteebwa era tajja kuddayo kuyigganyizibwa.” Ayogera bw’ati ku abo abaagaana okussa omukono ku kiwandiiko ekyo: “Baasalawo okweyongera okubonaabona nga bwe balindirira olunaku lwe banaanunulibwako.” Lwaki baasalawo okukola ekyo? Kati ng’aweza emyaka 80, Magdalena, eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu ekiwedde agamba: “Okuba omwesigwa eri Yakuwa kyali kikulu nnyo okusinga okukola ekintu kyonna ekyandikusobozesezza okuwonawo. Okukuuma ekitiibwa kyaffe kyatusobozesa okukuuma obugolokofu.”a
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku b’omu maka ga Kusserow, laba Watchtower aka Ssebutemba 1, 1985, empapula 10-15.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Yesu yawa ekitiibwa abo be yawonya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Abajulirwa ba Yakuwa bawa abalala ekitiibwa nga bababuulira ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi’