Balubaale—Tusobola Kubaziyiza Tutya?
“Bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe bo bennyini, [Katonda] abakuumira mu njegere ez’ennaku zonna wansi w’ekizikiza olw’omusango ogw’oku lunaku olukulu.”—YUDA 6.
1, 2. Bibuuzo ki ebyebuuzibwa ku Setaani Omulyolyomi ne balubaale?
OMUTUME PEETERO yalabula nti: “Mube bulindaala, mutunulenga. Omulabe wammwe Omulyolyomi, atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peetero 5:8, NW) Ng’ayogera ku balubaale, omutume Pawulo agamba nti: “Ssaagala mmwe kubeeranga abasseekimu ne balubaale. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale.”—1 Abakkolinso 10:20, 21.
2 Naye Setaani Omulyolyomi ne balubaale baani? Bajjawo ddi era batya? Batondebwa Katonda? Balina buyinza bwenkana wa ku bantu? Kiki ekiyinza okutuyamba okubeekuuma?
Setaani ne Balubaale Bajja Batya Okubaawo?
3. Omu ku bamalayika ba Katonda yafuuka atya Setaani Omulyolyomi?
3 Edda ennyo ng’omuntu yaakatandika okubeera mu lusuku Adeni, malayika omu yajeemera Katonda. Lwaki? Kubanga teyali mumativu n’ekifo kye yalina mu nteekateeka ya Yakuwa ey’omu ggulu. Adamu ne Kaawa bwe baatondebwa, malayika ono yawulira nti asobola okubaggya ku Katonda ow’amazima batandike okusinza ye. Bwe yajeemera Katonda era bwe yasendasenda Adamu ne Kaawa okwonoona, malayika ono yafuuka Setaani Omulyolyomi. Oluvannyuma ne bamalayika abalala bamwegattako. Batya?—Olubereberye 3:1-6; Abaruumi 5:12; Okubikkulirwa 12:9.
4. Kiki bamalayika abamu abajeemu kye baakola nga Amataba g’omu biseera bya Nuuwa tegannabaawo?
4 Ebyawandiikibwa bitulaga nti nga Amataba g’omu biseera bya Nuuwa tegannabaawo, bamalayika abamu baatandika okwegomba abakazi. Baibuli egamba nti: “Abaana ba Katonda [ab’omu ggulu] ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.” Kino tekyali kya mu butonde, era kyavaamu okuzaalibwa kw’abantu abataali ba bulijjo abaayitibwa Abanefuli. (Olubereberye 6:2-4) Mu kukola ekyo, ebitonde ebyo eby’omwoyo byegatta ku Setaani mu kujeemera Yakuwa.
5. Kiki ekyatuuka ku bakyewaggula Yakuwa bwe yaleeta Amataba?
5 Yakuwa bwe yaleeta Amataba, Abanefuli ne bannyaabwe baazikirizibwa. Bamalayika abo abali beewaggula baawalirizibwa okweyambula emibiri egy’abantu ne baddayo mu ttwale ery’emyoyo. Naye baali tebasobola kudda mu ‘kifo kyabwe’ eky’okuweereza Katonda. Wabula Katonda yabasuula ‘mu kizikiza’ eky’eby’omwoyo ekiyitibwa “Tatalo.”—Yuda 6; 2 Peetero 2:4, NW.
6. Balubaale babuzaabuza batya abantu?
6 Okuva bamalayika ababi lwe baafiirwa “ekifo kyabwe,” babadde bakolera wamu ne Setaani era nga bawagira ebigendererwa bye ebibi. Tebakyalina busobozi bwa kweyambaza mibiri gy’abantu. Kyokka, basobola okusikiriza abasajja n’abakazi okwenyigira mu bikolwa eby’obukaba. Balubaale bano era babuzaabuza nnyo abantu nga bakozesa ebintu ng’obusamize, obulogo, n’obulaguzi. (Ekyamateeka 18:10-13; 2 Ebyomumirembe 33:6) Bamalayika bano ababi bajja kuzikirizibwa emirembe n’emirembe ng’Omulyolyomi. (Matayo 25:41; Okubikkulirwa 20:10) Nga kino tekinnabaawo, tulina okuba abanywevu n’okubaziyiza. Kitwetaagisa okutegeera Setaani obuyinza bw’alina era n’okumanya engeri gye tuyinza okumuziyizaamu ne balubaale.
Obuyinza bwa Setaani Bwenkana Wa?
7. Buyinza ki Setaani bw’alina ku nsi?
7 Okuva edda n’edda Setaani abadde ayogera eby’obulimba ku Yakuwa. (Engero 27:11) Era aleetedde abantu bangi okukolera ku ndowooza ye. Yokaana Ekisooka 5:19 wagamba: “Ensi yonna eri mu [buyinza bw’o]mubi.” Eno ye nsonga lwaki Omulyolyomi yagezaako okukema Yesu nga asuubiza okumuwa obuyinza n’ekitiibwa ‘ky’obwakabaka bwonna obw’omu nsi.’ (Lukka 4:5-7) Ng’ayogera ku Setaani, omutume Pawulo agamba nti: “Oba ng’enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula: katonda ow’emirembe gino be yaziba amaaso g’amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw’enjiri ey’ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira.” (2 Abakkolinso 4:3, 4) Setaani “mulimba era [ye] kitaawe w’obulimba” naye yeefuula “malayika ow’omusana.” (Yokaana 8:44; 2 Abakkolinso 11:14) Alina obusobozi era n’emitego gy’asobola okweyambisa okubuzaabuza abafuzi n’abo be bafuga. Kino akikola okuyitira mu ppokopoko n’obulimba bw’amadiini.
8. Kiki Baibuli ky’eyogera ku buyinza Setaani bw’alina?
8 Obuyinza bwa Setaani n’amaanyi ge byeyoleka bulungi mu kiseera kya nnabbi Danyeri, awo mu 536/535 B.C.E. Yakuwa bwe yatuma malayika okuzzaamu Danyeri amaanyi, malayika yaziyizibwa “omulangira [ow’omwoyo] ow’obwakabaka obw’e Buperusi.” Malayika ono omwesigwa yaziyizibwa okumala ennaku 21 okutuusa “Mikayiri, omu ku balangira abakulu,” bwe yajja n’amuyamba. Essuula y’emu eyogera ku “omulangira [dayimooni] ow’e Buyonaani alijja.” (Danyeri 10:12, 13, 20) Ate mu Okubikkulirwa 13:1, 2, Setaani ayogerwako ‘ng’ogusota’ oguwa ensolo, ekiikirira enteekateeka y’eby’obufuzi, “amaanyi gaayo n’entebe yaayo eby’obwakabaka n’obuyinza obungi.”
9. Abakristaayo balwana ne baani?
9 Tekyewuunyisa nti omutume Pawulo yawandiika: ‘Tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abaamasaza, n’ab’obuyinza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.’ (Abaefeso 6:12) Ne leero, balubaale nga bali wansi w’obuyinza bwa Setaani Omulyolyomi, baleetera abafuzi n’abantu okwenyigira mu bikolwa ebibi ennyo ng’okutta abantu okw’ekikungo, n’ettemu. Kati ka twekenneenye engeri gye tusobola okuziyizaamu emyoyo gino emibi.
Tulina Bukuumi Ki?
10, 11. Tuyinza tutya okuziyiza Setaani ne bamalayika be ababi?
10 Tetusobola kuziyiza Setaani ne bamalayika be ababi mu maanyi gaffe oba mu magezi gaffe. Pawulo atukubiriza nti: “Mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.” Kino kiraga nti twetaaga obukuumi bwa Katonda. Pawulo agattako nti: “Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani . . . Mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.”—Abaefeso 6:10, 11, 13.
11 Emirundi ebiri Pawulo akubiriza Bakristaayo banne okweyambisa ‘ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda.’ Ekigambo “byonna” kiba kiraga nti tulina okukozesa buli kyakulwanyisa okusobola okuziyiza obulumbaganyi bwa balubaale. Kati ebyokulwanyisa eby’omwoyo Abakristaayo leero bye beetaaga bye biruwa?
“Muyimirirenga”—Mu Ngeri Ki?
12. Abakristaayo bayinza batya okwesiba amazima?
12 Pawulo annyonnyola: “Muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky’omu kifuba obutuukirivu.” (Abaefeso 6:14) Ebintu ebibiri ebyogerwako wano lwe lukoba olugazi n’eky’omu kifuba. Omuserikale yalina okunyweza olukoba lwe yeesibanga mu kiwato, lusobole okumukuuma n’okuwanirira obuzito bw’ekitala kye. Naffe, mu ngeri ey’akabonero twetaaga okwesiba amazima g’omu Baibuli ne tunywera, tusobole okugakolerako mu bulamu bwaffe. Tulina enteekateeka ey’okusoma Baibuli buli lunaku? Ab’omu maka bonna beenyigiramu? Tulina enteekateeka ey’okusoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku ng’amaka? Okugatta ku ekyo, tusoma buli kitabo ekiba kifulumiziddwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (Matayo 24:45) Bwe kiba bwe kityo, kiba kiraga nti tussa mu nkola okubuulirira kwa Pawulo. Ate era tulina vidiyo ne DVD ez’enjawulo ezisobola okutuwa obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa. Okunywerera ku mazima kisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okwewala amakubo amabi.
13. Tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero?
13 Eky’omu kifuba kyakuumanga ekifuba ky’omuserikale, omutima gwe, n’ebitundu ebirala. Omukristaayo asobola okukuuma omutima gwe ogw’akabonero—ekyo ky’ali munda—ng’ayagala obutuukirivu bwa Katonda era ng’anywerera ku mitindo gya Yakuwa. Eky’omu kifuba eky’akabonero kituyamba okwewala okutwala Ekigambo kya Katonda ng’ekitali kikulu. Bwe tuyiga ‘okukyawa obubi era ne twagala obulungi,’ kituyamba okukuuma ebigere byaffe “obutatambula mu kkubo ebbi lyonna.”—Amosi 5:15; Zabbuli 119:101.
14. ‘Okunaanika mu bigere okweteekateeka okw’enjiri ey’emirembe’ kitegeeza ki?
14 Abaserikale Abaruumi baabanga bambadde engatto mu bigere okusobola okutambula eŋŋendo empanvu ze baatambulanga. Ebigambo “nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw’enjiri ey’emirembe” birina makulu ki eri Omukristaayo? (Abaefeso 6:15) Biraga nti waliwo kye tweteekeddeteekedde okukola. Bitegeeza nti tuli beetegefu okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda buli lwe tuba tufunye akakisa. (Abaruumi 10:13-15) Okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira kitukuuma eri “enkwe” za Setaani.—Abaefeso 6:11.
15. (a) Kiki ekiraga nti engabo ennene ey’okukkiriza kyakulwanyisa kikulu nnyo? (b) ‘Obusaale obw’omuliro’ obw’akabi eri okukkiriza kwaffe bwe buluwa?
15 Pawulo yeeyongera n’agamba nti: “Okusinga ebyo byonna, mukwate engabo ennene ey’okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” (Abaefeso 6:16, NW) Ng’atukubiriza okukwata engabo ennene ey’okukkiriza, Pawulo asooka n’ebigambo “okusinga ebyo byonna,” ekiraga nti eky’okulwanyisa kino kikulu nnyo. Kino kiraga nti okukkiriza kwaffe kulina okuba nga kunywevu ddala. Okufaananako engabo ennene, okukkiriza kutuyamba okuziyiza “obusaale” bwa Setaani “obw’omuliro.” Obusaale obwo buyinza kuba ki leero? Buyinza okuba okuvumibwa, okuwaayirizibwa, eby’obulimba ebisaasaanyizibwa abalabe baffe ne bakyewaggula nga bagezaako okunafuya okukkiriza kwaffe. “Obusaale” buno era buyinza okuba omwoyo gw’okwefunira ebintu, ogutuleetera okumalira ebiseera byaffe mu kunoonya ssente okusobola okwetuusaako buli kye twagala, oluusi ne tutandika n’okuvuganya n’abo abaatwalirizibwa edda omwoyo guno. Bayinza okuba nga bazimbye amayumba nga baguze n’amamotoka ag’ebbeeyi oba nga bambala n’engoye eziri ku mulembe. Mu kifo ky’okwagala okukola ng’abalala bwe bakola, ffe tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi tusobole okuziyiza ‘obusaale buno obw’omuliro.’ Tuyinza tutya kukola ki okusobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi era ne tukukuuma?—1 Peetero 3:3-5; 1 Yokaana 2:15-17.
16. Kiki ekiyinza okutuyamba okuzimba okukkiriza okunywevu?
16 Tusobola okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda nga twesomesa Baibuli obutayosa n’okumutuukirira mu kusaba. Tuyinza okusaba Yakuwa okunyweza okukkiriza kwaffe era ne tukolera ku kusaba okwo. Ng’ekyokulabirako, tuteekateeka bulungi okusobola okubaako bye tuddamu nga tusoma Omunaala gw’Omukuumi buli wiiki? Okukkiriza kwaffe kujja kuba kunywevu singa tusoma Baibuli n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli.—Abaebbulaniya 10:38, 39; 11:6.
17. Tuyinza tutya ‘okukkiriza sseppewo ey’obulokozi’?
17 Ng’amaliriza okwogera ku by’okulwanyisa eby’omwoyo Pawulo akubiriza nti: “[Mukkirize] ne sseppewo ey’obulokovu, n’ekitala eky’[o]mwoyo, kye kigambo kya Katonda.” (Abaefeso 6:17) Sseppewo yakuumanga omutwe gw’omuserikale n’obwongo bwe. Mu ngeri y’emu, essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo likuuma ebirowoozo byaffe. (1 Abasessaloniika 5:8) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku biruubirirwa by’ensi n’okwefunira ebintu, tusaanidde kubimalira ku ebyo Katonda by’atusuubizza nga ne Yesu bwe yakola.—Abaebbulaniya 12:2.
18. Lwaki tetusaanidde kulagajjalira nteekateeka yaffe ey’okusoma Baibuli obutayosa?
18 Eky’okwekuumisa ekisembayo ekiyinza okutuyamba okuziyiza Setaani ne balubaale kye tulina kye Kigambo kya Katonda, Baibuli. Eno ye nsonga endala lwaki tetusaanidde kulagajjalira nteekateeka yaffe ey’okusoma Baibuli obutayosa. Bwe tuba tumanyi bulungi nnyo ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, kijja kutukuuma eri obulimba bwa Setaani ne balubaale, awamu n’eby’obulimba bakyewaggula bye batwogerako.
“Musabanga Buli Kiseera”
19, 20. (a) Kiki ekinaatuuka ku Setaani ne balubaale? (b) Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo?
19 Setaani ne balubaale banaatera okuggibwawo wamu n’ensi embi. Setaani akimanyi nti asigazza “akaseera katono.” Alina obusungu bungi era ayigganya “abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu.” (Okubikkulirwa 12:12, 17) N’olwekyo, kikulu nnyo okuziyiza Setaani ne balubaale.
20 Nga tuli basanyufu nnyo olw’okubuulirira okukwata ku kwambala eby’okulwanyisa byonna eby’omwoyo ebiva eri Katonda! Pawulo afundikira okubuulirira kuno ng’agamba nti: “Musabanga buli kiseera mu [m]woyo n’okusaba n’okwegayiriranga kwonna . . . mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna.” (Abaefeso 6:18) Okusaba kuyinza okutunyweza n’okutuyamba okusigala nga tuli bazuukufu mu by’omwoyo. N’olwekyo, ka tutwale ebigambo bya Pawulo nga bikulu nnyo era tusabenga, kubanga kino kijja kutuyamba okuziyiza Setaani ne balubaale.
Oyize Ki?
• Setaani ne balubaale bajja batya okubaawo?
• Obuyinza bwa Setaani kwenkana wa?
• Tulina bukuumi ki eri Setaani ne balubaale?
• Tusobola tutya okukozesa eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
“Abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Osobola okumenya n’okunnyonnyola eby’okulwanyisa eby’omwoyo omukaaga?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Okwenyigira mu bintu bino kiyinza kukuyamba kitya okuziyiza Setaani ne balubaale?