Bbalaza, Okitobba 27
Abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe.—Bef. 5:28.
Yakuwa asuubira omwami okwagala mukyala we n’okufaayo ku byetaago bye eby’omubiri n’eby’omwoyo, era n’okufaayo ku nneewulira ye. Okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, okussa ekitiibwa mu bakazi, n’okuba omuntu eyeesigika bijja kukuymaba okuba omwami omulungi. Oluvannyuma lw’okuwasa, oyinza okufuuka taata. Kiki ky’oyigira ku Yakuwa ku kuba taata omulungi? (Bef. 6:4) Yakuwa yagamba Omwana we, Yesu, mu lujjudde nti amwagala era nti amusiima. (Mat. 3:17) Bw’onoofuuka taata, fuba okulaba nti ogambanga abaana bo nti obaagala. Basiimenga olw’ebirungi bye banaabanga bakoze. Bataata abakoppa Yakuwa, bayamba abaana baabwe okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo. Osobola okweteekateeka okuba taata omulungi ng’olaga okwagala abo b’obeera nabo awamu ne bakkiriza banno mu kibiina, era ng’obagambanga nti obaagala era nti osiima bye bakola.—Yok. 15:9. w23.12 28-29 ¶17-18
Lwakubiri, Okitobba 28
[Yakuwa] y’aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe.—Is. 33:6.
Wadde nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, twolekagana n’ebizibu abantu bonna bye boolekagana nabyo. Ate era abantu abataagala baweereza ba Yakuwa bayinza okutuziyiza oba okutuyigganya. Wadde nga Yakuwa aleka ebizibu ng’ebyo okututuukako, atusuubiza okutuyamba. (Is. 41:10) Olw’obuyambi bw’atuwa, tusobola okusigala nga tuli basanyufu, okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. Yakuwa atusuubiza okutuwa ekyo Bayibuli ky’eyita “emirembe gya Katonda.” (Baf. 4:6, 7) Emirembe egyo gitegeeza obuteefu n’obukkakkamu bwe tuwulira ku mutima olw’okukimanya nti tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. “Gisingira ewala okutegeera kwonna”; misuffu nnyo era kizibu okugiteebereza. Wali owuliddeko ng’okkakkanye oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa? Egyo gye ‘mirembe gya Katonda!’ w24.01 20 ¶2; 21 ¶4
Lwakusatu, Okitobba 29
Ka ntendereze Yakuwa; ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.—Zab. 103:1.
Okwagala abantu abeesigwa kwe balina eri Katonda kubaleetera okutendereza erinnya lye n’omutima gwabwe gwonna. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti okutendereza erinnya lya Yakuwa kye kimu n’okutendereza Yakuwa kennyini. Erinnya lya Yakuwa likiikirira ekyo ky’ali. Bwe tuwulira nga lyogerwa kituyamba okulowooza ku ngeri ze zonna ennungi ne ku bintu eby’ekitalo by’akola. Dawudi yali ayagala okutwala erinnya lya Kitaawe nga ttukuvu n’okulitendereza. Ekyo yali ayagala okukikola n’omutima gwe gwonna. Mu ngeri y’emu, Abaleevi abaakulemberangamu abantu mu kutendereza Yakuwa, baagamba nti tebaalina bigambo bye baali bayinza kukozesa okuggirayo ddala mu bujjuvu ettendo erigwanidde okuweebwa erinnya lya Katonda ettukuvu. (Nek. 9:5) Kya lwatu nti okutendereza Yakuwa mu ngeri eyo ey’obwetoowaze, kyamusanyusa nnyo. w24.02 9 ¶6