LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okuva 34:6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 6 Yakuwa n’ayita mu maaso ge ng’alangirira nti: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi+ era ow’ekisa,+ alwawo okusunguwala+ era alina okwagala kungi okutajjulukuka+ n’amazima amangi,*+

  • Ekyamateeka 30:3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 Yakuwa Katonda wo alikomyawo abawambe bo+ n’akusaasira+ era n’akukuŋŋaanya okuva mu mawanga gonna Yakuwa Katonda wo gy’aliba akusaasaanyirizza.+

  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 9 Bwe munaakomawo eri Yakuwa, abo abaawamba baganda bammwe n’abaana bammwe bajja kubasaasira+ babakkirize okudda mu nsi eno,+ kubanga Yakuwa Katonda wammwe wa kisa era musaasizi.+ Tajja kukyuka kubaggyako maaso ge, bwe munaakomawo gy’ali.”+

  • Nekkemiya 9:31
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 31 Olw’okusaasira kwo okungi tewabasaanyaawo+ wadde okubaabulira; kubanga oli Katonda ow’ekisa era omusaasizi.+

  • Isaaya 54:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  7 “Kubanga nnakulekawo okumala akaseera katono,

      Naye ndikukomyawo n’okusaasira okungi.+

  • Isaaya 55:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  7 Omubi aleke ekkubo lye+

      N’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye;

      Akomewo eri Yakuwa anaamusaasira,+

      Eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiyira ddala.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share