Okubala 14:18 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 18 ‘Yakuwa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ asonyiwa ensobi n’okwonoona, naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango, abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.’+ Zabbuli 103:12, 13 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 12 Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba,Bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.+ 13 Nga kitaawe w’abaana bw’asaasira abaana be,Bw’atyo Yakuwa bw’asaasidde abo abamutya.+ Isaaya 43:25 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 25 Nze kennyini nze nsangula ebyonoono byo*+ ku lw’erinnya lyange,+Era sirijjukira bibi byo.+
18 ‘Yakuwa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ asonyiwa ensobi n’okwonoona, naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango, abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.’+
12 Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba,Bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.+ 13 Nga kitaawe w’abaana bw’asaasira abaana be,Bw’atyo Yakuwa bw’asaasidde abo abamutya.+