Oluyimba lwa Sulemaani
1 Oluyimba olusinga ennyimba zonna,* nga lwe lwa Sulemaani:+
3 Amafuta go galina akaloosa akalungi.+
Erinnya lyo liringa amafuta ag’akaloosa agafukiddwa ku mutwe.+
Abawala kyebava bakwagala.
4 Ntwala gy’olaga; tudduke.
Kabaka annyingizza mu bisenge bye.
Ka tusanyuke era tujagulize wamu.
Ka tutende* omukwano gw’olaga; omukwano gw’olaga gusinga omwenge.
Ogwanira okwagala kwabwe.*
5 Mmwe abawala ba Yerusaalemi, ndi muwala muddugavu naye ndabika bulungi,
Nninga weema z’e Kedali,+ nninga emitanda gya weema+ za Sulemaani.
6 Temuntunuulira olw’okuba ndi muddugavu,
Omusana gunjokezza.
Bannyinaze baansunguwalira;
Baampa ogw’okulabirira ennimiro z’emizabbibu,
Ne sisobola kulabirira nnimiro yange.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse ekitambaala* ku maaso
Nga ndi mu bisibo bya banno?”
8 “Ggwe asinga abakazi bonna obulungi, bw’oba nga tomanyi,
Genda ng’ogoberera ekisinde ky’ekisibo
Olundire embuzi zo ento okumpi ne weema z’abasumba.”
9 “Omwagalwa wange ondabikira bulungi ng’embalaasi* enkazi eri ku magaali ga Falaawo.+
10 Amajolobero galabisa bulungi amatama go,
Embira zirabisa bulungi obulago bwo.
11 Tujja kukukolera amajolobero aga zzaabu,
Agatonaatoneddwako ffeeza.”
12 “Kabaka bw’aba atudde ku mmeeza ye,
Amafuta gange ag’akaloosa+ gawunyira bulungi omwagalwa wange.
13 Gye ndi omwagalwa wange alinga akasawo akalimu miira akawunya obulungi+
Akasula mu kifuba kyange.
15 “Ng’olabika bulungi omwagalwa wange!
Ng’olabika bulungi! Amaaso go galinga ag’ejjiba.”+
16 “Naawe olabika bulungi omwagalwa wange, era osanyusa.+
Ekiriri kyaffe kya bikoola.
17 Emirabba gy’ennyumba yaffe* gya miti gy’entolokyo,
Embaawo z’akasolya kaffe za miberosi.