LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 88
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Asaba Katonda amuwonye okufa

        • “Obulamu bwange buli ku mugo gwa ntaana” (3)

        • ‘Buli ku makya nkusaba’ (13)

Zabbuli 88:obugambo obuli waggulu

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2By 20:19
  • +1Sk 4:30, 31; 1By 2:6

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2025

Zabbuli 88:1

Marginal References

  • +Zb 27:9; Is 12:2
  • +Zb 22:2

Zabbuli 88:2

Footnotes

  • *

    Oba, “Kutama owulire.”

Marginal References

  • +1Sk 8:30
  • +Zb 141:1

Zabbuli 88:3

Marginal References

  • +Zb 71:20
  • +Is 38:10

Zabbuli 88:4

Footnotes

  • *

    Oba, “ntaana.”

  • *

    Oba, “ng’omuntu atalina maanyi.”

Marginal References

  • +Zb 143:7
  • +Zb 31:12

Zabbuli 88:7

Marginal References

  • +Zb 90:7; 102:10

Zabbuli 88:8

Marginal References

  • +Yob 19:13, 19; Zb 31:11; 142:4

Zabbuli 88:9

Marginal References

  • +Yob 17:7; Zb 42:3; Kuk 3:49
  • +Zb 55:17

Zabbuli 88:10

Marginal References

  • +Yob 14:14; Zb 115:17; Is 38:18

Zabbuli 88:11

Footnotes

  • *

    Oba, “mu Abaddoni.”

Zabbuli 88:12

Marginal References

  • +Mub 2:16; 8:10; 9:5

Zabbuli 88:13

Marginal References

  • +Zb 46:1
  • +Zb 55:17; 119:147

Zabbuli 88:14

Marginal References

  • +Zb 43:2
  • +Yob 13:24; Zb 13:1

Zabbuli 88:15

Marginal References

  • +Yob 17:1

Zabbuli 88:16

Marginal References

  • +Zb 102:10

Zabbuli 88:17

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “zinzingiza omulundi gumu.”

Zabbuli 88:18

Marginal References

  • +Yob 19:13; Zb 31:11; 38:11; 142:4

General

Zab. 88:obugambo obuli waggulu2By 20:19
Zab. 88:obugambo obuli waggulu1Sk 4:30, 31; 1By 2:6
Zab. 88:1Zb 27:9; Is 12:2
Zab. 88:1Zb 22:2
Zab. 88:21Sk 8:30
Zab. 88:2Zb 141:1
Zab. 88:3Zb 71:20
Zab. 88:3Is 38:10
Zab. 88:4Zb 143:7
Zab. 88:4Zb 31:12
Zab. 88:7Zb 90:7; 102:10
Zab. 88:8Yob 19:13, 19; Zb 31:11; 142:4
Zab. 88:9Yob 17:7; Zb 42:3; Kuk 3:49
Zab. 88:9Zb 55:17
Zab. 88:10Yob 14:14; Zb 115:17; Is 38:18
Zab. 88:12Mub 2:16; 8:10; 9:5
Zab. 88:13Zb 46:1
Zab. 88:13Zb 55:17; 119:147
Zab. 88:14Zb 43:2
Zab. 88:14Yob 13:24; Zb 13:1
Zab. 88:15Yob 17:1
Zab. 88:16Zb 102:10
Zab. 88:18Yob 19:13; Zb 31:11; 38:11; 142:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 88:1-18

Zabbuli

Oluyimba, Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Makalasi.* Ya kuyimbibwa ng’ebirimu biyimbibwa mu mpalo. Masukiri* ya Kemani+ Omwezera.

88 Ai Yakuwa Katonda ow’obulokozi bwange,+

Emisana nkukoowoola,

N’ekiro nzija mu maaso go.+

 2 Okusaba kwange ka kutuuke gy’oli,+

Tega okutu owulire* okuwanjaga kwange.+

 3 Kubanga ndi mu buyinike bwa maanyi,+

Era obulamu bwange buli ku mugo gwa ntaana.+

 4 Mbaliddwa mu abo abakka mu kinnya;*+

Nfuuse omuntu ateesobola,*+

 5 Alekeddwa mu bafu

Ng’abantu abattiddwa abagalamidde mu ntaana,

B’otakyajjukira

Era b’otakyafaako.

 6 Ontadde mu kinnya ekisingayo obuwanvu,

Mu bifo ebikutte ekizikiza, mu bunnya obunene.

 7 Obusungu bwo bunzitooweredde nnyo,+

Ombuutikiza amayengo go ag’amaanyi. (Seera)

 8 Ogobedde mikwano gyange wala okuva we ndi;

Onfudde ekyenyinyaza gye bali.+

Omutego gunkutte era sisobola kuguvaamu.

 9 Amaaso gange tegakyalaba bulungi olw’ennaku gye nnina.+

Ai Yakuwa, nkukoowoola okuzibya obudde;+

Ngolola emikono gyange gy’oli.

10 Abafu b’onookolera ebyamagero?

Abaafa basobola okusituka ne bakutendereza?+ (Seera)

11 Okwagala kwo okutajjulukuka kunaayogerwako emagombe?

Obwesigwa bwo bunaayogerwako mu kifo eky’okuzikiririramu?*

12 Ebikolwa byo eby’ekitalo binaamanyibwa mu kizikiza?

Oba obutuukirivu bwo bunaamanyibwa mu nsi y’abo abeerabirwa?+

13 Naye nkyakuwanjagira, Ai Yakuwa,+

Buli ku makya okusaba kwange kujja mu maaso go.+

14 Ai Yakuwa, lwaki onjabulira?+

Lwaki onkweka obwenyi bwo?+

15 Okuviira ddala mu buvubuka bwange

Mbadde mu nnaku era nga mbulako katono okusaanawo;+

Ndi mwennyamivu nnyo olw’ebintu ebibi by’oleka okuntuukako.

16 Obusungu bwo obubuubuuka bunsukkiriddeko;+

Entiisa zo zinsaanyaawo.

17 Zinneetooloola ng’amazzi okuzibya obudde;

Zinzingiza ku njuyi zonna.*

18 Mikwano gyange ne banywanyi bange obagobedde wala okuva we ndi;+

Ekizikiza kye kifuuse munywanyi wange.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share