LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 8/1 lup. 18-23
  • Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obwetoowaze​—Ngeri ya Katonda
  • Katonda Ayoleka Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze
  • Kulaakulanya Obwetoowaze Ofune Emikisa gya Katonda
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yesu Yali Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • “Alina Omutima ogw’Amagezi”—Kyokka Mwetoowaze
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 8/1 lup. 18-23

Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze

“Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.”​—ENGERO 22:4.

1, 2. (a) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga kitya nti Suteefano yali ‘musajja alina okukkiriza okungi n’omwoyo omutukuvu’? (b) Bujulizi ki obulaga nti Suteefano yali mwetoowaze?

SUTEEFANO yali ‘musajja alina okukkiriza okungi n’omwoyo omutukuvu.’ Era yalina ‘ekisa kingi n’amaanyi.’ Ng’omu ku bayigirizwa ba Yesu abaasooka, yakolanga ebyamagero eby’amaanyi era n’obubonero mu bantu. Lumu, waliwo abasajja abajja okumuwakanya, ‘kyokka tebaamusobola kubanga yali ayogera n’amagezi agaamuweebwa omwoyo omutukuvu.’ (Ebikolwa 6:5, 8-10) Awatali kubuusabuusa, Suteefano yali munyiikivu nnyo mu kusoma Ekigambo kya Katonda, era yakikozesa mu ngeri ey’amagezi ng’ali mu maaso g’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kiseera kye. Obujulirwa bwe yawa obuli mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume essuula 7, bukakasa nti yali afaayo nnyo okumanya engeri ebigendererwa bya Katonda gye byali bigenda bituukirizibwamu.

2 Okwawukana ku bakulembeze b’eddiini abo, abaali beetwala nti ba waggulu nnyo okusinga abantu aba bulijjo olw’ebifo n’okumanya kwe baalina, Suteefano ye, yali mwetoowaze. (Matayo 23:2-7; Yokaana 7:49) Wadde nga yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa, yali musanyufu nnyo okuweebwa omulimu ‘ogw’okugabanyanga emmere,’ kisobozese abatume okwemalira ku ‘kusaba n’okubuulira ekigambo.’ Suteefano yali ayogerwako bulungi mu b’oluganda era bwe kityo, yalondebwa okubeera omu ku bantu omusanvu abaali ab’okugabanyanga emmere. Mu bwetoowaze, yakkiriza obuvunaanyizibwa obwo.​—Ebikolwa 6:1-6.

3. Kwolesebwa ki okw’ekitalo okukwata ku kisa kya Katonda Suteefano kwe yafuna?

3 Yakuwa teyabuusa maaso bwetoowaze bwa Suteefano, embeera ye ey’eby’omwoyo, awamu n’obwesigwa bwe. Suteefano bwe yali abuulira ekibiina eky’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya mu Lukiiko Olukulu abaali bakambuwadde, abo abaali bamuziyiza ‘baalaba amaaso ge nga gafaanana ng’aga malayika.’ (Ebikolwa 6:15) Amaaso ge gaali galabika nga ag’omubaka wa Katonda, nga goolesa emirembe egiva eri Katonda ow’ekitiibwa, Yakuwa. Oluvannyuma lw’okubuulira n’obuvumu abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Suteefano yayolesebwa ebikwata ku kisa kya Katonda mu ngeri ey’ekitalo ennyo. “Bwe yajjula [o]mwoyo [o]mutukuvu, n’akaliriza amaaso mu ggulu, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.” (Ebikolwa 7:55) Okwolesebwa okwo okw’ekitalo Suteefano kwe yafuna kwayongera okumukakasiza ddala nti Yesu Mwana wa Katonda era nti ye Masiya. Kwamunyweza era ne kumukakasa nti yali asiimibwa Yakuwa.

4. Baani Yakuwa b’abikkulira ekitiibwa kye?

4 Nga bwe kirabikira mu kwolesebwa kwa Suteefano, Yakuwa abikkula ekitiibwa kye n’ebigendererwa bye eri abantu abamutya, abeetoowaze era abatwala enkolagana gye balina naye nga ya muwendo. “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Engero 22:4) N’olwekyo, kikulu nnyo okutegeera obwetoowaze obwa nnamaddala kye butegeeza, engeri gye tuyinza okubukulaakulanyamu era n’engeri gye tuganyulwamu bwe tubwoleka mu mbeera zaffe zonna ez’obulamu.

Obwetoowaze​—Ngeri ya Katonda

5, 6. (a) Obwetoowaze kye ki? (b) Yakuwa ayolese atya obwetoowaze? (c) Twandikwatiddwako tutya olw’okuba Yakuwa mwetoowaze?

5 Kiyinza okwewuunyisa abamu okumanya nti Yakuwa Katonda, oyo asingirayo ddala ekitiibwa, y’asinga okwoleka obwetoowaze. Kabaka Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ompadde engabo ey’obulokozi bwo: n’omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, n’obuwombeefu [“obwetoowaze,” NW] bwo bungulumizizza.” (Zabbuli 18:35) Dawudi bwe yagamba nti Yakuwa mwetoowaze, yakozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okukutama.” Ng’oggyeko ekigambo “obwetoowaze,” waliwo ebigambo ebirala eby’Olwebbulaniya ebirina akakwate n’ekigambo ekyo, gamba nga, “obukkakkamu,” “obuwombeefu,” ne “okwessa wansi.” N’olwekyo Yakuwa yayoleka obwetoowaze bwe yessa wansi asobole okukolagana ne Dawudi omusajja eyali tatuukiridde era n’amukozesa nga kabaka. Ng’obugambo obusooka waggulu wa Zabbuli 18 bwe bulaga, Yakuwa yakuuma Dawudi n’amuwagira era n’amununula “okuva mu mukono gw’abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo.” Dawudi naye yamanya nti obukulu bwonna oba ekitiibwa kyonna kye yandifunye ng’afuga nga kabaka, byali byesigamye ku kuba nti Yakuwa yali yeetoowazizza ku lulwe. Okumanya ekyo kyayamba Dawudi okusigala nga mwetoowaze.

6 Ate ffe? Yakuwa alabye nga kisaana okutuyigiriza amazima, era ayinza n’okuba ng’atuwadde enkizo ez’enjawulo mu kibiina kye oba ng’alina engeri gy’atukozesezzaamu okutuukiriza by’ayagala. Twandibadde tuwulira tutya olw’enkizo ezo zonna? Naffe tetwandibadde beetoowaze? Tetwandisanyuse nnyo olw’okuba nti Yakuwa mwetoowaze era ne twewala okwekulumbaza ekiyinza okutuviirako emitawaana?​—Engero 16:18; 29:23.

7, 8. (a) Yakuwa yayoleka atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu ne Manase? (b) Mu ngeri ki Yakuwa ne Manase gye batuteerawo ekyokulabirako mu kubeera abeetoowaze?

7 Yakuwa takomye ku kuba mwetoowaze ng’akolagana n’abantu abatatuukiridde, naye era alaze nti mwetegefu okusaasira abeewombeeka, ng’abagulumiza. (Zabbuli 113:4-7) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka Manase owa Yuda. Yakozesa bubi enkizo eyali emuweereddwa okufuga nga kabaka ng’atumbula okusinza okw’obulimba era ‘n’akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.’ (2 Ebyomumirembe 33:6) Oluvannyuma, Yakuwa yabonereza Manase ng’akkiriza kabaka wa Bwasuli okumuggya ku bwakabaka. Ng’ali mu kkomera, Manase “yeegayirira Mukama Katonda we era ne yeetoowaza nnyo,” bwe kityo, Yakuwa n’amuzza mu ntebe ye ey’obwakabaka e Yerusaalemi awo Manase ‘n’amanya nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.’ (2 Ebyomumirembe 33:11-13) Ku nkomerero, Manase bwe yeewombeeka, kya sanyusa Yakuwa, ate era oluvannyuma Yakuwa naye n’aba mwetoowaze gy’ali ng’amusonyiwa ebibi bye era ng’amukomyawo mu ntebe ey’obwakabaka.

8 Yakuwa okuba nti yali mwetegefu okusonyiwa Manase ate era n’okuba nti Manase yeenenya, bituwa eky’okuyiga ekikulu ennyo ekikwata ku bwetoowaze. Tulina okukijjukira nti engeri gye tuyisaamu abo abatunyiiza era n’endowooza gye tuba nayo bwe tuba nga twonoonye, erina kinene nnyo ky’ekola ku ngeri Yakuwa gy’akolaganamu naffe. Singa tubeera beetegefu okusonyiwa abalala ensobi ze baba batukoze ate era naffe ne tukkiriza ensobi zaffe, Yakuwa asobola okutusaasira.​—Matayo 5:23, 24; 6:12.

Katonda Ayoleka Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze

9. Obwetoowaze kabonero akooleka obunafu? Nnyonnyola.

9 Kyokka, obwetoowaze awamu n’engeri endala ezifaanana nabwo tebirina kutwalibwa ng’akabonero akalaga obunafu oba engeri etuleetera okubuusa amaaso ekibi. Nga bwe kiragibwa mu Byawandiikibwa Ebitukuvu, Yakuwa mwetoowaze, kyokka, ayoleka obusungu n’amaanyi mu ngeri ey’obutuukirivu bwe kiba nga kyetaagisizza. Olw’okuba mwetoowaze, Yakuwa afaayo mu ngeri ey’enjawulo ku abo abeetoowaze kyokka ate ne yeesamba ab’amalala. (Zabbuli 138:6) Yakuwa alaze atya nti abaweereza be abeetoowaze abafaako mu ngeri ey’enjawulo?

10. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 2:6-10, kiki Yakuwa ky’abikkulira abeetoowaze?

10 Mu kiseera kye ekigereke era ng’ayitira mu mukutu gw’aba asazeewo okukozesa, Yakuwa abikkulira abeetoowaze ebintu bingi ebikwata ku kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye. Ebintu ebyo eby’ekitalo tabibikkulira abo ab’amalala abagugubira ku magezi n’endowooza z’abantu obuntu. (1 Abakkolinso 2:6-10) Abeetoowaze bwe bamala okutegeera ebigendererwa bya Yakuwa, bakubirizibwa okumutendereza kubanga beeyongera okusiima ekitiibwa kye eky’ekitalo.

11. Mu kyasa ekyasooka, abamu baalaga batya nti tebaali beetoowaze, era mu ngeri ki ekyo gye kyali eky’akabi ennyo gye bali?

11 Mu kyasa ekyasooka, abantu bangi nga mw’otwalidde n’abamu abaali beeyita Abakristaayo tebaali beetoowaze era Pawulo bwe yababikkulira ebigendererwa bya Katonda beesittala. Pawulo yafuuka ‘omutume eri ab’amawanga,’ naye ekyo tekyasinziira ku ggwanga lye, buyigirize bwe, myaka gye oba olw’okuba nti yali amaze ekiseera kiwanvu ng’akola emirimu emirungi. (Abaruumi 11:13) Emirundi mingi ebyo abantu abatafaayo ku bya mwoyo bye batwala okuba ng’ensonga Yakuwa kw’asinziira okulonda gw’anaakozesa. (1 Abakkolinso 1:26-29; 3:1; Abakkolosaayi 2:18) Kyokka, olw’okuba Yakuwa yalina ekisa era n’ekigendererwa eky’obutuukirivu, yalonda Pawulo. (1 Abakkolinso 15:8-10) Abo abaali beetwala nga “abatume abakulu ennyo,” Pawulo be yayogerako awamu n’abaziyiza abalala, baagaana okumukkiriza awamu n’ebyo bye yali annyonnyola okuva mu Byawandiikibwa. Olw’okuba tebaali beetoowaze, baalemererwa okufuna okumanya era n’okutegeera engeri ey’ekitiibwa Yakuwa gy’atuukirizaamu ebigendererwa bye. Ka tuleme kunyooma oba okulowooza nti abo Yakuwa b’alonze okukozesa okutuukiriza by’ayagala tebasaana.​—2 Abakkolinso 11:4-6.

12. Ekyokulabirako kya Musa kiraga kitya nti Yakuwa awa omukisa abawombeefu?

12 Ku luuyi olulala, mu Baibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri abantu abeetoowaze gye baabikkulirwako ku kitiibwa kya Katonda. Musa, ‘eyali omuwombeefu nnyo okusinga abantu bonna’ yalaba ekitiibwa kya Katonda era yalina enkolagana ey’oku lusegere naye. (Okubala 12:3) Omusajja ono omuwombeefu, eyamala emyaka 40 ng’akola ng’omusumba, ng’era kirabika nti egisinga obungi ku gyo yagimala mu Kyondo ky’e Buwalabu, Omutonzi yamuwa enkizo ez’enjawulo. (Okuva 6:12, 30) Ng’ayambibwako Yakuwa, Musa yafuuka omwogezi era omukulembeze ow’eggwanga lya Isiraeri. Yayogeranga butereevu ne Katonda. Okuyitira mu kwolesebwa, yalaba ‘enfaanana ya Yakuwa.’ (Okubala 12:7, 8; Okuva 24:10, 11) Abo abakkiriza omuweereza oyo omwesigwa eyali akiikirira Katonda, nabo baaweebwa omukisa. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tunnakkiriza era ne tugondera Yesu nnabbi asinga Musa obukulu, awamu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ Katonda gw’alonze, tujja kuweebwa omukisa.​—Matayo 24:45, 46; Ebikolwa 3:22.

13. Yakuwa yabikkulira atya abasumba abeetoowaze ekitiibwa kye mu kyasa ekyasooka?

13 Baani abaalaba ‘okumasamasa kw’ekitiibwa kya Yakuwa’ nga malayika alangirira amawulire amalungi ag’okuzaalibwa ‘kw’Omulokozi, Kristo Mukama waffe’? Tebaali bakulembeze b’amadiini ab’amalala oba abantu abaali mu bifo ebya waggulu, naye baali basumba abawombeefu ‘abaabeeranga ku ttale nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro.’ (Lukka 2:8-11) Abantu abo baali tebassibwamu nnyo kitiibwa olw’omulimu gwe baali bakola. Kyokka, abo Yakuwa be yasalawo okusooka okutegeeza ebikwata ku kuzaalibwa kwa Masiya. Yee, Yakuwa abikkulira abeetoowaze n’abamutya ekitiibwa kye.

14. Mikisa ki abeetoowaze gye bafuna okuva eri Katonda?

14 Ebyokulabirako ebyo bituyigiriza ki? Bitulaga nti Yakuwa awa omukisa era asobozesa abeetoowaze okumanya n’okutegeera ebigendererwa bye. Alonda abo abayinza okuba nga tebalina bisaanyizo abantu abamu bye bandibasuubidde okuba nabyo n’abakozesa okumanyisa ebigendererwa bye. Kino kyanditukubirizza okweyongera okufuna obulagirizi okuva eri Yakuwa, okuva mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutegeeza abaweereza be abeetoowaze ebikwata ku kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye eby’ekitiibwa. Nnabbi Amosi yagamba: “Mukama Katonda taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.”​—Amosi 3:7.

Kulaakulanya Obwetoowaze Ofune Emikisa gya Katonda

15. Lwaki tulina okufuba okusigala nga tuli beetoowaze, era ekyo kirabikira kitya mu ebyo ebyatuuka ku Kabaka Sawulo owa Isiraeri?

15 Okusobola okufuna emikisa gya Katonda egy’olubeerera, tulina okusigala nga tuli beetoowaze. Omuntu bw’abeera omwetoowaze ekiseera ekimu, tekitegeeza nti buli kiseera bw’atyo bw’ajja okuba. Kyangu omuntu okusuula omuguluka obwetoowaze n’afuuka ow’amalala era ne yeekulumbaza, ekiyinza okumuleetera okwetulinkiriza era n’okufuna emitawaana. Sawulo omusajja eyasooka okufukibwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, bw’atyo bwe yali. Nga yakalondebwa okubeera kabaka, ‘yali yeenyooma.’ (1 Samwiri 15:17) Kyokka, oluvannyuma lw’okufugira emyaka ebiri gyokka, yeetulinkiriza. Yanyooma enteekateeka ya Yakuwa ey’okuwaayo ebiweebwayo okuyitira mu nnabbi Samwiri, era n’abaako ensonga ze yeekwasa ezaamuleetera okuwaayo ebiweebwayo. (1 Samwiri 13:1, 8-14) Eyo ye yali entandikwa y’ebintu eby’omuddiriŋŋanwa bye yakola ebyalaga nti teyali mwetoowaze. Ekyavaamu, Katonda yamuggyako omwoyo gwe n’emikisa gye, era oluvannyuma n’afa mu ngeri embi ennyo. (1 Samwiri 15:3-19, 26; 28:6; 31:4) Eky’okuyiga okuva mu ebyo kitegeerekeka bulungi: Tulina okufuba okusigala nga tuli beetoowaze, bawulize era n’okweggyamu endowooza ey’okwekulumbaza, mu ngeri eyo, tujja kwewala ebikolwa eby’okwetulinkiriza ebiviirako obutasiimibwa Yakuwa.

16. Okufumiitiriza ku nkolagana yaffe ne Yakuwa era ne bantu bannaffe kiyinza kutuyamba kitya okubeera abeetoowaze?

16 Wadde ng’obwetoowaze tebumenyebwa mu lukalala lw’ebibala by’omwoyo gwa Katonda, nabwo ngeri ya Katonda erina okukulaakulanyizibwa. (Abaggalatiya 5:22, 23; Abakkolosaayi 3:10, 12) Okuva obwetoowaze bwe buzingiramu engeri gye tulowoozaamu, kwe kugamba, engeri gye twetunuuliramu era n’engeri gye tutunuuliramu abalala, kyetaagisa okufuba ennyo okubukulaakulanya. Bwe tufumiitiriza ennyo ku nkolagana yaffe ne Yakuwa era n’abantu abalala, kiyinza okutuyamba okubeera abeetoowaze. Mu maaso ga Katonda, abantu bonna abatatuukiriddebalinga omuddo ogubaawo okumala akabanga, ate ne guwotoka. Balinga amayanzi mu nnimiro. (Isaaya 40:6, 7, 22) Olusubi olumu olw’omuddo luyinza okwewaanira ku ndala olw’okubanga luzisingako obuwanvu? Ejjanzi liyinza okweraga olw’okuba lyo liyinza okubuuka okusinga amayanzi amalala? Tekiba kya magezi okulowooza mu ngeri eyo. N’olwekyo, omutume Pawulo yajjukiza Bakristaayo banne bw’ati: “Akwawula ku balala y’ani? era olina ki ky’otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng’ataaweebwa?” (1 Abakkolinso 4:7) Bwe tufumiitiriza ku byawandiikibwa nga bino, kiyinza okutuyamba okukulaakulanya obwetoowaze era n’okubwoleka.

17. Kiki ekyayamba nnabbi Danyeri okukulaakulanya obwetoowaze, era kiki ekisobola okutuyamba okukola kye kimu?

17 Olw’okuba nnabbi Omwebbulaniya Danyeri ‘yeewombeeka,’ ekitegeeza nti yali mwetoowaze, yayitibwa “omusajja omwagalwa ennyo” eri Katonda. (Danyeri 10:11, 12) Kiki ekyayamba Danyeri okubeera omwetoowaze? Okusookera ddala, yayoleka nti yalina obwesige obw’amaanyi mu Yakuwa, nga buli kiseera amutuukirira mu kusaba. (Danyeri 6:10, 11) Okugatta ku ekyo, Danyeri yanyiikirira nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda, era ng’ekyo kye kyamuyamba okweyongera okukuumira mu birowoozo bye ebigendererwa bya Katonda. Era yali mwetegefu okukkiriza ensobi ze n’ez’abantu be. Ate era yali ayagala nnyo okutumbula obutuukirivu bwa Katonda so si obubwe ku bubwe. (Danyeri 9:2, 5, 7) Waliwo kye tusobola okuyigira ku kyokulabirako kya Danyeri ekirungi ennyo era ne tufuba okukulaakulanya obwetoowaze era n’okubwoleka mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe?

18. Kitiibwa ki abo abooleka obwetoowaze leero kye bajja okufuna?

18 “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama,” Engero 22:4 bwe lugamba. Yee, Yakuwa asiima abeetoowaze, era ekivaamu bafuna ekitiibwa n’obulamu. Mu kiseera omuwandiisi wa Zabbuli Asafu bwe yali abulako katono okulekayo obuweereza bwe eri Katonda, naye Yakuwa n’atereeza endowooza ye, mu bwetoowaze, Asafu yagamba bw’ati: “Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go, era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.” (Zabbuli 73:24) Ekyo kiyinza kutukwatako kitya leero? Kitiibwa ki abo abooleka obwetoowaze kye bajja okufuna? Ng’oggyeko okufuna emikisa era n’okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, basobola okwesunga okulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo bino ebya Kabaka Dawudi bye yayogera nti: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Mazima ddala bajja kuweebwa ekitiibwa mu biseera eby’omu maaso!​—Zabbuli 37:11.

Ojjukira?

• Mu ngeri ki Suteefano gy’ali ekyokulabirako eky’omu ku bantu abeetoowaze Yakuwa be yabikkulira ekitiibwa Kye?

• Mu ngeri ki Yakuwa Katonda gy’ayolesezaamu obwetoowaze?

• Byakulabirako ki ebiraga nti Yakuwa abikkulira abeetoowaze ekitiibwa kye?

• Ekyokulabirako kya Danyeri kisobola kitya okutuyamba okukulaakulanya obwetoowaze?

[Akasanduuko akali ku lupapula 22]

Yeekakasa Naye nga Mwetoowaze

Mu lukuŋŋaana olunene olw’abayizi ba Baibuli (kati abamanyiddwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa) olwali mu kibuga ekiyitibwa Cedar Point, eky’omu Ohio, mu Amerika, mu 1919, J. F. Rutherford eyali aweza emyaka 50 egy’obukulu, era nga ye yali alabirira omulimu mu kiseera ekyo, yeewaayo okukola nga nnakyewa. Yasitula emigugu era n’awerekerako abagenyi abaali bazze mu lukuŋŋaana olwo nga bagenda mu bisenge gye baali ab’okusuula. Ku lunaku olwasembayo olw’olukuŋŋaana olwo, Yawuniikiriza nnyo abantu 7,000 abaali bawuliriza bwe yayogera ebigambo bino: “Muli babaka ba Kabaka wa bakabaka era aba Mukama wa bakama, nga mulangirira eri abantu . . . obwakabaka obw’ekitiibwa obwa Mukama waffe.” Wadde nga ow’oluganda Rutherford yali musajja eyeekakasa ennyo, ng’ayogeza maanyi era ng’akalambira ku ekyo ky’amanyi nga kye kituufu, kyokka, yeetoowazanga mu maaso ga Katonda, era ekyo kyeyolekeranga mu kusaba nga bali mu kusinza okw’oku makya mu maka ga Beseri.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Suteefano eyali amanyi ennyo Ebyawandiikibwa, yagabanga emmere

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Obwetoowaze Manase bwe yayoleka bwasanyusa Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Kiki ekyaleetera Danyeri okuba “omusajja omwagalwa ennyo”?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share