Noonya Obulagirizi bwa Katonda mu Bintu Byonna
“Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n’emirembe. Ye anaatuwanga obulagirizi okutuusa lwe tulifa.”—ZAB. 48:14, NW.
1, 2. Lwaki tusaanidde okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa mu kifo ky’okwesiga amagezi gaffe, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?
BWE tulowooza nnyo ku bintu ebitaliimu oba eby’akabi, kyangu okutandika okwerimba nti bya mugaso. (Nge. 12:11) Bwe tuba nga ddala twagala okukola ekintu Omukristaayo ky’atasaanidde kukola, tutera okubaako ensonga ze twekwasa ne tukikola. (Yer. 17:5, 9) Eyo ye nsonga lwaki kyali kya magezi omuwandiisi wa zabbuli okusaba Yakuwa nti: “Otume omusana gwo n’amazima go; ebyo binnuŋŋamye.” (Zab. 43:3) Mu kifo ky’okwesiga amagezi ge amatono, yeesiga Yakuwa, ensibuko y’obulagirizi obusingayo obulungi. Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, naffe tusaanidde okunoonya obulagirizi Katonda.
2 Naye, lwaki tusaanidde okwesiga obulagirizi bwa Yakuwa okusinga obulala bwonna? Ddi lwe tusaanidde okunoonya obulagirizi obwo? Okusobola okubuganyulwamu, ngeri ki ze tulina okuba nazo, era Yakuwa atukulembera atya leero? Ebibuuzo bino ebikulu bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.
Lwaki Twandyesize Obulagirizi bwa Yakuwa?
3-5. Lwaki obulagirizi bwa Yakuwa ddala bwesigika?
3 Yakuwa ye Kitaffe ow’omu ggulu. (1 Kol. 8:6) Amanyi bulungi buli omu ku ffe era asobola okumanya ebifa mu mitima gyaffe. (1 Sam. 16:7; Nge. 21:2) Kabaka Dawudi yagamba Katonda nti: “Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka. Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala. Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, laba, ai Mukama, ggwe ky’otomanyira ddala.” (Zab. 139:2, 4) Okuva bwe kiri nti Yakuwa atumanyi bulungi, twandibuusizabuusizza obanga ddala amanyi bye tusinga okwetaaga? Ng’oggyeko ekyo, Yakuwa atusingira wala nnyo amagezi. Ategeera buli kintu, n’ebyo abantu bye batasobola kutegeera, era buli ekibaawo amanya ebinaakivaamu. (Is. 46:9-11; Bar. 11:33) Ye ‘Katonda ow’amagezi yekka.’—Bar. 16:27.
4 Okugatta ku ekyo, Yakuwa atwagala era bulijjo atwagaliza ekisingayo obulungi. (Yok. 3:16; 1 Yok. 4:8) Nga Katonda ow’okwagala, atuwa buli kye twetaaga. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Buli kirabo kirungi, na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow’ebyaka.” (Yak. 1:17) Abo abakkiriza obulagirizi bwa Katonda baganyulwa nnyo mu birungi by’agaba.
5 N’ekisembayo, Yakuwa ye muyinza w’ebintu byonna. Ku nsonga eno, omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Atuula mu kifo eky’ekyama eky’oyo ali waggulu ennyo ye anaabeeranga wansi w’ekisiikirize eky’Omuyinza w’ebintu byonna. N[n]aayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.” (Zab. 91:1, 2) Bwe tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, kiba kiraga nti twagala obukuumi obwa nnamaddala obuva eri Katonda atalemererwa. Ne bwe twolekagana n’okuyigganyizibwa Yakuwa atugumya. Tasobola kutwabulira. (Zab. 71:4, 5; Soma Engero 3:19-26.) Yee, Yakuwa amanyi bye tusinga okwetaaga, atwagaliza ekisingayo obulungi, era alina obusobozi okubituwa. Nga kiba kya busiru okugaana obulagirizi bwe! Naye ddi lwe twetaaga obulagirizi obwo?
Ddi Lwe Twetaaga Obulagirizi?
6, 7. Ddi lwe twetaaga obulagirizi bwa Yakuwa?
6 Mu butuufu twetaaga obulagirizi bwa Katonda mu bulamu bwaffe bwonna, okuva mu buto okutuukira ddala mu bukadde. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n’emirembe. Ye anaatuwanga obulagirizi okutuusa lwe tulifa.” (Zab. 48:14, NW) Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, Abakristaayo ab’amagezi tebakoowa kunoonya bulagirizi bwa Katonda.
7 Wabaawo ebiseera lwe tuwulira nti twetaaga obuyambi mu bwangu. Oluusi twesanga nga tuli “mu nnaku,” olw’okuyigganyizibwa, obulwadde obw’amaanyi, oba olw’omulimu okuggwawo. (Zab. 69:16, 17) Mu biseera ng’ebyo, kiba kirungi okusaba Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja kutuzzaamu amaanyi era atuyambe okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Soma Zabbuli 102:17.) Kyokka, twetaaga obulagirizi bwa Yakuwa ne mu bintu ebirala. Ng’ekyokulabirako, tubwetaaga bwe tuba tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, obuweereza bwaffe busobole okuvaamu ebibala. Era na buli lwe tuba n’eky’okusalawo—ka kibe nga kikwata ku kwesanyusaamu, kwambala na kwekolako, kulonda mikwano, kulonda mulimu, buyigirize, oba ku nsonga endala yonna—tujja kusalawo bulungi singa tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa. Ekituufu kiri nti twetaaga obulagirizi mu buli kimu.
Akabi Akali mu Butanoonya Bulagirizi bwa Katonda
8. Kaawa okulya ekibala ekyagaanibwa kyali kitegeeza ki?
8 Jjukira nti ffe tulina okuba abeetegefu okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa. Katonda tajja kutuwaliriza. Omuntu eyasooka okusalawo obutagoberera bulagirizi bwa Yakuwa yali Kaawa, era ebyavaamu biraga akabi akali mu kusalawo obubi. Ate era lowooza ku Kaawa okulya ekibala ekyagaanibwa kye kyali kitegeeza. Yakirya ng’ayagala ‘kuba nga Katonda, okumanyanga obulungi n’obubi.’ (Lub. 3:5) Mu kukola kino yali ayagala kweteeka mu kifo kya Katonda, yeesalirengawo ekirungi n’ekibi mu kifo ky’okugobereranga obulagirizi bwa Yakuwa. Bw’atyo, yeesamba obufuzi bwa Yakuwa. Yali ayagala kwefuga yekka. Bbaawe Adamu naye yakwata ekkubo lye limu ery’obujeemu.—Bar. 5:12.
9. Bwe tugaana obulagirizi bwa Yakuwa, kiba kitegeeza ki, era lwaki ekyo tekiba kya magezi n’akatono?
9 Leero, bwe tutagoberera bulagirizi bwa Yakuwa, naffe tuba twesambye obufuzi bwe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muntu alaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Bw’aba ali mu kibiina Ekikristaayo, aba amanyi bulungi obulagirizi bwa Yakuwa ku nsonga eno. Ebintu ebitali biyonjo tebisaanidde kulabibwa wadde okwogerwako. (Bef. 5:3) Omuntu bw’agaana obulagirizi bwa Yakuwa ng’obwo, aba yeesambye obufuzi Bwe n’obukulembeze Bwe. (1 Kol. 11:3) Ekyo tekiba kya magezi n’akatono kubanga Yeremiya yagamba nti, “tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”—Yer. 10:23.
10. Lwaki eddembe ly’okwesalirawo tusaanidde okulikozesa obulungi?
10 Abamu bayinza obutakkiriziganya na bigambo bya Yeremiya, nga bagamba nti okuva Yakuwa bwe yatuwa eddembe okwesalirawo, bwe tulikozesa nga bwe twagala talina kutunenya. Naye, tetulina kwerabira nti ekirabo ekyo tulina okukikozesa obulungi. Tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’ebintu bye twogera ne bye tukola. (Bar. 14:10) Yesu yagamba nti: “Ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” Era yagamba nti: “Mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma.” (Mat. 12:34; 15:19) N’olwekyo, bye twogera ne bye tukola biraga ekiri mu mitima gyaffe. Biragira ddala kiki kye tuli. Eyo ye nsonga lwaki Omukristaayo ow’amagezi alina okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa mu buli kintu. Mu ngeri eyo, Yakuwa alaba ‘omutima gwe ogutaliimu bukuusa’ era ‘amukolera ebirungi.’—Zab. 125:4.
11. Ebyaliwo mu ggwanga lya Isiraeri bituyigiriza ki?
11 Jjukira ebyaliwo mu ggwanga lya Isiraeri. Abaisiraeri bwe baasalangawo obulungi ne bagoberera amateeka ga Yakuwa, Yakuwa yabakuumanga. (Yos. 24:15, 21, 31) Kyokka, emirundi mingi baakozesa bubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Mu kiseera kya Yeremiya, Yakuwa yaboogerako bw’ati: “[Tebaawulira] so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw’omutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera mu maaso.” (Yer. 7:24-26) Ng’ekyo kyali kya nnaku nnyo! Ka tukkirizenga obulagirizi bwa Yakuwa, tuleme kutambulira mu kuteesa kwaffe olw’obukakanyavu oba olw’okwagala okwekolera ebyaffe, kituviiremu ‘okudda ennyuma mu kifo ky’okweyongera mu maaso’!
Kyetaagisa Ki Okugoberera Obulagirizi bwa Katonda?
12, 13. (a) Lwaki tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa? (b) Lwaki okuba n’okukkiriza kikulu?
12 Tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa olw’okuba tumwagala. (1 Yok. 5:3) Kyokka, Pawulo yalaga nti waliwo ekintu ekirala kye twetaaga bwe yagamba: ‘Tutambula lwa kukkiriza, so si lwa kulaba.’ (2 Kol. 5:6, 7) Lwaki okuba n’okukkiriza kikulu? Kikulu kubanga Yakuwa atuluŋŋamya “mu makubo ag’obutuukirivu,” naye ng’amakubo ago tegatuleetera kugaggawala oba kufuna bitiibwa mu nsi eno. (Zab. 23:3) Eno ye nsonga lwaki tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi nti okuweereza Yakuwa kijja kutuviiramu emikisa egitenkanika. (Soma 2 Abakkolinso 4:17, 18.) Era okukkiriza kutuyamba okubeera abamativu kasita tuba n’ebintu bye twetaaga mu bulamu.—1 Tim. 6:8.
13 Yesu yalaga nti mu kusinza okw’amazima omuntu kimwetaagisa okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza, era nga na kino kyetaagisa okuba n’okukkiriza. (Luk. 9:23, 24) Abasinza ba Katonda abamu beefiirizza bingi, bagumidde obwavu, okunyigirizibwa, obukyayi, n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. (2 Kol. 11:23-27; Kub. 3:8-10) Okukkiriza okw’amaanyi kwe kubasobozesezza okubigumira, ne basigala nga basanyufu. (Yak. 1:2, 3) Okukkiriza okw’amaanyi kutuyamba okuba abakakafu nti okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa bulijjo kye kisingayo obulungi. Era bulijjo kituviiramu emiganyulo egy’olubeerera. Tuli bakakafu nti empeera y’abo abagumiikiriza nnene nnyo bw’ogigeraageranya n’okubonaabona kwe bayitamu okw’ekiseera obuseera.—Beb. 11:6.
14. Lwaki Agali yalina okulaga obwetoowaze?
14 Ate era lowooza ku nsonga lwaki obwetoowaze bwetaagisa mu kugoberera obulagirizi bwa Yakuwa. Kino kyeyolekera mu kyokulabirako kya Agali eyali omuzaana wa Saala. Saala bwe yalaba nga tazadde mwana, n’addira Agali n’amuwa Ibulayimu, era Agali n’afuna olubuto. Kino kyaleetera Agali okunyooma mukama we oyo omugumba. Saala ‘yatandika okumujooga,’ era Agali yadduka awaka. Malayika wa Yakuwa yasisinkana Agali n’amugamba nti: “Ddayo eri mugole wo, ogonde wansi w’emikono gye.” (Lub. 16:2, 6, 8, 9) Oboolyawo buno si bwe bulagirizi Agali bwe yali ayagala okuweebwa. Okusobola okugoberera obulagirizi bwa malayika, yalina okweggyamu omuze gw’obunyoomi. Wadde kyali kityo, Agali yakola nga malayika bwe yamugamba, era mutabani we, Isimaeri, n’azaalirwa mu maka ga kitaawe.
15. Ezimu ku mbeera eziyinza okutwetaagisa okuba abeetoowaze tusobole okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa ze ziruwa?
15 Okusobola okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa naffe kiyinza okutwetaagisa okuba abeetoowaze. Abamu kiyinza okubeetaagisa okukikkiriza nti eby’okwesanyusaamu ebimu ebibanyumira tebisanyusa Yakuwa. Omukristaayo omu ayinza okuba ng’alina gwe yanyiizizza era nga kimwetaagisa okumwetondera. Oba kiyinza okumwetaagisa okukkiriza ensobi gye yakoze. Ate watya ng’omuntu akoze ekibi eky’amaanyi? Yeetaaga okulaga obwetoowaze n’ayatula ekibi kye eri abakadde. Omuntu ayinza n’okugobebwa mu kibiina. Bw’aba okukomezebwawo mu kibiina, alina okulaga obwetoowaze ne yeenenya era n’akyusa amakubo ge. Mu mbeera ng’ezo n’endala, ebigambo ebiri mu Engero 29:23 bizzaamu amaanyi: ‘Amalala g’omuntu galimutoowaza: naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.’
Yakuwa Atuwa Atya Obulagirizi?
16, 17. Okusobola okuganyulwa mu bulagirizi bwa Baibuli mu bujjuvu tulina kukola ki?
16 Obulagirizi bwa Katonda obusinga buva Baibuli, Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. (Soma 2 Timoseewo 3:16, 17.) Okusobola okukiganyulwamu mu bujjuvu, tetulina kulinda kutuukibwako kizibu tulyoke tunoonye Ebyawandiikibwa ebituyamba. Mu kifo ky’okukola tutyo, kiba kya magezi okusoma Baibuli buli lunaku. (Zab. 1:1-3) Kino kituyamba okumanya obulungi ebiri mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Tufuna endowooza ng’eya Katonda, era tuba tusobola okwaŋŋanga ebizibu, ka bibe nga bituguddeko buggwi.
17 Okuggata ku ekyo, kikulu okufumiitiriza n’okusaba ku bye tusoma mu Byawandiikibwa. Bwe tubifumiitirizaako, kituyamba okulaba engeri gye bisobola okutuganyula mu bulamu. (1 Tim. 4:15) Bwe tuba n’ebizibu eby’amaanyi, tusaba Yakuwa okutuwa obulagirizi bwe twetaaga. Omwoyo gwa Yakuwa gujja kutuyamba okujjukira emisingi gye twasomako mu Baibuli oba mu bitabo ebiginnyonnyola.—Soma Zabbuli 25:4, 5.
18. Yakuwa akozesa atya Oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo okutuwa obulagirizi?
18 Oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo ye nsibuko endala ey’obulagirizi bwa Yakuwa. Ekitundu ekikulu ennyo eky’oluganda olwo ye ‘muddu omwesiga era owa magezi,’ wamu n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira, atuwa emmere ey’eby’omwoyo ng’ayitira mu bitabo by’afulumya ne mu programu z’enkuŋŋaana ennene n’entono. (Mat. 24:45-47; geraageranya Ebikolwa 15:6, 22-31.) Ate era mu luganda olw’Ekikristaayo mulimu abantu abakuze mu by’omwoyo, naddala abakadde, abalina ebisaanyizo okutuyamba n’okutuwa obulagirizi obwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (Is. 32:1) Abavubuka abava mu maka Amakristaayo balina ensibuko endala ey’obulagirizi. Bakubirizibwa okufuna obulagirizi okuva eri bazadde baabwe abatya Katonda.—Bef. 6:1-3.
19. Mikisa ki gye tufuna olw’okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa buli kiseera?
19 Yee, Yakuwa atuwa obulagirizi mu ngeri eziwerako era kiba kirungi ne tubukozesa mu bujjuvu. Ng’ayogera ku kiseera Abaisiraeri we baabeerera abeesigwa, Kabaka Dawudi yagamba nti: “Bajjajjaffe baakwesiganga gwe: beesiganga, naawe n’obawonya. Baakukowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.” (Zab. 22:3-5) Singa tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, naffe tetujja ‘kukwatibwa nsonyi.’ Bye tusuubira byonna bijja kutuukirira. Bwe ‘tuyiringisiza olugendo lwaffe ku Yakuwa,’ mu kifo ky’okwesiga amagezi gaffe, tujja kufuna emikisa mingi ne mu kiseera kino. (Zab. 37:5) Era singa tunaanywerera mu kkubo eryo, emikisa egyo gijja kuba gya lubeerera. Kabaka Dawudi yawandiika nti: “Mukama ayagala ensonga, era taleka batukuvu be. Bakuumibwa emirembe gyonna . . . Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Ps. 37:28, 29.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki twandyesize obulagirizi bwa Yakuwa?
• Bwe tujeemera obulagirizi bwa Yakuwa kiba kitegeeza ki?
• Ezimu ku mbeera Omukristaayo mw’ayinza okwetaagira okulaga obwetoowaze ze ziruwa?
• Yakuwa atuwa atya obulagirizi leero?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Onoonya obulagirizi bwa Yakuwa mu buli kimu ky’okola?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Kaawa yeesamba obufuzi bwa Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Agali kyali kimwetaagisa ki okusobola okugoberera obulagirizi bwa malayika?