LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 4/15 lup. 3-7
  • Weesambe “Ebintu Ebitaliimu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weesambe “Ebintu Ebitaliimu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weesambe Bakatonda ab’Obulimba
  • Tokkiriza Kwegomba kwa Mubiri Kufuuka Katonda Wo
  • Weegendereze Ebigambo Ebitaliimu
  • Okwesamba Ebigambo Ebitaliimu
  • Weewale Okuluubirira ‘Ebitagasa’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 4/15 lup. 3-7

Weesambe “Ebintu Ebitaliimu”

“Agoberera ebintu ebitaliimu taba muteegevu.”​—NGE. 12:11, NW.

1. Ebimu ku bintu eby’omuwendo bye tulina bye biruwa, era engeri y’okubikozesaamu esingayo obulungi y’eruwa?

NG’ABAKRISTAAYO, ffenna tulina ebintu eby’omuwendo ebitali bimu. Tuyinza okuba nga tuli balamu bulungi, tulina amaanyi, amagezi, oba eby’obugagga. Olw’okuba twagala Yakuwa, tuli basanyufu okukozesa ebintu ebyo mu kumuweereza, mu ngeri eyo ne tutuukiriza ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Ossangamu ekitiibwa Mukama n’ebintu byo.”​—Nge. 3:9.

2. Baibuli erabula etya ku bintu ebitaliimu, era okulabula kuno kukwata kutya ku bulamu obwa bulijjo?

2 Ku luuyi olulala, Baibuli eyogera ku bintu ebitaliimu era etulabula obutayonoona biseera byaffe kukolerera bintu ng’ebyo. Ku nsonga eno, lowooza ku bigambo ebiri mu Engero 12:11 (NW) awagamba nti: “Alima ettaka lye, aliba n’emmere nnyingi; naye oyo agoberera ebitaliimu taba mutegeevu.” Kyangu okulaba amakulu g’olugero olwo mu bulamu obwa bulijjo. Omusajja bw’akola n’obunyiikivu, asobola okuyamba ab’omu maka ge okuba obulungi mu by’enfuna. (1 Tim. 5:8) Naye singa akolerera ebintu ebitaliimu, kiba kiraga nti si mutegeevu. Kyangu nnyo omusajja ng’oyo okwesanga mu bwavu.

3. Baibuli ky’eyogera ku bintu ebitaliimu kikwata kitya ku kusinza kwaffe?

3 Ate kiri kitya bwe tukwataganya omusingi oguli mu lugero olwo n’okusinza kwaffe? Olwo kiba kyeyoleka bulungi nti Omukristaayo bw’anyiikirira okuweereza Yakuwa n’obwesigwa aba n’obukuumi obwa nnamaddala. Aba mukakafu nti Katonda ajja kumuwa emikisa mu kiseera kino era nti ebiseera bye eby’omu maaso bijja kuba birungi. (Mat. 6:33; 1 Tim. 4:10) Kyokka, Omukristaayo bw’akolerera ebintu ebitaliimu, ateeka enkolagana ye ne Yakuwa awamu n’essuubi lye ery’obulamu obutaggwaawo mu kabi. Ekyo tusobola tutya okukyewala? Kiba kitwetaagisa okutegeera obulungi ebintu “ebitaliimu” bye tukola mu bulamu era ne tuba bamalirivu okubyesamba.​—Soma Tito 2:11, 12.

4. Ebintu ebitaliimu bye biruwa?

4 Kati olwo ebintu ebitaliimu bye biruwa? Bizingiramu ekintu kyonna ekitulemesa okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Ng’ekyokulabirako, biyinza okuzingiramu eby’okwesanyusaamu ebitali bimu. Kya lwatu nti okwesanyusaamu si kibi. Naye bwe tumalira ennyo ebiseera mu kwesanyusaamu ne tulagajjalira ebintu ebikwata ku kusinza kwaffe, olwo okwesanyusaamu kuba kufuuse ekintu ekitaliimu, era ekyo kyonoona enkolagana yaffe ne Katonda. (Mub. 2:24; 4:6) Kino okusobola okukyewala, Omukristaayo alina okulaba nti tagwa lubege, era n’afuba okukozesa obulungi ebiseera bye eby’omuwendo. (Soma Abakkolosaayi 4:5.) Kyokka, waliwo ebintu ebitaliimu eby’akabi ennyo n’okusinga okwesanyusaamu. Mu bino mwe muli bakatonda ab’obulimba.

Weesambe Bakatonda ab’Obulimba

5. Mu Lwebbulaniya olwasooka, ekigambo “ebitaliimu” kyali kisinga kukozesebwa ku ki?

5 Ekigambo “ebitaliimu” mu Lwebbulaniya olwasooka kyali kisinga kukozesebwa ku bakatonda ab’obulimba. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Temwekoleranga bifaananyi [“bakatonda abataliimu,” NW ], so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, [okulivunnamiranga].” (Leev. 26:1) Kabaka Dawudi yawandiika nti: “Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna ab’amawanga bye bifaananyi [“bakatonda abataliimu,” NW ]. Naye Mukama ye yakola eggulu.”​—1 Byom. 16:25, 26.

6. Lwaki bakatonda ab’obulimba bintu ebitaliimu?

6 Nga Dawudi bwe yagamba, twetooloddwa ebintu bingi ebiraga nti Yakuwa wa kitalo. (Zab. 139:14; 148:1-10) Ng’Abaisiraeri baalina enkizo ya maanyi okuba nti Yakuwa yali yakola nabo endagaano! Nga kyali kya busiru nnyo okumuvaako ne batandika okuvunnamira ebifaananyi ebyole n’empagi! Bakatonda baabwe ab’obulimba baali tebasobola kwerokola wadde okulokola abasinza baabwe mu biseera ebya kazigizigi, era kyeyoleka bulungi nti ddala baali bitaliimu.​—Balam. 10:14, 15; Is. 46:5-7.

7, 8. ‘Eby’obugagga’ biyinza bitya okufuuka katonda?

7 Mu mawanga mangi leero, abantu bakyavunnamira ebifaananyi ebikolebwa abantu, era okufaananako bakatonda ab’edda, na bano tebalina mugaso. (1 Yok. 5:21) Ng’oggyeko ebifaananyi, waliwo ebintu ebirala Baibuli by’eyita bakatonda. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba: “Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri: kuba oba anaakyawanga omu, n’ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n’anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona [“Byabugagga,” NW].”​—Mat. 6:24.

8 ‘Eby’obugagga’ biyinza bitya okufuuka katonda? Lowooza ku mayinja agaabanga mu nnimiro mu Isiraeri ey’edda. Amayinja ng’ago gaali gasobola okukozesebwa mu kuzimba ennyumba oba ebisenge. Ku luuyi olulala, bwe baagasimbanga ‘ng’empagi’ okugavunnamira, olwo nga gafuuka ekyesittaza eri abantu ba Yakuwa. (Leev. 26:1) Mu ngeri y’emu, ssente za mugaso. Tuzeetaaga okweyimirizaawo, era tuyinza okuzikozesa mu kuweereza Yakuwa. (Mub. 7:12; Luk. 16:9) Naye singa tukulembeza okunoonya ssente mu kifo ky’okwenyigira mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo, olwo ssente ziba zifuuse katonda waffe. (Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.) Mu nsi eno eteeka ennyo essira ku kunoonya eby’obugagga, tulina okulaba nti tetugwa lubege mu nsonga eno.​—1 Tim. 6:17-19.

9, 10. (a) Omukristaayo atwala atya obuyigirize? (b) Kabi ki akali mu buyigirize obwa waggulu?

9 Ekintu ekirala eky’omugaso ekiyinza okufuuka ekitaliimu bwe buyigirize. Twagala abaana baffe okufuna obuyigirize obulungi basobole okweyimirizaawo mu bulamu. N’ekisinga obukulu, Omukristaayo omuyigirize obulungi aba asobola okusoma Baibuli n’agitegeera, okweyambisa emisingi gyayo okugonjoola ebizibu, okusalawo obulungi, era aba asobola n’okusomesa abalala Baibuli ne bagitegeera bulungi. Okufuna obuyigirize obulungi kitwala ebiseera, naye ebiseera ebyo biba bikozeseddwa bulungi.

10 Ate kiri kitya ku buyigirize obwa waggulu, gamba ng’obwa yunivasite n’amatendekero amalala aga waggulu? Kirowoozebwa nti obuwanguzi mu bulamu buva mu kufuna obuyigirize ng’obwo. Kyokka, bangi ababufuna beesanga ng’ebirowoozo byabwe bijjudde magezi ga nsi eno ag’obulimba. Okuluubirira obuyigirize obwo kiremesa omuntu okukozesa obulungi emyaka gye egy’obuvubuka mu kuweereza Yakuwa. (Mub. 12:1) Tekyewuunyisa nti mu mawanga omuli abantu abangi nga bayivu, batono nnyo abakkiririza mu Katonda. Mu kifo ky’okwesiga obuyigirize obwa waggulu, Omukristaayo alina kwesiga Yakuwa.​—Nge. 3:5.

Tokkiriza Kwegomba kwa Mubiri Kufuuka Katonda Wo

11, 12. Lwaki Pawulo yayogera ku bamu nti: “Katonda waabwe lwe lubuto lwabwe”?

11 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abafiripi, omutume Pawulo yayogera ku kintu ekirala ekiyinza okufuuka katonda. Ng’ayogera ku bamu abaaliko bakkiriza banne, agamba nti: ‘Waliwo bangi be nnateranga okwogerako naye kati mboogerako nga nkaaba, kubanga balabe b’omuti gwa Kristo ogw’okubonaabona, era enkomerero yaabwe kuliba kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto lwabwe, era balowooza bintu bya nsi.’ (Baf. 3:18, 19, NW) Olubuto lw’omuntu luyinza lutya okufuuka katonda we?

12 Kirabika nti eri abo Pawulo be yali ayogerako, okusanyusa omubiri kyafuuka kikulu okusinga okwegatta ku Pawulo ne baweereza Yakuwa. Abamu bandiba nga ddala baanywanga nnyo omwenge ne bafuuka batamiivu, oba balyanga nnyo emmere ne bafuuka baluvu. (Nge. 23:20, 21; geraageranya Ekyamateeka 21:18-21.) Abalala bo bayinza okuba nga basalawo okukolerera buli kalungi akaaliwo mu kiseera ekyo, ekyo ne balemesa okuweereza Yakuwa. Ka tuleme kukkiriza kwegomba kwa bulamu abantu bwe bayita obulungi kutulemesa kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​—Bak. 3:23, 24.

13. (a) Okwegomba okubi kwe kiruwa, era Pawulo yakwogerako atya? (b) Tuyinza tutya okwewala okwegomba okubi?

13 Pawulo era yayogera ku ngeri endala ey’okusinza okw’obulimba. Yawandiika nti: ‘Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi, n’okuyaayaana okwegomba okubi, kwe kusinza ebifaananyi.’ (Bak. 3:5) Okwegomba kwe kwagala ennyo ekintu ky’otolina. Kuyinza okuba okwagala ennyo eby’obugagga. Kuyinza n’okuzingiramu obukaba oba obwenzi. (Kuv. 20:17) Tekyewuunyisa nti okwegomba okw’engeri eno kuba nga kusinza bifaananyi, oba okusinza katonda ow’obulimba? Ebigambo Yesu bye yakozesa bikyoleka bulungi nti kikulu okukola buli ekisoboka okwewala okwegomba ng’okwo.​—Soma Makko 9:47; 1 Yok. 2:16.

Weegendereze Ebigambo Ebitaliimu

14, 15. (a) ‘Ebigambo ebitaliimu’ ebyaleetera abamu okwesittala mu nnaku za Yeremiya bye biruwa? (b) Lwaki ebigambo bya Musa byali bya muwendo?

14 Ebintu ebitaliimu biyinza okuzingiramu ebigambo. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Yeremiya nti: ‘Bannabbi balagula eby’obulimba mu linnya lyange: saabatuma so saabalagira so saayogera nabo: babalagula okwolesebwa okw’obulimba n’obulaguzi n’ekigambo ekitaliimu n’obukulusa obw’omu mutima gwabwe.’ (Yer. 14:14) Bannabbi abo ab’obulimba baali bagamba nti balagula mu linnya lya Yakuwa, so nga ate baali boogera byabwe ku bwabwe, oba magezi gaabwe. Mu ngeri eyo, baali boogera ‘bigambo ebitaliimu.’ Byali bya kabi eri okusinza okw’amazima era nga tebigasa. Mu 607 B.C.E., bangi ku abo abaagoberera ebigambo ng’ebyo ebitaliimu battibwa Abababulooni.

15 Okwawukana ku ekyo, Musa yagamba Abaisiraeri nti: “Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero . . . Kubanga si kigambo ekitaliimu gye muli; kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw’ekigambo ekyo kyemunaavanga muwangaala ennaku zammwe ku nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.” (Ma. 32:46, 47) Yee, ebigambo bya Musa byali biruŋŋamiziddwa Katonda. N’olwekyo byali bya muwendo, era nga bya mugaso eri eggwanga. Abo abaabigoberera baalina obulamu bulungi era baawangala. Ka bulijjo twesambe ebigambo ebitaliimu era tunywerere ku bigambo eby’amazima.

16. Bannasayansi bye boogera nga bikontana n’Ekigambo kya Katonda twandibitutte tutya?

16 Waliwo ebigambo ebitaliimu ebyogerwa leero? Yee. Ng’ekyokulabirako, bannasayansi abamu bagamba nti ebintu bye bazudde awamu n’enjigiriza y’ebintu okuba nti byajja bifuukafuuka biraga bulungi nti okukkiririza mu Katonda tekikyetaagisa. Ebigambo ng’ebyo byanditumazeemu amaanyi? N’akatono. Amagezi ga Katonda ga njawulo nnyo ku g’abantu. (1 Kol. 2:6, 7) Tukimanyi bulungi nti abantu bye bayigiriza bwe bikontana n’ekyo Katonda ky’agamba, abantu kye bayigiriza bulijjo kye kiba ekikyamu. (Soma Abaruumi 3:4.) Wadde nga wabaddewo enkulaakulana mu bya sayansi, Baibuli ky’eyogera ku magezi g’abantu kisigala kituufu: “Amagezi ag’omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda.” Amagezi g’abantu temuli nsa bw’ogageraageranya n’aga Katonda.​—1 Kol. 3:18-20.

17. Ebigambo by’abakulembeze ba Kristendomu n’ebya bakyewaggula tusaanidde kubitunuulira tutya?

17 Ebigambo ebitaliimu ebirala by’ebyo ebyogerwa abakulembeze mu Kristendomu. Wadde nga bagamba nti boogera mu linnya lya Katonda, bye boogera ebisinga tebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, era tebirina mugaso gwonna. Bakyewaggula nabo boogera ebigambo ebitaliimu, nga bagamba nti balina amagezi agasinga ku ‘g’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45-47) Kyokka, ebigambo bya bakyewaggula abo babyogera mu magezi gaabwe, tebiriimu nsa, era nkonge eri abo ababiwuliriza. (Luk. 17:1, 2) Tuyinza tutya okukakasa nti tebatubuzaabuza?

Okwesamba Ebigambo Ebitaliimu

18. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu 1 Yokaana 4:1?

18 Omutume Yokaana yabuulirira bulungi ku nsonga eno. (Soma 1 Yokaana 4:1.) Nga bwe yagamba, bulijjo tukubiriza abantu be tubuulira okugeraageranya ebintu bye baayigirizibwa n’ekyo Baibuli ky’egamba. Kiba kya magezi naffe okukola bwe tutyo. Singa tuwulira ebigambo ebivumirira amazima, ekibiina, abakadde, oba baganda baffe, tetulina kumala gabikkiriza. Mu kifo ky’okukola tutyo, tusaanidde

okwebuuza: “Oyo ayogera bino atambulira ku misingi gya Baibuli? Ebyo ebyogerwa biyamba mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa? Bitumbula emirembe mu kibiina?” Ekintu kyonna kye tuwulira nga kiyinza okuviirako oluganda lwaffe okusattulukuka mu kifo ky’okuluzimba kiba kitaliimu.​—2 Kol. 13:10, 11.

19. Abakadde bayinza batya okwewala okwogera ebigambo ebitaliimu?

19 Bwe kituuka ku bigambo ebitaliimu, waliwo ekintu ekikulu n’abakadde kye balina okuyiga. Buli lwe babaako gwe babuulirira, balina okukijjukira nti obusobozi bwabwe buliko ekkomo, n’olwekyo tebalina kwesigama ku magezi gaabwe. Balina okujulizanga ekyo Baibuli ky’egamba. Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Temusukkanga ku byawandiikibwa.’ (1 Kol. 4:6) Abakadde tebalina kuwa magezi gatava mu Baibuli. Mu ngeri y’emu, tebalina kusukka ku kubuulirira okwesigamiziddwa ku Baibuli okusangibwa mu bitabo ebifulumizibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi.

20. Biki ebituyamba okwesamba ebintu ebitaliimu?

20 Ebintu ebitaliimu​—ka bibe bigambo, “bakatonda,” oba ekintu ekirala kyonna​—bya kabi nnyo. Olw’ensonga eyo, bulijjo tulina okusaba Yakuwa okutuyamba okubitegeera, n’okutuwa obulagirizi tusobole okubyesamba. Bwe tukola tutyo, tuba tukkiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, era onzuukize mu makubo go.” (Zab. 119:37) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba emiganyulo egiri mu kutambulira ku bulagirizi bwa Yakuwa.

Osobola Okunnyonnyola?

• “Ebintu ebitaliimu” bye tusaanidde okwesamba bye biruwa?

• Tuyinza tutya okukakasa nti ssente tezitufuukira katonda?

• Okwegomba kw’omubiri kuyinza kutya okufuuka okusinza ebifaananyi?

• Tuyinza tutya okwesamba ebigambo ebitaliimu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Abaisiraeri baakubirizibwa ‘okulima ettaka lyabwe,’ so si kunoonya bintu ebitaliimu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Tokkirizanga kwagala bya bugagga kukulemesa kuweereza Yakuwa mu bujjuvu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Ebigambo by’abakadde biyinza okuba eby’omuwendo ennyo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share