Nyiikirira Okusinza okw’Amazima
“Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono.”—MAT. 9:37.
1. Wandinnyonnyodde otya ekigambo obwangu?
OLINA ebbaluwa gye wandyagadde omuntu asome ng’olunaku terunnaggwako. Kiki ky’okola? Ogiwandiikako ebigambo nti “ERI MU BWANGU!” Olina omuntu gw’olina okusisinkana, kyokka ng’obudde bukuyiseeko. Kiki ky’okola? Ogamba omuvuzi w’emmotoka nti, “Yongera ku sipiidi; ndi mu BWANGU!” Yee, bw’oba olina omulimu gw’olina okukola, naye ng’olaba obudde bukuweddeko, obeera ku bunkenke era totereera. Omutima gukukubira kumukumu era oyongeramu sipiidi. Ekyo kye tuyita obwangu!
2. Mulimu ki Abakristaayo ab’amazima gwe beetaaga okukola mu bwangu leero?
2 Leero tewali mulimu Abakristaayo ab’amazima gwe beetaaga okukola mu bwangu okusinga okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu ab’amawanga gonna abayigirizwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Ng’ajuliza ebigambo bya Yesu, omuyigirizwa Makko yawandiika nti omulimu guno gulina “okusooka” okukolebwa ng’enkomerero tennajja. (Mak. 13:10) Ekyo kituukirawo kubanga Yesu yagamba nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono.” Ekiseera ky’amakungula tekiba kiwanvu; ebirime biba birina okukungulwa mu bwangu ng’ekiseera ekyo tekinnaggwako.—Mat. 9:37.
3. Kiki bangi kye bakoze okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ogulina okukolebwa mu bwangu?
3 Okuva bwe kiri nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo gye tuli, kitwetaagisa okugukola n’amaanyi gaffe gonna, okuwaayo ebiseera byaffe bingi nga bwe kisoboka, n’okugwemalirako. Kya ssanyu okulaba nti ab’oluganda bangi ekyo kyennyini kye bakola. Abamu balina ebintu bingi bye beerekerezza okusobola okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga baweereza nga bapayoniya, abaminsani, oba Ababeseri. Balina eby’okukola bingi. Bayinza okuba nga balina ebintu bingi bye beefiirizza, era nga balina obuzibu bungi bwe boolekagana nabwo. Wadde kiri kityo, Yakuwa abawadde emikisa mingi. Ekyo naffe kitusanyusa. (Soma Lukka 18:28-30.) Wadde ng’abalala tebasobola kuyingira buweereza obw’ekiseera kyonna, bafuba okukozesa ebiseera byabwe bingi okwenyigira mu mulimu guno oguwonya obulamu. Omulimu guno guzingiramu okuyamba abaana baffe okulokolebwa.—Ma. 6:6, 7.
4. Lwaki abamu balekera awo okwoleka obwangu mu mulimu gw’okubuulira?
4 Nga bwe tulabye, obwangu ekintu kwe kikolerwa businziira ku kiseera ekintu mwe kirina okuba nga kiwedde okukolebwa oba nga kimaliriziddwa. Tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, era waliwo obukakafu bungi—mu Byawandiikibwa ne mu byafaayo—obukakasa kino. (Mat. 24:3, 33; 2 Tim. 3:1-5) Kyokka tewali muntu n’omu amanyi kiseera kyennyini nkomerero lw’enajja. Bwe yali ayogera ku “kabonero” akandiraze “amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,” Yesu yagamba nti: “Naye eby’olunaku olwo n’ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.” (Mat. 24:36) Kino kiyinza okuleetera abamu okulekera awo okwoleka obwangu mu mulimu gw’okubuulira, naddala singa babadde bagukola okumala ekiseera kiwanvu. (Nge. 13:12) Naawe oluusi bw’otyo bw’owulira? Kiki ekinaatuyamba okweyongera okwoleka obwangu mu mulimu Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo gwe baagala tukole leero?
Lowooza ku Kyokulabirako Yesu Kye Yatuteerawo
5. Yesu yayoleka atya obwangu mu mulimu gw’okubuulira?
5 Mu bantu bonna abaali boolese obwangu mu buweereza bwabwe eri Katonda, Yesu Kristo ye yasinga okuteekawo ekyokulabirako ekirungi. Ensonga emu eyamuleetera okwoleka obwangu kwe kuba nti yalina eby’okukola bingi mu kiseera ekitono kye yalina eky’emyaka esatu n’ekitundu. Wadde kyali kityo, Yesu yakola ebintu bingi nnyo okuwagira okusinza okw’amazima okusinga omuntu omulala yenna. Yamanyisa erinnya lya Kitaawe n’ekigendererwa kye, yabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, yayanika obunnanfuusi n’enjigiriza enkyamu ez’abakulembeze b’eddiini, era yawagira obufuzi bwa Yakuwa okutuukira ddala okufa. Yatambula wano na wali ng’ayigiriza, ng’ayamba, era ng’awonya abantu. (Mat. 9:35) Tewali muntu yali akoze bintu byenkana ng’ebyo mu kiseera ekitono ennyo bwe kityo. Yesu yakola kyonna ekisoboka mu buweereza bwe.—Yok. 18:37.
6. Kiki Yesu kye yasinga okussaako ebirowoozo bye?
6 Kiki ekyakubiriza Yesu okukola obutaweera mu mulimu gw’okubuulira? Okusinziira ku bunnabbi bwa Danyeri, Yesu yali amanyi ekiseera ekigereke Yakuwa kye yali amuwadde okukoleramu omulimu gwe. (Dan. 9:27) Nga bwe kyalagulwa, obuweereza bwe obw’oku nsi bwali bwa kumala ‘kitundu kya ssabbiiti,’ oba emyaka essatu n’ekitundu. Nga wayise akaseera katono oluvannyuma lw’okuyingira mu Yerusaalemi, mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu yagamba nti: “Ekiseera kituuse Omwana w’omuntu agulumizibwe.” (Yok. 12:23) Wadde nga Yesu yali amanyi nti ekiseera ky’okufa kwe kyali kisembedde, ekyo si kye yamalirako ebirowoozo bye, era si kye kyamuleetera okukola ennyo. Mu kifo ky’ekyo, yeemalira ku kukola Kitaawe by’ayagala n’okulaga abantu okwagala. Okwagala okwo kwamukubiriza okukuŋŋaanya n’okutendeka abayigirizwa, era n’abasindika okugenda okubuulira. Ekyo yakikola okusobola okubayamba okugenda mu maaso n’omulimu gwe yali atandise era bandikoze emirimu egisinga ku gigye.—Soma Yokaana 14:12.
7, 8. Yesu okugoba abaali batundira ebintu mu yeekaalu kyakwata kitya ku bayigirizwa be, era lwaki ekyo yakikola?
7 Waliwo ekintu ekyaliwo mu bulamu bwa Yesu ekyalagira ddala nti yali munyiikivu. Kyaliwo nga yaakatandika obuweereza bwe, mu kiseera ky’embaga ey’Okuyitako mu mwaka gwa 30 E.E. Yesu n’abayigirizwa be bwe baagenda e Yerusaalemi, baasanga mu yeekaalu abantu abaali ‘batunda ente, endiga, enjiibwa, era n’abali bawaanyisa ssente nga batudde mu bifo byabwe.’ Yesu yakola ki, era ekyo kyakwata kitya ku bayigirizwa be?—Soma Yokaana 2:13-17.
8 Ekyo Yesu kye yakola awamu n’ebyo bye yayogera byaleetera abayigirizwa be okujjukira obunnabbi obuli mu emu ku zabbuli za Dawudi: “Obuggya [“obunyiikivu,” NW] obw’ennyumba yo bundidde.” (Zab. 69:9) Lwaki? Kubanga Yesu kye yakola kyali kiyinza okuteeka obulamu bwe mu kabi ak’amaanyi. Abakulembeze mu yeekaalu—bakabona, abawandiisi, n’abalala—be baali emabega wa bizineesi ez’obukumpanya ezaali zikolerwa mu yeekaalu. Mu kwanika obunnanfuusi bw’abakulembeze b’amadiini n’okugootaanya bizineesi zaabwe, Yesu yali yeefuula mulabe waabwe. Nga n’abayigirizwa be bwe baakiraba, ‘obunyiikivu obw’ennyumba ya Katonda,’ oba obunyiikivu bwe yalina eri okusinza okw’amazima, bweyoleka bulungi. Naye obunyiikivu kye ki? Bwawukana butya ku bwangu?
Enjawulo eri Wakati w’Obwangu n’Obunyiikivu
9. Obunyiikivu kye ki?
9 Enkuluze emu egamba nti ekigambo “obunyiikivu” kirina amakulu “ag’okwagala ennyo ekintu ekiba kikolebwa n’okukifaako ennyo,” era kisobola okutegeeza, okujjumbira, oba okukola ekintu n’ebbugumu. Mu butuufu, ebigambo ebyo byonna bisobola okukozesebwa ku buweereza bwa Yesu. Bwe kityo, mu lunyiriri olwo, enkyusa eyitibwa Today’s English Version egamba nti: “Okwemalira ennyo ku nnyumba yo, Ai Katonda, kulinga omuliro ogubuubuukira mu nze.” Ekyewuunyisa kiri nti ne mu nnimi ezimu ez’omu Asiya ow’ebuvanjuba, ekigambo “obunyiikivu” bwe kivvuunulwa obutereevu kitegeeza “omutima ogwokya,” nga kiri nga nti omutima gwaka omuliro. Tekyewuunyisa nti abayigirizwa bwe baalaba ekyo Yesu kye yakola mu yeekaalu, bajjukira ebigambo bya Dawudi. Naye kiki ekyaleetera omutima gwa Yesu okuba ng’ogwaka omuliro, ne kimuleetera okukola ekyo kye yakola?
10. Nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, ekigambo “obunyiikivu” kirina makulu ki?
10 Ekigambo “obunyiikivu” ekikozesebwa mu zabbuli ya Dawudi kyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitera okuvvuunulwa nga “obuggya” mu bitundu bya Baibuli ebirala. Mu nkyusa ya New World Translation oluusi kivvuunulwa nga “okwemalira.” (Soma Okuva 20:5; 34:14; Yoswa 24:19.) Ng’eyogera ku kigambo kino, enkuluze emu ennyonnyola ebigambo bya Baibuli egamba nti: “Kitera okukozesebwa ku nkolagana ebaawo wakati w’abafumbo . . . Ng’obuggya omwami oba omukyala bw’aba nabwo bwe bulaga nti alina obwannannyini ku munne mu bufumbo, bwe kityo obuggya bwa Katonda bulaga nti alina obwannannyini ku bantu be.” N’olwekyo, obunyiikivu obwogerwako mu Baibuli busingawo ku kujjumbira ekintu, gamba ng’omuzannyo omuntu gw’aba ayagala ennyo. Obunyiikivu Dawudi bwe yalina bwebwo obuleetera omuntu okukwatibwa obuggya ng’erinnya ly’omuntu eddungi lisiigiddwa enziro era obumuleetera okwagala okubaako ky’akolawo okuliggyako ekivume.
11. Kiki ekyakubiriza Yesu okuba omunyiikivu?
11 Abayigirizwa ba Yesu tebaali bakyamu kukwataganya bigambo bya Dawudi n’ekyo kye baalaba Yesu ng’akola mu yeekaalu. Okuba n’ekiseera ekitono mwe yalina okukolera omulimu gwe si kye kyokka ekyakubiriza Yesu okuba omunyiikivu, naye era yalina obuggya olw’erinnya lya Kitaawe n’olw’okusinza okw’amazima. Okulaba engeri erinnya lya Katonda gye lyali lisiigiddwa enziro era n’engeri gye lyali livvooleddwa, kyamuleetera okuba omunyiikivu oba okukwatibwa obuggya, bw’atyo n’abaako ky’akolawo okutereeza ensonga. Yesu bwe yalaba abantu abawombeefu nga banyigirizibwa abakulembeze b’eddiini, obunyiikivu bwamukubiriza okubayamba era n’okuvumirira abakulembeze b’eddiini abo.—Mat. 9:36; 23:2, 4, 27, 28, 33.
Nnyiikirira Okusinza okw’Amazima
12, 13. Kiki abakulembeze ba Kristendomu kye bakoze ku (a) linnya lya Katonda? (b) Bwakabaka bwa Katonda?
12 Engeri abakulembeze b’amadiini leero gye beeyisaamu efaananako n’ey’abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kya Yesu. Ng’ekyokulabirako, jjukira nti ekintu ekisooka Yesu kye yayigiriza abagoberezi be okusaba kyali kikwata ku linnya lya Katonda: “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Abakulembeze b’eddiini leero, n’okusingira ddala abo aba Kristendomu, bayambye abantu okumanya erinnya lya Katonda n’okulitukuza, oba okuliwa ekitiibwa? Mu kifo ky’ekyo, bayigiriza eby’obulimba ku Katonda okuyitira mu njigiriza ez’obulimba gamba nga Tiriniti, obutafa bw’emmeeme, n’omuliro ogutazikira, ekireetedde abantu okutwala Katonda ng’omuntu atategeerekeka, omukambwe, era alumya abalala. Era baleese ekivume ku Katonda olw’obunnanfuusi n’empisa zaabwe embi. (Soma Abaruumi 2:21-24.) Ate era bakoze kyonna ekisoboka okukweka erinnya lya Katonda, ne batuuka n’okuliggya mu nkyusa zaabwe eza Baibuli. Mu ngeri eyo balemesezza abantu okusemberera Katonda n’okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye.—Yak. 4:7, 8.
13 Yesu era yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 6:10) Wadde ng’abakulembeze ba Kristendomu baddiŋŋana essaala eyo buli kiseera, bakubiriza abantu okuwagira ebibiina by’eby’obufuzi n’ebibiina by’abantu ebirala. Ate era banyooma abo abafuba okubuulira n’okuwa obujulirwa ku Bwakabaka obwo. N’ekivuddemu, abantu bangi abeeyita Abakristaayo tebakyayogera ku Bwakabaka bwa Katonda wadde okubukkiririzaamu.
14. Abakulembeze ba Kristendomu bafeebezza batya Ekigambo kya Katonda?
14 Bwe yali asaba Katonda, Yesu yagamba nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17) Era bwe yali tannaddayo mu ggulu, Yesu yakiraga nti yali wa kulonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” eyandiwadde abantu be emmere ey’eby’omwoyo. (Mat. 24:45) Wadde ng’abakulembeze ba Kristendomu beetwala okuba nti be baalondebwa okuyigiriza abantu Ekigambo kya Katonda, ddala batuukirizza obuvunaanyizibwa obwo? Nedda. Baleetedde abantu okutunuulira ebintu ebiri mu Baibuli ng’enfumo obufumo oba engero obugero. Mu kifo ky’okuliisa abagoberezi baabwe emmere ey’eby’omwoyo, ne babayamba okubudaabudibwa n’okufuna ekitangaala, abakulembeze b’amadiini bayigiriza abagoberezi baabwe ebyo bye baagala okuwulira—obulombolombo bw’abantu. Okugatta ku ekyo, bafeebezza emisingi gy’empisa egiri mu Kigambo kya Katonda olw’okutya okunyiiza abagoberezi baabwe abatagoberera misingi egyo.—2 Tim. 4:3, 4.
15. Ebyo bonna abakulembeze b’amadiini bye bakoze mu linnya lya Katonda bikuyisa bitya?
15 Ebintu ebyo byonna abakulembeze b’amadiini bye bakoze—nga bagamba nti babikola mu linnya Katonda—bireetedde abantu bangi abeesimbu okuggwaamu amaanyi oba okulekera awo okukkiririza mu Katonda ne mu Baibuli. Bwe kityo batwaliriziddwa Sitaani awamu n’enteekateeka ye ey’ebintu embi. Bw’olaba era n’owulira ebintu ng’ebyo nga bigenda mu maaso buli lunaku, kikuyisa kitya? Ng’omuweereza wa Yakuwa, bw’olaba engeri erinnya lya Katonda gye livvooleddwamu n’engeri gye lisiigiddwamu enziro, ekyo tekikukubiriza okubaako ne ky’okolawo? Bw’olaba abantu abeesimbu era ab’emitima emirungi nga balimbibwalimbibwa era nga banyagibwa, ekyo tekikuleetera okwagala okubabudaabuda? Yesu bwe yalaba abantu b’omu kiseera kye nga “babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba,” teyabasaasira busaasizi n’akoma awo. Naye ‘yatandika okubayigiriza ebintu bingi.’ (Mat. 9:36; Mak. 6:34) Naffe okufaananako Yesu, tulina ensonga nnyingi ezandituleetedde okunyiikirira okusinza okw’amazima.
16, 17. (a) Kiki ekyanditukubirizza okubeera abanyiikivu mu buweereza bwaffe? (b) Kiki kye tujja okuyigako mu kitundu ekiddako?
16 Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, ebigambo by’omutume Pawulo ebisangibwa mu 1 Timoseewo 2:3, 4 biba bya makulu nnyo gye tuli. (Soma.) Tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira olw’okuba tukimanyi nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma era nti ekyo Katonda ky’ayagala tukole. Ayagala abantu bafune okumanya okutuufu basobole okumusinza n’okumuweereza, bwe kityo nabo bafune emikisa gye. Eky’okuba nti ekiseera ekisigaddeyo kitono si ye nsonga enkulu etukubiriza okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe, naye era tuli banyiikivu olw’okuba twagala okuweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa n’okuyamba abantu okutegeera by’ayagala. Tunyiikirira okusinza okw’amazima.—1 Tim. 4:16.
17 Ng’abantu ba Yakuwa, tuyambiddwa okufuna okumanya okukwata ku kigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu n’eri ensi. Tusobola okuyamba abantu okufuna essanyu mu bulamu n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso. Tusobola okubayamba okumanya ekyo kye balina okukola okusobola okuwonyezebwawo ng’enteekateeka ya Sitaani ezikirizibwa. (2 Bas. 1:7-9) Mu kifo ky’okuggwamu amaanyi olw’okuba olunaku lwa Yakuwa lulabika ng’oluluddewo okutuuka, twandibadde basanyufu olw’okuba tukyalina omukisa okwoleka obunyiikivu bwaffe mu kusinza okw’amazima. (Mi. 7:7; Kaab. 2:3) Tuyinza tutya okukulaakulanya obunyiikivu ng’obwo? Kino kye tujja okuyigako mu kitundu ekiddako.
Osobola Okunnyonnyola?
• Kiki ekyakubiriza Yesu okukola obutaweera mu buweereza bwe?
• Nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, ekigambo “obunyiikivu” kirina makulu ki?
• Bintu ki ebigenda mu maaso leero ebyanditukubirizza okunyiikirira okusinza okw’amazima?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Yesu yeemalira ku kukola Kitaawe by’ayagala n’okulaga abantu okwagala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Tulina ensonga nnyingi ezanditukubirizza okunyiikirira okusinza okw’amazima