LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Okitobba lup. 2-5
  • 1924​—⁠Emyaka Kikumi Emabega

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1924​—⁠Emyaka Kikumi Emabega
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BAABUULIRA NGA BAKOZESA LEEDIYO
  • BAAYOLEKA OBUVUMU NE BAANIKA OBULIMBA BW’ABAKULEMBEZE B’EDDIINI
  • BAABUULIRA N’OBUVUMU NE MU NSI ENDALA
  • BAALI BEESUNGA OKUKOLA EKISINGAWO
  • 1925​—⁠Emyaka Kikumi Emabega
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • 1922—Emyaka Kikumi Egiyise
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • 1919—Emyaka Kikumi Emabega
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Okuwuliriza oba Okulaba Olukuŋŋaana Olunene
    Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Okitobba lup. 2-5

1924​—⁠Emyaka Kikumi Emabega

AKATABO akayitibwa Bulletina aka Jjanwali 1924 kaagamba nti: “Kati ng’omwaka gwakatandika, kirungi nnyo eri buli mwana wa Mukama waffe . . . okunoonya engeri y’okugaziyaamu obuweereza bwe.” Mu mwaka ogwo, Abayizi ba Bayibuli baakolera ku kubuulirira okwo nga baba bavumu era nga banoonya engeri empya ez’okubuuliramu.

BAABUULIRA NGA BAKOZESA LEEDIYO

Ab’oluganda ku Beseri baali bamaze ebbanga erisukka mu mwaka gumu nga bateekateeka okuzimba situdiyo za leediyo eyitibwa WBBR ku Staten Island, mu kibuga New York. Oluvannyuma lw’okwerula ekifo ekyo, baazimba ekizimbe ekinene abakozi mwe baali bagenda okubeera, era n’ekizimbe ekirala ekyali kigenda okubeeramu situdiyo za leediyo. Omulimu ogwo bwe gwaggwa, ab’oluganda baatandika okuteekateeka ebyuma leediyo “okusobola okutandika okukola.” Naye waaliwo okusoomooza okutali kumu kwe baalina okuvvuunuka.

Ab’oluganda baakisanga nga kizibu nnyo okuwanikayo ekyuma ekisika amayengo ga leediyo. Ekyuma ekyo ekyali kiweza ffuuti 300 obuwanvu kyalina okuwanikibwa ku mirongooti ebiri egy’embaawo nga buli gumu guliko obuwanvu bwa ffuuti 200. Baasooka ne bagezaako okukiwanikayo naye ne balemererwa. Kyokka oluvannyuma Yakuwa yabayamba ne basobola okukiwanikayo. Ow’oluganda eyali ayitibwa Calvin Prosser, yagamba nti: “Singa twasobola okukiwanikayo ku mulundi ogwasooka, twandirowoozezza nti ‘tukikoze mu maanyi gaffe!’” Ab’oluganda abo baakiraba nti Yakuwa ye yabayamba okuwanikayo ekyuma ekyo. Naye waaliwo n’okusoomooza okulala kwe baalina okuvvuunuka.

Nga basimba emirongooti gya WBBR

Mu kiseera ekyo, leediyo zaali zitandika butandisi mu nsi era tekyali kyangu kufuna byuma ebyali byetaagisa. Bwe kityo ab’oluganda baagula ekyuma ekyakozesebwako ekikasuka amaloboozi. Mu kifo ky’okugula omuzindaalo ogwogererwako, baakozesa gwa ssimu. Lumu ekiro mu Febwali, ab’oluganda baasalawo okugezesa ebyuma ebyo. Olw’okuba ab’oluganda abo tebaalina programu ya kuweereza, baasalawo okuyimba ennyimba z’Obwakabaka. Ow’oluganda eyali ayitibwa Ernest Lowe yayogera ku kintu ekisesa ekyaliwo ku olwo. Yagamba nti ab’oluganda abo bwe baali bayimba, baafuna essimu okuva eri Omulamuzi Rutherford,b eyabawulira ku leediyo ng’ali mu Brooklyn, ekyali kyesudde mayiro nga 15 okuva we baali.

Ow’oluganda Rutherford yabagamba nti “Mulekere awo. Amaloboozi gammwe gavuga nga bukkapa obukaaba!” Ab’oluganda abo baawulira ensonyi era amangu ddala ne baggyako leediyo. Kyokka baali bakakafu nti yali ekola bulungi.

Leediyo eyo bwe yali eggulwawo mu butongole nga Febwali 24, 1924, Ow’oluganda Rutherford yagamba nti yali egenda kukozesebwa “mu kukola omulimu Kristo Kabaka gwe yali abawadde.” Yagamba nti leediyo eyo yassibwawo “okuyamba abantu okutegeera Bayibuli n’obukulu bw’ebiseera bye tulimu ka babe ba ddiini ki.”

Kkono: Ow’oluganda Rutherford ng’ali mu situdiyo eyasooka

Ddyo: Ekyuma ekikasuka amaloboozi

Programu eyo eyasooka yatambula bulungi era ddala bwali buwanguzi bwa maanyi. Okumala emyaka 33, Abajulirwa ba Yakuwa baakozesa leediyo eyo WBBR okuweereza programu ezitali zimu.

BAAYOLEKA OBUVUMU NE BAANIKA OBULIMBA BW’ABAKULEMBEZE B’EDDIINI

Mu Jjulaayi 1924, Abayizi ba Bayibuli bajja ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Columbus, Ohio. Ab’oluganda okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu be baaliwo ku lukuŋŋaana olwo era emboozi ezaaweebwa zaali mu Luwalabu, Olungereza, Olufalansa, Olugirimaani, Oluyonaani, Oluhangale, Oluyitale, Oluliswaniya, Olupolisi, Olulasa, Oluyukuleyini, n’ennimi ezoogerwa mu Scandinavia. Ebitundu ebimu ebya programu eyo byaweerezebwa ku leediyo, era ab’oluganda baasaba olupapula lw’amawulire olw’omu kitundu ekyo buli lunaku okuwandiika ebimu ku ebyo ebyabanga mu lukuŋŋaana olwo.

Olukuŋŋaana olwali mu Columbus, Ohio mu 1924

Ku Lwokuna, nga Jjulaayi 24, ab’oluganda abasukka mu 5,000 beenyigira mu kubuulira mu kibuga olukuŋŋaana olwo we lwali. Baagaba ebitabo nga 30,000 era baatandika okuyigiriza abantu nkumi na nkumi Bayibuli. Watch Tower yagamba nti, “olunaku olwo lwe lwasingayo okuba olw’essanyu ku lukuŋŋaana olwo olunene.”

Ku Lwokutaano nga Jjulaayi 25, mu emu ku mboozi ezaaweebwa, Ow’oluganda Rutherford nga muvumu, yasoma ekiwandiiko ekyali kivumirira abakulembeze b’eddiini. Yagamba nti bannabyabufuzi, abakulembeze b’eddiini, ne bannabyabusuubuzi, “baali balemesa abantu okuyiga ebikwata ku Bwakabaka Katonda bwe yali agenda okuyitiramu okuwa abantu bonna emikisa.” Ate era ekiwandiiko ekyo kyalaga nti abantu abo “baali bassizzaawo Ekinywi ky’Amawanga era ne bagamba nti Katonda kye yali ayitiramu okufuga ensi.” Abayizi ba Bayibuli kyali kigenda kubeetaagisa okuba abavumu okusobola okutuusa obubaka obwo ku bantu.

Watch Tower yayogera bw’eti ku ebyo ebyava mu lukuŋŋaana olwo: “Eggye lino ettono erya Mukama waffe eryakuŋŋaanira mu Columbus lyavaawo nga linywezeddwa mu kukkiriza . . . , olukuŋŋaana olwo lwabayamba okuba abamalirivu okubuulira ka kube kuziyizibwa kwa ngeri ki kwe bandyolekaganye nakwo.” Ow’oluganda eyali ayitibwa Leo Claus, eyaliwo ku lukuŋŋaana olwo yagamba nti: “Twava ku lukuŋŋaana olwo nga twesunga nnyo okugaba tulakiti mu kitundu kyaffe eyalimu obubaka obwali mu kiwandiiko ekyo.”

Kopi ya tulakiti Ecclesiastics Indicted

Mu Okitobba, Abayizi ba Bayibuli baatandika okugaba obukadde n’obukadde bwa tulakiti eyali eyitibwa Ecclesiastics Indicted, eyalimu obubaka obwali mu kiwandiiko Ow’oluganda Rutherford kye yasoma ekyali kivumirira abakulembeze b’eddiini. Mu kibuga Cleveland, eky’omu ssaza Oklahoma, Frank Johnson yamaliriza okugaba tulakiti era yalina okulinda ababuulizi abalala okumala eddakiika 20. Yali tasobola kubalindira buli muntu we yali ayinza okumulabira kubanga abantu b’omu kibuga baali basunguwadde olw’ebyo bye yali ababuulira era nga bamunoonya. Bwe kityo, Ow’oluganda Johnson yasalawo okwekweka mu kkanisa eyali awo okumpi. Olw’okuba ekkanisa eyo teyaliimu muntu yenna, ow’oluganda Johnson yasalawo okuteeka tulakiti eyo ku buli emu ku ntebe ne mu Bayibuli y’omubuulizi. Oluvannyuma yafuluma mangu. Olw’okuba yali akyalina obudde, yasalawo okugenda mu makanisa amalala era n’akola ekintu kye kimu.

Oluvannyuma Frank yadduka n’addayo mu kifo banne we baalina okumusanga. Yeekweka emabega w’essundiro ly’amafuta nga bw’alabiriza abasajja abaali bamunoonya. Abasajja abo baavuga emmotoka ne bayitawo, naye tebaamulaba. Bwe baali baakagenda, banne ba Frank be yali alinda baatuuka n’alinnya emmotoka ne bagenda.

Ow’oluganda omu yagamba nti: “Bwe twali tuva mu kibuga ekyo, twayita ku makanisa asatu. Abantu nga 50 be baali bayimiridde mu maaso ga buli emu ku kkanisa ezo. Abamu ku bo baali basoma tulakiti eyo, ate abalala baali bagiraga omubuulizi waabwe. Twava mu kibuga ekyo mu kiseera ekituufu nga tetunnafuna bizibu! Naye twebaza Yakuwa olw’okutukuuma n’olw’okutuyamba okumanya kye twalina okukola, okusobola okutuusa obubaka obwo ku bantu, abalabe b’Obwakabaka ne batatulemesa.”

BAABUULIRA N’OBUVUMU NE MU NSI ENDALA

Józef Krett

Abayizi ba Bayibuli baabuulira n’obuvumu ne mu nsi endala. Ng’ekyokulabirako, mu bukiikakkono bwa Bufalansa, Ow’oluganda Józef Krett yabuulira abantu abaali bakola mu kirombe abaali basenguse okuva mu Poland. Ow’oluganda oyo yalina okuwa emboozi eyalina omutwe “Abafu Banaatera Okuzuukizibwa.” Abantu b’omu kabuga ako bwe baaweebwa obupapula obubayita okujja okubaawo ng’emboozi eyo eweebwa, omukulembeze w’eddiini omu yabalabula obutagendayo. Naye okufuba kwe kwagwa butaka. Abantu abasukka mu 5,000 nga mw’otwalidde n’omukulembeze w’eddiini oyo be bajja okuwuliriza emboozi eyo! Ow’oluganda Krett yayita omukulembeze w’eddiini oyo ajje annyonnyole abantu ebyo by’akkiririzaamu, naye n’agaana. Olw’okuba ow’oluganda Krett yalaba nti abantu be yali abuulira baalina ennyonta ey’okwagala okumanya Ekigambo kya Katonda, yagaba ebitabo byonna bye yalina.—Am. 8:11.

Claude Brown

Mu Afirika, Ow’oluganda Claude Brown yabuulira amawulire amalungi mu nsi eyali eyitibwa Gold Coast, mu kiseera kino eyitibwa Ghana. Emboozi ze yawa awamu n’ebitabo bye yagaba byaviirako amawulire amalungi okusaasaana mu bwangu mu nsi eyo. John Blankson, eyali asoma eby’okutabula eddagala, yawuliriza emu ku mboozi Ow’oluganda Brown ze yawa. Mangu ddala yakiraba nti yali azudde amazima. John agamba nti: “Amazima gankwatako nnyo era nnagabuulirako abalala mu ttendekero gye nnali nsomera.”

John Blankson

Lumu John yagenda ku kkanisa y’Abapolotesitanti okubuuza omukulembeze w’eddiini ebikwata ku njigiriza ya Tiriniti, kati John gye yali ategedde obulungi nti teyali ya mu Byawandiikibwa. Omukulembeze w’eddiini oyo yamugoba nga bw’amugamba nti: “Toli Mukristaayo; oli mugoberezi wa Sitaani. Va wano genda!”

John bwe yaddayo eka, yawandiikira omukulembeze w’eddiini oyo ebbaluwa ng’amugamba ayite olukuŋŋaana awe abantu obukakafu obulaga nti enjigiriza ya Tiriniti ntuufu. Omukulembeze w’eddiini oyo yagamba John bagende basisinkane mu ofiisi y’omusomesa eyali akulira abasomesa ku ttendekero eryo. Omusomesa yabuuza John oba ddala yali awandiikidde omukulembeze w’eddiini ebbaluwa.

John yaddamu nti, “Yee ssebo, nnagimuwandiikidde.”

Omukulu w’abasomesa yagamba John awandiikire omukulembeze w’eddiini amwetondere. N’olwekyo John yawandiika nti:

“Ssebo, omusomesa wange aŋŋambye nkuwandiikire ebbaluwa nkwetondere, era ndi mwetegefu okukwetondera singa okikkiriza nti by’oyigiriza bya bulimba.”

Omusomesa yeewuunya nnyo era n’abuuza John nti, “Blankson, ekyo ky’oyagala okuwandiika?”

John yamuddamu nti, “Yee ssebo. Ekyo kyokka kye njagala okuwandiika.”

Omusomesa yamugamba nti: “Ogenda kugobebwa mu ttendekero. Tosobola kweyongera kusigala mu ssomero lino ng’oyogera bw’otyo ku mukulembeze w’eddiini ewagirwa gavumenti?”

John yaddamu nti, “Naye ssebo, . . . bw’oba ng’otusomesa ne wabaawo ebintu bye tutategedde, tetubuuza bibuuzo?”

Yamuddamu nti: “Mubuuza.”

John yaddamu nti, “Ekyo kyennyini kye kyabaddewo. Omwami ono yabadde atusomesa ebiri mu Bayibuli ne mbaako ekibuuzo kye mmubuuza. Kati bw’aba nga tasobola kuddamu kibuuzo ekyo, lwaki nnina okumuwandiikira ebbaluwa okumwetondera?”

Blankson teyagobebwa era teyawandiika na bbaluwa kwetondera mukulembeze wa ddiini.

BAALI BEESUNGA OKUKOLA EKISINGAWO

Watch Tower bwe yali ewumbawumbako ebyali bikoleddwa mu mwaka ogwo, yagamba nti: “Naffe tusobola okugamba nga Dawudi nti: ‘Ojja kumpa amaanyi nnwane olutalo.’ (Zabbuli 18:39) Tuzziddwamu nnyo amaanyi mu mwaka guno kubanga tulabye omukono gwa mukama waffe . . . Abaweereza be abeesigwa . . . babuulidde n’essanyu amawulire amalungi.”

Omwaka bwe gwali gunaatera okuggwaako, ab’oluganda baakola enteekateeka okutandikawo leediyo endala. Omulimu gw’okuzimba situdiyo za leediyo endala gwatandika okumpi n’essaza lya Chicago. Leediyo eyo empya yatuumibwa WORD ekitegeeza “KIGAMBO,” era nga kyali kituukirawo kubanga baali bagenda kubuulira ekigambo kya Katonda ku leediyo eyo. Ebyuma ebikasuka amaloboozi ebyakozesebwa ku leediyo eyo byali bya maanyi nnyo ne kiba nti yali esobola okuwulirwa n’abantu abaali ewala ennyo, gamba nga mu bukiikakkono bwa Canada.

Mu mwaka gwa 1925, Yakuwa yali agenda kuyamba Abayizi ba Bayibuli okutegeera ebintu ebipya ebikwata ku Okubikkulirwa essuula 12. Abamu bandyesitadde olw’okutegeera okwo okupya. Kyokka bangi bandisanyuse olw’okutegeera ebintu ebyo ebyali bikwata ku bintu eby’omu ggulu ebitalabika, era n’engeri ekyo gye kyandikutte ku bantu ba Katonda ku nsi.

a Kati kayitibwa Akatabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe.

b Ow’oluganda J. F. Rutherford, eyali atwala obukulembeze mu Bayizi ba Bayibuli mu kiseera ekyo, yali amanyiddwa nga Omulamuzi Rutherford. Bwe yali tannatandika kuweereza ku Beseri, oluusi yakolanga ng’omulamuzi mu kkooti eyitibwa Eighth Judicial Circuit Court ey’omu Missouri.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share