LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 19 lup. 145-lup. 146 kat. 5
  • Kubiriza Abalala Okukozesa Baibuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kubiriza Abalala Okukozesa Baibuli
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Okwanjula Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutunuulira Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 19 lup. 145-lup. 146 kat. 5

ESSOMO 19

Kubiriza Abalala Okukozesa Baibuli

Kiki ky’osaanidde okukola?

Kubiriza abakuwuliriza okugoberera mu Baibuli zaabwe ng’osoma ebyawandiikibwa.

Lwaki Kikulu?

Omuntu ky’alabako n’amaaso ge, naddala mu Baibuli ye, kimukwatako nnyo.

TWAGALA okukubiriza buli omu okukozesa Ekigambo kya Katonda, Baibuli. Ekitabo ekyo ekitukuvu mwe muva obubaka bwe tubuulira, era twagala abantu bamanye nti bye twogera si byaffe ku bwaffe, naye biva eri Katonda. Abantu kibeetaagisa okussa obwesige mu Baibuli.

Mu Buweereza bw’Ennimiro. Buli lw’oba weeteekerateekera obuweereza bw’ennimiro, londayo ekyawandiikibwa kimu oba bibiri by’onoosomera abantu abanaakuwuliriza. Ne bw’oba ng’ogenda kukozesa akaseera katono nnyo okugaba ekitabo ekyesigamiziddwa ku Baibuli, kiba kirungi okusomayo ekyawandiikibwa ekituukirawo. Baibuli esobola bulungi nnyo okuluŋŋamya abantu abalinga endiga okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okwogera. Bwe kiba tekisoboka kusomera muntu mu Baibuli, oyinza okumutegeeza obutegeeza ky’egamba. Mu kyasa ekyasooka, tekyabanga kyangu kufuna mizingo gy’Ebyawandiikibwa. Kyokka, Yesu n’abatume be baajulizanga nnyo mu Byawandiikibwa. Naffe tusaanidde okufuba okuyiga ebyawandiikibwa era n’okubisoma oba oluusi okubijulizako obujuliza buli lwe kiba kisoboka nga tuli mu buweereza.

Bw’oba osobodde okusoma mu Baibuli, laga nnyinimu olunyiriri lw’osoma nga bw’agoberera. Singa nnyinimu agoberera mu Baibuli eyiye, ajja kweyongera okusiima by’asoma.

Oteekwa okukijjukira nti abavvuunuzi ba Baibuli abamu beetulinkiriza ne babaako ebintu bye bongera oba bye bajja mu Kigambo kya Katonda. Mu nnyiriri ezimu bayinza obutagyirayo ddala makulu ga bigambo eby’ennimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Enkyusa za Baibuli nnyingi, ziggiddwamu erinnya lya Katonda, ate era tezigyayo makulu ga bigambo eby’ennimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa ebyogera ku mbeera y’abafu n’ekigendererwa kya Katonda eri ensi. Okusobola okulaga omuntu ekyo abavvuunuzi kye bakoze, kiyinza okukwetaagisa okumulagayo ennyiriri ezimu mu Baibuli ez’enjawulo oba enkyusa za Baibuli ez’edda eziri mu lulimi lwe lumu. Akatabo Reasoning From the Scriptures kageraageranya engeri ebigambo ebimu mu nnyiriri ezitera okukozesebwa gye byavvuunulwamu mu Baibuli ez’enjawulo. Omuntu yenna ayagala amazima ajja kuba musanyufu okutegeera ekituufu.

Mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina. Bonna balina okukubirizibwa okukozesa Baibuli zaabwe mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Kino kirina emiganyulo egiwerako. Kiyamba abawuliriza okussaayo omwoyo ku ebyo ebiba bikubaganyizibwako ebirowoozo. Kyongera okubayamba okuteegera omwogezi by’ayogera. Era kiyamba abappya okuteegera nti enzikiriza zaffe zeesigamye ku Baibuli.

Abakuwuliriza okusobola okukugoberera mu Baibuli zaabwe ng’osoma Ebyawandiikibwa, kijja kusinziira nnyo ku ngeri gy’obakubirizaamu. Emu ku ngeri ezisingayo obulungi, kwe kubasaba butereevu okugoberera mu Baibuli zaabwe ng’osoma.

Kiri eri ggwe okusalawo byawandiikibwa ki by’oyagala okuggumiza era n’okusaba abawuliriza okukugoberera ng’osoma. Kiba kirungi okusoma ebyawandiikibwa ebinaakuyamba okuggyayo ensonga enkulu. Ebiseera bwe biba bimala, gattako ebirala ebiwagira ensonga yo.

Kya lwatu, okwogera obwogezi ekyawandiikibwa oba okusaba abawuliriza okukibikkula, ku bwakyo tekimala. Bw’osoma ekyawandiikibwa ate amangu ddala n’ogenda ku kirala ng’abakuwuliriza tebannaba na kubikkula kisoose, bajja kuggwaamu amaanyi era balekere awo okugoberera ng’osoma. Sooka obatunuulire. Oluvannyuma, abasinga obungi bwe baba bamaze okubikkulawo, kisome.

Tegeeza abawuliriza ekyawandiikibwa ky’ogenda okusoma ng’ekyabulayo akaseera okukisoma. Kino kijja kukendeeza ku biseera by’omala ng’olinda abakuwuliriza okukibikkula. Wadde nga by’oyinza okwogerera mu kiseera kye bamala nga babikkula ebyawandiikibwa tebiba bingi, bijja kubaganyula.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Laga nnyinimu ekyawandiikibwa ky’osoma, oba musabe agoberere mu Baibuli ye.

  • Bw’oba owa emboozi mu kibiina, saba abakuwuliriza babikkule ebyawandiikibwa era bawe ekiseera ekimala okubikkulayo.

EBY’OKUKOLA: Bw’oba ozzeeyo okukyalira omuntu, gezaako okukola bino wammanga: (1) Nnyinimu mukwase Baibuli yo, era omubuuze obanga yandyagadde okusoma olunyiriri lw’obikkudde. (2) Musabe aleete Baibuli ye era omusabe asome ekyawandiikibwa ekyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share