Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Lwaki kya muganyulo abawuliriza okukebera ebyawandiikibwa nga basabiddwa omwogezi okukikola ng’awa okwogera kwe?
Ebintu gamba ng’ensonga gy’aba ayogerako era oba ng’okwogera kwe kulimu okunnyonnyola lunyiriri ku lunyiriri okuva mu kitundu ekimu mu Kigambo kya Katonda bye bijja okusinziirwako okusalawo ebyawandiikibwa by’ayinza okusaba abawuliriza okukebera.
Kikulu okujjukira nti ensonga emu lwaki ebyawandiikibwa bisomebwa, kwe kukakasa nti ekyogerwako kiva mu Baibuli. (Ebikolwa 17:11) Ekigendererwa ekirala kwe kwekenneenya ebyawandiikibwa ebikakasa ekyo ekyogerwako okukkiriza kwabwe kusobole okunywezebwa. Bwe balaba ekyo Baibuli ky’eyogera ng‘ekyawandiikibwa ekikulu kisomebwa kinywereza ddala ensonga mu birowoozo byabwe. Okugatta ku ky’okukebera ebyawandiikibwa, kya muganyulo okubaako bye bawandiika era n’okugoberera obulungi ebiba byogerwa.
Wadde ng’endagiriro ya Sosayate eyinza okubaamu ebyawandiikibwa bingi ebyogera ku nsonga. Bino biweereddwa okuganyula omwogezi, okumuyamba nga ategeka. Biyinza okumuwa obubaka obwetaagisa obukwata ku nsonga n’okumuyamba okutegeera obulungi emisingi emikulu egy’omu Byawandiikibwa era n’okutegeera engeri y’okukulaakulanyamu ensonga. Omwogezi y’asalawo byawandiikibwa ki ebyetaagisa mu kukulaakulanya okwogera kwe era n’asaba abawuliriza okugoberera ng’ebyawandiikibwa ebyo bisomebwa era nga binnyonnyolebwa. Ebyawandiikibwa ebirala ebiwagira ekiba kyogerwako biyinza okwogerwako mu bufunze, naye mu mbeera ng’eyo tekyetaagisa abawuliriza okubikebera.
Omwogezi bw’aba asoma ebyawandiikibwa by’aba alonze, abisoma butereevu okuva mu Baibuli, so si okuva ku biwandiikiddwa ku lupapula. Omwogezi bw’asaba abawuliriza okugoberera ng’asoma, alina okwogera ekitabo ky’omu Baibuli, essuula, n’olunyiriri oba ennyiriri. Bw’ayimirizaamu n’abuuza ekibuuzo oba n’ayogera mu bufunze lwaki ekyawandiikibwa kigenda kusomebwa, aba awa abawuliriza ekiseera okuzuula ekyawandiikibwa. Okuddamu okwogera ekyawandiikibwa ky’ojjuliza nakyo kijja kuyamba abawuliriza okukijjukira. Kyokka, tekisembebwa okwogera olupapula ekyawandiikibwa we kisangibwa, okuva bwe zaawukana okusinziira ku nkyusa za Baibuli eziba zikozesebwa abawuliriza. Okukebera ebyawandiikibwa nga tusabiddwa okukikola kiyamba abawuliriza okuganyulwa okuva mu maanyi g’Ekigambo kya Katonda nga kinnyonnyolebwa mu kwogera.—Beb. 4:12.