Oluyimba 23
Yakuwa, Amaanyi Gaffe
1. Ai Yakuwa, ggwe maanyi gaffe,
Ggwe Mulokozi, tukwesize ffe.
Ffe Bajulirwa bo, otutumye,
Ka bawulire oba bagaane.
(CHORUS)
Yakuwa Lwazi, amaanyi gaffe,
Tulangirira erinnya lyo.
Yakuwa, Omuyinza wa Byonna,
Oli kiddukiro; Kigo kyaffe.
2. Kaakano tuli mu kitangaala;
Tulabidde ddala amazima.
Tuwulira ebiragiro byo;
Ffe tuwagira Bwakabaka bwo.
(CHORUS)
Yakuwa Lwazi, amaanyi gaffe,
Tulangirira erinnya lyo.
Yakuwa, Omuyinza wa Byonna,
Oli kiddukiro; Kigo kyaffe.
3. Tukola n’essanyu by’oyagala,
Wadde nga Sitaani atuvuma.
Ne bw’ayagala okututta ffe,
Tuyambe tukunywerereko ggwe.
(CHORUS)
Yakuwa Lwazi, amaanyi gaffe,
Tulangirira erinnya lyo.
Yakuwa, Omuyinza wa Byonna,
Oli kiddukiro; Kigo kyaffe.
(Era laba 2 Sam. 22:3; Zab. 18:2; Is. 43:12.)