Oluyimba 112
Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo
Printed Edition
1. Ai Yakuwa ggwe agwanidde
’Ttendo erisingayo;
Oli wa kitalo nnyo.
Amakubo go gonna bwenkanya;
Ggwe Katonda ‘taggwaawo.
2. Osonyiwa ebyonoono byaffe,
Olag’o busaasizi
Eri abasaasizi.
’Kisa kyo wamu n’okwagala kwo,
Byeyolese bulungi.
3. K’abantu bonna bakutendenga;
Ka litukuzibwenga
Erinnya lyo, Yakuwa.
K’Obwakabaka bwo ’bw’omu ggulu,
Bufuge ensi yonna.
(Era laba Ma. 32:4; Nge. 16:12; Mat. 6:10; Kub. 4:11.)