Enkuŋŋaana Zaffe eza Disitulikiti, Ziwa Obujulirwa obw’Amaanyi ku Mazima
1. Embaga ezaabangawo buli mwaka zaasobozesanga Abaisiraeri okufumiitiriza n’okukubaganya ebirowoozo ku bintu ki ebikulu?
1 Abaisiraeri ab’edda baakuŋŋaananga emirundi esatu ku mbaga ezaabangawo e Yerusaalemi buli mwaka. Wadde nga abasajja bokka be baabanga beetaagibwa okugendayo, emirundi egisinga obungi baagendanga n’ab’omu maka gaabwe ku nkuŋŋaana zino ezaabanga ez’essanyu. (Ma. 16:15, 16) Enkuŋŋaana ng’ezo zaabasobozesanga okufumiitiriza n’okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebikulu ebikwata ku Yakuwa. Ebimu ku byo bye biruwa? Ekimu ku byo kwe kuba nti Yakuwa mugabi. (Ma. 15:4, 5) Ekirala, yabawanga obulagirizi obwesigika awamu n’obukuumi. (Ma. 32:9, 10) Ate era Abaisiraeri baafumiitirizanga ku nkizo gye baalina ey’okwoleka obutuukirivu bwa Yakuwa okuva bwe kiri nti baali bayitibwa erinnya lye. (Ma. 7:6, 11) Leero, enkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti zituganyula mu ngeri y’emu.
2. Olukuŋŋaana lwa disitulikiti lunaatuyamba lutya okwongera okutegeera amazima?
2 Enkuŋŋaana Zituyamba Okweyongera Okutegeera Amazima: Enkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti zibaamu emboozi, emizannyo, ebyokulabirako, n’okubuuza ebibuuzo, nga bino byonna bituyamba okwongera okutegeera amazima ag’omuwendo agali mu Bayibuli. (Yok. 17:17) Waliwo bingi ebikoleddwa okulaba nti tuganyulwa mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olujja. Ekibiina kya Yakuwa kiteekateeka programu ejja okuganyula abantu okwetooloola ensi yonna. (Mat. 24:45-47) Weesunga okulaba n’okuwuliriza ebinaaba mu programu eyo?
3. Kiki kye tulina okukola okusobola okuganyulwa mu lukuŋŋaana?
3 Tujja kuganyulwa nnyo bwe tunaabaawo ennaku zonna essatu era ne tussaayo omwoyo. Bw’oba nga tonnasaba mukama wo lukusa, kikole nga bukyali osobole okubeerawo ku lukuŋŋaana olwo. Fuba okuwummula ekimala buli kiro kikusobozese okussaayo omwoyo nga programu egenda mu maaso. Okutunuulira omwogezi n’okubaako by’owandiika kijja kukuyamba okussaayo omwoyo. Fuba okulaba nti akasimu ko ak’omu ngalo tekakutaataaganya oba okutaataaganya abalala. Weewale okwogera n’okuweereza obubaka ku ssimu. Ate era, si kirungi kulya oba okunywa nga programu egenda mu maaso, okuggyako ng’oli mulwadde oba nga ddala kyetaagisa.
4. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuganyulwa mu lukuŋŋaana?
4 Mu myaka gya ssabbiiti, Abaisiraeri bwe baakuŋŋaananga ku mbaga ez’Ensiisira baabeeranga “n’abaana” baabwe “abato” basobole ‘okuwulira era bayige.’ (Ma. 31:12) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba ng’amaka gatudde wamu ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso era nga n’abaana abato batunula era nga bassaayo omwoyo! Buli lwaggulo, kiba kirungi ne mukubaganya ebirowoozo ku ebyo bye muba muwandiise ebisinze okubakwatako. “Obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto,” n’olwekyo mu kiseera eky’okuwummulamu oba nga bali ku wooteeri, abazadde basaanidde okufaayo ku baana baabwe nga mw’otwalidde n’abavubuka mu kifo ‘ky’okubaleka’ okutaayaaya.—Nge. 22:15; 29:15.
5. Bwe tuneeyisa obulungi nga tuli mu wooteeri, tunaalungiya tutya amazima?
5 Empisa Zaffe Ennungi Zirungiya Amazima: Bwe tweyisa obulungi nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana, tulungiya amazima. (Tit. 2:10) Abantu bwe bagoberera amateeka ga wooteeri, era ne booleka obugumiikiriza n’ekisa, abakozi b’omu wooteeri bakiraba. (Bak. 4:6) Omwaka oguwedde, abaali bakiikiridde ofiisi y’ettabi bwe baali bagenze okufunira ab’oluganda aw’okusula mu wooteeri emu, maneja waayo yabagamba nti: “Twagala nnyo abantu bammwe bajje mu wooteeri yaffe kubanga bantu balungi. Beeyisa bulungi era ba kisa. Bakozesa bulungi ebintu byaffe era bawa abakozi baffe ekitiibwa.”
6. Engeri gye twambalamu nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana, eyinza etya okulungiya amazima?
6 Bwe tuba twambadde bubbaagi bwaffe, tekikoma bukomi ku kumanyisa abalala nti tulina olukuŋŋaana n’okusobozesa ab’oluganda abanajja mu lukuŋŋaana okutumanya, naye era kiwa obujulirwa eri abo abatulaba. Abantu ababeera mu kitundu omunaabeera olukuŋŋaana bajja kukiraba nti abo bonna abalina bubbaagi tebambadde bubi ng’abantu b’ensi bwe bambala, naye bambadde engoye ennyonjo era ezisaanira. (1 Tim. 2:9, 10) N’olwekyo, tusaanidde okufaayo ennyo ku nnyambala yaffe n’engeri gye twekolako nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana. Ate era, okwambala empale ennyimpi ne tisaati nga tugenda ku wooteeri gye tunaasula tekiweesa kitiibwa. Ne bwe kiba nti olukuŋŋaana lwa disitulikiti lwa kubeera mu kisaawe, ennyambala yaffe esaanidde okuba ng’eweesa ekitiibwa. Bwe tuba tusazeewo okukyusa eby’okwambala nga programu y’olunaku ewedde nga tugenda mu kifo awatundirwa emmere, tusaanidde okukijjukira nti tukyali ku lukuŋŋaana era tetusaanidde kwambala mu ngeri ey’ekisaazisaazi.
7. Emu ku ngeri gye tuyinza okunyumirwamu oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo nga tuli mu lukuŋŋaana y’eruwa?
7 Ku mbaga ezaabangawo buli mwaka, Abaisiraeri baakuŋŋaananga wamu ne bannaabwe okuva mu bitundu bya Isiraeri ebitali bimu n’okuva mu bitundu ebirala eby’ensi era kino kyabayambanga okubeera obumu. (Bik. 2:1, 5) Mu nkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti abantu basobola bulungi okulaba oluganda lwaffe olw’enjawulo ennyo olw’ensi yonna. Abantu bakwatibwako nnyo bwe balaba olusuku lwaffe luno olw’eby’omwoyo. (Zab. 133:1) Mu kifo ky’okuva awali olukuŋŋaana mu kiseera eky’okuwummulamu ne tugenda okugula emmere, kiba kirungi ne tujja n’emmere entonotono kitusobozese okufuna akadde ak’okunyumyako ne baganda baffe ne bannyinaffe.
8. Lwaki twandikoze nga bannakyewa embeera zaffe bwe ziba nga zitusobozesa?
8 Abantu bakwatibwako nnyo olw’enkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti eziba zitegekeddwa obulungi, nnaddala bwe bakimanya nti emirimu gyonna gikolebwa bannakyewa. Oli mwetegefu ‘okwewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa’ okuyambako ku mirimu ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti? (Zab. 110:3) Abamu batera okukolera awamu ng’amaka nga baweereza nga bannakyewa kibasobozese okutendeka abaana baabwe okuyamba abalala. Bw’oba olina ensonyi, okukola emirimu ku lukuŋŋaana kijja kukusobozesa okunyumyako n’abalala n’okubamanya. Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Ab’omu maka gange, mikwano gyange, n’abantu abalala abatonotono be bokka be nnali mmanyi mu lukuŋŋaana olwo. Naye bwe nnayambako mu kulongoosa, nnamanya ab’oluganda abalala bangi nnyo era nnanyumirwa nnyo!” Bwe tunaakola nga bannakyewa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti tujja kufuna emikwano emirala era kijja kutuleetera essanyu lingi nnyo. (2 Kol. 6:12, 13) Bw’oba tokolangako nga nnakyewa, buuza abakadde engeri gy’oyinza okutuukirizaamu ebisaanyizo.
9. Tunaayita tutya abalala okujja ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti?
9 Yita Abalala Nabo Bawulire Amazima: Nga bwe tukola buli mwaka, wiiki essatu ezisooka ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti terunnabaawo, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu. Ebibiina bisaanidde okweteerawo ekiruubirirwa eky’okugaba obupapula bwonna obuyita abantu era n’okufuba okumalako ebitundu bye bibuuliramu. (Laba akasanduuko, “Tunaagaba Tutya Obupapula Obuyita Abantu?”) Obupapula bwonna obunaaba busigaddewo busaanidde okuleetebwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Abo abanaaba bazze mu lukuŋŋaana bajja kubukozesa okubuulira embagirawo mu kitundu omunaabeera olukuŋŋaana.
10. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti kaweefube ow’okuyita abantu mu lukuŋŋaana gwe tukola buli mwaka avaamu ebibala.
10 Waliwo abantu abajja bwe twenyigira mu kaweefube ono buli mwaka? Mu lukuŋŋaana olumu olwa disitulikiti, ayaniriza abagenyi yayamba omwami ne mukyala we okufuna aw’okutuula. Baamugamba nti baafuna akapapula akabayita era nti “ebyakalimu byali biraga nti olukuŋŋaana lujja kuba lulungi nnyo.” Baavuga olugendo olusukka mu kiromita 300 okusobola okubeerawo! Mu kyokulabirako ekirala, mwannyinaffe eyali abuulira nnyumba ku nnyumba, yawa omusajja omu akapapula akamuyita mu lukuŋŋaana era omusajja oyo yayagala nnyo okumanya ebisingawo. N’olwekyo mwannyinaffe yamunnyonnyola ebyo ebyali mu kapapula ako. Nga wayiseewo ennaku ntono, mwannyinaffe bwe yali ku lukuŋŋaana yalaba omusajja oyo ng’azze ne mukwano gwe, era baali balina akamu ku butabo obwali bufulumiziddwa ku lukuŋŋaana olwo!
11. Lwaki kikulu okubeerawo mu nkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti buli mwaka?
11 Yakuwa yateerawo Abaisiraeri embaga eza buli mwaka kibasobozese ‘okumuweereza mu mazima awatali bukuusa.’ (Yos. 24:14) Mu ngeri y’emu, okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe eza buli mwaka kituyamba ‘okutambulira mu mazima’ era ng’ekyo kikulu nnyo mu kusinza kwaffe. (3 Yok. 3) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuyamba abo bonna abaagala amazima basobole okubeerawo era baganyulwe mu bujjuvu!
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]
Bwe tweyisa obulungi nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana, tulungiya amazima
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
Wiiki essatu ezisooka ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti terunnabaawo, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu
[Akasanduuko akali ku empapula 3-6]
Okujjukizibwa Okukwata Ku Lukuŋŋaana Lwa Disitulikiti Olwa 2012
◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe, olukuŋŋaana lutandike mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 9:40 ez’olweggulo.
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka b’otambudde nabo, ab’omu maka go, oba abayizi bo aba Bayibuli b’oyinza okukwatira ebifo.—1 Kol. 13:5.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu kifo awali olukuŋŋaana.
◼ Okuwaayo: Bwe tuba mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu nkuŋŋaana ennene, tusobola okulaga nti tusiima enteekateeka z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.
◼ Obubenje n’Ebizibu Ebigwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako kisobozese omulwadde okufuna obuyambi. Bwe kiba kyetaagisa, ekitongole ekyo kijja kusalawo eky’okukola mu mbeera ng’eyo.
◼ Eddagala: Bwe kiba nti olina eddagala ly’okozesa, osabibwa okujja n’eddagala erimala okuva bwe kiri nti tetujja kuba na ddagala eryo ku lukuŋŋaana. Empiso ezikozeseddwa abalwadde ba sukaali tezirina kusuulibwa mu bintu ebiteekebwamu kasasiro ebiteekeddwawo mu bifo eby’enjawulo awali olukuŋŋaana okuva bwe kiri nti ziyinza okutuusa obulabe ku balala.
◼ Engatto: Buli mwaka abantu bafuna ebisago bingi ebiva ku ngatto ze baba bambadde. Kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi ezinaatusobozesa okutambula obulungi ku madaala oba awalala wonna.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera munda mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwamu bwe wabaawo omuntu yenna abuuliddwa embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Foomu ezijjuziddwamu osobola okuziwaayo eri Ekitongole Ekikola ku Bitabo oba okuziwa omuwandiisi w’ekibiina kyo ng’ozzeeyo.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2011, olupapula. 3.
◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Mu bitundu bingi, kiba kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo bye baba bakukoledde.
◼ Wooteeri:
(1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa.
(2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako.—Mat. 5:37.
(3) Oyo akusituliddeko ku migugu n’oyo ayonja ekisenge mw’osula balekerewo akasiimo.
(4) Fumbira mu bisenge ebyo byokka mwe bakkiriza okufumbira.
(5) Tosaanidde kudiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa okukozesa ku ky’enkya.
(6) Fuba okwoleka engeri eziri mu kibala eky’omwoyo ng’okolagana n’abakozi b’omu wooteeri. Baweereza abagenyi bangi era basiima bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.
(7) Abazadde basaanidde okufaayo ku baana baabwe ekiseera kyonna nga bali mu wooteeri, nnaddala nga bali we bawugira, mu nkuubo, ne mu bifo ebirala.
(8) Singa ofuna ekizibu mu kisenge kya wooteeri ekiba kikuweereddwa, kakasa nti otegeeza Ekitongole Ekikola ku by’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.
◼ Okuweereza nga Nnakyewa: Oyo yenna eyandyagadde okuweereza nga nnakyewa asobola okutegeeza Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa ku lukuŋŋaana. Abaana abali wansi w’emyaka 16 basobola okuyambako nga bakolera ku bulagirizi bwa bazadde baabwe oba abantu abalala abakulu abali mu lukuŋŋaana.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Tunaagaba Tutya Obupapula Obuyita Abantu?
Okusobola okumalako ekitundu kye tubuuliramu, tetusaanidde kulandagga. Tuyinza okugamba nti: “Nkulamusizza nnyo ssebo [oba nnyabo]. Tuli mu kaweefube ow’okugaba obupapula buno, akolebwa okwetooloola ensi yonna. Kano ke kako. Bw’onookasoma ojja kumanya ebisingawo.” Yogera n’ebbugumu. Obupapula buno bw’oba obugaba ku wiikendi, oyinza okugabirako magazini.