LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/13 lup. 5
  • Empisa Eziweesa Katonda Ekitiibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Empisa Eziweesa Katonda Ekitiibwa
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • “Mubeerenga n’Empisa Ennungi mu b’Amawanga”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Enkuŋŋaana Zaffe eza Disitulikiti, Ziwa Obujulirwa obw’Amaanyi ku Mazima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ennaku Ssatu ez’Okuzzibwamu Amaanyi mu by’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Enkuŋŋaana za Disitulikiti—Ekiseera eky’Okusinza okw’Essanyu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 6/13 lup. 5

Empisa Eziweesa Katonda Ekitiibwa

1. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bwe baba ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, abantu bangi mu kitundu bakimanya?

1 Bwe tuba ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, abantu b’omu kitundu bakimanya. Mu bitundu ebimu, bannamawulire bategeeza abantu nti tulina olukuŋŋaana. Wooteeri n’ebifo ebirala awatundirwa emmere bibaamu abantu bangi ababa bazze mu lukuŋŋaana, era abantu b’omu kitundu babalaba nga bambadde bubbaagi. Ka twejjukanye ebinaatuyamba okweyisa mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana.—1 Peet. 2:12.

2. Okwambala mu ngeri esaanira nga tuli mu kitundu omuli olukuŋŋaana kiweesa kitya Katonda ekitiibwa?

2 Okwambala mu Ngeri Esaanira: Tukimanyi bulungi nti tusaanidde okwambala mu ngeri esaanira nga tugenda ku lukuŋŋaana. Kyokka, engeri gye twambalamu nga tugenda ku wooteeri gye tunaasulamu, nga tugenda mu bifo awatundirwa emmere, nga tugenda okugula ebintu, oba mu bifo ebirala y’eyinza okusinga okukukwata ku abo ababa batulaba. Wadde nga bwe tuba tugenda mu bifo ng’ebyo tuyinza obutambala ng’abagenda mu lukuŋŋaana, tusaanidde okwambala mu ngeri esaanira era eweesa ekitiibwa. Abantu basaanidde okulaba nti tuli ba njawulo ku batali bakkiriza. (Bar. 12:2) Ate era tusaanidde okwambala bubbaagi bwaffe, kubanga ekyo kisobozesa abantu b’omu kitundu okumanya nti tulina olukuŋŋaana, kitusobozesa okufuna akakisa okuwa obujulirwa, era kisobozesa abalala abazze mu lukuŋŋaana okutumanya.

3. Tuyinza tutya okwoleka obugumiikiriza n’okufaayo ku balala?

3 Obugumiikiriza n’Okufaayo ku Balala: Mu kiseera kino ng’abantu bangi beeyagala bokka era nga tebeebaza, abantu abalala gamba ng’abo abakola mu wooteeri ne mu bifo awatundirwa emmere basanyuka nnyo bwe twoleka obugumiikiriza era bwe tulaga nti tubafaako. (2 Tim. 3:1-5) Bwe tuba tukwata ebifo eby’okutuulamu oba nga tusimba olunyiriri tusobole okufuna ebintu ebipya ebiba bifulumiziddwa mu lukuŋŋaana, tetusaanidde kwefaako ffekka wabula tusaanidde okufaayo ne ku balala. (1 Kol. 10:23, 24) Omwami omu eyajja mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti omulundi gwe ogwasooka yagamba nti, “Tewali mboozi n’emu eyaweebwa ku olwo gye nzijukira, naye nnakwatibwako nnyo olw’engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye beeyisaamu.”

4. Embeera zaffe bwe ziba nga zitusobozesa, lwaki tusaanidde okulowooza ku ky’okuweereza nga bannakyewa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti?

4 Okuweereza nga Bannakyewa: Okuweereza nga bannakyewa kye kimu ku ebyo ebiraga nti tuli Bakristaayo ab’amazima. (Zab. 110:3) Onooweereza nga nnakyewa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti? Ab’oluganda nga 600, baaweereza nga bannakyewa okuyonja ekifo awaali wagenda okubeera olukuŋŋaana lwa disitulikiti. Bannannyini kifo ekyo baakwatibwako nnyo era baagamba nti: “Kino tetukirabangako! Kizibu okukikkiriza nti abantu bano bonna bakola nga bannakyewa.” Twesunga olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2013. Tujja kufuna akakisa okuwuliriza, okuyiga, n’okugulumiza Katonda waffe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share