ESSOMO 11
Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli?
Wali obaddeko n’omulimu omunene ogw’okukola naye n’owulira ng’otidde okugutandikako? Okusobola okufuula omulimu ogwo omwangu, oyinza okusalawo okugukola mu bitundutundu. Bwe kityo bwe kiri ne ku kusoma Bayibuli. Oyinza okwebuuza nti, ‘Ntandikire wa?’ Mu ssomo lino, tugenda kulaba ebimu ku bintu by’oyinza okukola n’osobola okunyumirwa okusoma n’okuyiga Bayibuli.
1. Lwaki tusaanidde okusoma Bayibuli obutayosa?
Omuntu asoma Bayibuli oba “amateeka ga Yakuwa” obutayosa, aba musanyufu era by’akola ebivaamu biba birungi. (Soma Zabbuli 1:1-3.) Mu kusooka, gezaako okugisoma okumala eddakiika ntonotono buli lunaku. Gy’onookoma okusoma Ekigambo kya Katonda, gy’ojja okukoma okunyumirwa okukisoma.
2. Kiki ekinaakuyamba okuganyulwa mu kusoma Bayibuli?
Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli, tusaanidde okusiriikiriramu ne ‘tufumiitiriza’ ku ebyo bye tuba tusoma. (Yoswa 1:8) Bw’oba osoma Bayibuli, weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Kino kinjigiriza ki ku Yakuwa Katonda? Nnyinza ntya okukikolerako mu bulamu bwange? Bino bye nsomye nnyinza kubikozesa ntya okuyamba abalala?’
3. Oyinza otya okufuna obudde obw’okusoma Bayibuli?
Kikuzibuwalira okufuna obudde obw’okusoma Bayibuli? Bangi ku ffe kituzibuwalira. Fuba ‘okukozesa obulungi ebiseera byo.’ (Abeefeso 5:16) Kino osobola okukikola ng’ossaawo ekiseera eky’okusomeramu Bayibuli buli lunaku. Abantu abamu basalawo okugisoma ku makya ennyo. Abalala basalawo okugisoma mu biseera ebirala mu lunaku, gamba nga mu budde bw’eky’emisana. Ate abalala bagisoma kiro nga tebanneebaka. Ggwe budde ki obuyinza okukwanguyira?
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri gy’oyinza okunyumirwa okusoma Bayibuli. Era yiga engeri gy’oyinza okutegeka obulungi osobole okuganyulwa mu kuyiga Bayibuli.
Nga bwe tusobola okuyiga okuwoomerwa emmere empya gye tuli, tusobola okuyiga okunyumirwa okusoma Bayibuli
4. Ebinaakuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli
Kiyinza obutaba kyangu kutandika kusoma Bayibuli. Naye tuyinza okuyiga okwagala okugisoma, ng’omuntu bw’ayiga okuwoomerwa emmere empya gy’ali. Soma 1 Peetero 2:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Olowooza bw’onootandika okusoma Bayibuli buli lunaku, enaakunyumira n’oba nga weesunga okugisoma?
Ssaako VIDIYO olabe ebyo ebyayamba abantu abamu okutandika okunyumirwa okusoma Bayibuli. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Okusinziira ku vidiyo eyo, kusoomooza ki abavubuka abamu kwe bavvuunuka?
Biki ebyabayamba okunywerera ku nteekateeka yaabwe ey’okusoma Bayibuli?
Biki ebyabayamba okunyumirwa okusoma Bayibuli?
Ebinaakuyamba okutandika okusoma Bayibuli:
Kozesa enkyusa ya Bayibuli eyeesigika era ekozesa olulimi olwangu. Gezaako okukozesa Enkyusa ey’Ensi Empya bw’eba nga gy’eri mu lulimi lwo.
Tandikira ku bitundu ebisinga okukunyumira. Okumanya by’oyinza okutandikirako, laba ekipande “WʼOsobola Okutandikira Okusoma Bayibuli.”
Lamba w’oba okomye okusoma. Kozesa ekipande, “Lamba w’Otuuse mu Kusoma Bayibuli” ekiri ku nkomerero y’ekitabo kino.
Kozesa JW Library®. Osobola okugikozesa wonna w’oba oli okusoma Bayibuli oba okuwuliriza ng’esomebwa, ng’okozesa essimu oba kompyuta.
Kozesa ebyongerezeddwako ebiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya. Ekitundu ekyo kirimu mmaapu, ebipande, n’awannyonnyolerwa ebigambo ebimu, ebijja okukuyamba okweyongera okunyumirwa okusoma Bayibuli.
5. Tegeka ekitundu kye mugenda okuyiga
Soma Zabbuli 119:34, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kikulu okusooka okusaba nga tonnatandika kusoma Bayibuli, oba okutegeka ekitundu ky’ogenda okuyiga?
Oyinza otya okuganyulwa mu bujjuvu mu buli kitundu kye muba mugenda okusoma? Buli ssomo ly’otegeka mu kitabo kino, gezaako okukola bino wammanga:
Soma obutundu obusooka mu buli ssomo.
Soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa, era ogezeeko okulaba engeri gye bikwataganamu n’ebyo by’oba osoma.
Saza ku bigambo ebikulu ebiddamu ekibuuzo; ekyo kijja kukuyamba okukubaganya ebirowoozo ku ssomo eryo n’oyo akusomesa.
Obadde okimanyi?
Abajulirwa ba Yakuwa bazze bakozesa enkyusa za Bayibuli ezitali zimu. Naye tusinga kukozesa Enkyusa ey’Ensi Empya kubanga yeesigika, etegeerekeka bulungi, era ekozesa erinnya lya Katonda.—Laba ekitundu, “Abajulirwa ba Yakuwa Balina Bayibuli Eyaabwe?” ekiri ku mukutu gwaffe.
ABAMU BAGAMBA NTI: “Okuyiga Bayibuli si kwangu. Sirina budde.”
Ggwe olowooza otya?
MU BUFUNZE
Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu Bayibuli, ssaawo obudde obw’okugisomeramu, saba Katonda akuyambe okutegeera by’osoma, era tegeka buli kitundu ky’oba ogenda okuyiga.
Okwejjukanya
Kiki ekinaakuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli?
Budde ki bw’oyinza okussaawo okusoma n’okuyiga Bayibuli?
Lwaki kikulu okutegeka buli kitundu ky’oba ogenda okuyiga?
LABA EBISINGAWO
Laba agamu ku magezi agasobola okukuyamba okuganyulwa mu kusoma Bayibuli.
“Ebinaakuyamba Okuganyulwa mu Kusoma Bayibuli” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 1 2017)
Laba engeri ssatu z’oyinza okusomamu Bayibuli n’oganyulwa.
“Bayibuli Eyinza Etya Okunnyamba?—Ekitundu 1: Manya Bayibuli Yo” (Kiri ku mukutu)
Laba engeri gy’oyinza okunyumirwamu okusoma Bayibuli.
“Bayibuli Eyinza Etya Okunnyamba?—Ekitundu 2: Nnyumirwa Okusoma Bayibuli” (Kiri ku mukutu)
Baako by’oyigira ku abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga basoma Bayibuli.