LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 22 lup. 153-lup. 156 kat. 5
  • Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okwanjula Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Yigiriza mu Ngeri Esikiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Okwanjula Ebyawandiikibwa
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 22 lup. 153-lup. 156 kat. 5

ESSOMO 22

Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa

Kiki ky’osaanidde okukola?

Kakasa nti onnyonnyola ebyawandiikibwa mu ngeri etuukagana n’ennyiriri endala eziriraanyewo, era ne Baibuli yonna. Ate era olina okubinnyonnyola mu ngeri etuukagana n’ebyo ebiri mu bitabo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’

Lwaki Kikulu?

Okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda buvunaanyizibwa bwa amaanyi. Katonda ayagala abantu ‘bategeere amazima.’ (1 Tim. 2:3, 4) N’olwekyo tulina okukikozesa mu ngeri entuufu.

BWE tuba tuyigiriza abalala, twetaaga okukola ekisingawo ku kubasomera obusomezi ennyiriri okuva mu Baibuli. Omutume Pawulo bw’ati bwe yawandiikira mukwano gwe Timoseewo: ‘Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’​—2 Tim. 2:15.

Okusobola okukola ekyo, tulina okunnyonnyola ebyawandiikibwa mu ngeri etuukagana n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Mu kifo ky’okumala galonda ebigambo ebikusanyusizza oba okunnyonnyola okusinziira ku ndowooza yaffe, kyandibadde ky’amagezi ne tusooka okwetegereza ennyiriri eziriraanyewo. Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yalabula abantu be ku bannabbi abaali bagamba nti boogera ebiva eri Katonda kyokka nga mu butuufu baali boogera ‘biva mu mitima gyabwe.’ (Yer. 23:16) Ng’alabula Abakristaayo obutayingiza ndowooza z’abantu mu Kigambo kya Katonda, omutume Pawulo yawandiika bw’ati: “Twagaana eby’ensonyi ebikisibwa, nga tutambulira mu bukuusa, so tetukyamya Kigambo kya Katonda.” Mu biseera ebyo abatunzi b’omwenge abataali beesigwa baasaabululanga omwenge gwe batunda basobole okufuna amagoba amangi. Ffe tetusaabulula Kigambo kya Katonda nga tutabikamu obufirosoofo bw’abantu. Pawulo yagamba bw’ati: ‘Tetuli nga bali abasinga obungi abatabanguzi b’ekigambo kya Katonda: naye twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo.’​​—2 Kol. 2:17; 4:2.

Emirundi egimu, oyinza okujuliza ekyawandiikibwa ng’oyagala kulaga omusingi ogukirimu. Baibuli erimu emisingi mingi egituwa obulagirizi mu bintu eby’enjawulo. (2 Tim. 3:16, 17) Kakasa nti okozesa ekyawandiikibwa mu butuufu bwakyo mu kifo ky’okukinnyonnyola ng’oyagala kituukane n’ekyo ky’oyagala okwogera. (Zab. 91:11, 12; Mat. 4:5, 6) Engeri gy’okinnyonnyolamu erina okuba ng’etuukagana n’ekigendererwa kya Yakuwa, era n’Ekigambo kya Katonda kyonna awamu.

Ate era ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima’ kikwetaagisa okumanya obulungi Baibuli ky’egamba. Teri nga “muggo” ogw’okukubisa abalala. Bannaddiini abaawakanya Yesu Kristo baajulizanga Ebyawandiikibwa kyokka ne babuusa amaaso ebintu ebisinga obukulu mu maaso ga Katonda gamba ng’okulaga obwenkanya, ekisa era n’obwesigwa. (Mat. 22:23, 24; 23:23, 24) Yesu yayoleka engeri za Kitaawe bwe yali ayigiriza Ekigambo kya Katonda. Yanyiikira okubuulira amazima era n’alaga nti yali ayagala nnyo abantu be yali ayigiriza. Twandifubye okukoppa ekyokulabirako kye.​—Mat. 11:28.

Biki ebiyinza okutuyamba okukozesa obulungi ekyawandiikibwa? Okusoma Baibuli obutayosa kijja kutuyamba. Ate era twetaaga okusiima enteekateeka Yakuwa gy’ataddewo ‘ey’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mw’ayitira okugabula emmere ey’eby’omwoyo abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza. (Mat. 24:45) Bwe tuba ab’okuganyulwa mu mmere gye tufuna okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, tulina okwesomesa, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa awamu n’okuzeenyigiramu.

Akatabo Reasoning From the Scriptures bwe kabaawo mu lulimi lwo, nako kayinza okukuyamba. Bw’oyiga okukakozesa obulungi ojja kusobola okumanya engeri y’okukozesa obulungi ebyawandiikibwa bye tutera okukozesa mu nnimiro. Bwe wabaawo ekyawandiikibwa ky’oyagala okukozesa naye nga tokitegeera bulungi, kinoonyerezeeko osobole okukikozesa obulungi.​—Nge. 11:2.

Mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi. Bw’oba oyigiriza abalala, kakasa nti bategeera bulungi engeri ekyawandiikibwa ky’okozesezza gye kikwatagana n’ensonga gy’oyogerako. Singa obuuza ekibuuzo nga tonnasoma kyawandiikibwa, abakuwuliriza basaanidde okulaba engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kiddamu ekibuuzo ekyo. Ate singa okozesa ekyawandiikibwa okuwagira ky’oba oyogedde, kakasa nti omuyizi ategeera bulungi engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kikakasaamu ekintu ekyo.

Tekimala okusoma obusomi ekyawandiikibwa k’obeere ng’osoma oggumiza. Kijjukire nti, abantu abasinga obungi tebamanyi nnyo biri mu Baibuli, era bayinza obutategeera nsonga yo ng’obasomedde ekyawandiikibwa omulundi ogusooka. Bayambe okwetegereza ekitundu mu kyawandiikibwa ky’osomye ekiggyayo obulungi ensonga gy’oyagala bategeere.

Okusobola okukola ekyo kiba kikwetaagisa okuggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga gy’oba omunnyonnyola. Engeri esingayo obwangu ey’okukikolamu kwe kuddamu n’osoma ebigambo ebiggyayo amakulu. Singa oba oyogera n’omuntu, oyinza okumubuuza ebibuuzo ebinaamuyamba okulaba ebigambo ebiggyayo amakulu. Aboogezi abamu bwe baba boogera eri abantu abawerako, bakozesa ebigambo ebirala ebitegeeza ekyo kye baagala kitegeerekeke mu kyawandiikibwa ekisomeddwa oba baddamu okwogera ebigambo ebirimu ebiggyayo ensonga enkulu. Naawe bw’osalawo okukola bw’otyo, kakasa nti abakuwuliriza balaba nti ekyawandiikibwa kikwatagana bulungi n’ensonga gy’oyogerako.

Bw’omala okutegeera ebigambo ebyetaaga okuggumizibwa mu kyawandiikibwa, ojja kuba osobola okukinnyonnyola obulungi. Kati weebuuze: Mu kukyanjula, nnalaze bulungi ensonga lwaki tugenda kukisoma? Bw’oba nga wagiraze, laga engeri ebigambo by’oyagala okuggumiza gye bikwataganamu n’ekyo ky’oyagala abakuwuliriza bategeere. Laga bulungi engeri gye bikwataganamu. Ne bwe kiba nti tewayanjudde kyawandiikibwa mu ngeri eyo, olina okulaga engeri gye kituukaganamu ne by’oyogera.

Abafalisaayo baabuuza Yesu ekibuuzo kye baali basuubira nti kinaamuzibuwarira okuddamu. Bamubuuza nti: “Omuntu ayinza okugoba mukazi we okumulanga buli kigambo?” Yesu yabaddamu ng’ajuliza Olubereberye 2:24. Weetegereze nti yassa essira ku bigambo ebyo byokka ebyali biddamu ekibuuzo kyabwe. Ng’amaze okubalaga nti abantu bwe bafumbiriganwa bafuuka “omubiri gumu,” Yesu yawunzika ng’agamba: “Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.”​—Mat. 19:3-6.

Ekyawandiikibwa osaanidde kukinnyonnyola kwenkana wa okusobola okuggyayo obulungi amakulu? Kino kisinziira ku bakuwuliriza kye bamanyi ku nsonga gy’oyogerako era ne ku bukulu bwayo. Kinnyonnyole mu ngeri ennyangu era ng’otuukira ddala ku nsonga.

Kubaganya Ebirowoozo n’Abalala nga Weeyambisa Ebyawandiikibwa. Ebikolwa by’Abatume 17:2, 3 walaga nti omutume Pawulo bwe yali mu buweereza e Ssessaloniika, ‘yakubaganya ebirowoozo n’abalala nga yeeyambisa Ebyawandiikibwa.’ Kino buli muweereza wa Yakuwa asaanidde okumanya engeri y’okukikolamu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yayogera ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, era n’alaga nti bino by’ali byalagulwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, oluvannyuma n’alyoka afundikira ng’agamba nti: “Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo.”

Bwe yali awandiikira Abebbulaniya, Pawulo yajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi mingi. Okusobola okuggumiza oba okunnyonnyola obulungi ensonga, yanokolangayo ekigambo oba ebigambo ebiwerako ate oluvannyuma n’annyonnyola amakulu gaabyo. (Beb. 12:26, 27) Mu Abebbulaniya essuula 3, Pawulo yajuliza Zabbuli 95:7-11. Weetegereze nti yanokolayo ebintu bisatu mu nnyiriri ezo: (1) omutima (Beb. 3:8-12), (2) ekigambo “Leero” (Beb. 3:7, 13-15; 4:6-11), ne (3) ebigambo: “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange” (Beb. 3:11, 18, 19; 4:1-11). Gezaako okukola nga Pawulo ng’onnyonnyola ebyawandiikibwa.

Weetegereze engeri Yesu gye yakozesaamu obulungi Ebyawandiikibwa mu Lukka 10:25-37. Omuyigiriza w’Amateeka omu yamubuuza: “Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Ng’addamu omusajja oyo, Yesu yasooka kumubuuza ye ky’alowooza, oluvannyuma n’amulaga obukulu bw’okukola ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba. Yesu bwe yalaba nti omusajja oyo tategedde ky’amugambye, yanokolayo ekigambo kimu mu kyawandiikibwa​—“muliraanwa,” era n’akimunnyonnyola bulungi. Mu kifo ky’okuwa obuwi amakulu gaakyo, yagera olugero okusobola okumuyamba okutuuka ku nsonga gye yali ayogerako.

Kya lwatu nti Yesu bwe yabanga addamu ebibuuzo, teyajulizanga bujuliza byawandiikibwa ebiwa eky’okuddamu obutereevu. Yasokanga kulaga kye bigamba, n’oluvannyuma n’abikwataganya n’ekibuuzo ekyabanga kimubuuziddwa.

Bwe yali ng’ayogera n’Abasaddukayo abaali bawakana nti teri kuzuukira, Yesu yaddamu ng’ajuliza ebimu ku bigambo ebiri mu Okuva 3:6. Naye teyakoma ku kujuliza bujuliza kyawandiikibwa ekyo. Wabula yakikozesa okubalaga nti okuzuukiza abafu kimu ku ebyo ebiri mu nteekateeka ya Katonda.​—Mak. 12:24-27.

Bw’oyiga okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa ojja kufuuka omuyigiriza omulungi.

OKUYIGA OKUNNYONNYOLA OBULUNGI EBYAWANDIIKIBWA

  • Soma Baibuli obutayosa. Soma n’obwegendereza Omunaala gw’Omukuumi, era weetegekere bulungi enkuŋŋaana.

  • Kakasa nti otegeera bulungi amakulu g’ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ky’oyagala okukozesa. Soma ekyawandiikibwa ekyo n’obwegendereza osobole okutegeera amakulu gaakyo.

  • Gifuule mpisa yo okunoonyereza mu bitabo byaffe eby’Ekikristaayo.

EKY’OKUKOLA: Nnyonnyola 2 Peetero 3:7. Ekyawandiikibwa ekyo kikakasa nti ensi ejja kuzikirizibwa na muliro? (Bw’oba onnyonnyola ekigambo “ensi,” laga n’amakulu g’ekigambo “eggulu.” Byawandiikibwa ki ebiraga nti ekigambo “ensi” kiyinza okukozesebwa mu ngeri ey’akabonero? Nga bwe kiragibwa mu lunyiriri 7, b’ani oba kiki ekijja okuzikirizibwa? Ekyo kituukagana kitya n’ebyo ebyaliwo mu nnaku za Nuuwa, ebyogerwako mu lunyiriri 5 ne 6?)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share