LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 23 lup. 157-lup. 159 kat. 4
  • Okulaga Omuganyulo gw’Ebyo by’Oyogerako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okulaga Omuganyulo gw’Ebyo by’Oyogerako
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ennyanjula Esikiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutegeka Emboozi ez’Okuwa mu Kibiina
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutegeka Emboozi ya Bonna
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 23 lup. 157-lup. 159 kat. 4

ESSOMO 23

Okulaga Omuganyulo gw’Ebyo by’Oyogerako

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yamba abakuwuliriza okulaba engeri by’oyogerako gye bikwata ku bulamu bwabwe oba gye bayinza okubiganyulwamu.

Lwaki Kikulu?

Singa abantu tebalaba muganyulo gwonna mu ebyo by’oyogerako, bayinza okukugamba nti tebaagala kuwuliriza, oba ebirowoozo byabwe biyinza okuwuguka.

K’OBEERE ng’oyogera na muntu omu oba eri ekibiina ky’abantu, tekiba kya magezi kusuubira nti abakuwuliriza bajja kwagala ky’oyogerako olw’okuba gwe okyagala. Obubaka bwo bukulu nnyo, naye singa olemererwa okubalaga omuganyulo ogubulimu, oboolyawo, tebajja kussaayo birowoozo byabwe kumala kiseera ekiwanvu.

Bwe kityo bwe kiba k’obeere ng’oyogera eri abantu mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bayinza okussaayo omwoyo bw’okozesa ekyokulabirako oba bw’obategeeza ekintu kye batawulirangako. Naye singa oyogera ku bintu bye bamanyi kyokka n’otobigaziyaako, bayinza obutassaayo birowoozo. Weetaaga okubayamba okutegeera ensonga lwaki by’oyogerako bya muganyulo era n’engeri gye biyinza okubaganyulamu.

Baibuli etukubiriza okulowooza mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 3:21) Yakuwa yakozesa Yokaana Omubatiza okuyamba abantu okutambuliranga mu “magezi ag’abatuukirivu.” (Luk. 1:17) Ago ge magezi agasibuka mu kutya Yakuwa. (Zab. 111:10) Abo abasiima amagezi gano bayambibwa ne basobola okwaŋŋanga embeera y’obulamu obw’omu kiseera kino era n’okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.​—1 Tim. 4:8; 6:19.

Okutegeka Emboozi Eganyula. Emboozi yo bw’eba ey’okuganyula abawuliriza, tokoma ku kulowooza ku by’ogenda kwogera byokka, naye era lowooza ne ku abo abagenda okukuwuliriza. Tobalowoozaako wamu ng’ekibiina. Kubanga mu abo abagenda okukuwuliriza mulimu abantu kinnoomu n’amaka ag’enjawulo. Muyinza okubaamu abaana abato, abavubuka, abantu abakulu ne bannamukadde. Ate era muyinza okubaamu abappya awamu n’abo abaatandika edda okuweereza Yakuwa nga naawe tonnazaalibwa. Abamu bayinza okuba nga bakulu mu by’omwoyo; ate abalala bayinza okuba nga tebannaba kwekutulira ddala ku nsi n’empisa zaayo. Weebuuze: ‘Bye ŋŋenda okwogerako binaabaganyula bitya? Nnyinza ntya okubayamba okutegeera bye ŋŋenda okwogerako?’ Oyinza okusalawo okussa essira ku kibinja kimu oba bibiri eby’abantu abo aboogeddwako waggulu. Naye, n’abalala tobasuula muguluka.

Kiba kitya singa osabibwa okwogera ku emu ku njigiriza enkulu ez’omu Baibuli? Osobola otya okutegeka emboozi yo mu ngeri eneeganyula n’abo abamanyi obulungi enjigiriza eyo? Fuba okubayamba okweyongera okukakasa nti enjigiriza eyo ntuufu. Mu ngeri ki? Ng’owa obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obuwagira enjigiriza eyo. Era osobola n’okubayamba okweyongera okutegeera enjigiriza ya Baibuli eyo. Kino oyinza okukikola ng’olaga engeri enjigiriza eyo gy’ekwataganamu n’enjigiriza endala ez’omu Baibuli era n’engeri za Yakuwa kennyini. Kozesa ebyokulabirako ebiraga engeri okutegeera enjigiriza eyo gye kiganyuddemu abantu era ne kinyweza n’essuubi lyabwe ery’omu biseera eby’omu maaso.

Omuganyulo oguli mu ebyo by’oyogera tegulina kulagirwa mu kufundikira mwokka. Okuviira ddala ku ntandikwa y’emboozi yo, buli omu ku abo abakuwuliriza alina okuwulira nti by’oyogera ‘bimukwatako.’ Era weeyongere okubalaga engeri by’oyogerako gye bibakwatako ng’ogaziya buli nsonga nkulu eri mu mboozi ate era ne mu kufundikira.

Bw’oba obalaga engeri ebyo by’oyogerako gye bibakwatako, kakasa nti okikola mu ngeri etuukana n’emisingi gya Baibuli. Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti olina okukikola mu ngeri ey’okwagala era eraga nti ofaayo. (1 Peet. 3:8; 1 Yok. 4:8) Bwe yali ng’akola ku bizibu eby’amaanyi mu Ssessaloniika, omutume Pawulo yayogera ne ku ngeri baganda be Abakristaayo gye baali bakulaakulana mu by’omwoyo. Ate era yayoleka obwesige nti ne mu nsonga eyali eyogerwako, ab’oluganda abo baali baagala okukola ekituufu. (1 Bas. 4:1-12) Ekyo nga kyakulabirako kirungi nnyo eky’okukoppa!

Mu mboozi yo oyagala kukubiriza balala kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza amawulire amalungi? Bayambe okubeera abanyiikivu era n’okusiima enkizo eyo. Kyokka, mu kukola ekyo, kijjukire nti abantu balina obusobozi bwa njawulo era ne Baibuli bw’etyo bw’egamba. (Mat. 13:23) Toyogera na ba luganda ng’olinga abavunaana omusango. Abebbulaniya 10:24 watukubiriza ‘okwoleka okwagala n’ebikolwa ebirungi.’ Singa tukubiriza abalala okuba n’okwagala, bye banaakola bajja kubikola nga balina ebiruubirirwa ebirungi. Mu kifo ky’okubalagira obulagizi kye balina okukola, kitegeere nti Yakuwa ayagala ‘tumugondere olw’okukkiriza.’ (Bar. 16:26) Ekyo bwe tukimanya, tufuba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwa baganda baffe.

Okuyamba Abalala Okulaba Omugaso Oguli mu Bubaka Bwaffe. Ng’obuulira abalala, tolema kubalaga engeri amawulire amalungi gye gabaganyulamu. Okusobola okukola ekyo, kikwetaagisa okumanya ebintu abali mu kitundu kyo bye balowoozaako ennyo. Osobola otya okubimanya? Wuliriza amawulire ku rediyo oba ku ttivi. Tunuulira emitwe gy’empapula z’amawulire. Fuba okutandika emboozi n’abantu, era owulirize bulungi nga boogera. Oyinza okukizuula nti waliwo ebizibu eby’amaanyi ebibanyiga, gamba ng’okufiirwa omulimu, okusasula ebisale by’amayumba, obulwadde, okufiirwa omwagalwa, ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya obubatuusiddwako omuntu ali mu buyinza, okusasika kw’obufumbo, okulabirira abaana, n’ebirala bingi. Baibuli esobola okubayamba? Awatali kubuusabuusa esobola.

Bw’otandika emboozi n’omuntu, oba ne ky’oyagala mwogereko. Kyokka, singa omuntu akulaga nti waliwo ensonga endala gye yandyagadde mwogereko, tolonzalonza kwogera ku nsonga eyo bw’oba ng’osobola, oba mutegeeze nti ojja kuddayo omunnyonnyole ebikwata ku nsonga eyo. Kya lwatu, ‘tetweyingiza mu nsonga z’abantu ezitatukwatako,’ naye tubategeeza ebiri mu Baibuli ebisobola okubaganyula. (2 Bas. 3:11) Awatali kubuusabuusa, ekisinga okusikiriza abantu, bwe bubaka obuli mu Baibuli obukwatira ddala ku bulamu bwabwe.

Singa abantu tebalaba ngeri bubaka bwaffe gye bubakwatako, bayinza obuteeyongera kussaayo birowoozo byabwe. Ne bwe batuleka okweyongera okwogera, kyokka ne tulemererwa okubalaga engeri bye twogerako gye bibakwatako, tebajja kuganyulwa. Singa tubalaga bulungi engeri obubaka bwaffe gye bubaganyulamu, bye twogerako biyinza okubaleetera okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe.

Bw’oba oyigiriza abantu Baibuli, weeyongere okubalaga engeri by’obayigiriza gye bibakwatako. (Nge. 4:7) Yamba b’oyigiriza okutegeera okubuulirira okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, emisingi egirimu, awamu n’ebyokulabirako ebibalaga engeri gye bayinza okutambulira mu makubo ga Yakuwa. Yogera ku miganyulo egiva mu kukola ekyo. (Is. 48:17, 18) Ekyo kijja kukubiriza abayizi bo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwabwe. Bayambe okwagala Yakuwa era n’okwagala okukola ebimusanyusa, ekyo kye kijja okubasobozesa okussa mu nkola okubuulirira okuva mu Kigambo kya Katonda.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Bw’oba oteekateeka emboozi, tolowooza ku by’ogenda kwogerako byokka, naye era lowooza ne ku abo abagenda okugiwuliriza. Giwe mu ngeri eneebaganyula.

  • Omuganyulo oguli mu ebyo by’oyogera tegulina kulagibwa mu kufundikira mwokka. Gulina okweyoleka mu mboozi yo yonna.

  • Bw’oba oteekateeka okuwa obujulirwa, manya ebintu abantu abali mu kitundu kyo bye balowoozaako.

  • Bw’oba obuulira, wuliriza bulungi omuntu oyo gw’obuulira, era otuukanye by’oyogera n’embeera ye.

EKY’OKUKOLA: Soma Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka bw’olina, era londamu ennyanjula emu oba bbiri z’olowooza nti ze zijja okusinga okuyamba abantu b’omu kitundu kyo. Gezaako okuzikozesa mu buweereza bw’ennimiro.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share