LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/07 lup. 1
  • Tukwasiddwa Eky’Obugagga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tukwasiddwa Eky’Obugagga
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Omutima Gwo Gusse ku by’Obugagga eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Osobola Okuvumbula ‘Okumanya Okukwata ku Katonda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Enkizo Yo ey’Obuweereza Gitwale nga ya Muwendo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Laga nti Osiima Ebintu eby’Omuwendo Ebitalabika
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 2/07 lup. 1

Tukwasiddwa Eky’Obugagga

1 Omutume Pawulo yatwala omulimu ogw’okubuulira ogwali gumuweereddwa Katonda ng’eky’omuwendo ennyo era n’aguyita ‘eky’obugagga.’ (2 Kol. 4:7) Mu kutuukiriza omulimu ogwo, yagumira embeera enzibu n’okuyigganyizibwa. Yafuba okubuulira buli omu gwe yasanganga. Yatambula eŋŋendo nnyingi ku lukalu ne ku mazzi ezaalinga enzibu ennyo era ez’akabi eri obulamu bwe. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo era ne tulaga nti obuweereza bwaffe tubutwala nga bwa muwendo? (Bar. 11:13) Kiki ekifuula obuweereza bwaffe okuba eky’obugagga ekisinga byonna?

2 Eky’Obugagga Ekisinga Byonna: Emirundi mingi, eby’obugagga eby’omu nsi bireeta okulumwa kungi kyokka ne bivaamu emiganyulo mitono nnyo era egy’akaseera obuseera. Ku luuyi olulala, obuweereza bwaffe buleeta emiganyulo gya lubeerera eri ffe kennyini n’eri abalala. (1 Tim. 4:16) Buyamba abantu abeesimbu okumanya Yakuwa, okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwabwe era n’okufuna essuubi ekkakafu ery’obulamu obutaggwaawo. (Bar. 10:13-15) Bwe tutwala obuweereza bwaffe nga bwa muwendo nnyo, tufuna ekigendererwa mu bulamu, obumativu, n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.​—1 Kol. 15:58.

3 Kirage Nti Eky’Obugagga Kyo Okitwala nga kya Muwendo: Emirundi mingi, ekintu bwe tuba tukitwala nga kya muwendo, kyeyolekera ku ngeri gye twerekerezaamu tusobole okukifuna. Nga nkizo ya maanyi okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi okutendereza Yakuwa! (Bef. 5:16, 17) Engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe esaanidde okulaga nti tutwala ebintu eby’omwoyo nga bya muwendo okusinga okunoonya eby’obugagga. Okuva bwe tulina ekintu eky’omuwendo kye tulina okutegeeza abalala, tusaanidde okubuulira n’ebbugumu era n’okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira amawulire amalungi.

4 Ebintu eby’omuwendo omungi tebitera kukwekebwa naye biteekebwa mu kifo abalala we basobola okubirabira. Bwe tutwala obuweereza bwaffe ng’ekintu eky’omuwendo, tujja kubuteeka mu kifo ekisooka mu bulamu bwaffe. (Mat. 5:14-16) Nga tulina emitima egijjudde okusiima, ka tukoppenga omutume Pawulo nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okulaga nti tutwala obuweereza bwaffe nga bwa muwendo nnyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share