LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 7/1 lup. 19-24
  • Yakuwa Agulumiza Abantu Be ng’Abawa Ekitangaala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Agulumiza Abantu Be ng’Abawa Ekitangaala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omukazi ow’Akabonero Amulisa Ekitangaala
  • Abaana b’Omukazi Bakomawo Eka!
  • Abasuubuzi, n’Abasumba Bajja eri Sayuuni
  • Entegeka Ya Yakuwa Egaziwa
  • Ekitiibwa kya Yakuwa Kyakira Abantu Be
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • “Omuto” Afuuse “Lukumi”!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okujaguza kw’Abo Abatambulira mu Kitangaala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 7/1 lup. 19-24

Yakuwa Agulumiza Abantu Be ng’Abawa Ekitangaala

“Omukazi golokoka, yaka; kubanga ekitangaala kyo kituuse n’ekitiibwa kya Yakuwa kikuviiriddeyo.”​—ISAAYA 60:1, NW.

1, 2. (a) Abantu bali mu mbeera ki? (b) Ani ali amabega w’ekizikiza ekibuutikidde abantu?

“NGA twetaaga nnyo abantu ab’empisa ennungi nga Isaaya oba Pawulo!” Ebyo bye bigambo ebyayogerwa Prezidenti wa Amereka ayitibwa Harry Truman, mu myaka gya 1940. Lwaki yayogera ebigambo ebyo? Kubanga yalaba obwetaavu bw’abakulembeze ab’empisa ez’oku mutindo ogwa waggulu mu kiseera kye. Ensi yali yaakava mu ssematalo owokubiri, ekiseera ekyasingayo obubi mu kyasa 20. Kyokka, wadde ng’olutalo lwali luwedde, ensi yali tennafuna mirembe. Embeera enzibu zaali zikyaliwo. Mazima ddala emyaka 57 oluvannyuma lw’olutalo olwo, ensi ekyali mu mbeera enzibu. Singa Prezidenti Truman abadde akyali mulamu leero, awatali kubuusabuusa yandirabye nti tukyetaaga abakulembeze ab’empisa ez’oku mutindo ogwa waggulu nga Isaaya oba omutume Pawulo.

2 Ka kibe nga Prezidenti Truman yali akimanyi oba nedda, omutume Pawulo yayogera ku kizikiza abantu kye balimu era n’abalabula ku kizikiza ekyo mu bye yawandiika. Ng’ekyokulabirako, yalabula bw’ati bakkiriza banne: ‘Tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abaamasaza, n’ab’obuyinza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.’ (Abaefeso 6:12) Mu bigambo bino, Pawulo yalaga nti yali tamanyi bumanya nti ekizikiza kibuutikidde ensi naye era yali amanyi ensibuko yaakyo​—balubaale ab’amaanyi be yayita ‘abafuzi b’ensi.’ Okuva bamalayika ab’amaanyi bwe bali emabega w’ekizikiza ky’ensi, kiki abantu kye bayinza okukola okukimalawo?

3. Wadde ng’abantu bali mu kizikiza, Isaaya yalagula ki eri abeesigwa?

3 Mu ngeri y’emu, Isaaya yayogera ku kizikiza ekibuutikidde abantu. (Isaaya 8:22; 59:9) Kyokka, ng’ayogera ku biseera byaffe, yalagula nti ne mu biseera bino eby’ekizikiza, Yakuwa yandiwadde essuubi abo abaagala ekitangaala. N’olwekyo, wadde nga Pawulo ne Isaaya tebaliiwo, tulina bye baawaandiika ebyaluŋŋamizibwa ebisobola okutuwa obulagirizi. Okusobola okulaba engeri gye biganyulamu abo abaagala Yakuwa, ka twekenneenye obunnabbi obuli mu ssuula 60, ey’ekitabo kya Isaaya.

Omukazi ow’Akabonero Amulisa Ekitangaala

4, 5. (a) Yakuwa alagira omukazi kukola ki, era amusuubiza ki? (b) Bintu ki ebibuguumiriza ebiri mu Isaaya essuula 60?

4 Ebigambo ebisooka mu Isaaya essuula 60 byolekezebwa eri omukazi ali mu nnaku​—mu kizikiza, ng’agalamidde ku ttaka. Amangu ddala era nga tekisuubirwa, ekitangaala kyaka mu kizikiza, era Yakuwa n’agamba: “[Omukazi] golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse [“ekitangaala kyo kituuse,” NW], n’ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.” (Isaaya 60:1) Ekiseera kituuse omukazi okuyimirira ayoleke ekitangaala n’ekitiibwa kya Katonda. Lwaki? Tufuna eky’okuddamu mu lunyiriri oluddirira: “Laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n’ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.” (Isaaya 60:2) Omukazi bw’agondera ekiragiro kya Yakuwa, ebiva mu ekyo biba birungi. Yakuwa agamba: “N’amawanga galijja eri omusana gwo [“ekitangaala kyo,” NW], ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng’ovaayo.”​—Isaaya 60:3.

5 Ebigambo bino ebibuguumiriza ebiri mu nnyiriri zino essatu byanjula era ne biwumbawumbako ebirala byonna ebiri mu Isaaya essuula 60. Biragula ebintu ebyandituuse ku mukazi ow’akabonero era ne binnyonnyola engeri gye tuyinza okubeera mu kitangaala kya Yakuwa wadde ng’ekizikiza kibuutikidde abantu. Naye obubonero obuli mu nnyiriri zino esatu ezisooka butegeeza ki?

6. Omukazi ow’omu Isaaya essuula 60 y’ani, era ani amukiikirira ku nsi?

6 Omukazi ow’omu Isaaya 60: 1-3 ye Sayuuni, entegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu ey’ebitonde eby’omwoyo. Leero, ensigalira ya “Isiraeri wa Katonda,” ekibiina eky’ensi yonna eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abalina essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu, be bakiikirira Sayuuni ku nsi. (Abaggalatiya 6:16) Eggwanga lino ery’eby’omwoyo lijja kubaamu abantu 144,000, era okutuukirizibwa kwa Isaaya essuula 60 okw’omu kiseera kyaffe, kukwata ku bamu ku abo abakyali abalamu mu ‘nnaku ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1; Okubikkulirwa 14:1) Era obunnabbi obwo bwogera nnyo ku banne b’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘ekibiina ekinene’ ‘eky’endiga endala.’​—Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16.

7. Sayuuni yali mu mbeera ki mu 1918, era kino kyali kiraguddwa kitya?

7 ‘Isiraeri wa Katonda’ yaliko mu kizikiza, nga bwe kyalagibwa omukazi oyo ow’akabonero? Yee, kino kyaliwo emyaka egisukka mu 80 emabega. Mu kiseera kya ssematalo eyasooka, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baafuba nnyo okwongera mu maaso omulimu gw’okuwa obujulirwa. Naye mu 1918, omwaka ogwasembayo ogw’olutalo olwo, omulimu gw’okubuulira kumpi gwayimirira. Ow’Oluganda Joseph F. Rutherford, eyali akubiriza omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, awamu n’Abakristaayo abalala abatutumufu, baasalirwa emisango gy’okusibibwa mu kkomera ebbanga ggwanvu nga bavunaanibwa emisango emigingirire. Mu Kitabo ky’Okubikkulirwa, Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kiseera ekyo baayogerwako ng’emirambo egiri “mu luguudo lw’ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri.” (Okubikkulirwa 11:8) Mazima ddala, ekyo kyali kiseera kya kazigizigi eri Sayuuni, eyali ekiikirirwa abaana be abaafukibwako amafuta ku nsi!

8. Nkyukakyuka ki ey’amaanyi eyaliwo mu 1919, era biki ebyavaamu?

8 Kyokka, mu 1919 waaliwo enkyukakyuka ey’amaanyi. Yakuwa yamulisa ekitangaala ku Sayuuni! Ensigalira ya Isiraeri wa Katonda, baabaako kye bakola okusobola okwoleka ekitangaala kya Katonda. N’obuvumu, baddamu okulangirira amawulire amalungi. (Matayo 5:14-16) Olw’obunyiikivu bw’Abakristaayo bano, abalala baasikirizibwa eri ekitangaala kya Yakuwa. Okusooka, abappya abaafukibwako amafuta beegatta ku Isiraeri wa Katonda. Mu Isaaya 60:3, bayitibwa bakabaka, okuva bwe bajja okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 20:6) Oluvannyuma, ekibiina ekinene eky’endiga endala baatandika okusikirizibwa eri ekitangaala kya Yakuwa. Bano ge ‘mawanga’ agoogerwako mu bunnabbi.

Abaana b’Omukazi Bakomawo Eka!

9, 10. (a) Kiki ekyewuunyisa omukazi kye yalaba, era kyali kisonga ku ki? (b) Sayuuni alina nsonga ki okusanyuka?

9 Kati, Yakuwa atandika okuwa kalonda omulala akwata ku bunnabbi obuli mu Isaaya 60:1-3. Awa omukazi ekiragiro ekirala. Wuliriza bw’ayogera: “Yimusa amaaso go omagemage olabe.” Omukazi agondera ekiragiro ekyo, era, nga by’alaba bimuzzaamu nnyo amaanyi! Abaana be bakomawo eka. Ekyawandiikibwa kyeyongera ne kigamba: “Bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy’oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi.” (Isaaya 60:4) Okubuulira Obwakabaka mu nsi yonna okwatandika mu 1919, kwaleeta enkumi n’enkumi z’abantu abappya mu buweereza bwa Yakuwa. Bano nabo bafuuka ‘batabani’ ‘n’abawala’ ab’omu Sayuuni, abaafukibwako amafuta, aba Isiraeri wa Katonda. Mu ngeri eyo, Yakuwa yagulumiza Sayuuni ng’aleeta abaasembayo ku 144,000 mu kitangaala.

10 Oyinza okuteebereza essanyu lya Sayuuni ng’ali n’abaana be?. Kyokka Yakuwa ategeeza Sayuuni ebintu ebirala ebimuleetera essanyu. Tusoma: “Awo n’olyoka olaba n’oyakirwa, n’omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu [“obugagga,” NW] obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy’oli, obugagga obw’amawanga bulikujjira.” (Isaaya 60:5) Mu kutuukirizibwa kw’ebigambo ebyo, okuva mu myaka gya 1930, nnamungi w’Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi beekuluumulidde eri Sayuuni. Bavudde mu ‘nnyanja’ y’abantu abeeyawudde ku Katonda era bakiikirira ‘obugagga bw’amawanga.’ Abakristaayo abo be ‘bintu ebyegombebwa mu mawanga.’ (Kaggayi 2:7; Isaaya 57:20) Era weetegereze nti ‘ebyegombebwa bino’ tebaweereza Yakuwa buli omu mu ngeri ye. Wabula, bongera okugulumizibwa Sayuuni nga bajja okusinziza awamu ne baganda baabwe abaafukibwako amafuta, ne bafuuka “ekisibo kimu,” ekiri wansi ‘w’omusumba omu.’​—Yokaana 10:16.

Abasuubuzi, n’Abasumba Bajja eri Sayuuni

11, 12. Nnyonnyola ebibiina ebyekuluumulula eri Sayuuni.

11 Ekyava mu kukuŋŋaanyizibwa kuno okwalagulwa, kwe kweyongera okw’amaanyi mu muwendo gw’abo abatendereza Yakuwa. Ekyo kyalagulwa mu bigambo ebiddirira eby’obunnabbi. Teeberezaamu nti oyimiridde wamu n’omukazi ono ow’akabonero ku Lusozi Sayuuni. Bw’otunula ebuvanjuba, kiki ky’olaba? “Olufulube lw’eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira eze Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n’omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.” (Isaaya 60:6) Olufulube lw’abasuubuzi n’eŋŋamira zaabwe batambula nga boolekera Yerusaalemi. Eŋŋamira ziringa amataba agabisse ensi! Abasuubuzi balina ebirabo eby’omuwendo, “ezaabu n’omugavu.” Bajja eri ekitangaala kya Yakuwa basobole okumutendereza mu lujjudde, ‘okulanga amatendo ga Yakuwa.’

12 Abasuubuzi si be bokka abali mu lugendo. N’abasumba nabo beekuluumulira eri Sayuuni. Obunnabbi bweyongera ne bugamba: “Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy’oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza.” (Isaaya 60:7a) Abalunzi nabo bajja eri ekibuga ekitukuvu okuwaayo eri Yakuwa ebisingayo obulungi mu bisibo byabwe. Era beewaayo bo bennyini okuweereza Sayuuni! Yakuwa ayaniriza atya bannaggwanga bano? Katonda kennyini addamu: ‘Zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndigulumiza ennyumba ey’ekitiibwa kyange.’ (Isaaya 60:7b) Yakuwa akkiriza ebiweebwayo n’obuweereza bwa bannaggwanga bano. Okubaawo kwabwe kugulumiza yeekaalu ye.

13, 14. Kiki ekirabibwa nga kiva ebugwanjuba?

13 Kati tunula ebugwanjuba. Kiki ky’olaba? Mu kifo ekyesudde, olaba ekirabika ng’ebire ebyeru ebisaasaanye ku nnyanja. Awo Yakuwa abuuza ekibuuzo ekikuli ku mutima: “Bano be baani ababuuka ng’ekire era nga bukaamukuukulu eri ebituli byabwo?” (Isaaya 60:8) Yakuwa kennyini addamu ekibuuzo kye: “Mazima ebizinga birinnindirira, n’ebyombo eby’e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n’ezaabu yaabwe wamu nabo, olw’erinnya lya Mukama Katonda wo n’olw’Omutukuvu wa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.”​—Isaaya 60:9.

14 Oyinza okukuba ekifaananyi ku kyaliwo ekyo? Ekire ekyo ekyeru kigenda kisembera era kati kiringa obutonyeze obuli ewala ebugwanjuba. Kifaanana ng’ebinyonyi ebiseeyeeya mu bbanga. Naye bwe kigenda kisembera, olaba nti byombo era ng’amatanga gaabyo ganjuluziddwa okukwata empeewo. Ebyombo bingi nnyo biseeyeeya okwolekera Yerusaalemi ne kiba nti bifaanana nga bukaamukuukulu obungi ennyo. Okuva ku myalo egy’ewala, emmeeri nnyingi nnyo ziri ku sipiidi ya maanyi era zireeta abakkiriza abagenda e Yerusaalemi okusinza Yakuwa.

Entegeka Ya Yakuwa Egaziwa

15. (a) Kweyongera kwa ngeri ki okwalagulwa mu Isaaya 60:4-9? (b) Abakristaayo ab’amazima booleka mwoyo ki?

15 Mu ngeri ey’obunnabbi, olunyiriri 4 okutuuka ku 9 nga zituwa ekifaananyi eky’enkukunala eky’okweyongerayongera mu nsi yonna okwatandika mu 1919! Lwaki Yakuwa yayamba Sayuuni okweyongera mu ngeri eyo? Kubanga okuva mu 1919, Isiraeri wa Katonda yeeyongedde okumulisa ekitangaala kye. Kyokka, weetegerezza nti okusinziira ku lunyiriri 7, abappya ‘bajja ku kyoto kya Katonda’? Ekyoto kye kifo kwe baweerayo ssaddaaka, era ekyo kitujjukiza nti obuweereza bwa Yakuwa buzingiramu okuwaayo ssaddaaka. Omutume Pawulo yawandiika: “Kyenvudde mbeegayirira . . . okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi.” (Abaruumi 12:1) Okusobola okutuukagana n’ebigambo bya Pawulo, Abakristaayo ab’amazima tebaba bamativu na kubaawo mu nkuŋŋaana omulundi gumu gwokka buli wiiki. Wabula bawaayo ebiseera byabwe, amaanyi, n’eby’obugagga byabwe okutumbula okusinza okulongoofu. Abasinza ng’abo abanyiikivu tebaleetera nnyumba ya Yakuwa kugulumizibwa? Obunnabbi bwa Isaaya bwagamba nti bwe kyandibadde. Era tuyinza okuba abakakafu nti abasinza ng’abo abanyiikivu, nabo bagulumizibwa mu maaso ge.

16. Baani abaawagira omulimu gw’okuddamu okuzimba mu biseera eby’edda, era baani abaguwagidde mu kiseera kyaffe?

16 Abappya baagala okukola. Obunnabbi bweyongera ne bugamba: “Bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza.” (Isaaya 60:10) Mu kutuukirizibwa okwasooka okw’ebigambo bino mu kiseera oky’okukomawo okuva mu buddu bwa Babulooni, bakabaka n’abalala okuva mu mawanga baayamba mu kuddamu okuzimba yeekaalu n’ekibuga Yerusaalemi. (Ezera 3:7; Nekkemiya 3:26) Mu kutuukirizibwa okw’omu kiseera kyaffe, ekibiina ekinene kiwagidde ensigalira y’abaafukibwako amafuta mu kutumbula okusinza okw’amazima. Bayambye mu kukulaakulanya ebibiina Ebikristaayo era bwe kityo ne banyweza “enkomera” z’entegeka ya Yakuwa. Era bennyigira mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, Ebizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene, n’ebizimbe bya Beseri. Mu ngeri zino zonna, bawagira baganda baabwe abaafukibwako amafuta mu kukola ku byetaago by’entegeka ya Yakuwa egenda egaziwa!

17. Ngeri ki emu Yakuwa mw’agulumizizza abantu be?

17 Ng’ebigambo ebisembayo mu Isaaya 60:10 bizzaamu nnyo amaanyi! Yakuwa agamba: “Nakukuba nga nkwatiddwa [o]busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa [e]kisa.” Yee, emabega eri wakati wa 1918 ne 1919, Yakuwa yakangavvuula abantu be. Naye ekyo kyaliwo mu biseera ebyayita. Kati kye kiseera Yakuwa okusaasira abaweereza be abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala. Obujulizi obukakasa ekyo kwe kweyongera okw’enkukunala kw’abasobozesezza okufuna, ‘ng’abagulumiza.’

18, 19. (a) Biki Yakuwa by’asuubiza abappya abajja mu ntegeka ye? (b) Ennyiriri ezisigaddeyo mu Isaaya essuula 60, zitutegeeza ki?

18 Buli mwaka, emitwalo n’emitwalo gya ‘bannaggwanga’ abappya beegatta ku ntegeka ya Yakuwa, era n’abalala bakyasuubirwa. Yakuwa agamba bw’ati Sayuuni: “N’enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n’ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw’amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.” (Isaaya 60:11) Abaziyiza abamu bagezezzaako okuggalawo ‘enzigi’ ezo, naye tukimanyi nti tebayinza kutuuka ku buwanguzi. Yakuwa kennyini agambye nti mu ngeri emu oba endala enzigi zijja kusigala nga nzigule. Wajja kubaawo okweyongera.

19 Waliwo engeri endala Yakuwa mw’ayitidde okuwa abantu be omukisa, n’abagulumiza mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Ennyiriri ezisigaddeyo mu Isaaya ssuula 60 ziraga engeri ezo mu ngeri y’obunnabbi.

Osobola Okunnyonnyola?

• “Omukazi” wa Katonda y’ani, era ani amukiikirira ku nsi?

• Ddi abaana ba Sayuuni lwe baali bagalamidde, era ‘baayimirira’ ddi era mu ngeri ki?

• Nga bakozesa obubonero obw’enjawulo, Yakuwa yalagula atya okweyongera okuliwo leero mu babuulizi b’Obwakabaka?

• Ngeri ki Yakuwa mw’ayitidde okuwa abantu be ekitangaala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

“Omukazi” wa Yakuwa alagirwa okuyimirira

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Ebyombo biringa bukaamukuukulu obubuuka mu bbanga

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share