Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abaggalatiya, Abaefeso, Abafiripi, n’Abakkolosaayi
BW’AWULIRA nti Abakristaayo abamu batandise okuva mu kusinza okw’amazima olw’okuwuliriza enjigiriza z’Ekiyudaaya, omutume Pawulo awandiikira “ekkanisa ez’e Ggalatiya” ebbaluwa erimu obubaka obw’amaanyi. (Bag. 1:2) Ebbaluwa eno eyawandiikibwa awo nga 50-52 Embala Eno (E.E.), erimu okubuulirira okw’amaanyi era nga kutuukira ddala ku nsonga.
Nga wayise emyaka nga kkumi, ng’ali e Ruumi ‘ng’omusibe wa Yesu Kristo,’ Pawulo awandiikira ab’omu kibiina ky’omu Efeso, Firipi, n’eky’omu Kkolosaayi, ng’ababuulirira era ng’abazzaamu amaanyi. (Bef. 3:1) Naffe leero tuganyulwa bwe tussaayo omwoyo ku bubaka obuli mu kitabo ky’Abaggalatiya, eky’Abaefeso, eky’Abafiripi, n’eky’Abakkolosaayi.—Beb. 4:12.
‘BAWEEBWA OBUTUUKIRIVU’—BATYA?
Olw’okuba ab’enzikiriza y’Ekiyudaaya bagamba nti Pawulo si mutume mutuufu, Pawulo yennyonnyolako ng’awa obukakafu obulaga nti mutume mutuufu. (Bag. 1:11–2:14) Asambajja enjigiriza zaabwe enkyamu ng’agamba nti: “Omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw’okukkiriza Yesu Kristo.”—Bag. 2:16.
Pawulo agamba nti Kristo ‘yanunula abafugibwa amateeka’ n’abafuula ab’eddembe. Akuutira Abaggalatiya nti: “Munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.”—Bag. 4:4, 5; 5:1.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
3:16-18, 28, 29—Endagaano ya Ibulayimu ekyakola? Yee, ekyakola. Endagaano y’Amateeka yayongerezebwa ku eyo Katonda gye yakola ne Ibulayimu so teyadda mu kifo kyayo. N’olwekyo, Amateeka bwe ‘gaggibwawo,’ endagaano ya Ibulayimu yasigala ekyakola. (Bef. 2:15) Ebisuubizo ebyagirimu bituukirizibwa ku ‘zzadde’ lya Ibulayimu ettuufu—Kristo Yesu, ezzadde ekkulu, n’abo “aba Kristo.”
6:2—“Etteeka lya Kristo” kye ki? Etteeka lino lizingiramu ebyo byonna Yesu bye yayigiriza ne bye yalagira. Naddala lizingiramu etteeka ‘ly’okwagalana.’—Yok. 13:34.
6:8—Mu ngeri ki gye ‘tusigira omwoyo’? Tukikola nga tweyisa mu ngeri esobozesa omwoyo gwa Katonda okukolera mu ffe. Kizingiramu n’okunyiikirira okukola ebintu ebitusobozesa okufuna omwoyo gwa Katonda mu bujjuvu.
Bye Tuyigamu:
1:6-9. Abakadde mu kibiina balina okwanguwa okukola ku bizibu ebigwawo mu kibiina. Nga balambika bulungi ensonga era nga bakozesa Ebyawandiikibwa, basobola okutereeza endowooza enkyamu mu bwangu ddala.
2:20. Ekinunulo kirabo okuva eri Katonda ekiganyula buli omu ku ffe. Tulina okuyiga okukitunuulira mu ngeri eyo.—Yok. 3:16.
5:7-9. Emikwano emibi giyinza ‘okutuziyiza okugondera amazima.’ Kiba kya magezi okujeewala.
6:1, 2, 5 (NW). Abo “abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo” bayinza okutuyamba nga tufunye ebizibu ebiyinza okuva ku nsobi ze tukola mu butali bugenderevu. Kyokka bwe kituuka ku buvunaanyizibwa bwaffe obw’eby’omwoyo, ffe ffenyini ffe tulina okubwetikka.
“OKUGATTIRA AWAMU BYONNA MU KRISTO”
Ng’alaga mu bbaluwa ye eri Abaefeso nti kikulu nnyo Abakristaayo okuba obumu, Pawulo ayogera ku ‘buwanika obw’omu biro ebituukirivu, okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.’ Kristo yawa ‘ebirabo mu bantu’ okuyamba bonna ‘okutuuka ku bumu mu kukkiriza.’—Bef. 1:10; 4:8, 13.
Okusobola okuwa Katonda ekitiibwa n’okuleetawo obumu, Abakristaayo basaanidde “okwambala omuntu omuggya” ‘n’okuwuliragananga mu kutya Kristo.’ Era beetaaga okwambala eby’okulwanyisa byonna eby’omwoyo ‘balyoke bayinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.’—Bef. 4:24; 5:21; 6:11.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:4-7—Mu ngeri ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye baayawulibwa oba gye baalondebwa nga tebannazaalibwa? Baalondebwa ng’ekibiina so si nga bantu kinnoomu. Kino kyaliwo nga bazadde baffe abaasooka bamaze okwonoona naye nga tebannazaala. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15, obwaweebwa nga tewannabaawo muntu yenna azaalibwa, butwaliramu ekigendererwa kya Katonda eky’okulonda abamu ku bagoberezi ba Kristo okufuga naye mu ggulu.—Bag. 3:16, 29.
2:2 (NW)—Mu ngeri ki omwoyo gw’ensi gye gulinga empewo, era gulina gutya obuyinza ku nsi? ‘Omwoyo gw’ensi,’ nga guno gwe mwoyo ogwa kyetwala era ogw’obujeemu, guli buli wamu ng’empewo gye tussa. (1 Kol. 2:12) Gulina obuyinza, oba amaanyi olw’engeri gye gutwalirizaamu ennyo abantu.
2:6—Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayinza batya okuba “mu bifo eby’omu ggulu” nga bakyali ku nsi? “Ebifo eby’omu ggulu” ebyogerwako wano si bwe busika bwabwe obw’omu ggulu obwabasuubizibwa, wabula ye nnyimirira ey’enjawulo gye balina mu maaso ga Katonda ‘olw’okuteekebwako akabonero n’omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa.’—Bef. 1:13, 14.
Bye Tuyigamu:
4:8, 11-15. Yesu Kristo ‘yanyaga’ abantu, mu ngeri nti, yaggya abantu mu buyinza bwa Setaani n’abakozesa ng’ebirabo okuzimba ekibiina Ekikristaayo. Tusobola ‘okukula okutuuka mu Kristo mu byonna’ bwe tuba abawulize eri abo abatwala obukulembeze mu kibiina era ne tugondera enteekateeka z’ekibiina.—Beb. 13:7, 17.
5:22-24, 33. Omukazi asaanidde okuba omuwulize eri bba n’okumuwa ekitiibwa. Kino akikola ng’ayoleka ‘omwoyo omuwombeefu era omuteefu’ eri bba, ng’amwogerako bulungi era ng’akolera ku by’asalawo.—1 Peet. 3:3, 4; Tito 2:3-5.
5:25, 28, 29. Ng’omusajja bw’afaayo ‘okweriisa,’ bw’atyo bw’alina okufaayo ku byetaago bya mukazi we eby’omubiri n’eby’omwoyo. Era asaanidde okulaga nti mukazi we wa muwendo ng’awaayo obudde okubaako naye, ng’amukwata n’ekisa era ng’ayogera naye bulungi.
6:10-13. Okusobola okuziyiza dayimooni, tulina okwambala ebyokulwanyisa byonna eby’omwoyo ebiva eri Katonda.
“TWEYONGERE OKUTAMBULA OBULUNGI”
Mu bbaluwa ye eri Abafiripi, Pawulo assa nnyo essira ku kwagala. Agamba nti: “Kino kye nsaba [nti] okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera n’okwawula kwonna.” Ng’abakuutira obuteekakasa kisukkiridde, abagamba: “Mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n’okutya n’okukankana.”—Baf. 1:9; 2:12.
Pawulo akubiriza abo abakuze bafube “okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu, Katonda gy’agaba.” Agamba nti: “Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu nkola y’emu.”—Baf. 3:14-16, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:23, NW—‘Ebintu ebibiri’ ebyaleetera Pawulo okusoberwa bye biruwa, era “kusumululwa” kwa ngeri ki kwe yali ayagala? Olw’embeera gye yeesangamu, Pawulo yali asobeddwa nga tamanyi kya kulondako ku bino: obulamu oba okufa. (Baf. 1:21) Wadde nga teyalaga kiki ku byo kye yandironzeeko, yayogera kye yali ayagala—‘okusumululwa abeere ne Kristo.’ (Baf. 3:20, 21; 1 Bas. 4:16) ‘Okusumululwa’ kuno mu kiseera ky’okubeerawo kwa Kristo kwandituusizza Pawulo ku mpeera Yakuwa gye yali amutegekedde.—Mat. 24:3.
2:12, 13—Katonda atuleetera atya “okwagala n’okukola”? Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okukolera mu mitima gyaffe ne gutuyamba okumuweereza n’amaanyi gaffe gonna. N’olwekyo, tufuna obuyambi bwe twetaaga ‘okutuukiriza obulokozi bwaffe.’
Bye Tuyigamu:
1:3-5. Wadde nga baali baavu, Abafiripi baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kugaba.—2 Kol. 8:1-6.
2:5-11. Ng’ekyokulabirako kya Yesu bwe kiraga, okuba omwetoowaze tebuba bunafu. Ate era, Yakuwa agulumiza abeetoowaze.—Nge. 22:4
3:13. Ebintu bye twaleka “ennyuma” biyinza okutwaliramu ebintu ng’omulimu omulungi, amaka amagagga mwe twava, oba ebibi eby’amaanyi bye twenenya era bye ‘twanaazibwako.’ (1 Kol. 6:11) Tusaanidde okwerabira ebintu bino, oba okulekera awo okubirowoozaako, ‘tukunukkirize ebyo ebiri mu maaso.’
‘OKUNYWEZEBWA MU KUKKIRIZA’
Mu bbaluwa ye eri Abakkolosaayi, Pawulo ayanika endowooza enkyamu ez’abayigiriza ab’obulimba. Alaga nti obulokozi businziira ku ‘kubeera mu kukkiriza,’ so si ku Mateeka. Pawulo akubiriza Abakkolosaayi okweyongera ‘okutambulira mu Kristo, nga balina emmizi, bazimbibwa mu ye, era nga banyweza okukkiriza kwabwe.’ Okunywezebwa mu ngeri eyo kwandibayambye kutya?—Bak. 1:23; 2:6, 7.
Pawulo agamba nti ng’oggyeko “ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira. Era emirembe gya [Kristo] giramulenga mu mitima gyammwe.” Omutume oyo era abakubiriza nti: “Buli kye munaakolanga mukolenga n’omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu.” Ku bali ebweru w’ekibiina, agamba nti: “Mutambulirenga mu magezi eri” abo.—Bak. 3:14, 15, 23; 4:5.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:8—“Eby’olubereberye eby’ensi” Pawulo by’alabulako bye biruwa? Bino bye bintu ebiri mu nsi ya Setaani—emitindo n’emisingi kw’etambulira. (1 Yok. 2:16) Mu bino mwe muli obufirosoofo, okwagala ebintu, n’amadiini g’ensi eno ag’obulimba.
4:16—Lwaki ebbaluwa eyawandiikirwa Abalawodikiya teyateekebwa mu Baibuli? Kyandiba nti ebbaluwa eyo teyaliimu bubaka butuganyula leero. Oba kiyinza okuba nti ebyali mu bbaluwa eyo byali ne mu ndala eziri mu Baibuli.
Bye Tuyigamu:
1:2, 20. Olw’ekisa kye ekingi, Katonda yatuwa ekinunulo kitusobozese okuba n’omuntu ow’omunda omulungi era kituwe emirembe mu mitima.
2:18, 23. Omuntu bw’alaga ‘obuwombeefu’ obw’obulimba nga yeerumya oba ng’agezaako okulaga abalala nti tayagala bintu, aba ‘yeegulumiriza bwereere olw’endowooza ye ey’omubiri.’