EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49
Yakuwa Anaddamu Okusaba Kwange?
“Mujja kunkoowoola era mujja kujja munsabe, nange nja kubawuliriza.”—YER. 29:12.
OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange
OMULAMWAa
1-2. Lwaki oluusi tuyinza okuwulira nti Yakuwa taddamu ssaala zaffe?
“YAKUWA abeerenga ensibuko y’essanyu lyo, era ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala.” (Zab. 37:4) Ekisuubizo ekyo nga kirungi nnyo! Naye bwe tubaako kye tusaba Yakuwa, tumusuubira okuddamu mangu ago ekyo kye tuba tumusabye? Lwaki tuyinza okwebuuza ekibuuzo ekyo? Lowooza ku mbeera zino: Mwannyinaffe ali obwannamunigina asaba Yakuwa amuyambe okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Kyokka wayitawo emyaka naye nga tayitibwa. Ow’oluganda omuvubuka asaba Yakuwa amuyambe okuwona obulwadde obuviirako omubiri gwe okunafuwa asobole okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’ekibiina. Kyokka tawona bulwadde obwo. Abazadde basaba Yakuwa ayambe omwana waabwe anywerere mu mazima. Naye omwana oyo asalawo okulekera awo okuweereza Yakuwa.
2 Oboolyawo naawe olina ekintu kye wasaba Yakuwa naye nga tokifunanga. Ekyo kiyinza okuba nga kyakuleetera okulowooza nti Yakuwa addamu essaala z’abalala naye ezizo taziddamu. Oba oyinza okuba nga walowooza nti olina ekintu ekibi kye wakola. Mwannyinaffe ayitibwa Janiceb bw’atyo bwe yawulira. Ye n’omwami we baasaba Yakuwa abayambe bayitibwe okuweereza ku Beseri. Agamba nti: “Nnali mukakafu nti mu kiseera ekitali kya wala twali tugenda kuyitibwa ku Beseri.” Naye wadde nga waayitawo emyaka, tebaayitibwa kuweereza ku Beseri. Janice agamba nti: “Nnawulira ennaku era nnawulira nga nsobeddwa. Nneebuuza kye nnali nkoze ekyaleetera Yakuwa okunnyiigira. Nnamusaba emirundi mingi tuyitibwe ku Beseri. Lwaki teyaddamu ssaala zange?”
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Oluusi tuyinza okwebuuza obanga ddala Yakuwa awuliriza essaala zaffe. N’abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda beebuuzaako bwe batyo. (Yob. 30:20; Zab. 22:2; Kaab. 1:2) Kiki ekiyinza okukuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa awulira essaala zo? (Zab. 65:2) Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tugenda kwekenneenya ebibuuzo bino bisatu: (1) Kiki kye tusaanidde okusuubira Yakuwa okukola? (2) Kiki Yakuwa ky’atusuubira okukola? (3) Lwali kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu bimu ku ebyo bye tusaba?
KIKI KYE TUSAANIDDE OKUSUUBIRA YAKUWA OKUKOLA?
4. Okusinziira ku Yeremiya 29:12, kiki Yakuwa ky’asuubiza okukola?
4 Yakuwa atusuubiza okuwulira essaala zaffe. (Soma Yeremiya 29:12.) Katonda waffe ayagala nnyo abaweereza be abamuweereza n’obwesigwa, n’olwekyo tayinza kulema kuwuliriza ssaala zaabwe. (Zab. 10:17; 37:28) Naye ekyo tekitegeeza nti ajja kutuwa buli kimu kye tumusaba. Kiyinza okutwetaagisa okulindako okutuusa mu nsi empya ne tulyoka tufuna ebintu ebimu bye tusaba.
5. Kiki Yakuwa ky’alowoozaako ng’awuliriza essaala zaffe? Nnyonnyola.
5 Yakuwa alowooza ku ngeri ebyo bye tumusaba gye bikwatagana n’ekigendererwa kye. (Is. 55:8, 9) Ekimu ku ebyo ebizingirwa mu kigendererwa kye, ye nsi okujjula abantu abasanyufu era abamugondera ng’Omufuzi waabwe. Naye Sitaani agamba nti abantu basobola okuba obulungi nga beefuga bokka. (Lub. 3:1-5) Okusobola okulaga nti Sitaani mulimba, Yakuwa alese abantu okwefuga bokka. Kyokka bingi ku bizibu bye twolekagana nabyo leero bireeteddwa bufuzi bwa bantu. (Mub. 8:9) Tukimanyi nti ebizibu ebyo byonna Yakuwa tagenda ku biggyawo mu kiseera kino. Singa yali wa kubiggyawo, abamu bandigambye nti abantu basobola okwefuga bokka, era nti basobola okugonjoola ebizibu bye twolekagana nabyo.
6. Lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa by’akola biba bya kwagala era bya bwenkanya?
6 Yakuwa ayinza okuddamu essaala ze zimu mu ngeri za njawulo. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Keezeekiya bwe yali omulwadde ennyo yasaba Yakuwa amuyambe awone, era yamuyamba n’awona. (2 Bassek. 20:1-6) Kyokka omutume Pawulo bwe yeegayirira Yakuwa amuyambe amuggyemu ‘eriggwa lye yalina mu mubiri,’ era nga kirabika eriggwa eryo bwali bulwadde, Yakuwa teyaggyawo kizibu ekyo. (2 Kol. 12:7-9) Ate era lowooza ku mutume Yakobo n’omutume Peetero. Bombi Kabaka Kerode yali ayagala okubatta. Ekibiina kyasabira Peetero, era kirabika kyasabira ne Yakobo. Kyokka Yakobo yattibwa naye Peetero n’anunulwa mu ngeri ey’ekyamagero. (Bik. 12:1-11) Tuyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa yawonya Peetero okuttibwa naye n’atawonya Yakobo?’ Bayibuli tetubuulira.c Kyokka tuli bakakafu nti amakubo ga Yakuwa ‘tegaliimu butali bwenkanya.’ (Ma. 32:4) Era tukimanyi nti Peetero ne Yakobo bombi baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Kub. 21:14) Oluusi Yakuwa ayinza obutaddamu ssaala zaffe nga bwe twandisuubidde. Naye olw’okuba tumwesiga nti bulijjo addamu essaala zaffe mu ngeri ey’okwagala era ey’obwenkanya, tetubuusabuusa ngeri yonna gy’aba asazeewo kuziddamu.—Yob. 33:13.
7. Kiki kye tusaanidde okwewala era lwaki?
7 Tulina okwewala okwegeraageranya n’abalala. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okusaba Yakuwa atuyambe okuvvuunuka ekizibu ekimu, naye ekizibu ekyo ne kitavaawo. Oluvannyuma tuyinza okukitegeerako nti omuntu omulala yasaba ekintu kye kimu, era nti kirabika Yakuwa yamuyamba n’avvuunuka ekizibu ekyo. Mwannyinaffe ayitibwa Anna yayolekagana n’embeera efaananako bw’etyo. Yasaba Yakuwa ayambe omwami we, Matthew, okuwona obulwadde bwa kookolo. Mu kiseera ekyo kye kimu, waaliwo bannyinaffe abakaddiye babiri abaalina obulwadde bwa kookolo. Anna yasaba nnyo Yakuwa ayambe omwami we ne bannyinnaffe abo okuwona obulwadde. Bannyinaffe baawona, naye Matthew yafa. Mu kusooka Anna yeebuuza obanga Yakuwa ye yayamba bannyinaffe abo okuwona. Era bwe kiba kityo, lwaki teyayamba omwami we naye n’awona? Kya lwatu nti tetumanyi ngeri bannyinaffe abo gye baawonamu. Kye tumanyi kiri nti, Yakuwa agenda kuggirawo ddala ebintu byonna ebituleetera okubonaabona, era yeesunga n’okuzuukiza mikwano gye abaafa.—Yob. 14:15.
8. (a) Okusinziira ku Isaaya 43:2, Yakuwa atuyamba atya? (b) Okusaba kutuyamba kutya nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi? (Laba vidiyo Okusaba Kutuyamba Okuguma.)
8 Bulijjo Yakuwa ajja kutuyambanga. Olw’okuba Yakuwa ye Kitaffe atwagala, tayagala kulaba nga tubonaabona. (Is. 63:9) Wadde kiri kityo, taziyiza bizibu byonna kututuukako, ebiyinza okugeraageranyizibwa ku migga oba ku muliro. (Soma Isaaya 43:2.) Naye atusuubiza okutuyamba nga ‘tubiyitamu.’ Era ka kibe kizibu ki kye twolekagana nakyo, ajja kukakasa nti tusigala nga tulina enkolagana ennungi naye. Yakuwa era atuwa omwoyo gwe omutukuvu ogw’amaanyi okutuyamba okuguma. (Luk. 11:13; Baf. 4:13) N’olw’ensonga eyo, tusobola okuba abakakafu nti bulijjo tujja kubanga ne bye twetaaga okusobola okugumira ebizibu n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali.d
KIKI YAKUWA KY’ATUSUUBIRAMU?
9. Nga bwe kiragibwa mu Yakobo 1:6, 7, lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba?
9 Yakuwa atusuubira okumwesiga. (Beb. 11:6) Oluusi ebizibu bye twolekagana nabyo biyinza okulabika ng’eby’amaanyi ennyo. Tuyinza n’okutandika okubuusabuusa obanga Yakuwa asobola okutuyamba. Naye Bayibuli etukakasa nti Katonda asobola okutuwa amaanyi ne tusobola “okulinnya bbugwe.” (Zab. 18:29) N’olwekyo mu kifo ky’okubuusabuusa, tusaanidde okusaba Yakuwa nga tumwesigira ddala nti ajja kuddamu essaala zaffe.—Soma Yakobo 1:6, 7.
10. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gye tuyinza okukolera ku ssaala zaffe.
10 Yakuwa atusuubira okukolera ku ebyo bye tusaba. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okusaba Yakuwa amuyambe mukama we ku mulimu amukkirize okubaawo ku lukuŋŋaana olunene. Yakuwa ayinza kuddamu atya essaala eyo? Ayinza okuwa ow’oluganda oyo obuvumu bwe yeetaaga okusobola okutuukirira mukama we. Naye ow’oluganda oyo era alina okukolera ku ssaala eyo n’agenda eri mukama we n’amusaba amukkirize. Kiyinza okumwetaagisa okutuukirira mukama we enfunda eziwerako okumusaba okumukkiriza. Ayinza n’okusaba mukozi munne amukolere mu nnaku z’ataabeewo, oluvannyuma bw’anadda naye amukolere mu biseera ebirala. Ayinza n’okugamba mukama we nti ennaku z’ataabeewo tasasulwa.
11. Lwaki tusaanidde okusaba enfunda n’enfunda nga tulina ebitweraliikiriza?
11 Yakuwa atusuubira okumusaba emirundi egiwerako ku bintu bye tutwala nti bikulu. (1 Bas. 5:17) Yesu yalaga nti ebimu ku ebyo bye tusaba biyinza obutatuweerwawo mangu ago. (Luk. 11:9) N’olwekyo tosaanidde kuggwamu maanyi! Saba enfunda n’enfunda. (Luk. 18:1-7) Bwe tusaba Yakuwa enfunda n’enfunda ku kintu ekimu, tuba tulaga nti ekyo kye tumusaba tukitwala nti kikulu nnyo. Ate era tuba tukyoleka nti tulina okukkiriza nti ajja kutuyamba.
LWAKI KIYINZA OKUTWETAAGISA OKUKYUSA MU BIMU KU EBYO BYE TUSABA
12. (a) Ekimu ku bibuuzo bye tusaanidde okwebuuza ku bikwata ku ssaala zaffe kye kiruwa, era lwaki tusaanidde okukyebuuza? (b) Tuyinza tutya okulaga nti bwe tuba tusaba tussa mu Yakuwa ekitiibwa? (Laba akasanduuko “Okusaba Kwange Kulaga nti Mpa Yakuwa Ekitiibwa?”)
12 Bwe tutafuna ekyo kye tuba tusabye, tuyinza okwebuuza ebibuuzo bino bisatu. Ekisooka, ‘Ekintu kye nsaba ddala nsaanidde okukisaba?’ Emirundi mingi tuba tulowooza nti tumanyi kye tusinga okwetaaga. Naye oluusi ebintu bye tusaba biba tebijja kutuganyula. Bwe tuba nga tulina ekizibu kye tusaba Yakuwa atuyambe okuvvuunuka, wayinza okuba nga waliwo engeri endala ennungi gye tuyinza okukivvuunukamu okusinga eyo gye tuba tusaba. Ate ebintu ebimu bye tusaba biyinza okuba nga tebikwatagana n’ekyo Yakuwa ky’ayagala. (1 Yok. 5:14) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bazadde aboogeddwako waggulu. Baasaba Yakuwa ayambe omwana waabwe okunywerera mu mazima. Ekyo kye baasaba kiyinza okulabika ng’ekisaanidde. Naye Yakuwa takaka muntu yenna kumuweereza. Ayagala abantu bonna nga mw’otwalidde n’abaana baffe okwesalirawo okumuweereza. (Ma. 10:12, 13; 30:19, 20) N’olwekyo abazadde kye bandibadde basaba Yakuwa kwe kubayamba batuuke omwana waabwe ku mutima nga bamuyigiriza, asobole okwagala Yakuwa n’okwagala okuba mukwano gwe.—Nge. 22:6; Bef. 6:4.
13. Okusinziira ku Abebbulaniya 4:16, ddi Yakuwa lw’ajja okutuyamba? Nnyonnyola.
13 Ekibuuzo eky’okubiri kye kino, ‘Kino kye kiseera ekituufu Yakuwa okuddamu okusaba kwange?’ Oluusi tuyinza okuwulira nga twagala Yakuwa okuddamu essaala zaffe amangu ddala. Naye ekituufu kiri nti, Yakuwa y’amanyi ekiseera ekisingayo obulungi eky’okutuyambiramu. (Soma Abebbulaniya 4:16.) Bwe tutafunirawo ekyo kye tuba tusabye, tuyinza okulowooza nti Yakuwa tazzeemu ssaala zaffe. Naye ayinza okuba ng’azizzeemu mu ngeri nti ekyo kye tusabye ajja kukituwa mu biseera bya mu maaso. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda ayogeddwako waggulu eyasaba Yakuwa amuyambe okuwona obulwadde. Singa Yakuwa yawonya ow’oluganda oyo mu ngeri ey’ekyamagero, Sitaani yandibadde agamba nti ow’oluganda oyo aweereza Yakuwa olw’okuba yamuwonya obulwadde. (Yob. 1:9-11; 2:4) Ate era, Yakuwa yassaawo dda ekiseera lw’ajja okuggyawo endwadde zonna. (Is. 33:24; Kub. 21:3, 4) Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tetusuubira kuwonyezebwa mu ngeri ya kyamagero. N’olwekyo, ow’oluganda oyo yandibadde asaba Yakuwa okumuwa amaanyi n’emirembe ku mutima asobole okugumira obulwadde bwe n’okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.—Zab. 29:11.
14. Kiki ky’oyigidde ku Janice?
14 Kati ate lowooza ku mwannyinaffe Janice eyasaba Yakuwa amuyambe ayitibwe okuweereza ku Beseri. Oluvannyuma lw’emyaka etaano, Janice yakitegeera nti Yakuwa yali yaddamu okusaba kwe, naye si mu ngeri gye yali asuubira. Agamba nti: “Yakuwa yakozesa ekiseera ekyo okunjigiriza n’okunnyamba okulongoosa mu bintu ebitali bimu. Nnali nneetaaga okweyongera okumwesiga. Nnalina okulongoosa mu ngeri gye nnali nneesomesaamu. Ate era nnali nneetaaga okufuna essanyu ku mutima eritasinziira ku mbeera gye mba mpeererezaamu.” Oluvannyuma Janice n’omwami we baayitibwa okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Janice agamba nti: “Yakuwa yaddamu essaala zange, naye si mu ngeri gye nnali nsuubira. Kyantwalira ekiseera okukiraba nti essaala zange yali aziddamu, era nsiima nnyo okuba nti andaze okwagala n’ekisa.”
Bw’oba owulira nti Yakuwa tazzeemu ssaala zo, oyinza okusaba ku bintu ebirala (Laba akatundu 15)f
15. Lwaki bwe tuba tusaba kiyinza okutwetaagisa obuteesiba ku kintu kimu? (Laba n’ebifaananyi.)
15 Ekibuuzo eky’okusatu kiri nti, ‘Nkyuse mu ekyo kye nsaba?’ Wadde nga kirungi okutegeeza Yakuwa ekyo kyennyini kye tuba twagala, oluusi kiyinza okutwetaagisa obuteesiba ku kintu kimu. Ng’ekyokulabirako, lowooza mu mwannyinaffe asaba okuyitibwa mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Ayagala okugenda mu ssomero eryo asobole okuweereza awali obwetaavu obusingawo. N’olwekyo nga bw’asaba okuyitibwa mu ssomero eryo, era asaanidde okusaba Yakuwa amuyambe okulaba engeri endala gy’ayinza okugaziyaamu obuweereza bwe. (Bik. 16:9, 10) Asaanidde okukolera ku ssaala eyo nga yeebuuza ku mulabirizi akyalira ebibiina obanga waliwo ekibiina mu kitundu kyabwe omuli obwetaavu bwa bapayoniya. Oba ayinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi n’asaba okutegeezebwa awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.e
16. Tuli bakakafu ku ki?
16 Nga bwe tulabye, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa addamu essaala zaffe mu ngeri ey’okwagala era ey’obwenkanya. (Zab. 4:3; Is. 30:18) Oluusi essaala zaffe ziyinza obutaddibwamu mu ngeri gye tuba tusuubira. Naye Yakuwa tuyinza kugaana kuwulira ssaala zaffe. Atwagala nnyo era tasobola kutwabulira. (Zab. 9:10) N’olwekyo, weeyongere ‘okumwesiganga bulijjo,’ ng’omubuulira ebikuli ku mutima.—Zab. 62:8.
OLUYIMBA 43 Essaala ey’Okwebaza
a Ekitundu kino kigenda kulaga ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa addamu essaala zaffe mu ngeri ey’okwagala era ey’obwenkanya.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
c Laba ekitundu “Weesiga Yakuwa nti Bulijjo by’Akola Biba Bituufu?,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2022, kat. 3-6.
d Okumanya ebisingawo ku ngeri Yakuwa gy’atuyambamu okugumira ebizibu, laba vidiyo, Okusaba Kutuyamba Okuguma, ku jw.org/lg.
e Bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku ngeri gy’oyinza okugenda okuweereza mu nsi endala, laba akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, sul. 10, kat. 6-9.
f EKIFAANANYI: Bannyinaffe babiri basaba nga tebannajjuzaamu foomu kwe basabira okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Oluvannyuma omu ayitibwa ate omulala tayitibwa. Oyo atayitiddwa mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, asaba Yakuwa amuyambe okumanya engeri endala gy’ayinza okugaziyaamu obuweereza bwe. Oluvannyuma awandiikira ofiisi y’ettabi ng’ayagala okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako.