Nekkemiya
1 Ebigambo bya Nekkemiya*+ mutabani wa Kakaliya: Mu mwezi gwa Kisulevu* mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa kabaka,* nnali mu lubiri lw’e Susani.*+ 2 Awo Kanani+ omu ku baganda bange n’ajja ng’ali wamu n’abasajja abalala okuva mu Yuda, ne mbabuuza ebifa ku Bayudaaya abaali basigaddewo abaava mu buwambe,+ n’ebifa ku Yerusaalemi. 3 Ne banziramu nti: “Abo abaasigalawo abaava mu buwambe, abali mu ssaza lya Yuda, bali mu mbeera mbi nnyo era bawulira obuswavu;+ bbugwe wa Yerusaalemi yamenyekamenyeka+ era n’emiryango gyakyo gyayokebwa omuliro.”+
4 Olwawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, era ne mmala ennaku eziwerako nga ndi munakuwavu, nga nsiiba,+ era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu. 5 Nnagamba nti: “Ai Yakuwa Katonda w’eggulu, Katonda omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano era alaga okwagala okutajjulukuka eri abo abakwagala era abakwata ebiragiro byo,+ 6 nkwegayiridde, amatu go ka gawulire n’amaaso go ka gatunule, owulire essaala omuweereza wo gy’asaba leero. Emisana n’ekiro+ nsaba ku lw’abaweereza bo Abayisirayiri, nga njatula ebibi abantu ba Isirayiri bye bakoze mu maaso go. Nze n’ab’ennyumba ya kitange twonoonye.+ 7 Tweyisizza bubi nnyo mu maaso go+ ne tutakwata biragiro byo n’amateeka go bye wawa omuweereza wo Musa.+
8 “Jjukira kye wagamba* Musa omuweereza wo nti, ‘Bwe mulikola ebitali bya bwesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga.+ 9 Naye bwe mulidda gye ndi ne mukwata ebiragiro byange ne mubikolerako, wadde nga muliba musaasaanye okutuuka ensi gy’ekoma, ndibakuŋŋaanya+ ne mbaleeta mu kifo kye nnonze erinnya lyange libeeremu.’+ 10 Bano baweereza bo era bantu bo be wanunula ng’okozesa obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogw’amaanyi.+ 11 Ai Yakuwa, nkwegayiridde wulira okusaba kw’omuweereza wo era n’okw’abaweereza bo abasanyukira okutya erinnya lyo, era nkwegayiridde wa omuweereza wo omukisa leero, omusajja ono ankwatirwe ekisa.”+
Mu biseera ebyo nnali musenero wa kabaka.+