LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 3/15 lup. 25-29
  • Totunuulira Bintu Bye Waleka Emabega

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Totunuulira Bintu Bye Waleka Emabega
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EMBEERA GYE TWALIMU MU BISEERA EBY’EMABEGA
  • EBINTU BYE TWEFIIRIZA
  • EBINTU EBIBI EBYALIWO MU BISEERA EBYAYITA
  • ‘Tunula Butereevu mu Maaso’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okuba Omugoberezi wa Yesu Kyetaagisa Ki?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 3/15 lup. 25-29

Totunuulira Bintu Bye Waleka Emabega

“Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n’atunula emabega, asaanira obwakabaka bwa Katonda.”​—LUK. 9:62.

WANDIZZEEMU OTYA?

Lwaki tusaanidde ‘okujjukira mukazi wa Lutti’?

Bintu ki ebisatu bye tusaanidde okwewala okumalirako ebirowoozo byaffe?

Tuyinza tutya okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa?

1. Kulabula ki Yesu kwe yawa, era ekyo kireetawo kibuuzo ki?

“MUJJUKIRE mukazi wa Lutti.” (Luk. 17:32) Okulabula okwo Yesu kwe yawa emyaka nga 2,000 emabega, kwa makulu nnyo gye tuli leero. Kiki Yesu kye yali ategeeza? Abayudaaya be yali ayogera nabo baali bamanyi bulungi ekyo ekyatuuka ku mukazi wa Lutti. Lutti n’ab’omu maka ge bwe baali badduka okuva mu Sodomu, mukazi we yajeemera Yakuwa n’akyuka n’atunula emabega. N’ekyavaamu, yafuuka empagi y’omunnyo.​—Soma Olubereberye 19:17, 26.

2. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera mukazi wa Lutti okutunula emabega, era kiki ekyamutuukako olw’obujeemu bwe?

2 Lwaki mukazi wa Lutti yatunula emabega? Ayinza okuba nga yali ayagala kulaba ebyo ebyali bigenda mu maaso, oba kiyinzika okuba nti okukkiriza kwe kwali kutono, era nga yali takkiriza nti ekibuga kyali kizikirizibwa. Ayinza n’okuba nga yali ayagala kuddayo akime ebintu bye yali alese mu Sodomu. (Luk. 17:31) K’ebe nsonga ki eyamuleetera okutunula emabega, omukazi oyo yafa olw’okujeemera Yakuwa. Kirowoozeeko! Olunaku abantu ababi abaali mu Sodomu ne Ggomola kwe baafiira, ne mukazi wa Lutti kwe yafiira. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Mujjukire mukazi wa Lutti”!

3. Yesu yalaga atya nti kikulu okwewala okutunuulira ebintu bye twaleka emabega?

3 Tusaanidde okwewala okutunuulira ebintu bye twaleka emabega. Yesu yalaga obukulu bw’ensonga eyo bwe yali ayanukula omusajja eyamusaba asooke addeyo asiibule ab’ewaabwe oluvannyuma afuuke omuyigirizwa we. Yesu yamugamba nti: “Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n’atunula emabega, asaanira obwakabaka bwa Katonda.” (Luk. 9:62) Kyandiba nti engeri Yesu gye yayanukulamu omusajja oyo yali ya bukambwe era ng’eraga nti tafaayo ku balala? Nedda. Yesu okumugamba ebigambo ebyo yali akirabye nti omusajja oyo yali tayagala bwagazi kufuuka muyigirizwa we. Yesu yalaga nti omuntu atatuukiriza buvunaanyizibwa bwe eri Katonda aba ng’omuntu atunuulira ebintu eby’emabega. Omuntu aba alima asobola okutunulako emabega ng’eno bw’alima oba asobola okusalawo okuteeka wansi enkumbi n’akyuka n’atunuulira ddala emabega. Ka kibe nti atunuddeyo katono oba ng’atunuuliddeyo ddala, aba awuguliddwa okuva ku mulimu gwe, era ekyo kiyinza okumulemesa okugukola obulungi.

4. Ebirowoozo byaffe tusaanidde kubiteeka ku ki?

4 Mu kifo ky’okuteeka ebirowoozo byaffe ku bintu bye twaleka emabega, tusaanidde okubiteeka ku bintu eby’omu maaso. Bayibuli egamba nti: “Tunulanga n’obwesige mu maaso gy’olaga, tomagamaganga.”​—Nge. 4:25, Bayibuli ey’Oluganda eya 2003.

5. Lwaki tulina okwewala okutunuulira ebintu eby’emabega?

5 Ensonga emu lwaki tulina okwewala okutunuulira ebintu bye twaleka emabega eri nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Tim. 3:1) Enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okutuuka. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okuba nga mukazi wa Lutti? Okusookera ddala, tusaanidde okumanya ebintu bye tulina okwewala okutunuulira. (2 Kol. 2:11) Kati ka tulabe ebintu ebyo, era n’engeri gye tuyinza okwewala okubimalirako ebirowoozo byaffe.

EMBEERA GYE TWALIMU MU BISEERA EBY’EMABEGA

6. Lwaki ebyo bye tulowooza ku biseera eby’emabega biyinza obutaba bituufu?

6 Ebiseera ebimu tuyinza okutandika okulowooza nti embeera gye twalimu mu biseera eby’emabega yali nnungi okusinga eyo gye tulimu kati. Naye emirundi mingi ekyo tekiba kituufu. Tuyinza n’okutandika okulowooza nti ebizibu bye twalina mu biseera ebyayita tebyali bya maanyi era nti twali basanyufu okusinga bwe tuli kati. Ekyo kiyinza okutuleetera okutandika okwegomba obulamu bwe twalimu mu biseera ebyayita. Naye Bayibuli egamba nti: “Tobuuzanga nti, ‘Lwaki ebiseera ebyayita byali birungi okusinga bino ebiriwo kati?’ Ekyo si kibuuzo kya magezi.” (Mub. 7:10, Bayibuli ey’Oluganda eya 2003) Lwaki kya kabi nnyo okuba n’endowooza ng’eyo?

7-9. (a) Kiki ekyatuuka ku Baisiraeri nga bali e Misiri? (b) Bintu ki ebyaleetera Abaisiraeri essanyu? (c) Lwaki Abaisiraeri baatandika okwemulugunya?

7 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Baisiraeri mu kiseera kya Musa. Wadde nga mu kusooka Abaisiraeri baali batwalibwa ng’abagenyi mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma lw’okufa kwa Yusufu, ‘baabateekako abakoza okubabonyaabonya’ nga babakozesa emirimu egy’amaanyi. (Kuv. 1:11) Oluvannyuma lw’ekiseera, Falaawo yalagira abantu be okutta abaana b’Abaisiraeri ab’obulenzi olw’okuba yali tayagala Baisiraeri beeyongere bungi. (Kuv. 1:15, 16, 22) Ekyo kyaleetera Yakuwa okugamba Musa nti: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku [y]aabwe.”​—Kuv. 3:7.

8 Lowooza ku ssanyu Abaisiraeri lye baawulira nga bava mu buddu e Misiri! Baalaba amaanyi ga Yakuwa ag’ekitalo bwe yaleeta Ebibonyoobonyo Ekkumi ku Falaawo n’abantu be. (Soma Okuva 6:1, 6, 7.) N’ekyavaamu, Abamisiri bakkiriza Abaisiraeri okugenda, era baabawa zzaabu ne ffeeza mungi nnyo, ne kiba nti Bayibuli egamba nti abantu ba Katonda ‘baanyaga Abamisiri.’ (Kuv. 12:33-36) Abaisiraeri era baasanyuka nnyo bwe baalaba Falaawo awamu n’eggye lye nga bazikirizibwa mu Nnyanja Emmyufu. (Kuv. 14:30, 31) Ng’ebintu ebyo biteekwa okuba nga byanyweza nnyo okukkiriza kw’Abaisiraeri!

9 Kyokka bwe waali waakayita ekiseera kitono nga Yakuwa amaze okubanunula okuva mu buddu, Abaisiraeri baatandika okwemulugunya. Kiki ekyabaleetera okwemulugunya? Bya kulya! Baalemererwa okusiima ebyo Yakuwa bye yali abawadde era ne bagamba nti: “Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n’ensujju n’enva n’obutungulu n’ebyokuliira: naye kaakano obula[m]u bwaffe bukalidde ddala; tewali kintu n’akatono: tetulina kintu kye tuba twesiga wabula emmaanu eno.” (Kubal. 11:5, 6) Baali beerabiridde ddala ennaku gye baalimu mu biseera eby’emabega ne batuuka n’okwagala okuddayo mu nsi gye baali abaddu! (Kubal. 14:2-4) Abaisiraeri baatunuulira ebintu bye baali balese emabega ne bafiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa.​—Kubal. 11:10.

10. Ebyo bye tusoma ku Baisiraeri bituyigiriza ki?

10 Ekyo kituyigiriza ki? Bwe tufuna ebizibu, tusaanidde okwewala okulowooza nti obulamu bwe twalimu edda, oboolyawo nga tetunnayiga mazima, bwali bulungi okusinga bwe tulimu kati. Wadde nga si kibi kuyigira ku bintu bye twayitamu edda era n’okufumiitiriza ku biseera ebirungi bye twalimu edda, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku biseera ebyo. Singa tetukola tutyo, tuyinza okulekera awo okusiima ebintu ebirungi bye tulina kati ne twagala okuddayo mu bulamu bwe twalimu edda.​—Soma 2 Peetero 2:20-22.

EBINTU BYE TWEFIIRIZA

11. Ab’oluganda abamu bawulira batya bwe balowooza ku bintu bye beerekereza mu biseera eby’emabega?

11 Kya nnaku nti ab’oluganda abamu bwe balowooza ku bintu bye beerekereza mu biseera eby’emabega, batandika okwejjusa. Oboolyawo naawe weerekereza okufuna obuyigirize obwa waggulu, okufuna ettutumu, oba ne ssente. Oyinza n’okuba nga walina omulimu ogusasula obulungi gwe waleka. Kyokka kati ekiseera kiyiseewo naye enkomerero tennatuuka. Ebiseera ebimu otera okulowooza ku bulamu bwe wandibaddemu singa wali teweerekerezza bintu ng’ebyo?

12. Pawulo yatwala atya ebintu bye yali alese emabega?

12 Omutume Pawulo yeefiiriza ebintu bingi okusobola okufuuka omugoberezi wa Kristo. (Baf. 3:4-6) Yatwala atya ebintu bye yaleka emabega? Agamba nti: “Ebintu ebyali amagoba gye ndi nnabyefiiriza olwa Kristo. N’olw’ensonga eyo, ebintu byonna nnabyefiiriza olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo.”a (Baf. 3:7, 8) Omuntu bw’amala okusuulayo ebisasiro oluvannyuma teyejjusa lwaki yabisudde. Mu ngeri y’emu ne Pawulo teyejjusa bintu bye yali alese emabega. Yali takyabirabamu mugaso gwonna.

13, 14. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo?

13 Kiki ekiyinza okutuyamba singa twesanga nga tutandise okwegomba ebintu bye twefiiriza mu biseera eby’emabega? Kiba kirungi okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tulowooza ku bintu eby’omuwendo bye tulina kati. Tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa era Yakuwa atutwala nga mikwano gye. (Beb. 6:10) Waliwo ekintu kyonna ekiri mu nsi kye tuyinza okugeraageranya ku mikisa egy’ekitalo Katonda gy’atuwadde kati n’egyo gy’agenda okutuwa mu biseera eby’omu maaso?​—Soma Makko 10:28-30.

14 Pawulo yayogera ku kintu ekirala ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa. Yagamba nti: “Nneerabira ebintu eby’emabega ne nduubirira eby’omu maaso.” (Baf. 3:13) Weetegereze nti Pawulo yayogera ku bintu bibiri ebikulu. Ekisooka, tulina okwerabira ebintu bye twaleka emabega. Tetulina kumala biseera byaffe nga tubirowoozaako. Eky’okubiri, okufaananako omuddusi anaatera okutuuka ku kaguwa, tulina okuluubirira ebintu eby’omu maaso. Tulina okuteeka ebirowoozo byaffe ku bintu ebyo.

15. Lwaki kirungi okufumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Katonda abeesigwa?

15 Okufumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Katonda abeesigwa, abaaliwo mu biseera by’edda n’ab’omu kiseera kyaffe, kijja kutuyamba okuluubirira ebintu eby’omu maaso mu kifo ky’okutunuulira ebintu eby’emabega. Ng’ekyokulabirako, singa Ibulayimu ne Saala bajjukiranga ensi ya Uli, “bandibadde bafuna akakisa okuddayo.” (Beb. 11:13-15) Naye tebaddayo. Musa bwe yava mu Misiri ku mulundi ogwasooka, yeerekereza ebintu bingi okusinga ebyo Abaisiraeri abalala bye beerekereza nga bava e Misiri. Naye Bayibuli terina wonna w’eragira nti Musa yaddamu okwegomba ebintu ebyo. Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli egamba nti: “Okuvumibwa kwe yayolekagana nakwo ng’oyo Eyafukibwako Amafuta yakutwala ng’eky’obugagga ekisinga obugagga bw’e Misiri; kubanga yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa.”​—Beb. 11:26.

EBINTU EBIBI EBYALIWO MU BISEERA EBYAYITA

16. Ebintu bye twayitamu mu biseera by’emabega biyinza kutuleetera kuwulira tutya?

16 Wayinza okuba nga waliwo ebintu ebitali birungi bye twayitamu mu biseera eby’emabega. Ng’ekyokulabirako, omuntu waffe ow’omunda ayinza okuba ng’atulumiriza olw’ensobi oba olw’ebibi bye twakola emabega. (Zab. 51:3) Tuyinza okuba nga tukyali banyiivu olw’okukangavvulwa okw’amaanyi okwatuweebwa mu biseera ebyayita. (Beb. 12:11) Oboolyawo tuyinza okuba nga tujjukira engeri etali ya bwenkanya gye twayisibwamu oba nga tujjukira ekintu kye baatukola kye tulowooza nti tekyali kya bwenkanya. (Zab. 55:2) Kiki ekiyinza okutuyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bintu ng’ebyo ebyaliwo mu biseera eby’emabega? Ka tulabeyo ebyokulabirako bisatu.

17. (a) Lwaki Pawulo yeeyogerako ng’omuntu “asembayo okuba owa wansi mu batukuvu bonna”? (b) Kiki ekyayamba Pawulo obutaggwamu maanyi olw’ensobi ze yali yakola mu biseera by’emabega?

17 Ensobi ze twakola. Omutume Pawulo yeeyogerako ng’omuntu “asembayo okuba owa wansi mu batukuvu bonna.” (Bef. 3:8) Lwaki yeeyogerako bw’atyo? Kubanga yayigganya nnyo ekibiina kya Katonda. (1 Kol. 15:9) Pawulo ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo bwe yasisinkana ab’oluganda be yali yayigganyaako mu biseera eby’emabega. Naye ekyo teyakikkiriza kumulemesa kweyongera kuweereza Katonda. Mu kifo ky’ekyo, Pawulo yalowooza ku kisa eky’ensusso Katonda kye yali amulaze. (1 Tim. 1:12-16) N’ekyavaamu, yasobola okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. Ebintu Pawulo bye yali amaliridde okwerabira mwe mwali n’ensobi ze yakola biseera by’emabega. Okuva bwe kiri nti tetusobola kukyusa nsobi ze twakola, okudda awo okuzirowoozaako kuba kwonoona biseera byaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okulowooza ku kisa Yakuwa ky’atulaze era ne tukozesa amaanyi gaffe n’ebiseera byaffe okumuweereza.

18. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa tumalira ebirowoozo byaffe ku kukangavvulwa okwatuweebwa mu biseera by’emabega? (b) Tuyinza tutya okukolera ku bigambo bya Sulemaani ebikwata ku kukkiriza okukangavvulwa?

18 Okukangavvulwa okw’amaanyi. Tuyinza okuba ng’oluusi tulowooza ku kukangavvulwa okwatuweebwa mu biseera eby’emabega. Ekyo kiyinza okutuleetera okunakuwala n’okunyiiga, ne kituleetera ‘okuggwamu amaanyi.’ (Beb. 12:5) Ka tube nga tugaanye okukangavvulwa okuba kutuweereddwa oba nga tukukkirizza naye oluvannyuma ne tugaana okukukolerako, tewabaawo njawulo. Lwaki? Kubanga tuba tetuganyuddwa mu kukangavvulwa okwo. N’olwekyo, kikulu nnyo okukolera ku bigambo bya Sulemaani bino: “Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.” (Nge. 4:13) Okufaananako omuvuzi w’emmotoka afaayo okugoberera obupande obuba ku luguudo, naawe kkiriza okukangavvulwa, kukolereko, era weeyongere okuweereza Yakuwa.​—Nge. 4:26, 27; soma Abebbulaniya 12:12, 13.

19. Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza ng’okwo Kaabakuuku ne Yeremiya kwe baayoleka?

19 Obutali bwenkanya. Ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga nnabbi Kaabakuuku, eyakaabirira Yakuwa olw’obutali bwenkanya bwe yali alaba. Yali tamanyi nsonga lwaki Yakuwa yali alese ebintu ebibi okubaawo. (Kaab. 1:2, 3) Tusaanidde okwoleka okukkiriza nga nnabbi Kaabakuuku, eyagamba nti: “Ndisanyukira Mukama, ndijaguliza Katonda ow’obulokozi bwange.” (Kaab. 3:18) Era okufaananako Yeremiya, naffe bwe twoleka okukkiriza ne tulindirira Yakuwa, Katonda ow’obwenkanya, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutereeza ebintu mu kiseera ekituufu.​—Kung. 3:19-24.

20. Tuyinza tutya okulaga nti ‘tujjukira mukazi wa Lutti’?

20 Ekiseera kye tulimu kikulu nnyo. Waliwo ebintu bingi ebiriwo leero era waliwo n’ebirala bingi ebinaatera okubaawo. Ekibiina kya Yakuwa kigenda mu maaso era tusaanidde okufuba okutambulira awamu nakyo. Ka ffenna tufube okutunuulira ebintu ebiri mu maaso twewale okutunuulira ebintu bye twaleka emabega. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kulaga nti ‘tujjukira mukazi wa Lutti’!

[Obugambo obuli wansi]

a Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ebisasiro” era kisobola okutegeeza ebintu “bye basuulira embwa,” “obusa,” oba “empitambi.” Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti Pawulo yakozesa ekigambo ekyo ng’ayogera ku kintu omuntu ky’akyayira ddala, nga takyakirabamu mugaso gwonna, era nga takyayagala na kuddamu kukitunulako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share