LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 9/1/05 lup. 8-12
  • Onooyolesa Ekitiibwa kya Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onooyolesa Ekitiibwa kya Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri Abakristaayo gye Boolesaamu Ekitiibwa kya Katonda
  • Abantu ba Katonda Tebajja Kusirisibwa
  • Yakuwa Atuyamba Okugumiikiriza
  • Omulimu Ogutayinza Kwerabirwa
  • Oyoleka Ekitiibwa kya Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Abakristaayo Boolesa Ekitiibwa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Kitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Enkuŋŋaana Ennene eza Disitulikiti n’ez’Ensi Yonna Zitukubiriza Okuwa Katonda Ekitiibwa!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 9/1/05 lup. 8-12

Onooyolesa Ekitiibwa kya Katonda?

‘Twolesa ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu.’​—2 ABAKKOLINSO 3:18, NW.

1. Musa yalaba ki, era kiki ekyamutuukako?

WAALI tewabangawo muntu yenna eyali afunye kwolesebwa ng’okwo okw’ekitalo. Ng’ali yekka ku Lusozi Sinaayi, Musa yakkirizibwa okulaba ekintu ekitaali kya bulijjo. Yakkirizibwa okulaba ekintu omuntu yenna kye yali talabangako​—ekitiibwa kya Yakuwa. Kyokka, Musa teyalabira ddala Yakuwa. Katonda wa kitiibwa nnyo ne kiba nti tewali muntu ayinza kumulaba n’aba mulamu. Yakuwa yabikka ‘omukono’ gwe ku maaso ga Musa, ng’akozesa malayika okutuusa lwe yamala okuyitawo. N’olwekyo Musa yalaba kitiibwa kya Yakuwa kyokka. Ate era Yakuwa teyayogera na Musa butereevu wabula yayogera naye okuyitira mu malayika. Baibuli ennyonnyola bw’eti ebyaddirira: ‘Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, omubiri gw’amaaso ge gwali gumasamasa olw’okwogera ne Yakuwa.’​—Okuva 33:18–34:7, 29.

2. Kiki Pawulo kye yawandiika ku kitiibwa Abakristaayo kye boolesa?

2 Teeberezaamu ng’oli ne Musa ku lusozi olwo. Nga wandiwuniikiridde nnyo okulaba ekitiibwa ky’Omuyinza w’Ebintu Byonna n’okuwulira ng’ayogera! Era nga wandibadde n’enkizo ya maanyi okuva ku Lusozi Sinaayi ne Musa, omutabaganya w’endagaano y’Amateeka! Naye, obadde okimanyi nti Abakristaayo ab’amazima boolesa ekitiibwa kya Katonda mu ngeri esinga n’eyo Musa gye yakyolesaamu? Ensonga eno yeeyolekera bulungi mu bbaluwa y’omutume Pawulo. Yagamba nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘boolesa ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu.’ (2 Abakkolinso 3:7, 8, 18) N’Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo boolesa ekitiibwa kya Katonda.

Engeri Abakristaayo gye Boolesaamu Ekitiibwa kya Katonda

3. Biki bye tumanyi ku Yakuwa Musa by’ataamanya?

3 Tusobola tutya okwolesa ekitiibwa kya Katonda? Ffe tetulabanga ku Yakuwa era tayogerangako naffe nga bwe yayogera ne Musa. Wadde kiri kityo, waliwo bingi bye tumanyi ku Yakuwa Musa by’ataamanya. Ng’ekyokulabirako, waayita emyaka nga 1,500 oluvannyuma lw’okufa kwa Musa, Yesu n’alyoka alabika nga Masiya. N’olwekyo, Musa teyamanya ngeri Mateeka gye gandituukiriziddwa mu Yesu, eyafiirira abantu asobole okubanunula mu kibi n’okufa. (Abaruumi 5:20, 21; Abaggalatiya 3:19) Ate era, Musa yali amanyi kitono nnyo ku bigendererwa bya Yakuwa ebikwata ku Bwakabaka bwa Masiya, n’Olusuku lwa Katonda lwe bunaleeta ku nsi. Ffe tetulaba kitiibwa kya Yakuwa na maaso, wabula tukiraba n’amaaso gaffe ag’okukkiriza okusinziira ku ebyo bye tuyize mu Baibuli. Ate era, wadde Yakuwa tayogerangako naffe kuyitira mu malayika, tuwulidde eddoboozi lye nga tusoma Baibuli, naddala, Enjiri ezinnyonnyola obulungi enjigiriza za Yesu n’ebyo bye yakola.

4. (a) Abakristaayo abaafukibwako amafuta boolesa batya ekitiibwa kya Katonda? (b) Mu ngeri ki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi gye boolesaamu ekitiibwa kya Katonda?

4 Wadde ng’amaaso g’Abakristaayo si ge goolesa ekitiibwa kya Katonda, bakyolesa nga babuulira abantu ku kitiibwa kya Yakuwa, n’ebigendererwa bye. Nnabbi Isaaya bwe yali ayogera ku nnaku zaffe, yagamba nti abantu ba Katonda ‘bandibuulidde amawanga ekitiibwa kya Katonda.’ (Isaaya 66:19) Ate era, 2 Abakkolinso 4:1, 2, wagamba: “Kale, kubanga tulina okuweereza okwo . . . , tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw’okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda.” Okusingira ddala, wano Pawulo yali ayogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘abaweereza b’endagaano empya.’ (2 Abakkolinso 3:6) Obuweereza bwabwe buyambye bangi okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo ku nsi. Mu buweereza bwabwe, Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala tebakoma ku kwolesa kitiibwa kya Yakuwa mu ebyo bye bayigiriza byokka, naye era bakyolesa ne mu ngeri gye beeyisaamu. Nga tulina enkizo n’obuvunaanyizibwa bwa maanyi okwolesa ekitiibwa kya Katonda Ali Waggulu ennyo!

5. Okukulaakulana kwaffe mu by’omwoyo kwoleka ki?

5 Nga Yesu bwe yalagula, leero amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gabuulirwa mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Abantu okuva mu buli ggwanga, ebika, abantu ne nnimi, bakkirizza amawulire amalungi era bakoze enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okukola Katonda by’ayagala. (Abaruumi 12:2; Okubikkulirwa 7:9) Okufaananako Abakristaayo abaasooka, abantu abo tebasobola kulekera awo kwogera ku bintu bye baalaba ne bye baawulira. (Ebikolwa 4:20) Okusinga bwe kyali kibadde mu byafaayo by’omuntu, leero abantu abassuka mu bukadde mukaaga be boolesa ekitiibwa kya Katonda. Oli omu ku bo? Okukulaakulana okwo okw’eby’omwoyo okuliwo mu bantu ba Katonda, bukakafu obulaga nti Yakuwa abawadde emikisa era nti abakuuma. Ate ekiraga nti tulina omwoyo gwa Yakuwa kwe kuba nti tweyongera okwolesa ekitiibwa kye wadde nga waliwo abatuziyiza. Ka twekenneenye ensonga lwaki tugamba bwe tutyo.

Abantu ba Katonda Tebajja Kusirisibwa

6. Lwaki kyetaagisa okukkiriza n’obuvumu okusobola okunywerera ku ludda lwa Yakuwa?

6 Teeberezaamu ng’oyitiddwa mu kkooti okulumiriza omumenyi w’amateeka. Okimanyi nti omumenyi w’amateeka oyo alina obuwagizi obw’amaanyi era nti asobola okukola kyonna ekisoboka n’olema kumwatuukiriza. Okusobola okulumiriza omumenyi w’amateeka ng’oyo kikwetaagisa okuba omuvumu n’okuba omukakafu nti ab’obuyinza bajja kukukuuma oleme kukolebwako kabi. Embeera gye tulimu efaananako bw’etyo. Bwe tuwa obujulirwa ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, tuba twatuukiriza Setaani Omulyolyomi nti mulimba, mussi, era nti akyamya ensi yonna. (Yokaana 8:44; Okubikkulirwa 12:9) Kyetaagisa okuba omuvumu okusobola okunywerera ku ludda lwa Yakuwa n’okulumiriza Omulyolyomi.

7. Buyinza ki Setaani bw’alina, era kiki ky’agezaako okukola?

7 Kya lwatu, Yakuwa y’Ali Waggulu Ennyo. Amaanyi ge gasingira wala nnyo aga Setaani. N’olwekyo tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa asobola okutukuuma bwe tumuweereza n’obwesigwa. (2 Ebyomumirembe 16:9) Kyokka, Setaani ye mufuzi wa badayimooni n’ensi ey’abatatya Katonda. (Matayo 12:24, 26; Yokaana 14:30) Olw’okuba yasuulibwa ku nsi, era “ng’alina obusungu bungi,” aziyiza abaweereza ba Yakuwa, era akozesa ensi eri wansi w’obuyinza bwe okugezaako okusirisa abo bonna ababuulira amawulire amalungi. (Okubikkulirwa 12:7-9, 12, 17) Kino akikola atya? Akikola mu ngeri ssatu.

8, 9. Bintu ki Setaani by’akozesa okutuwugula, era lwaki tusaanidde okulonda mikwano gyaffe n’obwegendereza?

8 Engeri emu Setaani gy’akozesa ng’agezaako okutuwugula, kwe kutuleetera okweraliikirira eby’obulamu. Mu nnaku zino ez’oluvannyuma abantu baagala nnyo ssente, beeyagala bokka era baagala nnyo n’eby’amasanyu. Ng’oggyeko ebyo byonna, tebaagala Katonda. (2 Timoseewo 3:1-4) Olw’okuba balina eby’okukola bingi, abasinga obungi ‘tebafaayo’ ku mawulire malungi ge tubabuulira. Tebaagala kuyiga mazima ga Baibuli. (Matayo 24:37-39) Singa tutwalirizibwa enneeyisa y’abantu abatwetoolodde tujja kuggwaamu amaanyi mu by’omwoyo. Bwe tukulaakulanya omwoyo ogw’okwagala ebintu n’eby’amasanyu, okwagala kwaffe eri Katonda kujja kuwola.​—Matayo 24:12.

9 N’olw’ensonga eyo, Abakristaayo balonda n’obwegendereza mikwano gyabwe. Kabaka Suleemani yawandiika nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi, naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Engero 13:20) N’olwekyo, ka ‘tutambule’ n’abo aboolesa ekitiibwa kya Katonda. Nga kiba kya ssanyu nnyo bwe tukola bwe tutyo! Bwe tubeera ne baganda baffe mu nkuŋŋaana oba awalala wonna, tuzzibwamu amaanyi olw’okwagala kwabwe, okukkiriza kwabwe, essanyu lyabwe, awamu n’amagezi gaabwe. Emikwano ng’egyo gituzzaamu nnyo amaanyi ne tuba bamalirivu okweyongera okutuukiriza obuweereza bwaffe.

10. Setaani akozesezza atya okusekererwa ng’agezaako okumalamu amaanyi aboolesa ekitiibwa kya Katonda?

10 Engeri endala Setaani gy’akozesa ng’agezaako okulemesa Abakristaayo okwolesa ekitiibwa kya Katonda, kwe kubasekerera. Kino tekyanditwewuunyisizza. Yesu Kristo bwe yali mu buweereza bwe ku nsi, baamusekerera, baamuduulira, baamuvuma, era baamuwandulira n’amalusu. (Makko 5:40; Lukka 16:14; 18:32) Abakristaayo abasooka nabo baasekererwa. (Ebikolwa 2:13; 17:32) N’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino bayisibwa mu ngeri y’emu. Okusinziira ku mutume Peetero, bandiyitiddwa “bannabbi ab’obulimba.” Yagamba nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja n’okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo ne boogera nti Okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga . . . byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga ku kutondebwa.” (2 Peetero 3:3, 4) Abantu abamu bagamba nti ebyo abantu ba Katonda bye boogera si bituufu. Bakitwala nti emitindo gya Baibuli egikwata ku mpisa gyava dda ku mulembe. Abasinga obungi, batwala obubaka bwe tubabuulira ng’eky’obusirusiru. (1 Abakkolinso 1:18, 19) Ng’Abakristaayo, tuyinza okusekererwa ku ssomero, ku mirimu, ate oluusi ne mu maka gaffe. Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, tweyongera okwolesa ekitiibwa kya Katonda nga tubuulira, nga tumanyi nti Ekigambo kya Katonda ge mazima era nga ne Yesu bwe yakola.​—Yokaana 17:17.

11. Setaani akozesezza atya okuyigganyizibwa ng’agezaako okusirisa Abakristaayo?

11 Engeri ey’okusatu Omulyolyomi gy’akozesa ng’agezaako okutusirisa, kwe kuyigganyizibwa oba okuziyizibwa. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.” (Matayo 24:9) Mazima ddala, ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuyigganyiziddwa mu bitundu bingi eby’ensi. Tukimanyi nti Yakuwa yalagula dda nti wandibaddewo obulabe wakati w’abaweereza be n’aba Setaani Omulyolyomi. (Olubereberye 3:15) Ate era, tukimanyi nti bwe tukuuma obugolokofu wadde nga tuyigganyizibwa, tuba tulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Bwe tukuumira ekyo mu birowoozo kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu bwe twolekagana n’okuyigganyizibwa. N’olwekyo, bwe tuba abamalirivu okwolesa ekitiibwa kya Katonda tewali kuyigganyizibwa kuyinza kutusirisiza ddala.

12. Lwaki twandisanyuse bwe tusigala nga tuli beesigwa, wadde nga Setaani atuyigganya?

12 Bwe wabaawo abakuziyiza oba abakusekerera, ofuba okusigala ng’oli mwesigwa n’ototwalirizibwa nsi? Bw’oba okola bw’otyo, olina ensonga ennungi okuba omusanyufu. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.” (Matayo 5:11, 12) Bw’ogumiikiriza, kiba kiwa obukakafu nti olina omwoyo gwa Yakuwa ogw’amaanyi ogukusobozesa okwolesa ekitiibwa kye.​—2 Abakkolinso 12:9.

Yakuwa Atuyamba Okugumiikiriza

13. Nsonga ki enkulu etuleetera okugumiikiriza mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo?

13 Ensonga enkulu etuleetera okugumiikiriza mu buweereza, kwe kwagala kwe tulina eri Yakuwa n’okuba nti twagala okwolesa ekitiibwa kye. Abantu batera okukoppa abo be baagala oba be bawa ekitiibwa, naye Yakuwa Katonda gwe twandisinze okukoppa. Olw’okuba atwagala nnyo, yatuma Omwana we ku nsi okuyigiriza amazima era n’okununula olulyo lw’omuntu. (Yokaana 3:16; 18:37) Okufaananako Katonda, naffe twagala abantu bonna beenenye era bafune obulokozi; era eyo y’ensonga lwaki tubabuulira. (2 Peetero 3:9) Okwagala ng’okwo awamu n’okuba nti tuli bamalirivu okukoppa Katonda, bituleetera okweyongera okwolesa ekitiibwa kye mu buweereza bwaffe.

14. Yakuwa atuzzaamu atya amaanyi ne tusobola okugumiikiriza mu buweereza bwaffe?

14 Yakuwa y’atuwa amaanyi agatusobozesa okugumiikiriza mu buweereza obw’Ekikristaayo. Atuzzaamu amaanyi ng’ayitira mu kibiina kye, Ekigambo kye Baibuli n’omwoyo gwe. Yakuwa ayamba abo abaagala okwoleka ekitiibwa kye ne basobola ‘okugumiikiriza.’ Addamu okusaba kwaffe era atuwa amagezi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu. (Abaruumi 15:5; Yakobo 1:5) Tatuleka kutuukibwako kigezo kyonna kye tutasobola kugumiikiriza. N’olwekyo bwe tumwesiga, ajja kutuyamba okugumiikiriza tusobole okweyongera okwolesa ekitiibwa kye.​—1 Abakkolinso 10:13.

15. Kiki ekituyamba okugumiikiriza?

15 Bwe tugumiikiriza mu buweereza kiba kiraga nti tulina omwoyo gwa Katonda. Ng’ekyokulabirako: Ka tugambe nti omuntu akusabye ogende nnyumba ku nnyumba, ng’ogabira abantu emigaati ku bwereere. Ng’akugambye okozese ssente zo n’ebiseera byo. Nga wayiseewo ekiseera, okizuula nti batono nnyo abaagala emigaati egyo; era ng’abamu bagezaako n’okukuziyiza oleme kugaba migaati egyo. Osobola okukola omulimu ogwo mwezi ku mwezi oba mwaka ku mwaka? N’akatono. Kyokka, oyinza okuba ng’obadde ofuba okubuulira amawulire amalungi ng’okozesa ebiseera byo ne ssente zo okumala emyaka mingi. Olowooza kiki ekikusobozesezza okukola omulimu ogwo? Si lwa kuba nti oyagala Yakuwa era ng’abadde akuwa omwoyo gwe n’osobola okugumiikiriza? Mazima ddala ekyo kye nnyini kye kikusobozesezza okukola omulimu ogwo!

Omulimu Ogutayinza Kwerabirwa

16. Bwe tugumiikiriza mu buweereza kiki kye tunaafuna wamu n’abo abatuwuliriza?

16 Obuweereza bw’endagaano empya bwa muwendo nnyo. (2 Abakkolinso 4:7) Mu ngeri y’emu, n’obuweereza bw’Abakristaayo ab’endiga endala okwetooloola ensi, nabwo bwa muwendo nnyo. Nga Pawulo bwe yawandiikira Timoseewo, bwe weeyongera okugumiikiriza mu buweereza, ojja kusobola ‘okwerokola awamu n’abo abakuwuliriza.’ (1 Timoseewo 4:16) Lowooza ku ebyo ebiyinza okuvaamu. Amawulire amalungi gajja kusobozesa b’obuulira okufuna obulamu obutaggwaawo. Osobola okukola omukwano ogw’okulusegere n’abo b’oyamba mu by’omwoyo. Ng’ojja kufuna essanyu lya nsusso okuba mu Lusuku lwa Katonda, ng’oli wamu n’abo be wayamba okuyiga ebikwata ku Katonda! Mazima ddala tebalyerabira kufuba kwo. Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo!

17. Lwaki ekiseera kye tulimu kya njawulo nnyo mu byafaayo by’omuntu?

17 Tuli mu kiseera eky’enjawulo ennyo mu byafaayo by’omuntu. Era amawulire amalungi tegaliddamu kubuulirwa mu nsi eno eyeeyawudde ku Katonda. Nuuwa yali mu nsi efaananako ng’eno, era yeerabirako n’agage ng’ezikirizibwa. Ng’ateekwa okuba yasanyuka nnyo okumanya nti bwe yazimba eryato yali akoze Katonda ky’ayagala, era nti kye kyamusobozesa okuwonawo awamu n’ab’omu maka ge! (Abaebbulaniya 11:7) Naawe osobola okufuna essanyu ng’eryo. Lowooza ku ssanyu ly’olifuna mu nsi empya, bw’olijjukira ebyo bye wakola mu nnaku ez’oluvannyuma, ng’okimanyi nti wakola kyonna ky’osobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka.

18. Yakuwa agumya atya abaweereza be?

18 Ka tweyongere okwolesa ekitiibwa kya Katonda. Kino kye kintu kye tutajja kwerabira emirembe n’emirembe. Ate ne Yakuwa tajja kwerabira mirimu gyaffe. Baibuli etuzzaamu amaanyi ng’egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza. Era twagala nnyo buli muntu ku mwe okulaganga obunyiikivu obwo olw’okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero. Mulemenga okubeera bagayaavu, naye abagoberera abo olw’okukkiriza n’okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.”​—Abaebbulaniya 6:10-12.

Osobola Okunnyonnyola?

• Mu ngeri ki Abakristaayo gye boolesaamu ekitiibwa kya Katonda?

• Ngeri ki Setaani z’akozesa ng’agezaako okusirisa abantu ba Katonda?

• Bukakafu ki obulaga nti tulina omwoyo gwa Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Amaaso ga Musa gaayolesa ekitiibwa kya Katonda

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10, 11]

Twolesa ekitiibwa kya Katonda mu buweereza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share