OLUYIMBA 7
Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe
1. Ai Yakuwa, ggwe maanyi gaffe.
Ggwe Mulokozi, tukwesiga ffe.
Ffe Bajulirwa bo, otutumye;
Ka bawulire oba bagaane.
(CHORUS)
Katonda waffe, Ggwe maanyi gaffe.
Tulangirira Erinnya lyo.
Yakuwa Omuyinza wa Byonna,
Oli kigo kyaffe; Kiddukiro.
2. Kaakano tuli mu kitangaala;
Tulabidde ddala amazima.
Tuwulira ebiragiro byo;
Ffe tuwagira ’Bwakabaka bwo.
(CHORUS)
Katonda waffe, Ggwe maanyi gaffe.
Tulangirira Erinnya lyo.
Yakuwa Omuyinza wa Byonna,
Oli kigo kyaffe; Kiddukiro.
3. Tukola n’essanyu by’oyagala
Wadde nga Sitaani atuvuma.
Ne bw’ayagala okututta ffe,
Tuyambe tukunywerereko ggwe.
(CHORUS)
Katonda waffe, Ggwe maanyi gaffe.
Tulangirira Erinnya lyo.
Yakuwa Omuyinza wa Byonna,
Oli kigo kyaffe; Kiddukiro.
(Laba ne 2 Sam. 22:3; Zab. 18:2; Is. 43:12.)