LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 12/15 lup. 11-15
  • “Kaakano Kye Kiseera eky’Okukkiririzibwamu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Kaakano Kye Kiseera eky’Okukkiririzibwamu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Ekiseera eky’Okukkiririzibwamu’
  • “Muleme Kusubwa Kigendererwa Kyakyo”
  • “Mwake n’Omwoyo”
  • Buulira Amawulire Amalungi Agakwata ku Kisa eky’Ensusso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Langirira Amawulire Amalungi n’Omwoyo Ogwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • “Mwake n’Omwoyo”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • “Mwake n’Omwoyo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 12/15 lup. 11-15

“Kaakano Kye Kiseera eky’Okukkiririzibwamu”

“Laba! Kaakano kye kiseera eky’okukkiririzibwamu. Laba! Kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.”​—2 KOL. 6:2.

1. Lwaki twetaaga okumanya ekintu ekisinga obukulu kye tuba tulina okukola mu kiseera kye tubaamu?

“BULI kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w’eggulu kiriko ekiseera kyakyo.” (Mub. 3:1) Wano Sulemaani yali ayogera ku bukulu bw’okumanya ekiseera ekituufu eky’okukoleramu ekintu​—ka kube kulima, kutambula, kukola bizineesi, oba okwogera n’abalala. Kyokka era twetaaga n’okumanya ekintu ekisinga obukulu kye tuba tulina okukola mu kiseera kye tubaamu. Mu ngeri endala, twetaaga okumanya ebintu bye tulina okukulembeza mu bulamu.

2. Bwe yali ku nsi, Yesu yalaga atya nti yali amanyi obukulu bw’ekiseera kye yalimu?

2 Bwe yali ku nsi, Yesu yali amanyi obukulu bw’ekiseera kye yalimu n’ekyo kye yali asaanidde okukola. Mu kwemalira ku bintu ebyali bisinga obukulu, Yesu yali akimanyi nti ekiseera kyali kituuse obunnabbi bungi obukwata ku Masiya okutuukirizibwa. (1 Peet. 1:11; Kub. 19:10) Yalina bingi bye yali alina okukola okusobola okukyoleka nti ye yali Masiya eyasuubizibwa. Yalina okuwa obujulirwa mu bujjuvu obukwata ku Bwakabaka era n’okukuŋŋaanya abo abandifuuse basika banne mu Bwakabaka mu kiseera eky’omu maaso. Era yalina okuteekawo omusingi ogw’ekibiina Ekikristaayo ekyandikoze omulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa okutuuka ku nkomerero y’ensi.​—Mak. 1:15.

3. Yesu okumanya obukulu bw’ekiseera kye yalimu, kyamukubiriza kukola ki?

3 Okumanya obukulu bw’ekiseera kye yalimu, kyakubiriza Yesu okuba omunyiikivu ng’akola Kitaawe by’ayagala. Yagamba abayigirizwa be nti: “Eby’okukungula bingi naye abakozi batono. Kale musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” (Luk. 10:2; Mal. 4:5, 6) Yesu yasooka n’alonda abayigirizwa 12 n’oluvannyuma n’alonda abalala 70, n’abawa obulagirizi, era n’abasindika okubuulira obubaka obukulu: “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” Ate ku bikwata ku Yesu, tusoma nti: “Bwe yamala okuwa abayigirizwa be ekkumi n’ababiri ebiragiro, n’avaayo n’agenda okuyigiriza n’okubuulira mu bibuga ebirala.”​—Mat. 10:5-7; 11:1; Luk. 10:1.

4. Pawulo yakoppa atya Yesu Kristo?

4 Yesu yateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kubeera omunyiikivu. Eyo y’ensonga lwaki omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.” (1 Kol. 11:1) Pawulo yakoppa atya Kristo? Engeri emu gye yamukoppamu, kwe kuba omunyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi. Mu bbaluwa Pawulo ze ya wandiikira ebibiina, tusangamu ebigambo nga “temuba bagayaavu mu bye mukola,” “muweereze ng’abaddu ba Yakuwa,” “bulijjo mube n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe,” ne “buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa.” (Bar. 12:11; 1 Kol. 15:58; Bak. 3:23) Pawulo ateekwa okuba nga teyeerabira ebyo ebyaliwo bwe yali agenda e Ddamasiko n’asisinkana Mukama waffe Yesu Kristo awamu n’ebigambo bya Yesu omuyigirizwa Ananiya bye yamugamba: “Omusajja ono kibya kye nnonze okutwala erinnya lyange mu mawanga, mu bakabaka ne mu baana ba Isiraeri.”​—Bik. 9:15; Bar. 1:1, 5; Bag. 1:16.

‘Ekiseera eky’Okukkiririzibwamu’

5. Kiki ekyakubiriza Pawulo okuba omunyiikivu mu buweereza bwe?

5 Bw’oba osoma ekitabo ky’Ebikolwa, kyangu okulaba nti Pawulo yali munyiikivu mu buweereza bwe. (Bik. 13:9, 10; 17:16, 17; 18:5) Pawulo yali amanyi bulungi obukulu bw’ekiseera kye yalimu. Yagamba nti: “Laba! Kaakano kye kiseera eky’okukkiririzibwamu. Laba! Kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.” (2 Kol. 6:2) Omwaka ogwa 537 E.E.T., kye kyali ekiseera eky’okukkiririzibwamu eri abantu abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni okuddayo ku butaka. (Is. 49:8, 9) Naye kiki Pawulo kye yali ayogerako mu lunyiriri olwo? Ennyiriri eziriraanyeewo zituyamba okukitegeera.

6, 7. Nkizo ki ey’ekitalo eweereddwa Abakristaayo abaafukibwako amafuta leero, era baani abakolera awamu nabo?

6 Emabegako mu bbaluwa ye, Pawulo yayogera ku nkizo ey’ekitalo ye awamu ne Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta gye baalina. (Soma 2 Abakkolinso 5:18-20.) Yagamba nti baayitibwa Katonda n’abakwasa “obuweereza obw’okutabagana,” okwegayirira abantu ‘okutabagana ne Katonda.’ Baali ba kuyamba abantu okuddamu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.

7 Obujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni, bwaleetera abantu bonna okweyawula ku Yakuwa n’okufiirwa enkolagana ennungi naye. (Bar. 3:10, 23) Kino kireetedde abantu okubeera mu kizikiza eky’eby’omwoyo, okubonaabona, n’okufa. Pawulo yawandiika nti: “Tukimanyi nti n’okutuusa kati ebitonde bisindira wamu era birumirwa wamu.” (Bar. 8:22) Naye Katonda alina ky’akozeewo okukubiriza abantu, mu butuufu “abeegayirira” bakomewo gy’ali, oba batabagane naye. Obwo bwe buweereza obwaweebwa Pawulo ne Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kiseera ekyo. ‘Ekiseera eky’okukkiririzibwamu’ kisobola okufuuka ‘olunaku olw’obulokozi’ eri abo abakkiririza mu Yesu. Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta bakolera wamu ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ okuyamba abantu okuganyulwa mu “kiseera eky’okukkiririzibwamu.”​—Yok. 10:16.

8. Kiki ekyewuunyisa ku kutabagana kw’abantu ne Katonda?

8 Ekyewuunyisa ku kutabagana kuno kiri nti, wadde ng’abantu be baayonoona enkolagana yaabwe ne Katonda, olw’obujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni, Katonda kennyini ye yakola enteekateeka okuzzaawo enkolagana eyo. (1 Yok. 4:10, 19) Kiki kye yakola? Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu Kristo, Katonda yaleetera abantu okutabagana naye, nga tababalira byonoono byabwe, era n’atukwasa ekigambo eky’okutabagana.”​—2 Kol. 5:19; Is. 55:6.

9. Kiki Pawulo kye yakola okulaga nti yali asiima ekisa kya Katonda?

9 Mu kuwaayo ssaddaaka y’ekinunulo, Yakuwa yateekawo enteekateeka esobozesa abo abakkiririza mu kinunulo okusonyiyibwa ebibi byabwe n’okuddamu okufuna enkolagana ennungi naye. Ate era, yatuma ababaka okukubiriza abantu buli wamu okutabagana naye nga kikyasoboka. (Soma 1 Timoseewo 2:3-6.) Oluvannyuma lw’okutegeera ekyo Katonda ky’ayagala n’obukulu bw’ekiseera kye yalimu, Pawulo yakola kyonna ekisoboka okwenyigira mu ‘buweereza obw’okutabagana.’ Ekyo Yakuwa ky’ayagala tekikyukanga. Ne leero akyayagala abantu batabagane naye. N’olwekyo ebigambo bya Pawulo nti “kaakano kye kiseera eky’okukkiririzibwamu” era “kaakano lwe lunaku olw’obulokozi” bikyali bya makulu nnyo. Nga Yakuwa, Katonda wa kisa era musaasizi nnyo!​—Kuv. 34:6, 7.

“Muleme Kusubwa Kigendererwa Kyakyo”

10. Okumanya nti ‘olunaku olw’obulokozi’ lugenda mu maaso, kikutte kitya ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta?

10 Abantu abaasooka okuganyulwa mu kisa kya Katonda eky’ensusso kino beebo abali “obumu ne Kristo.” (2 Kol. 5:17, 18) Bano bo, ‘olunaku lwabwe olw’obulokozi’ lwatandika ku Pentekooti 33 E.E. Okuva olwo, baakwasibwa omulimu gw’okulangirira “ekigambo eky’okutabagana.” N’okutuusa leero, ensigalira y’abaafukibwako amafuta bakyenyigira mu ‘buweereza obw’okutabagana.’ Bakimanyi bulungi nti bamalayika abana omutume Yokaana be yalaba mu kwolesebwa ‘bakutte empewo ennya ez’ensi era bazinywezezza, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi.’ N’olwekyo, ‘olunaku olw’obulokozi,’ era ‘ekiseera eky’okukkiririzibwamu,’ lukyagenda mu maaso. (Kub. 7:1-3) N’olw’ensonga eno, okuva ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, ensigalira y’abaafukibwako amafuta babadde beenyigira n’obunyiikivu mu ‘buweereza obw’okutabagana’ okutuukira ddala ku nsonda z’ensi.

11, 12. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo ng’ekyasa ekya 20 kyakatandika baalaga batya nti baali bamanyi obukulu bw’ekiseera kye baalimu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 15.)

11 Ng’ekyokulabirako, ekitabo Jehovah’s Witnesses​—Proclaimers of God’s Kingdom kiraga nti ng’ekyasa kya 20 kinaatera okutandika, “C. T. Russell ne banne baali bakkiriza nti baali mu kiseera eky’amakungula era nti abantu baali beetaaga okumanya amazima basobole okununulibwa.” Kiki kye baakola? Okumanya nti baali mu kiseera eky’amakungula, ‘ekiseera eky’okukkiririzibwamu,’ ab’oluganda bano baakiraba nti tekimala kuyita buyisi bantu kujja mu nkuŋŋaana za ddiini. Kubanga ekyo n’abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu baali bamaze ebbanga nga bakikola. Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baatandika n’okukozesa engeri endala okubunyisa amawulire amalungi. Munno mwe mwali okukozesa tekinologiya eyali ku mulembe mu kiseera ekyo okukola omulimu gwabwe.

12 Okusobola okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka, ab’oluganda bano abatono abaali abanyiikivu baakozesanga tulakiti, obutabo, magazini, awamu n’ebitabo. Era baawandiikanga ebitundu ebyafulumiranga mu nkumi n’enkumi z’empapula z’amawulire. Ate era baalinanga ne programu ku leediyo ezitali zimu kwe bannyonnyoleranga Ebyawandiikibwa. Baafulumya era ne bakozesa ebifaananyi eby’oku ntimbe nga kuliko n’amaloboozi, nga n’abakola firimu tebannatandika kukikola. Biki ebyava mu kufuba okwo? Leero, waliwo abantu abasukka mu bukadde omusanvu abakkirizza ‘okutabagana ne Katonda’ era nga kati nabo bakubiriza abalala okukola ky’ekimu. Mu butuufu, abaweereza ba Yakuwa abo abaasooka baateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okuba abanyiikivu wadde ng’ebintu tebyali byangu.

13. Ekigendererwa kya Katonda kye tusaanidde okulowoozaako kye kiruwa?

13 Ebigambo bya Pawulo nti “kaakano kye kiseera eky’okukkiririzibwamu” ne leero bikyali bya makulu. Ffe abalozezzaako ku kisa kya Yakuwa eky’ensusso tuli basanyufu nnyo okuba nti tufunye akakisa okuwulira n’okukkiriza obubaka obw’okutabagana. Mu kifo ky’okwesuulirayo ogwa nnagamba, tusaanidde okulowooza ku bigambo bya Pawulo bino: “Naffe tubeegayirira mukkirize ekisa kya Katonda eky’ensusso muleme kusubwa kigendererwa kyakyo.” (2 Kol. 6:1) Ekigendererwa ky’ekisa kya Katonda eky’ensusso kwe ‘kuleetera abantu okutabagana naye’ okuyitira mu Kristo.​—2 Kol. 5:19.

14. Kiki ekibaddewo mu nsi nnyingi?

14 Abantu bangi Sitaani b’azibye amaaso, bakyeyawudde ku Katonda era tebamanyi kigendererwa ky’ekisa kya Katonda eky’ensusso. (2 Kol. 4:3, 4; 1 Yok. 5:19) Naye embeera y’ensi egenda yeeyongera okwonooneka ereetedde abantu bangi okukkiriza okutabagana ne Katonda oluvannyuma lw’okukiraba nti okumweyawulako kye kivuddeko obubi n’okubonaabona. Ne mu nsi ezitali zimu omubadde abantu abangi ennyo abatayagala kuwulira bubaka bwaffe, kati waliyo bangi abakkirizza amawulire amalungi era ne babaako kye bakolawo okusobola okutabagana ne Katonda. Naffe tukiraba nti kino kye kiseera okwongera okuba abanyiikivu mu kulangirira obubaka obugamba nti: “Mutabagane ne Katonda”?

15. Mu kifo ky’okubuulira abantu ebyo bye baagala okuwulira, kiki kye tulina okubayamba okumanya?

15 Bwe tuba tubuulira tetwagala kugamba bugambi bantu nti bwe badda eri Katonda, ajja kubayamba okuva mu bizibu byabwe byonna era bafune emirembe. Ekyo kye kitwala abantu abasinga obungi mu makanisa, era abakulembeze b’amadiini basuubiza abantu ebintu ng’ebyo. (2 Tim. 4:3, 4) Naye eyo si ye nsonga lwaki tubuulira. Amawulire amalungi ge tubuulira gali nti Yakuwa, olw’okwagala kw’alina, mwetegefu okusonyiwa abantu ebibi byabwe ng’ayitira mu Kristo. N’olwekyo, abantu abeeyawudde ku Katonda basobola okutabagana naye. (Bar. 5:10; 8:32) Kyokka ‘ekiseera eky’okukkiririzibwamu,’ kinaatera okuggwako.

“Mwake n’Omwoyo”

16. Kiki ekyayamba Pawulo okuba omuvumu era omunyiikivu?

16 Kati olwo kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banyiikivu mu kusinza okw’amazima? Olw’okuba abamu balina ensonyi, bayinza okukisanga nga kizibu okwogera n’abantu abalala. Kyokka, tulina okukijjukira nti omuntu okuba omucamufu si kye kiraga nti munyiikivu, era nti obunyiikivu tebusinziira ku mbeera za muntu. Pawulo yalaga ekyo ekituyamba okuba abanyiikivu bwe yagamba Bakristaayo banne nti: “Mwake n’omwoyo.” (Bar. 12:11) Omwoyo gwa Yakuwa gwe gwayamba omutume oyo okuba omunyiikivu n’okuba omugumiikiriza ng’abuulira. Okuva ku lunaku Pawulo lwe yalondebwa Yesu, okutuukira ddala ku mulundi gwe yasembayo okusibibwa mu kkomera era n’okuttibwa ng’ali e Rooma​—emyaka egisukka mu 30​—obunyiikivu bwe tebwaddirira n’akatono. Bulijjo yeesiganga Katonda, eyamuwanga amaanyi okuyitira mu mwoyo omutukuvu. Yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Baf. 4:13) Nga tujja kuganyulwa nnyo bwe tunaakoppa ekyokulabirako kye!

17. Tusobola tutya ‘okwaka n’omwoyo’?

17 Ekigambo ekyavvuunulwa ‘okwaka’ bwe kivvuunulwa obutereevu kitegeza “okwesera.” (Kingdom Interlinear) Okusobola okukuuma amazzi nga geesera, tulina okufuba okulaba nti omuliro tegukendera. Mu ngeri y’emu, okusobola ‘okwaka n’omwoyo,’ twetaaga okuba nga buli kiseera tufuna omwoyo gwa Katonda. Okusobola okufuna omwoyo ogwo, twetaaga okukozesa ebintu byonna Yakuwa by’atuwa okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. Ekyo kizingiramu okutwala okusinza kwaffe okw’amaka n’okw’ekibiina nga bikulu nnyo​—nga tetwosa kwesomesa n’okusomera awamu ng’amaka, okusaba, era n’okukuŋŋaana awamu ne Bakristaayo bannaffe. Ekyo kijja kutuyamba okuba ‘n’omuliro’ ogujja okutukuuma nga ‘twesera’ bwe tutyo tusobole okweyongera ‘okwaka n’omwoyo.’​—Soma Ebikolwa 4:20; 18:25.

18. Ng’Abakristaayo abeewaddeyo eri Katonda ebirowoozo byaffe tusaanidde kubimalira ku ki?

18 Omuntu eyeewaddeyo okukola ekintu akimalirako ebirowoozo bye byonna era takkiriza kintu kyonna kumuwugula oba kumumalamu maanyi nga tannakituukiriza. Ng’Abakristaayo abeewaddeyo eri Katonda, ekiruubirirwa kyaffe kwe kukola Yakuwa by’ayagala nga Yesu bwe yakola. (Beb. 10:7) Leero, Yakuwa ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okutabagana naye. N’olwekyo, ka tufube okuba abanyiikivu​—nga tukoppa Yesu ne Pawulo​—mu mulimu guno omukulu ennyo ogwetaaga okukolebwa mu bwangu leero.

Okyajjukira?

• “Obuweereza obw’okutabagana” obwakwasibwa Pawulo awamu n’Abakristaayo abalala abaafukibwako amafuta bwe buluwa?

• Ensigalira y’abaafukibwako amafuta bakozesezza batya ‘ekiseera eky’okukkiririzibwamu’?

• Abakristaayo basobola batya ‘okwaka n’omwoyo’?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Pawulo teyeerabira ebyo ebyaliwo bwe yasisinkana Yesu Kristo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share