Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Oluyimba
“NG’EDDANGA mu maggwa, gwe njagala bw’ali bw’atyo mu bawala.” “Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, muganzi wange bw’ali bw’atyo mu balenzi.” “Ani oyo atunula ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba?” (Oluyimba 2:2, 3; 6:10) Ebigambo ebyo ebiri mu kitabo ky’Oluyimba nga birungi! Ekitabo kino ekyawandiikibwa mu ngeri ey’ekitontome kijjuddemu eby’amakulu era kirungi nnyo ne kiba nti kyogerwako nga “oluyimba olusinga ennyimba.”—Oluyimba 1:1.
Oluyimba luno olukwata ku mukwano wakati w’omulenzi omusumba n’omuwala Omusulamu, lwawandiikibwa Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda, awo nga 1020 B.C.E., ng’obufuzi bwe obw’emyaka 40 bwakatandika. Aboogerwako mu kitontome kino mwe muli maama w’omuwala ne bannyina, “abawala ba Yerusaalemi,” ne “abawala ba Sayuuni.” (Oluyimba 1:5; 3:11) Omuntu bw’aba asoma ekitabo kino tekimwanguyira kutegeera muntu ki aba ayogera, naye bwe wekkaanya ebyogerwa, kisoboka okumutegeera.
Waliwo ensonga bbiri lwaki obubaka obuli mu kitabo kino ekyaluŋŋamizibwa Katonda bwa muganyulo. (Abaebbulaniya 4:12) Esooka, kituyigiriza omukwano ogwa nnamaddala ogubaawo wakati w’omusajja n’omukazi. Ey’okubiri, oluyimba luno lulaga omukwano ogw’enjawulo oguliwo wakati wa Yesu Kristo n’ekibiina eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta.—2 Abakkolinso 11:2; Abaefeso 5:25-31.
TEMUGEZAAKO ‘KUZUUKUSA KWAGALA KWANGE’
“Annywegere n’okunywegera kw’akamwa ke: kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi.” (Oluyimba 1:2) Oluyimba lutandika n’ebigambo ebyo eby’omuwala munnakyalo eyaleetebwa mu weema ya Sulemaani. Yatuukayo atya?
Agamba nti: “Abaana ba mmange bansunguwalira, banfuula omukuumi w’ensuku ez’emizabbibu.” Bannyina kibanyiiza omulenzi we omusumba bw’amuyita okugenda batambuleko. Okusobola okumulemesa, bamusindika okugenda agobe “ebibe ebito ebyonoona ensuku z’emizabbibu.” Eno y’engeri gy’ajjamu okuba okumpi ne weema ya Sulemaani. Bw’aserengeta “mu nnimiro ey’emmere erimu emiramwa,” we bamulabira nti mulungi era ne bamutwala mu lusiisira.—Oluyimba 1:6; 2:10-15; 6:11.
Bw’agamba abawala ba Yerusaalemi nti ayagala mulenzi we omusumba, bamugamba ‘okufuluma akwate ekkubo agoberere ebigere by’endiga’ amunoonye. Naye Sulemaani amugaana. Amuwaana olw’obulungi bwe, era amusuubiza “emivumbo gya zzaabu . . . n’amapeesa aga ffeeza.” Kyokka omuwala bino byonna tebimusikiriza. Omulenzi omusumba atuuka mu lusiisira lwa Sulemaani, amusanga era agamba nti: “Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi.” Omuwala alayiza abawala ba Yerusaalemi nti: “Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, okutuusa we kunaayagalira.”—Oluyimba 1:8-11, 15; 2:7; 3:5.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:2, 3—Lwaki okujjukira ebigambo by’omulenzi ebisuuta kulinga omwenge n’erinnya lye ng’amafuta? Omuwala okujjukira omukwano gw’omulenzi we n’erinnya lye byamuzzaamu amaanyi ng’omwenge bwe gusanyusa omutima gw’omuntu, n’amafuta bwe gaweweeza omutwe. (Zabbuli 23:5; 104:15) Mu ngeri y’emu n’Abakristaayo ab’amazima, naddala abaafukibwako amafuta, bwe balowooza ku mukwano Yesu Kristo gw’abalaga, kibazzaamu amaanyi.
1:5—Lwaki omuwala munnakyalo agamba nti obuddugavu bwe bulinga ‘weema ez’e Kedali’? Olugoye olukoleddwa mu byoya by’embuzi lwabanga n’emigaso mingi. (Okubala 31:20) Ng’ekyokulabirako, engoye ezikoleddwa mu ‘byoya by’embuzi’ zeeyambisibwa mu kukola “weema” entukuvu. (Okuva 26:7) Okufaananako weema ezikolebwa Abeduni n’okutuusa kati, kirabika ne weema z’e Kedali zaakolebwanga mu byoya by’embuzi ebiddugavu.
1:15—Omulenzi omusumba ategeeza ki bw’agamba nti: “Amaaso go mayiba”? Omulenzi omusumba okwogera bw’atyo aba ategeeza nti omuwala gw’ayagala atunuza ddembe nga amayiba.
2:7; 3:5—Lwaki abawala ba Yerusaalemi bagambibwa okulayirira “empeewo n’enjaza ez’omu ttale”? Empeewo n’enjaza bimanyiddwa olw’obulungi bwabyo. Mu ngeri eno omuwala Omusulamu alayiza abawala ba Yerusaalemi ekintu ekirungi baleme okuzuukusa okwagala kwe.
Bye Tuyigamu:
1:2; 2:6. Ebigambo oba ebikolwa ebyoleka omukwano tebiba bikyamu bwe muba nga mwogerezeganya. Kyokka, aboogerezeganya basaanidde okwegendereza okulaba nti bye boogera oba bye bakola tebibaleetera kugwa mu bukaba.—Abaggalatiya 5:19.
1:6; 2:10-15. Bannyina b’omuwala Omusulamu baamugaana okugenda n’omwagalwa we mu bifo ebyesudde mu nsozi si lwa kuba nti yali mukaba oba nti yalina ebigendererwa ebikyamu. Wabula, baakikola kumuziyiza kweteeka mu mbeera eyandimuviiriddeko okukemebwa. Eky’okuyiga wano kiri nti, aboogerezeganya basaanidde okwewala okubeera bokka mu bifo awatali abalaba.
2:1-3, 8, 9. Wadde nga yali mulungi nnyo, omuwala Omusulamu yeetwala ‘ng’ekimuli ekya bulijjo ekisangibwa ku ttale.’ Olw’okuba yali mulungi era nga mwesigwa eri Yakuwa, omulenzi omusumba yali amutwala “ng’eddanga mu maggwa.” Ate ye omulenzi tuyinza kumwogerako ki? Olw’okuba naye yali mulungi, omuwala yamufaananya “empeewo.” Era ateekwa okuba nga yali ayagala nnyo eby’omwoyo era nga mwesigwa eri Yakuwa. Omuwala agamba nti: “Ng’omucungwa [omuti ogw’ebibala era nga guwa n’ekisiikirize] mu miti egy’omu kibira, muganzi wange bw’ali bw’atyo mu balenzi.” Obwesigwa n’okwemalira ku Katonda si ngeri nnungi ze wandyagadde omuntu gw’oyagala okuyingira naye mu bufumbo okuba nazo?
2:7; 3:5. Omuwala munnakyalo teyeegomba Sulemaani. Yalayiza n’abawala ba Yerusaalemi obutagezaako kumuleetera kwagala muntu mulala okuggyako omulenzi omusumba. Tekisoboka era si kirungi kulaga mukwano buli gw’oba osanze. Omukristaayo ayagala okuyingira obufumbo asaanidde kunoonya oyo aweereza Yakuwa n’obwesigwa.—1 Abakkolinso 7:39.
“KIKI EKIBAAGAZA OKUTUNUULIRA OMUSULAMU?”
Waliwo ‘ava mu ddungu ng’ajja alinnya ng’empagi ez’emikka.’ (Oluyimba 3:6) Kiki abawala ba Yerusaalemi kye balaba bwe bagenda ebweru? Balaba Sulemaani n’abaweereza be nga bakomawo mu kibuga. Era nga kabaka aleese n’omuwala Omusulamu.
Omulenzi omusumba agoberedde omuwala era mangu amusanga. Bw’amukakasa nti amwagala, n’omuwala alaga nti ayagala kuva mu kibuga ng’agamba nti: “Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, neegendera eri olusozi olwa mooli. N’eri akasozi ak’omugavu.” Omuwala ayita omusumba ‘okujja mu nnimiro ye alye ebibala bye eby’omuwendo omungi.’ Omusumba addamu nti: “Nzize mu nnimiro yange, mwannyinaze mugole wange.” Abawala ba Yerusaalemi babagamba nti: “Mulye, mmwe ab’[omu]kwano; munywe, weewaawo, mukutte [omukwano].”—Oluyimba 4:6, 16; 5:1.
Bw’amala okubuulira abawala ba Yerusaalemi ekirooto kye, omuwala Omusulamu abagamba nti: “Okwagala kugenda kunzita.” Bamubuuza: “Muganzi wo kye ki okusinga omuganzi omulala?” Abaddamu nti: “Muganzi wange mutukuvu era mumyufu, atabula mu kakumi.” (Oluyimba 5:2-10) Sulemaani bw’amuwaana ennyo, omuwala addamu nti: “Kiki ekibaagaza okutunuulira Omusulamu?” (Oluyimba 6:4-13) Ng’alowooza nti kano kandiba akakisa ak’okumuwangula, kabaka yeeyongera okumuwaana. Kyokka, omuwala anywerera ku mulenzi we omusumba. Kya ddaaki Sulemaani amuleka n’addayo ewaabwe.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
4:1; 6:5—Lwaki enviiri z’omuwala zigeraageranyizibwa ku ‘ggana ly’embuzi’? Kubanga enviiri ze zaali zimasamasa era nga nnyingi ng’ebyoya by’embuzi ebiddugavu.
4:11—Makulu ki agali mu kuba nti “emimwa” gw’Omusulamu ‘gitonnya ng’ebisenge by’enjuki’ era nti ‘omubisi gw’enjuki n’amata biri wansi w’olulimi lwe’? Omubisi oguli mu bisenge by’enjuki guwooma okusinga ogwo ogufuuyiddwako empewo. Okugeraageranya kuno, awamu n’okuba nti omubisi n’amata biri wansi w’olulimi lw’omuwala, biggumiza obulungi bw’ebigambo by’omuwala Omusulamu.
5:12—Ebigambo “amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’obugga obw’amazzi: agaanaazibwa n’amata” bitegeeza ki? Omuwala aba ayogera ku bulungi bw’amaaso g’omwagalwa we. Ayinza okuba nga mu ngeri ey’okugereesa afaanaganya emmunye enzirugavu ey’eriiso ly’omusumba ku mayiba aganaaba mu mata.
5:14, 15—Lwaki emikono gy’omusumba n’amagulu ge byogerwako mu ngeri eno? Kirabika omuwala aba ageraageranya engalo z’omusumba ku mpeta za zaabu n’enjala ze ku berulo. Amagulu ge agoogerako “ng’empagi ez’amayinja amanyirivu” olw’okuba ga maanyi era malungi nnyo.
6:4—Lwaki omuwala ageraageranyizibwa ku Tiruza? Ekibuga kino eky’Abakanani kyawambibwa Yoswa era oluvannyuma lw’ekiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani, kye kyasooka okuba ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. (Yoswa 12:7, 24; 1 Bassekabaka 16:5, 6, 8, 15) Ekitabo ekimu kigamba nti: “Ekibuga kino kirabika kyali kirungi nnyo era ng’eno y’ensonga lwaki kyogerwako wano.”
6:13—“Amazina ga Makanayimu” gategeeza ki? Ekibuga kino kisangibwa ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani kumpi n’ekiwonvu kya Yaboki. (Olubereberye 32:2, 22; 2 Samwiri 2:29) Amazina gano baagaziniranga ku mikolo egyabanga mu kibuga ekyo.
7:4—Lwaki Sulemaani agamba nti ensingo y’Omusulamu eringa “[omunaala ogw’]amasanga”? Emabegako omuwala baali bamuwaanyeko nti: “Ensingo yo eringa [omunaala gwa] Dawudi.” (Oluyimba 4:4) Omunaala guba muwanvu era nga mutono, ate go amasanga gaba maweweevu. Sulemaani awuniikirira olw’ensingo y’omuwala eyali empeweevu era nga mpanvu.
Bye Tuyigamu:
4:1-7. Olw’okuba Sulemaani yalemererwa okumuwangula, omuwala Omusulamu yalaga nti yali mwesigwa nnyo wadde nga tatuukiridde. Empisa ze ennungi zaayongera ku bulungi bwe. N’abakazi Abakristaayo bwe batyo bwe basaanidde okuba.
4:12. Ng’ennimiro ennungi eriko ekigo oba ekisenge, era ng’okugiyingira balina kusooka kukuggulirawo, omuwala Omusulamu okwagala kwe yakulaga oyo yekka eyali agenda okumuwasa. Kino nga kyakulabirako kirungi nnyo eri Abakristaayo abasajja n’abakazi abatannayingira bufumbo!
“OKWOKYA KWENNYINI OKWA MUKAMA”
Bannyina b’omuwala Omusulamu bwe bamulaba ng’akomawo awaka babuuza nti: “Mukazi ki ono ajja ng’alinnya okuva mu ddungu nga yeesigama ku muganzi we?” Emabegako, omu ku bo yali agambye nti: “Obanga bbugwe, tulimuzimbako ekigo kya ffeeza, era obanga luggi tulimubikkako embaawo ez’emivule.” Olw’okuba okwagala kwe kugezeseddwa ne kusigala nga kunywevu, omuwala Omusulamu agamba nti: “Ndi bbugwe n’amabeere gange galina ebigo byako: ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng’omuntu alabye emirembe.”—Oluyimba 8:5, 9, 10.
Okwagala okwa nnamaddala “kwokya kwennyini okwa Mukama.” Lwaki? Kubanga okwagala okw’engeri eyo kusibuka ku Yakuwa. Yeeyatuteekamu obusobozi bw’okwagala. Kwokya ng’omuliro ogutasobola kuzikizibwa. Ekitabo ky’Oluyimba kiraga bulungi nti okwagala okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi “kwenkana okufa amaanyi,” kwe kugamba tekulemererwa.—Oluyimba 8:6.
Oluyimba lwa Sulemaani olw’ekitalo era lulaga omukwano omunywevu oguliwo wakati wa Yesu Kristo n’abo bonna abatwalibwa “ng’omugole” we ow’omu ggulu. (Okubikkulirwa 21:2, 9) Okwagala Yesu kw’alina eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta kusingira wala okwagala okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi. Abakristaayo bano nabo balina okwagala okunywevu. Obulamu Yesu bwe yawaayo buganyula ‘n’ab’endiga endala.’ (Yokaana 10:16) N’olwekyo, abasinza ab’amazima bonna basobola okukoppa ekyokulabirako ky’omuwala Omusulamu eky’okulaga okwalaga okunywevu.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16, 17]
Oluyimba lutuyigiriza kunoonya ki mu oyo gwe twagala Okufumbiriganwa naye?